Oli mu Abo Katonda b’Ayagala?
“Alina ebiragiro byange, n’abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange.”—YOKAANA 14:21.
1, 2. (a) Yakuwa yalaga atya abantu okwagala? (b) Kiki Yesu kye yatandikawo mu kiro kya Nisaani 14, 33 C.E.?
YAKUWA ayagala abantu be yatonda. Mu butuufu abaagala nnyo ne kiba nti “n’okuwaayo [y]awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Kati ng’ekiseera eky’Okujjukira okufa kwa Kristo kigenda kisembera, Abakristaayo ab’amazima, n’okusinga bwe kyali kibadde bandirowoozezza nnyo ku ngeri Yakuwa gye “[yatwagalamu], n’atuma Omwana we okuba omutango olw’ebibi byaffe.”—1 Yokaana 4:10.
2 Mu kiro kya Nisaani 14, 33 C.E., Yesu n’abatume be 12 baakuŋŋaanira mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako, nga bajjukira okununulibwa kw’Abaisiraeri okuva mu Misiri. (Matayo 26:17-20) Oluvannyuma lw’okukwata embaga eyo ey’Abayudaaya, Yesu yagamba Yuda Isukalyoti okufuluma era n’atandikawo omukolo ogw’Ekijjukizo ky’okufa kwe Abakristaayo kwe bandijjukiddenga.a Ng’akozesa omugaati ogutali muzimbulukuse n’enviinyo ng’obubonero obukiikirira omubiri gwe n’omusaayi, Yesu n’abatume 11 abaasigalawo baalya ku kijjulo ekyo eky’awamu. Kalonda akwata ku ngeri gye yakikolamu attottolebwa abawandiisi b’Enjiri ya Matayo, Makko, ne Lukka, awamu n’omutume Pawulo eyakiyita “eky’ekiro kya Mukama waffe.”—1 Abakkolinso 11:20, NW; Matayo 26:26-28; Makko 14:22-25; Lukka 22:19, 20.
3. Ebintu omutume Yokaana bye yawandiika ebikwata ku Yesu ng’ali n’abayigirizwa be mu kisenge ekya waggulu byawukana bitya ku by’abalala?
3 Ye omutume Yokaana teyayogera ku kuyisa mugaati n’enviinyo, oboolyawo olw’okuba ekiseera we yawandiikira ebiri mu Njiri ye (mu mwaka 98 C.E.), enkola eyo yali yasimba dda amakanda mu Bakristaayo abaasooka. (1 Abakkolinso 11:23-26) Naye, olw’okuluŋŋamizibwa, Yokaana yekka yatubuulira ebintu ebikulu Yesu bye yayogera ne bye yakola nga tannatandikawo mukolo ogw’Okujjukira okufa Kwe, era n’oluvannyuma lw’okugutandikawo mu kisenge ekya waggulu. Kalonda oyo abuguumiriza asangibwa mu ssuula ttaano nnamba ez’Enjiri ya Yokaana. Kalonda oyo alaga bulungi abantu Katonda b’ayagala. N’olwekyo, ka twekenneenye Yokaana essuula 13 okutuukira ddala ku 17.
Yigira ku Kwagala kwa Kristo okw’Amaanyi
4. (a) Yokaana yalaga atya ekyaggumizibwa mu lukuŋŋaana lwa Yesu n’abayigirizwa be bwe yatandikawo omukolo ogw’Okujjukira okufa kwe? (b) Ensonga emu lwaki Yakuwa ayagala Yesu y’eruwa?
