‘Mungobererenga’
“Ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.”—1 PEETERO 2:21.
1, 2. Wadde nga Yesu yali muyigiriza atuukiridde, lwaki tusobola okukoppa ekyokulabirako kye?
YESU KRISTO ye Muyigiriza asingirayo ddala mu bonna abaali babaddewo ku nsi. Ate era, yali atuukiridde, era nga teyayonoonako n’akatono mu bbanga eryo lyonna lye yamala ku nsi. (1 Peetero 2:22) Naye, ekyo kitegeeza nti ekyokulabirako Yesu kye yateekawo ng’omuyigiriza ffe abantu abatatuukiridde tetusobola kukituukiriza? Tusobola.
2 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yesu yeesigamya okuyigiriza kwe ku kwagala. Ate ng’okwagala kye kintu ffenna kye tuyinza okukulaakulanya. Ekigambo kya Katonda kitukubiriza enfunda n’enfunda okweyongera okwagala abalala. (Abafiripi 1:9; Abakkolosaayi 3:14) Yakuwa tasobola kulagira bantu kukola kintu ekisukkiridde obusobozi bwabwe. Mu butuufu, olw’okuba “Katonda kwagala,” ate era nga yatukola mu kifaananyi kye, kiba kituufu okugamba nti yatukola nga tusobola okulaga okwagala. (1 Yokaana 4:8; Olubereberye 1:27) N’olwekyo, bwe tusoma ebigambo by’omutume Peetero ebiri mu kyawandiikibwa kyaffe ekitundu kino kwe kyesigamiziddwa, tuba bamativu nti tuyinza okubissa mu nkola. Tusobola okutambulira mu bigere bya Kristo. Mu butuufu, tusobola okugondera ekiragiro kya Yesu: ‘Mungobererenga.’ (Lukka 9:23) Ka twetegereze engeri gye tuyinza okukoppamu okwagala Kristo kwe yalaga eri amazima ge yayigirizanga, n’eri abantu be yayigirizanga.
Okwagala Amazima Ge Tuyiga
3. Lwaki abamu bakisanga nga kizibu okuyiga, naye kubuulirira ki okuli mu Engero 2:1-5?
3 Okusobola okwagala amazima ge tuyigiriza abalala, ffe ffennyini tuteekwa okuba nga twagala okuyiga amazima ago. Naye si kyangu kufuna kwagala ng’okwo mu nsi ey’akakyo kano. Ebintu bingi bireetera abantu obutayagala kuyiga, gamba ng’okuba n’obuyigirize obutono, era n’emize omuntu gy’ayinza okuba nga yafuna ng’akyali muvubuka. Kyokka, kikulu nnyo okuyigirizibwa Yakuwa. Engero 2:1-5 wagamba: “Mwana wange, bw’onokkirizanga ebigambo byange, n’oterekanga ebiragiro byange ewuwo; n’okutega n’oteganga okutu kwo eri amagezi, n’ossangayo omutima gwo eri okutegeera; weewaawo, bw’onookaabiranga okumanya, n’oliriranga okutegeera. Bw’onooganoonyanga nga ffeeza, n’ogakenneenyanga ng’eby’obugagga ebyakwekebwa; kale lw’olitegeera okutya Mukama, n’ovumbula okumanya Katonda.”
4. Kitegeeza ki ‘okussaayo’ omutima, era ndowooza ki eneetuyamba okukola bwe tutyo?
4 Weetegereze nti okuva ku lunyiriri 1 okutuuka ku 4, tukubirizibwa okunyiikira ‘okukkiriza’ ne ‘okutereka’ ebigambo, kyokka era ‘n’okubinoonyanga’ wamu ‘n’okubyekkenneenyanga.’ Naye kiki ekinaatukubiriza okukola bino byonna? Weetegereze ebigambo bino: “Ossangayo omutima gwo eri okutegeera.” Ekitabo ekimu kigamba nti okubuulirira okwo “tekukubiriza muntu kussaayo mwoyo kyokka, wabula n’okwagala ennyo okuyiga ebyo ebiba biyigirizibwa.” Kiki ekiyinza okutuleetera okwagala ennyo ebyo Yakuwa by’atuyigiriza? Ye ndowooza yaffe. Twetaaga okutwala ‘okumanya ebikwata ku Katonda’ nga “ffeeza” oba “eby’obugagga ebyakwekebwa.”
