Budaabuda Abo Abalina Ennaku
“Yakuwa anfuseeko amafuta . . . okubudaabuda abalina ennaku.”—ISAAYA 61:1, 2, NW.
1, 2. Baani be tusaanidde okubudaabuda, era lwaki?
YAKUWA, Katonda abudaabuda mu ngeri eya nnamaddala, atuyigiriza okufaayo ku balala abatuukibwako akatyabaga. Atuyigiriza ‘okugumyanga abenyamivu’ n’okubudaabuda bonna abakungubaga. (1 Abasessaloniika 5:14) Bwe kiba kyetaagisa, tuyamba basinza bannaffe mu ngeri eyo. Era tulaga okwagala abo abali ebweru w’ekibiina, wadde n’abo abataatulaga kwagala mu biseera eby’emabega.—Matayo 5:43-48; Abaggalatiya 6:10.
2 Yesu Kristo yasoma era n’akwataganya bye yasoma n’omulimu gwe ogw’obunnabbi: “Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, . . . okusanyusa [“okubudaabuda,” NW] bonna abanakuwadde.” (Isaaya 61:1, 2; Lukka 4:16-19) Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu kiseera kino babadde bakimanyi okumala ekiseera kiwanvu nti omulimu guno gubakwatako, era ‘n’ab’endiga endala’ babeegattko n’essanyu mu mulimu ogwo.—Yokaana 10:16.
3. Abantu bwe babuuza nti “Lwaki Katonda akkiriza obutyabaga okubaawo?” tuyinza tutya okubayamba?
3 Obutyabaga bwe buggwaawo era abantu ne bafuna ennaku, batera okubuuza, “Lwaki Katonda akkiriza obutyabaga okubaawo?” Baibuli eddamu bulungi ekibuuzo ekyo. Kyokka, omuntu atabadde muyizi wa Baibuli kiyinza okumutwalira ekiseera okutegeera mu bujjuvu ekyo Baibuli ky’eddamu. Obuyambi busangibwa mu bitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa.a Kyokka, mu kusooka abamu babudaabudiddwa bwe basomye mu Baibuli ekyawandiikibwa nga Isaaya 61:1, 2, (NW) okuva bwe kiraga nti Katonda ayagala abantu babudaabudibwe.
4. Omujulirwa mu Poland yasobola atya okuyamba omutiini omwennyamivu, era ekyokulabirako ekyo kiyinza kitya okukuyamba okuyamba abalala?
4 Abavubuka awamu n’abakadde, beetaaga okubudaabudibwa. Omutiini omwennyamivu mu Poland yasaba munne okumuwa amagezi. Bwe yeeyongera okumubuuza mu ngeri ey’ekisa ekyali kimutawaanya, mukwano gwe, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, yakitegeera nti omuwala oyo yalina ebibuuzo bingi era ng’abuusabuusa ebintu bingi: “Lwaki waliwo obubi bungi? Lwaki abantu babonaabona? Lwaki muganda wange eyasanyalala abonaabona? Lwaki omutima gwange si mulamu bulungi? Ekkanisa yange egamba nti Katonda ayagala ebintu bibe bwe bityo. Naye, bwe kiba bwe kityo, nja kulekera awo okumukkiririzaamu!” Omujulirwa yasaba Yakuwa mu kasirise era n’agamba: “Ndi musanyufu okuba nti ombuuzizza ebintu bino. Nja kugezaako okukuyamba.” Yamutegeeza nti naye bwe yali ng’akyali muto yalina bye yali abuusabuusa era nti Abajulirwa ba Yakuwa be baamuyamba. Yamunnyonnyola: “Nnakitegeera nti Katonda tabonyaabonya bantu. Abaagala era abaagaliza birungi, era mangu ddala ajja kuleetawo enkyukyuka ez’amaanyi ku nsi. Obulwadde, obukadde n’okufa biriba biweddewo, era abantu abawulize bajja kubeera ku nsi eno emirembe gyonna.” Yalaga omutiini oyo Okubikkulirwa 21:3, 4; Yobu 33:25; Isaaya 35:5-7. Oluvannyuma lw’okukubaganya naye ebirowoozo okumala ekiseera kiwanvu, omuwala yagamba: “Kati manyi nti obulamu bwange bulina ekigendererwa. Nkusaba tuddemu okunyumya omulundi omulala.” Omutiini oyo yatandika okuyigirizibwa Baibuli emirundi ebiri buli wiiki.