4 Okwagala kwogerwako nnyo mu ssuula zino zonna omuli okubuulirira kwa Yesu okwasembayo eri abagoberezi be. Mu butuufu, ekigambo ‘okwagala’ kirabika emirundi 31 mu ngeri ez’enjawulo mu ssuula ezo. Okwagala okw’amaanyi Yesu kw’alina eri Kitaawe, Yakuwa, n’eri abayigirizwa be kuggumizibwa nnyo mu ssuula ezo okusinga awalala wonna. Okwagala Yesu kw’alina eri Yakuwa kuyinza okulabibwa mu bye tusoma mu Njiri ebikwata ku bulamu bwa Yesu, naye Yokaana yekka ye yawandiika ebigambo bya Yesu nti: “Njagala Kitange.” (Yokaana 14:31) Era Yesu yayogera nti ne Yakuwa amwagala era n’awa n’ensonga. Yagamba: “Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbaagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.” (Yokaana 15:9, 10) Yee, Yakuwa ayagala Omwana we olw’okuba muwulize nnyo. Nga kya kuyiga kirungi nnyo eri abagoberezi ba Yesu Kristo bonna!
5. Yesu yalaga atya nti ayagala nnyo abayigirizwa be?
5 Okuviira ddala ku ntandikwa ng’annyonnyola ebyo ebyaliwo mu lukuŋŋaana lwa Yesu olwasembayo n’abatume be, Yokaana aggumiza okwagala okw’amaanyi Yesu kw’alina eri abayigirizwa be. Yokaana yannyonnyola: “Embaga ey’Okuyitako yali nga tennatuuka, Yesu bwe yamanya ng’ekiseera kye kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe, bwe yayagala ababe abali mu nsi, yabaagala okutuusa enkomerero.” (Yokaana 13:1) Akawungeezi ako, Yesu yabayigiriza essomo ekkulu ennyo erikwata ku kuweereza abalala eritayinza kwerabirwa. Yanaaza ebigere byabwe. Ekyo kyali kikolwa buli omu ku bo kye yandibadde akolera Yesu ne baganda be, naye tewali n’omu yakikola. Yesu yakola omulimu ogwo ogw’obwetoowaze era n’agamba abayigirizwa be: “Kale oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga ebigere. Kubanga mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo.” (Yokaana 13:14, 15) Abakristaayo ab’amazima balina okubeera abeetegefu okuweereza baganda baabwe.—Matayo 20:26, 27; Yokaana 13:17.
Goberera Etteeka Eppya
6, 7. (a) Kintu ki eky’enjawulo Yokaana ky’ayogera ku byaliwo ng’omukolo gw’Ekijjukizo gutandikibwawo? (b) Kiragiro ki ekippya Yesu kye yawa abayigirizwa be, era kiki ekyali ekippya mu kyo?
6 Ku bikwata ku byaliwo mu kisenge ekyo ekya waggulu mu kiro kya Nisaani 14, Yokaana yekka y’ayogera ku kufuluma kwa Yuda Isukalyoti. (Yokaana 13:21-30) Bwe tugeraageranya ebiri mu bitabo by’Enjiri zonna tukiraba nti kalinkwe oyo yamala kufuluma Yesu n’alyoka atandikawo omukolo ogw’Okujjukira okufa kwe. Awo n’ayogera ebintu bingi n’abatume be abeesigwa, ng’ababuulirira era ng’abawa obulagirizi obusembayo. Kati nga tweteekateeka okubaawo ku mukolo ogw’Okujjukira okufa kwa Yesu, twandibadde tufaayo nnyo okumanya ebyo Yesu bye yayogera ku mukolo ogwo, n’okusingira ddala olw’okuba twagala okuba mu abo Katonda b’ayagala.
7 Ekiragiro Yesu kye yasookera ddala okuwa abayigirizwa be oluvannyuma lw’okutandikawo omukolo gw’Okujjukira okufa kwe kyali kippya gye bali. Yagamba: “Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:34, 35) Kiki ekyali ekippya mu kiragiro ekyo? Oluvannyumako, akawungeezi ako, Yesu yatangaaza ku nsonga eyo ng’agamba: “Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe. Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.” (Yokaana 15:12, 13) Amateeka ga Musa gaalagira Abaisiraeri ‘okwagalanga bannaabwe nga bwe beeyagala bokka.’ (Eby’Abaleevi 19:18) Naye ekiragiro kya Yesu kyasingawo ku ekyo. Abakristaayo baali ba kwagalana nga Kristo bwe yabaagala, nga babeera beetegefu okuwaayo obulamu bwabwe ku lwa baganda baabwe.