5, 6. (a) Kiki ekiyinza okubaawo oluvannyuma lw’ekiseera, era tuyinza tutya okukiziyiza okubaawo? (b) Lwaki tulina okweyongera okuyiga amazima okuva mu Baibuli?
5 Si kizibu okufuna endowooza ng’eyo. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba nga wayiga nti Yakuwa ayagala abantu abeesigwa babeere mu Lusuku lwe ku nsi emirembe gyonna. (Zabbuli 37:28, 29) Awatali kubuusabuusa, lwe wasooka okuyiga amazima ago, oteekwa okuba nga wagatwala ng’eky’obugagga eky’amaanyi ennyo; ekyakuleetera essuubi n’essanyu lingi nnyo. Naye ate kiri kitya kati? Ebbanga bwe ligenze liyitawo, okusiima kwe walina eri eky’obugagga kino kugenze kuseebengerera? Bwe kiba bwe kityo, gezaako okukola ebintu bibiri. Okusookera ddala, zza obuggya okusiima kwo nga wejjukanya buli lunaku lwaki otwala buli kintu eky’amazima Yakuwa ky’akuyigirizza okubeera eky’omuwendo, ka bibeere ebyo bye wayiga emyaka mingi egiyiseewo.
6 Ekyokubiri, yongeranga okunoonya eby’obugagga ebirala. Kubamu akafaananyi ng’ovumbudde ejjinja ery’omuwendo, oliteeka buteesi mu nsawo n’otambula? Oba oyongera okusima okulaba obanga wakyaliyo amayinja amalala ag’omuwendo? Ekigambo kya Katonda kijjuddemu amazima agalinga eby’obugagga ebikusike. K’obeere ng’ovumbudde genkana wa, okyasobola okuvumbulayo n’amalala. (Abaruumi 11:33) Bw’oyiga ekintu ekippya okuva mu Byawandiikibwa, weebuuze: ‘Kya bugagga mu ngeri ki? Kinnyamba okweyongera okutegeera engeri za Yakuwa n’ebigendererwa bye? Kimpa obulagirizi obuyinza okunnyamba okutambulira mu bigere bya Yesu?’ Bw’onoofumiitiriza ku bibuuzo ng’ebyo, kijja kukuyamba okweyongera okwagala amazima Yakuwa g’akuyigirizza.
Okulaga nti Twagala Amazima Ge Tuyigiriza
7, 8. Ngeri ki ze tuyinza okulagiramu abalala nti twagala amazima ge twayiga okuva mu Baibuli? Waayo ekyokulabirako.
7 Bwe tuba tuyigiriza abalala, tuyinza tutya okulaga nti twagala amazima ge twayiga okuva mu Kigambo kya Katonda? Nga tukoppa ekyokulabirako kya Yesu, twesigama nnyo ku Baibuli mu kubuulira awamu n’okuyigiriza kwaffe. Gye buvuddeko awo, abantu ba Katonda okwetooloola ensi, baakubirizibwa okweyongera okweyambisa ennyo Baibuli mu kubuulira kwabwe. Bw’oba ogoberera amagezi ago, fuba okulaga omuntu gw’obuulira nti ggwe wennyini otwala ebintu by’omuyigiriza okuva mu Baibuli okubeera eby’omuwendo.—Matayo 13:52.