Budaabuda Abalala n’Okubudaabuda Katonda kw’Awa
5. Kiki ddala ekyetaagisa okusobola okubudaabuda abalala?
5 Bwe tuba ab’okubudaabuda abalala, twandikozesezza ebigambo eby’ekisa. Okusinziira ku bigambo bye twogera n’engeri gye tubyogeramu, tulaga akungubaga nti tumufaako nnyo. Tetuyinza kutuukiriza ekyo bwe tutaba beesimbu mu bye twogera. Baibuli etugamba nti ‘olw’okugumiikiriza n’okubudaabudibwa Ebyawandiikibwa tuyinza okufuna essuubi.’ (Abaruumi 15:4) Okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, tuyinza okunnyonnyola mu kiseera ekisaanira ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye buli, era ne tumulaga okuva mu Baibuli engeri gye bujja okugonjoolamu ebizibu ebiriwo. Oluvannyuma, tuyinza okunnyonnyola lwaki essuubi eryo lyesigika. Mu ngeri eno, tujja kusobola okumubudaabuda.
6. Kiki kye twandiyambye abantu okutegeera basobole okuganyulwa mu bujjuvu mu kubudaabuda okuli mu Byawandiikibwa?
6 Omuntu okusobola okubudaabudibwa mu bujjuvu, ateekwa okumanya Katonda ow’amazima, engeri ze, era nti ebisuubizo bye byesigika. Bwe tuyamba omuntu atannafuuka musinza wa Yakuwa, kiba kirungi okumunnyonnyola ensonga eziddirira. (1) Okubudaabudibwa okuli mu Baibuli kuva eri Yakuwa, Katonda ow’amazima. (2) Yakuwa ye Muyinza w’Ebintu Byonna, Omutonzi w’eggulu n’ensi. Katonda wa kwagala, era wa kisa kingi n’amazima. (3) Tusobola okufuna amaanyi okwaŋŋanga embeera singa tufuna enkolagana ennungi ne Katonda okuyitira mu kufuna okumanya okutuufu okuli mu Kigambo kye. (4) Baibuli erimu ebyawandiikibwa ebikwata ku bigezo abantu abatali bamu bye baayolekagana nabyo.
7. (a) Kiki ekiyinza okuvaamu bwe tuggumiza nti okubudaabuda kwa Katonda ‘kweyongera nnyo mu Kristo’? (b) Oyinza otya okubudaabuda omuntu akitwala nti enneeyisa ye ey’emabega ebadde mbi?
7 Abamu babudaabuda abakungubaga abamanyi Baibuli, nga basoma 2 Abakkolinso 1:3-7. Nga basoma ekyawandiikibwa ekyo, baggumiza ebigambo ‘okubudaabuda kwe tufuna kweyongera nnyo mu Kristo.’ Ekyawandiikibwa kino kiyinza okuyamba omuntu okutegeera nti Baibuli y’ensibuko y’okubudaabuda gy’alina okussaako ennyo omwoyo. Era eyinza okusinziirwako okweyongera okukubaganya ebirowoozo, oboolyawo omulundi omulala. Omuntu bw’akitwala nti ebizibu by’alina bisibuka ku bibi bye yakola emabega, awo nno, nga tetumusalira musango, tuyinza okumugamba nti ajja kubudaabudibwa singa asoma ebiri mu 1 Yokaana 2:1, 2 ne Zabbuli 103:11-14. Bwe tukola bwe tutyo, ddala tuba tubudaabuda abalala n’okubudaabuda Katonda kw’awa.
Budaabuda Abo Abayisiddwa Obubi Ebikolwa eby’Ettemu oba Embeera y’Eby’Enfuna
8, 9. Abantu ababonaabona olw’ebikolwa eby’ettemu bayinza batya okubudaabudibwa?
8 Abantu bangi nnyo bayisiddwa bubi ebikolwa eby’ettemu oba entalo. Tuyinza tutya okubabudaabuda?
9 Abakristaayo ab’amazima beegendereza obutabaako ludda lwe bawagira mu bunyoolegano obuli mu nsi. (Yokaana 17:16) Naye, mu ngeri esaanira bakozesa Baibuli okulaga nti embeera embi eziriwo tezijja kweyongera mu maaso emirembe gyonna. Bayinza okusoma Zabbuli 11:5 okulaga endowooza Yakuwa gy’alina ku abo abaagala ettemu oba Zabbuli 37:1-4 okulaga nti Katonda atukubiriza kumwesiga so si okuwoolera eggwanga. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 72:12-14 biraga engeri Sulemaani Omukulu, Yesu Kristo, kati afuga nga Kabaka mu ggulu, gy’awuliramu ng’abantu abatalina musango babonaabona olw’ebikolwa eby’ettemu.