8. (a) Okwagala okw’okwefiiriza kutwaliramu ki? (b) Mu ngeri ki leero Abajulirwa ba Yakuwa gye balagamu okwagala okw’okwefiiriza?
8 Ekiseera eky’Ekijjukizo kiba kirungi nnyo okwekebera kinnoomu era ng’ekibiina, okulaba obanga ddala tulina akabonero kano akaawulawo Abakristaayo ab’amazima: okwagala ng’okwa Kristo. Okwagala okwo okw’okwefiiriza kuyinza okwetaagisa Omukristaayo okuteeka obulamu bwe mu kabi mu kifo ky’okuwaayo baganda be, era ddala emirundi mingi bwe kityo bwe kibadde. Kyokka, emirundi egisinga kutwaliramu okubaako bye twefiiriza okusobola okuyamba baganda baffe n’abantu abalala oba n’okubaweereza. Omutume Pawulo yali kyakulabirako kirungi nnyo mu kino. (2 Abakkolinso 12:15; Abafiripi 2:17) Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa mu nsi yonna olw’omwoyo gwabwe ogw’okwefiiriza, olw’okuyamba baganda baabwe ne baliraanwa, era n’okubeera abanyiikivu mu kubuulira amazima ga Baibuli eri bantu bannaabwe.b—Abaggalatiya 6:10.
Enkolagana Gye Twandisiimye
9. Okusobola okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Katonda n’Omwana we, twandikoze ki?
9 Tewali kyandibadde kya muwendo nnyo gye tuli okusinga okwagalibwa Yakuwa n’Omwana we, Yesu Kristo. Kyokka, okusobola okwagalibwa, tuteekwa okubaako kye tukolawo. Mu kiro ekyo ekyasembayo ng’ali n’abatume be, Yesu yagamba: “Alina ebiragiro byange, n’abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga.” (Yokaana 14:21) Okuva bwe tusiima enkolagana yaffe ne Katonda era n’Omwana we, tugondera ebiragiro byabwe n’essanyu. Ekyo kitwaliramu etteeka eppya ery’okulaga okwagala okw’okwefiiriza n’ekiragiro Kristo kye yawa oluvannyuma lw’okuzuukira kwe ‘eky’okubuulira abantu,’ era n’okufuba okufuula abo abakkiriza amawulire amalungi ‘abayigirizwa.’—Ebikolwa 10:42; Matayo 28:19, 20.
10. Nkolagana ki ey’omuwendo esobola okufunibwa abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala’?
10 Oluvannyumako ekiro ekyo, ng’addamu ekibuuzo omutume omwesigwa Yuda (Saddayo) kye yamubuuza, Yesu yagamba: “Omuntu bw’anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy’ali, tunaatuulanga gy’ali.” (Yokaana 14:22, 23) Ne bwe baba nga bakyali ku nsi, Abakristaayo abaafukibwako amafuta, abo abayitibwa okufuga ne Kristo mu ggulu, baba n’enkolagana ennywevu ennyo ne Yakuwa era n’Omwana we. (Yokaana 15:15; 16:27; 17:22; Abaebbulaniya 3:1; 1 Yokaana 3:2, 24) Kyokka, ne bannaabwe ‘ab’endiga endala,’ abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, nabo baba n’enkolagana ey’omuwendo ne “omusumba omu,” Yesu Kristo, era ne Katonda waabwe, Yakuwa, kasita babeera abawulize.—Yokaana 10:16; Zabbuli 15:1-5; 25:14.
“Temuli ba Nsi”
11. Kulabula ki okukulu Yesu kwe yawa abayigirizwa be?
11 Mu lukuŋŋaana olwo olwasembayo n’abayigirizwa be abeesigwa nga tannafa, Yesu yawa okulabula kuno okukulu: Omuntu bw’aba ng’ayagalibwa Katonda, ajja kukyayibwa ensi. Yagamba: “Ensi bw’ebakyawanga[,] mumanyi nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe. Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe bannabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n’ekyammwe banaakikwatanga.”—Yokaana 15:18-20.