8 Ekyokulabirako, oluvannyuma lw’obulumbaganyi bwa bannalukalala mu kibuga New York omwaka oguwedde, mwannyinaffe omu yasomeranga abantu be yasanganga ng’abuulira ekyawandiikibwa ekiri mu Zabbuli 46:1, 11. Yasookanga kubabuuza engeri gye baali basangamu obulamu oluvannyuma lw’akatyabaga ako. Yawulirizanga bulungi bye baddamu era oluvannyuma n’agamba: “Nkusomereyo ekyawandiikibwa kimu ekibadde kimbudaabuda ennyo mu kiseera kino ekizibu?” Oluvannyuma lw’okwogera bw’atyo, batono nnyo abaagaananga okumuwuliriza era yasobola okukubaganya ebirowoozo n’abantu bangi. Mwannyinaffe ono y’omu bw’aba ayogera n’abavubuka atera okugamba: “Mmaze emyaka 50 nga njigiriza abantu Baibuli, era njagala okukukakasa nti tewaliiwo kizibu kyonna Baibuli ky’etayinza kugonjoola.” Bwe tweyambisa ennyanjula erimu ebbugumu era nga tuli beesimbu, tusobola okulaga abantu nti ebintu bye tuyize okuva mu Baibuli tubyagala era tubitwala okuba eby’omuwendo ennyo.—Zabbuli 119:97, 105.
9, 10. Lwaki kikulu nnyo okukozesa Baibuli nga tuddamu abantu ebibuuzo ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu?
9 Abantu bwe batubuuza ebibuuzo ebikwata ku nzikiriza zaffe, kiba kituwadde omukisa okulaga nti twagala Ekigambo kya Katonda. Nga tugoberera ekyokulabirako kya Yesu, tetwesigama ku ndowooza yaffe nga tuddamu ebibuuzo ebyo. (Engero 3:5, 6) Mu kifo ky’ekyo, tweyambisa Baibuli okubiddamu. Otya nti omuntu ayinza okukubuuza ekibuuzo ky’otayinza kuddamu? Weetegereze ebintu bibiri by’oyinza okukola okusobola okuvvuunuka embeera ng’eyo.
10 Kola kyonna ky’osobola okubeera omwetegefu. Omutume Peetero yawandiika: “Mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe: nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey’okusuubira okuli mu mmwe, naye n’obuwombeefu n’okutya.” (1 Peetero 3:15) Oli mwetegefu okunnyonnyola enzikiriza zo? Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’aba ayagala okumanya lwaki teweenyigira mu bintu ebimu ebikontana n’ebyawandiikibwa, tomugamba bugambi nti “Eddiini yange tenzikiriza.” Bw’oddamu mu ngeri eyo, kireetera omuntu oyo okulowooza nti abalala be bakusalirawo eky’okukola, era nti oli mu kadiinidiini akagoberera endowooza z’omuntu. Kiba kirungi okuddamu nti, “Ekigambo kya Katonda, Baibuli, tekikkiriza kukola kintu ng’ekyo,” oba nti “Kijja kunyiiza Katonda wange.” Oluvannyuma munnyonnyole bulungi ensonga lwaki kiri bwe kityo.—Abaruumi 12:1.
11. Katabo ki akayinza okutuyamba okuddamu ebibuuzo ebikwata ku Baibuli?
11 Bw’owulira nti teweekakasa bulungi kya kwogera, lwaki totwala obudde n’osoma akatabo Reasoning From the Scriptures?a Wekkaanye emitwe gy’osuubira nti abantu bayinza okugibuuzaako ebibuuzo era fuba okuyiga Ebyawandiikibwa by’oyinza okukozesa okubiddamu. Beeranga n’akatabo ko aka Reasoning awamu ne Baibuli. Totya kubikozesa byombi, era gamba omuntu oyo aba akubuuzizza ebibuuzo nti olina akatabo akasobola okubayamba okunoonyereza eky’okuddamu eri ebibuuzo by’abuuzizza okuva mu Baibuli.