10. Bw’oba oli mu kifo omubadde entalo okumala emyaka mingi, ebyawandiikibwa ebiweereddwa biyinza bitya okukubudaabuda?
10 Abantu abamu bayisiddwa bubi nnyo entalo. Balina endowooza nti entalo n’embeera embi ebaawo oluvannyuma, bintu ebirina okubaawo mu bulamu. Baba n’essuubi nti ebintu biyinza okulongooka singa baddukira mu nsi endala. Kyokka, abasinga obungi balemererwa, era abamu abagezezzaako bafiiriddwa obulamu bwabwe. Abo abamala ne batuuka mu nsi endala, emirundi mingi bakisanga nti baba bavudde buvi mu bizibu ebimu ne badda mu birala. Zabbuli 146:3-6 ziyinza okukozesebwa okuyamba abantu ng’abo obutassa bwesige bwabwe mu kusengukira mu nsi endala. Obunnabbi obuli mu Matayo 24:3, 7, 14 oba 2 Timoseewo 3:1-5 buyinza okubayamba okutegeera embeera eriwo mu ngeri esingawo era n’amakulu g’embeera ze balimu, kwe kugamba, nti tuli mu mafundikira g’embeera z’ebintu bino. Ebyawandiikibwa nga Zabbuli 46:1-3, 8, 9 ne Isaaya 2:2-4 biyinza okubayamba okutegeera nti ddala tusuubira emirembe mu biseera eby’omu maaso.
11. Byawandiikibwa ki ebyabudaabuda omukazi mu West Africa, era lwaki?
11 Mu kiseera eky’entalo mu West Africa, omukazi yadduka mu maka ge ng’eno amasasi ganyooka. Obulamu bwe bwajjula okutya, ennaku, n’obuyinike obw’amaanyi. Oluvannyuma, nga bali mu nsi endala, mwami we yasalawo okwokya ebbaluwa yaabwe ey’obufumbo, n’agoba mukyala we oyo eyali olubuto, wamu n’omwana waabwe ow’emyaka kkumi ate ye n’afuuka faaza. Bwe baamusomera Abafiripi 4:6, 7 ne Zabbuli 55:22 awamu n’ebitundu ebimu okuva mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, yabudaabudibwa era n’afuna amakulu mu bulamu.
12. (a) Ebyawandiikibwa bisuubiza ki abo abanyigirizibwa mu by’enfuna? (b) Omujulirwa mu Asiya yayamba atya kasitoma we?
12 Embeera embi mu by’enfuna eyisizza bubi nnyo abantu bangi. Emirundi egimu ekiviirako ekyo z’entalo n’embeera embi ebaawo oluvannyuma. Mu biseera ebirala, enkola embi eya gavumenti, omulugube n’obutali bwesigwa eby’abo abali mu buyinza bireetedde abamu okukozesa ssente zaabwe zonna ze baatereka era n’okufiirwa ebintu byabwe. Abalala tebasobodde kufuna bintu bya mu nsi muno. Abo bonna bayinza okubudaabudibwa bwe bamanya nti Katonda asuubiza okuleeta obuweerero eri abo abamwesiga era n’okukakasa nti wajja kubaawo ensi ey’obutuukirivu abantu mwe bajja okunyumirwa emirimu gy’engalo zaabwe. (Zabbuli 146:6, 7; Isaaya 65:17, 21-23; 2 Peetero 3:13) Omujulirwa omu mu nsi y’omu Asiya bwe yawulira kasitoma we nga yeeraliikirira olw’embeera y’eby’enfuna eyaliyo, yamunnyonnyola nti ebyali mu nsi yaabwe bye byali ne mu nsi yonna. Okukubaganya ebirowoozo ku Matayo 24:3-14 ne Zabbuli 37:9-11 kwaviirako okumuyigiriza Baibuli obutayosa.
13. (a) Abantu bwe baba baweddemu amaanyi olw’okusuubizibwa eby’obulimba, tuyinza tutya okukozesa Baibuli okubayamba? (b) Singa abantu bawulira nti embeera embi eziriwo zikakasa nti teri Katonda, oyinza kubannyonnyola otya?
13 Abantu bwe baba babonyebonye okumala emyaka mingi oba nga basuubiziddwa eby’obulimba, bayinza okubeera ng’Abaisiraeri mu Misiri abaagaana okuwuliriza ‘olw’okuggwaamu amaanyi.’ (Okuva 6:9, NW) Mu mbeera ng’ezo, kiyinza okuba eky’omuganyulo okuggumiza engeri Baibuli gy’eyinza okubayambamu okwaŋŋanga ebizibu ebiriwo era n’okwewala emitego egyonoona obulamu bw’abantu bangi. (1 Timoseewo 4:8b) Abamu bayinza okutunuulira embeera embi ze balimu ng’obujulizi obulaga nti teriiyo Katonda oba nti tabafaako. Oyinza okubannyonnyola ebyawandiikibwa ebisaanira okubayamba okutegeera nti Katonda abawadde obuyambi naye nti bangi tebabukkiriza.—Isaaya 48:17, 18.