12. (a) Lwaki Yesu yalabula abayigirizwa be nti ensi yandibakyaye? (b) Ng’Ekijjukizo kisembera, ffenna tusaanidde kulowooza ku ki?
12 Yesu yawa okulabula kuno okusobozesa abatume abo 11 era n’Abakristaayo ab’amazima bonna abandibaddiridde obutaggwaamu maanyi ne balekulira olw’okukyayibwa ensi. Yayongerezaako: “Ebyo mbibabuulidde muleme ok[we]sittazibwanga. Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro; weewaawo, ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng’aweerezza Katonda. N’ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamutegeera newakubadde nze.” (Yokaana 16:1-3) Enkuluze emu ennyonnyola Baibuli egamba nti ekigambo wano ekivuunuddwa ‘okwesittazibwanga’ kitegeeza “okuleetera omuntu okulekera awo okwesiga oyo gw’asaanidde okwesiga n’okugondera era n’amwabulira.” Kati ng’ekiseera eky’Ekijjukizo kisembera, ffenna tusaanidde okulowooza ku bulamu bw’abaweereza ba Katonda abeesigwa abaaliwo mu biseera eby’emabega era n’abo abaliwo mu biseera byaffe. Era tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kyabwe eky’obwesigwa. Toganya kuyigganyizibwa kukuggya ku Yakuwa ne Yesu, wabula malirira okubeesiga n’okubagondera.
13. Kiki Yesu kye yasaba Kitaawe ku lw’abagoberezi be?
13 Mu kusaba kwe okwasembayo nga tebannava mu kisenge ekyo ekya waggulu mu Yerusaalemi, Yesu yagamba bw’ati Kitaawe: “Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” (Yokaana 17:14-16) Tuyinza okubeera abakakafu nti Yakuwa akuuma abo b’ayagala n’abazzaamu amaanyi nga bafuba okweyawula ku nsi.—Isaaya 40:29-31.
Beera mu Kwagala kwa Kitaffe n’okw’Omwana
14, 15. (a) Yesu yeegeraageranya ku ki, era nga wa njawulo ku ‘muzabbibu ki ogwonoonese’? (b) ‘Amatabi g’omuzabbibu’ ‘ogw’amazima’ be baani?
14 Ng’ayogera n’abayigirizwa be abeesigwa mu kiro kya Nisaani 14, Yesu yeegeraageranya ku “muzabbibu ogw’amazima,” ogw’enjawulo ku ‘muzabbibu ogwonoonese,’ ogukiikirira Abaisiraeri abataali beesigwa. Yagamba: “Nze muzabbibu ogw’amazima, ne Kitange ye mulimi.” (Yokaana 15:1) Emyaka mingi ng’ekyo tekinnabaawo, nnabbi Yeremiya yawandiika ebigambo bino Yakuwa bye yayogera eri abantu Be abaali beewaggudde: “N[n]ali nkusimbye muzabbibu mulungi, . . . Kale ofuuse otya gye ndi omuti ogwayonooneka ogw’omuzabbibu ogw’omu kibira?” (Yeremiya 2:21) Ate ne nnabbi Koseya yawandiika: “Isiraeri muzabbibu ogwonoonese, oguleeta ebibala byagwo: . . . Omutima gwabwe gufuuse munnanfuusi.”—Koseya 10:1, 2, NW.
15 Mu kifo ky’okubala ebibala eby’okusinza okw’amazima, Isiraeri yeewaggula era n’ebala ebibala ebyayo ku bwayo. Ennaku ssatu emabega nga tannaba kusisinkana n’abayigirizwa be abeesigwa omulundi guno ogwasembayo, Yesu yagamba abakulembeze bannanfuusi ab’Abayudaaya: “Mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.” (Matayo 21:43) Eggwanga eryo eppya ye “Isiraeri wa Katonda,” eririmu Abakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000, abageraageranyizibwa ku “matabi” “[g’o]muzabbibu ogw’amazima,” Yesu Kristo.—Abaggalatiya 6:16; Yokaana 15:5; Okubikkulirwa 14:1, 3.