12. Tuyinza kwanukula tutya bwe tuba tetumanyi kya kuddamu mu kibuuzo ekitubuuziddwa ekikwata ku Baibuli?
12 Teweeraliikirira kiteetaagisa. Tewaliiyo muntu atatuukiridde asobola okuddamu buli kibuuzo kyonna ekimubuuzibwa. N’olwekyo, bw’obuuzibwa ekibuuzo ekikwata ku Baibuli ky’otayinza kuddamu, oyinza okwogera bw’oti: “Weebale okubuuza ekibuuzo ekirungi ng’ekyo. Kyokka eky’okuddamu sikirina kaakati, naye nga ndi mukakafu nti Baibuli esobola okukiddamu. Nnyumirwa nnyo okunoonyereza mu Baibuli, era nja kunoonyereza ku kibuuzo kyo nkomewo omulundi omulala nga nnina eky’okuddamu.” Okuddamu mu ngeri eyo ey’obwesimbu, kiyinza okukusobozesa okuddamu okukubaganya ebirowoozo n’omuntu oyo.—Engero 11:2.
Okwagala Abantu Be Tuyigiriza
13. Lwaki twandibadde n’endowooza ennuŋŋamu eri abo be tubuulira?
13 Yesu yalaga okwagala eri abantu be yayigirizanga. Tuyinza kumukoppa tutya mu nsonga eyo? Kikafuuwe obutalumirirwa bantu abatwetoolodde. Kyo kituufu nti “olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna” lubindabinda, era nti bangi ku buwumbi n’obuwumbi bw’abantu abali ku nsi bajja kuzikirizibwa. (Okubikkulirwa 16:14; Yeremiya 25:33) Kyokka, tetumanyi ani anaawonawo oba ani ataawonewo. Ekyo kijja kusalibwawo mu biseera eby’omu maaso, era nga anaasalawo ekyo ye mulamuzi Yakuwa gw’alonze, Yesu Kristo. Okutuusa ng’okulamula kuwedde, tutunuulire buli muntu yenna ng’asobola okufuuka omuweereza wa Yakuwa.—Matayo 19:24-26; 25:31-33; Ebikolwa 17:31.
14. (a) Tuyinza kwekebera tutya okulaba obanga tulumirirwa abantu? (b) Mu ngeri ki ze tuyinza okulagamu ekisa era n’okufaayo ku balala?
14 N’olwekyo, okufaananako Yesu, tukwatirwa abantu ekisa. Tuyinza okwebuuza: ‘Nnumirirwa abantu ababuzaabuziddwa ppokopoko w’eby’obufuzi n’eby’obusuubuzi awamu n’obulimba bw’eddiini? Abantu bwe batafaayo kububaka bwe tubatwalira, ngezaako okwebuuza lwaki bawulira bwe batyo? Nzijukira nti nange wamu n’abalala kati abaweereza Yakuwa tweyisaako bwe tutyo? Ngezaako okukyusakyusaamu mu ngeri gye ntuukiriramu abantu ng’abo? Oba mbatwala nti tebayinza kukyuka?’ (Okubikkulirwa 12:9) Abantu bwe balaba nti ddala tubalumirirwa, kiyinza okubaviirako okukkiriza obubaka bwaffe. (1 Peetero 3:8) Era ekisa kiyinza okutukubiriza okwongera okulaga nti tufaayo ku bantu be tuba tubuulira. Tuyinza okubaako ne bye tuwandiika ebikwata ku bibuuzo bye batubuuza wamu n’ebintu ebibeeraliikiriza. Bwe tuddayo, tuyinza okubalaga nti tubadde tulowooza ku bintu bye baayogera ku mulundi ogwayita. Era bwe baba balina ekizibu eky’amaanyi ekyetaaga okukolebwako amangu ddala, tusobola okubayamba.
15. Lwaki twandyetegerezza engeri ennungi mu bantu, era kino tuyinza kukikola tutya?
15 Okufaananako Yesu, twetegereza engeri ennungi abantu ze balina. Oboolyawo waliwo omuzadde ali yekka ng’afuba nnyo okukuza abaana be mu ngeri ennungi. Oboolyawo waliwo omusajja akuluusana okulabirira amaka ge. Oba omuntu akaddiye asiima ennyo ebintu eby’omwoyo. Twetegereza engeri ng’ezo eziri mu bantu be tusisinkana era ne tubasiima? Bwe tukola bwe tutyo, tussaawo enkolagana ennungi ne kitusobozesa okuwa obujulirwa obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda.—Ebikolwa 26:2, 3.