Budaabuda Abakoseddwa Embuyaga ne Musisi
14, 15. Akatyabaga akamu bwe kaaleetera bangi entiisa, Abajulirwa ba Yakuwa baalaga batya okufaayo?
14 Akatyabaga kayinza okujjawo olw’embuyaga, musisi, omuliro oba okubwatuka kwa bbomu. Ennaku eyinza okuba ennyingi ennyo. Kiki ekiyinza okukolebwa okubudaabuda abawonawo?
15 Abantu beetaaga okumanya nti waliwo abafaako. Oluvannyuma lw’obulumbaganyi bwa bannalukalala mu nsi emu, bangi baafuna entiisa ey’amaanyi. Bangi baafiirwa ab’omu maka gaabwe, abalala baafiirwa ababalabirira, ab’emikwano, emirimu gyabwe oba obukuumi bwonna bwe baalowooza nti balina. Abajulirwa ba Yakuwa baatuukirira abantu ab’omu bitundu byabwe ne babasaasira olw’okufiirwa okw’amaanyi era ne bababudaabuda okuva mu Baibuli. Bangi baasiima nnyo obuyambi bwe baabawa.
16. Akatyabaga bwe kaagwawo mu El Salvador, lwaki Abajulirwa ab’omu kitundu baafuna ebibala mu buweereza bw’ennimiro?
16 Mu El Salvador, musisi ow’amaanyi eyaliwo mu 2001 yaviirako ettaka n’enjazi okuta abantu bangi. Omujulirwa omu yafiirwa mutabani we ow’emyaka 25 era ne baganda b’omuwala babiri omuvubuka oyo gwe yali agenda okuwasa. Maama w’omuvubuka oyo awamu n’omuwala omuvubuka oyo gwe yali agenda okuwasa beenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Bangi baabagamba nti Katonda ye yali atutte abaali bafudde oba nti kwali kwagala kwa Katonda. Abajulirwa abo baajuliza Engero 10:22 okulaga nti Katonda tayagala tufune bulumi. Baasoma Abaruumi 5:12 okulaga nti okufa kwajjawo olw’ekibi ky’omuntu so si lwa kwagala kwa Katonda. Era baayogera ku bubaka obubudaabuda obuli mu Zabbuli 34:18, Zabbuli 37:29, Isaaya 25:8, ne Okubikkulirwa 21:3, 4. Abantu baawuliriza naddala olw’okuba abakyala abo ababiri nabo baali bafiiriddwa ab’omu maka gaabwe mu katyabaga akaaliwo, era baafuna bangi ab’okuyigiriza Baibuli.
17. Mu kiseera ky’obutyabaga, tuyinza kuwa buyambi bwa ngeri ki?
17 Bwe wagwawo akatyabaga, oyinza okusanga omuntu eyeetaaga obuyambi. Kino kiyinza okukwetaagisa okuyita omusawo, okumuyamba okugenda mu ddwaliro, oba okukola kyonna ekisoboka okumufunira emmere oba aw’okusula. Mu 1998, mu katyabaga akaaliwo mu Italy, munnamawulire yagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa “baakola mu ngeri entegeke obulungi, nga bayamba ababonaabona, ng’ate tebafaayo nnyo ku ddiini abantu abo gye balimu.” Mu bifo ebimu, ebyalagulwa okubaawo mu nnaku ez’enkomerero biviiriddeko bangi okubonaabona. Mu bifo ebyo, Abajulirwa ba Yakuwa boogera ku bunnabbi bwa Baibuli era ne babudaabuda abantu nga babalaga Baibuli ky’esuubiza nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kuleetera abantu obukuumi obwa nnamaddala.—Engero 1:33; Mikka 4:4.
Okubudaabuda ab’Omu Maka nga Bafiiriddwa
18-20. Bwe wabaawo omuntu afudde mu maka, kiki ky’oyinza okwogera oba okukola okusobola okubudaabuda abalala?
18 Buli lunaku abantu bangi bakungubaga olw’okufiirwa omwagalwa. Oyinza okubasanga ng’oli mu buweereza bw’Ekikristaayo oba ng’okola ku nsonga zo ez’obulamu. Kiki ky’oyinza okwogera oba okukola ekinaababudaabuda?