16. Kiki Yesu kye yakubiriza abatume 11 abeesigwa okukola, era kiki ekiyinza okwogerwa ku nsigalira abeesigwa ab’omu kiseera kino eky’enkomerero?
16 Yesu yagamba abatume 11 abaali naye mu kisenge ekyo ekya waggulu: “Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala. Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze.” (Yokaana 15:2, 4) Ebyafaayo by’abantu ba Yakuwa ab’omu kiseera kino biraga nti ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta banyweredde ku Yesu Kristo, Omutwe gwabwe. (Abaefeso 5:23) Bakkirizza okulongoosebwa n’okutereezebwa. (Malaki 3:2, 3) Okuva mu 1919, baleese ebibala by’Obwakabaka mu bungi, okusooka Abakristaayo abalala abaafukibwako amafuta, ate okuva mu 1935, bannaabwe ‘ab’ekibiina ekinene’ ekigenda kyeyongera.—Okubikkulirwa 7:9; Isaaya 60:4, 8-11.
17, 18. (a) Bigambo ki Yesu bye yayogera ebiyamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala okubeeranga mu kwagala kwa Yakuwa? (b) Okubeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo kinaatuyamba kitya?
17 Eri Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta ne bannaabwe, ebigambo Yesu bye yazzaako bibakwatako nnyo: “Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga, ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange. Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbaagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.”—Yokaana 15:8-10.
18 Ffenna twagala okubeera mu kwagala kwa Katonda, era ekyo kitukubiriza okubeera Abakristaayo ababala ebibala. Ekyo tukikola nga tukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira “amawulire amalungi ag’obwakabaka.” (Matayo 24:14, NW) Era tukola kyonna kye tusobola okwoleka ‘ebibala eby’omwoyo’ mu bulamu bwaffe kinnoomu. (Abaggalatiya 5:22, 23) Okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo kijja kutuyamba okuba abamalirivu okukola ekyo, kubanga tujja kujjukizibwa okwagala okw’amaanyi Katonda ne Kristo kwe balina gye tuli.—2 Abakkolinso 5:14, 15.
19. Kiki ekijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
19 Oluvannyuma lw’okutandikawo omukolo ogw’Okujjukira okufa kwe, Yesu yasuubiza abagoberezi be abeesigwa nti Kitaawe yali ajja kubaweereza ‘omubeezi, omwoyo omutukuvu.’ (Yokaana 14:26) Engeri omwoyo ogwo gye guyambamu Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala okubeera mu kwagala kwa Yakuwa bijja kwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu 2002, okusinziira ku kalenda ya Baibuli, Nisaani 14 lutandika ku Lwakuna nga Maaki 28, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Akawungeezi ako, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi bajja kukuŋŋaana okujjukira okufa kwa Mukama waffe, Yesu Kristo.
b Laba ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, essuula 19 ne 32.
Ebibuuzo Eby’Okwejjukanya
• Ssomo ki ekkulu erikwata ku kuweereza abalala Yesu lye yayigiriza abayigirizwa be?
• Ekiseera eky’Ekijjukizo kiba kirungi kwekebera mu ngeri ki?
• Lwaki okulabula kwa Yesu okukwata ku kukyayibwa n’okuyigganyizibwa ensi ‘tekwanditwesittazza’?
• Ani “muzabbibu ogw’amazima”? ‘Amatabi’ be baani, era basuubirwa kukola ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Yesu yayigiriza abatume be essomo ekkulu ennyo erikwata ku kuweereza abalala lye tutayinza kwerabira
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24, 25]
Abayigirizwa ba Kristo bagondera ekiragiro kye eky’okulaga okwagala okw’okwefiiriza