Obwetoowaze Bwetaagisa mu Kulaga Okwagala
16. Lwaki kikulu okubeera abakkakkamu era n’okuwa ekitiibwa abo be tuba tubuulira?
16 Okwagala abantu be tuyigiriza kujja kutukubiriza okugoberera okubuulirira okw’amagezi okuli mu Baibuli: “Okutegeera kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba.” (1 Abakkolinso 8:1) Yesu yali amanyi ebintu bingi, kyokka teyeegulumiza. N’olwekyo, bw’oba obuulira abalala ku nzikiriza zo, weewale okukuba empaka oba okwetwala nti oli wa waggulu. Ekigendererwa kyaffe kwe kutuuka ku mitima gy’abantu era n’okubasikiriza okukkiriza amazima ge twagala ennyo. (Abakkolosaayi 4:6) Jjukira nti, Peetero bwe yabuulirira Abakristaayo okubeera abeetegefu okuddamu buli muntu aba ababuuzizza, yayongerezaako nti tulina okukola kino “n’obuwombeefu n’okutya.” (1 Peetero 3:15) Bwe tubeera abakkakkamu era nga tuwa abalala ekitiibwa, kino kijja kutusobozesa okusikiriza abantu okujja eri Katonda gwe tuweereza.
17, 18. (a) Twandikoze tutya bwe wabaawo ababuusabuusa ebisaanyizo byaffe ng’abaweereza? (b) Lwaki okumanya ennimi ez’edda eza Baibuli si kye kintu ekikulu eri abayizi ba Baibuli?
17 Tekyetaagisa kweraga eri abantu nga bwe tumanyi ennyo oba nga bwe twasoma ennyo. Abantu abamu mu kitundu kyo bwe baba tebakkiriza kuwuliriza muntu atalina diguli, toganya ndowooza yaabwe kukumalamu maanyi. Yesu teyafaayo ku abo abaali bamunyooma mbu yali tayitiddeeko mu masomero ga balabbi agaaliwo mu biseera bye, era teyagezaako kuwuniikiriza bantu nti yali muyivu nnyo.—Yokaana 7:15.
18 Obwetoowaze n’okwagala bikulu nnyo eri abaweereza Abakristaayo okusinga obuyigirize. Omuyigiriza Omukulu, Yakuwa, y’atusobozesa okufuna ebisaanyizo by’obuweereza. (2 Abakkolinso 3:5, 6, NW) Tetwetaaga kusoma nnimi ez’edda eza Baibuli okusobola okufuuka abayigiriza b’Ekigambo kya Katonda, ng’abamu ku bakulembeze ba Kristendomu bwe bagamba. Yakuwa yaluŋŋamya okuwandiikibwa kwa Baibuli mu ngeri etegeerekeka obulungi buli omu asobole okunnyonnyoka ebigambo eby’amazima ebigirimu. Amazima ago gasigala nga ge gamu ne bwe gaba nga gavvuunuddwa mu bikumi n’ebikumi by’ennimi. Newakubadde emirundi egimu okumanya ennimi ez’edda kiyamba, si kye kintu ekikulu. Ku ludda olulala, amalala olw’okumanya ennimi ng’ezo gayinza okuleetera omuntu obutaagala kuyigirizibwa, so ng’ate Abakristaayo ab’amazima balina okubeera abantu abaagala okuyiga.—1 Timoseewo 6:4.