19 Omuntu oyo alina ennyiike ey’amaanyi mu birowoozo? Ennyumba erimu ab’eŋŋanda abakungubaga? Oyinza okuba olina bingi eby’okwogera, kyokka kikulu okukozesa okutegeera. (Omubuulizi 3:1, 7) Oboolyawo ekintu ekituukirawo kwe kubasaasira, okubalekera ekitabo ekyesigamiziddwa ku Baibuli (magazini oba tulakiti), ate n’oddayo oluvannyuma lw’ennaku ntono okulaba obanga oyinza okubawa obuyambi obulala. Mu kiseera ekisaanira, babuulire ebintu ebizzaamu amaanyi okuva mu Baibuli. Kino kiyinza okubakkakkanya n’okubaweweeza. (Engero 16:24; 25:11) Toyinza kuzuukiza bafu nga Yesu. Naye oyinza okubategeeza ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku mbeera y’abafu, wadde ng’ekyo tekiba kiseera kituufu kusambajja ndowooza nkyamu. (Zabbuli 146:4; Omubuulizi 9:5, 10; Ezeekyeri 18:4) Muyinza okusomera awamu ebisuubizo by’omu Baibuli ebikwata ku kuzuukira. (Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15) Muyinza okukubaganya ebirowoozo ku kye bitegeeza, oboolyawo nga mukozesa ekyokulabirako ky’omu Baibuli eky’okuzuukira. (Lukka 8:49-56; Yokaana 11:39-44) Era bategeeze ku ngeri za Katonda ow’okwagala atuwa essuubi ng’eryo. (Yobu 14:14, 15; Yokaana 3:16) Nnyonnyola engeri enjigiriza ezo gye zikuganyuddemu era ne lwaki ozirinamu obwesige.
20 Okubayita okujja ku Kizimbe ky’Obwakabaka kiyinza okuyamba abakungubaga okumanya abantu abaagalira ddala baliraanwa baabwe, era abamanyi okuzimbagana. Omukyala omu mu Sweden yakizuula nti kino kye yali anoonya mu bulamu bwe bwonna.—Yokaana 13:35; 1 Abasessaloniika 5:11.
21, 22. (a) Kiki ekyetaagisa bwe tuba ab’okubudaabuda abalala? (b) Oyinza otya okubudaabuda omuntu amanyi obulungi Ebyawandiikibwa?
21 Bw’omanya nti omuntu mu kibiina Ekikristaayo oba ebweru waakyo alina ennaku, emirundi egimu owulira nti tomanyi kya kwogera? Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa “okubudaabuda,” mu Baibuli kitegeeza ‘okuyita omuntu ajje ku ludda lwo.’ Okusobola okubudaabuda mu ngeri ezimba, kyetaagisa okubaawo okuyamba abo abakungubaga.—Engero 17:17.
22 Kiba kitya singa omuntu gw’oyagala okubudaabuda amanyi Baibuli kyeyogera ku kufa, ekinunulo, n’okuzuukira? Ayinza okubudaabudibwa ennyo singa mukwano gwe bwe bali obumu mu nzikiriza abaawo. Bw’aba ayagala okwogera, wuliriza. Tokitwala nti olina okwogera ebintu bingi. Ebyawandiikibwa bwe bisomebwa, bitwale ng’ebirowoozo bya Katonda ebinyweza emitima gyammwe mwembi. Mulage obwesige bwe mulina nti ebyawandiikibwa bye bisuubiza bijja kutuukirira. Bwe musaasira abalala era ne mubabuulira amazima ag’omuwendo agali mu Kigambo kya Katonda, muyinza okuyamba abo abakungubaga okubudaabudibwa n’okuzzibwamu amaanyi ‘Katonda ow’okubudaabuda,’ Yakuwa.—2 Abakkolinso 1:3.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Ebitabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, essuula 8; Reasoning From the Scriptures, empapula 393-400, 427-31; Is There a Creator Who Cares About You?, essuula 10; n’akatabo Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?
Biki by’Oddamu?
• Ani abantu bangi gwe bavunaana olw’obutyabaga obubaawo, era tuyinza tutya okubayamba?
• Kiki kye tuyinza okukola okuyamba abalala okuganyulwa mu bujjuvu mu kubudaabuda okuli mu Baibuli?
• Mbeera ki ezireetera bangi ennaku mu kitundu kyammwe, era oyinza otya okubabudaabuda?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Okubuulira abalala obubaka obubudaabuda mu biseera eby’ennaku
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Enkambi y’abanoonyi b’obubudamo: UN PHOTO 186811/J. Isaac
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Obudaabudibwa nnyo mukwano gwo bw’abaawo