19. Mu ngeri ki obuweereza bwaffe obw’Ekikristaayo gye buyambamu abantu?
19 Tewali kubuusabuusa nti obuweereza bwaffe obw’Ekikristaayo mulimu ogwetaagisa obwetoowaze. Emirundi mingi twolekagana n’okuziyizibwa, obuteefiirayo, n’okuyigganyizibwa. (Yokaana 15:20) Kyokka, bwe tuweereza n’obwesigwa tuba tukoze ekintu eky’omuganyulo ennyo. Bwe tweyongera okuweereza abalala n’obwetoowaze, tuba tukoppa okwagala Yesu Kristo kwe yalaga abantu. Kirowoozeeko: Singa tubuulira abantu lukumi nga tebeefiirayo oba nga batuziyiza, naye oluvannyuma ne tutuuka ku muntu omu omulungi, okufuba kwaffe kuba tekuvuddemu ebibala? Mazima ddala, tekuba kwa bwereere! N’olwekyo, bwe tunyiikirira omulimu gwaffe ne tutalekulira, tuba tuyamba abantu abalungi abatannaba kutuukibwako. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ne Yesu bajja kukakasa nti abantu ab’omuwendo ng’abo bazuulibwa era ne bayambibwa ng’enkomerero tennatuuka.—Kaggayi 2:7.
20. Tuyinza tutya okuyigiriza abalala nga tubateerawo ekyokulabirako?
20 Okuyigiriza nga tuteekawo ekyokulabirako ye ngeri endala gye tuyinza okulagiramu nti twagala okuweereza abalala. Ng’ekyokulabirako, twagala okuyigiriza abantu nti okuweereza Yakuwa, ‘Katonda omusanyufu,’ ye ngeri y’obulamu esingayo obulungi. (1 Timoseewo 1:11, NW) Bwe batunuulira enneeyisa yaffe n’engeri gye tukolaganamu ne baliraanwa baffe, be tusoma nabo, ne be tukola nabo, balaba nti tuli bantu abasanyufu era abamativu? Mu ngeri y’emu, tuyigiriza abayizi baffe aba Baibuli nti ekibiina Ekikristaayo we wokka awasangibwa okwagala mu nsi eno ejjudde obukambwe era etaliimu kulumirirwa kwonna. Naye abayizi baffe bayinza okukiraba nti twagala abantu bonna abali mu kibiina era nti tufuba nnyo okukuuma emirembe egiriwo wakati mu ffe?—1 Peetero 4:8.
21, 22. (a) Okwekebera ku bikwata ku buweereza bwaffe kuyinza kutuleetera kweyambisa mikisa ki? (b) Kiki ekigenda okunnyonnyolwa mu bitundu ebiddako?
21 Omwoyo ogw’okwagala okuweereza guyinza okutukubiriza okwekebera. Bangi bwe bakola bwe batyo n’obwesimbu, bakizuula nti basobola okugaziya ku buweereza bwabwe nga benyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna oba nga bagenda mu bitundu awasinga okuba obwetaavu. Abalala basazeewo okuyiga olulimi olugwira basobole okuyamba abantu bangi abali mu kitundu kyabwe nga baava mu nsi endala. Bw’oba olina emikisa ng’egyo, girowoozeeko nnyo era kiteeke mu kusaba. Obulamu obw’okuweereza Katonda buleeta essanyu ppitirivu, okumatira, n’emirembe.—Omubuulizi 5:12.
22 Mu buli ngeri, ka tweyongere okukoppa Yesu Kristo nga tweyongera okwagala amazima ge tuyigiriza awamu n’okwagala abantu be tuyigiriza. Bwe tunaakulaakulanya era ne twoleka okwagala mu ngeri ezo ebbiri, kijja kutuyamba okubeera abayigiriza abafaananako Kristo. Naye tuyinza tutya okuzimbira ku musingi ogwo? Ebitundu ebiddako bijja kunnyonnyola enkola ezimu Yesu ze yeeyambisa mu kuyigiriza.
[Obugambo obuli wansi]
a Kakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• Bukakafu ki bwe tulina nti tusobola okukoppa ekyokulabirako kya Yesu ng’omuyigiriza atuukiridde?
• Tuyinza kulaga tutya nti twagala amazima ge tuyize okuva mu Baibuli?
• Lwaki kikulu okubeera abeetoowaze nga tweyongera okufuna okumanya?
• Engeri ezimu ze tuyinza okulagiramu nti twagala abantu be tufuba okuyigiriza ze ziruwa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]
Kola kyonna ky’osobola okubeera omwetegefu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Singa otwala “okumanya Katonda” okubeera eky’obugagga, osobola okukozesa Baibuli bulungi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Tulaga abantu okwagala nga tubabuulira amawulire amalungi