Abaweereza ba Yakuwa Abasanyufu
“Balina essanyu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”—Matayo 5:3, NW.
1. Kitegeeza ki okuba n’essanyu erya nnamaddala, era liva ku ki?
ABAWEEREZA ba Yakuwa batwala essanyu lye balina nga lya muwendo nnyo. Dawudi omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Ba ssanyu abo abalina Yakuwa nga ye Katonda waabwe!” (Zabbuli 144:15, NW) Essanyu ye nneewulira omuntu gy’aba nayo ng’ebintu bimugendera bulungi. Essanyu erya nnamaddala liva mu kumanya nti Yakuwa atusiima. (Engero 10:22) Essanyu ng’eryo liva mu kubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu era n’okukola by’ayagala. (Zabbuli 112:1; 119:1, 2) Yesu yamenya ebintu mwenda ebituleetera okuba abasanyufu. Bwe tuneekenneenya ebintu bino mu kitundu kino n’ekiddako, kijja kutuyamba okutegeera nti tuyinza okuba abasanyufu bwe tuweereza Yakuwa ‘Katonda omusanyufu,’ n’obwesigwa.—1 Timoseewo 1:11.
Okumanya Obwetaavu Bwaffe obw’Eby’Omwoyo
2. Ddi Yesu lwe yayogera ku ssanyu, era bigambo ki bye yatandika nabyo?
2 Mu 31 C.E., Yesu yawa okumu ku kubuulira okukyasinzeeyo okumanyika mu byafaayo. Kuyitibwa Okubuulira okw’Oku Lusozi olw’okuba yakuwa ng’ali ku lusozi oluliraanye ennyanja y’e Ggaliraaya. Enjiri ya Matayo agamba bw’eti: ‘Yesu bwe yalaba ebibiina, n’alinnya ku lusozi: n’atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja gy’ali: n’ayasamya akamwa ke n’abayigiriza ng’agamba nti: Balina essanyu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.’a Nga bivvuunuddwa butereevu, ebigambo Yesu byatandika nabyo bisoma bwe biti: “Balina essanyu abo abaavu (ku bikwata) ku by’omwoyo,” oba nti, “Balina essanyu abo abasabiriza mu ngeri ey’eby’omwoyo.” (Matayo 5:1-3; Kingdom Interlinear; obugambo obwa wansi) Enzivuunula eya Today’s English Version egamba bw’eti: “Balina essanyu abo abamanyi nti baavu mu by’omwoyo.”
3. Okubeera omuwombeefu, kireeta kitya essanyu?
3 Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yakiraga nti omuntu aba musanyufu nnyo bw’amanya nti alina obwetaavu obw’eby’omwoyo. Abakristaayo abawombeefu abamanyi nti boonoonyi, basaba Yakuwa abasonyiwe ebibi byabwe okusinziira ku ssaddaaka ya Kristo. (1 Yokaana 1:9) N’olwekyo, bafuna emirembe mu mutima n’essanyu erya nnamaddala. ‘Alina essanyu oyo asonyiyiddwa ekyonoono kye, ekibi kye ekibikkiddwa.’—Zabbuli 32:1; 119:165.
4. (a) Mu ngeri ki gye tuyinza okulaga nti tumanyi obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo era n’obw’abalala? (b) Kiki ekyongera ku ssanyu lyaffe bwe tumanya obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo?
4 Bwe tumanya obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo kituleetera okusoma Baibuli buli lunaku, okulya emmere ey’eby’omwoyo ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ gy’atuwa mu ‘kiseera ekituufu,’ era n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa. (Matayo 24:45; Zabbuli 1:1, 2; 119:111; Abaebbulaniya 10:25) Okwagala baliraanwa baffe kutuleetera okumanya obwetaavu bw’abalala obw’eby’omwoyo era kutukubiriza okunyiikira okubuulira n’okuyigiriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Makko 13:10; Abaruumi 1:14-16) Okubuulira abalala amazima g’omu Baibuli kireeta essanyu. (Ebikolwa 20:20, 35) Essanyu lyaffe lyeyongera bwe tufumiitiriza ku ssuubi ery’ekitalo erikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, n’emikisa gye bugenda okuleeta. Abakristaayo ‘ab’ekisibo ekitono’ balina essuubi ery’okufuna obulamu obutayinza kuzikirizibwa nga bafugira wamu ne Kristo mu bufuzi bw’Obwakabaka. (Lukka 12:32; 1 Abakkolinso 15:50, 54) Ate bo Abakristaayo ‘ab’endiga endala,’ basuubira okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka.—Yokaana 10:16; Zabbuli 37:11; Matayo 25:34, 46.
Engeri Abali mu Nnaku gye Bayinza Okuba Abasanyufu
5. (a) Ebigambo “abo abali mu nnaku,” birina makulu ki? (b) Abalina ennaku ng’abo babudaabudibwa batya?
5 Ebigambo ebiddako Yesu bye yayogera ng’alaga ekintu ekirala ekireeta essanyu birabika ng’ebikontana. Yagamba: ‘Balina essanyu abo abali mu nnaku, kubanga bajja kubudaabudibwa.’ (Matayo 5:4) Omuntu osobola atya okuba omunakuwavu ate mu kiseera kye kimu n’aba omusanyufu? Okusobola okutegeera Yesu kye yali ategeeza, twetaaga okusooka okumanya nnaku ya ngeri ki gye yali ayogerako. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti, tusaanidde okunakuwala olw’okuba tuli boonoonyi. Yawandiika: “Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri. Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe: okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n’essanyu lifuuke okunakuwala. Mwetoowazenga mu maaso ga [Yakuwa], naye alibagulumiza.” (Yakobo 4:8-10) Abo abanakuwavu ennyo olw’okubeera aboonoonyi, babudaabudibwa bwe bakitegeera nti basobola okusonyiyibwa singa bakkiririza mu ssaddaaka ya Kristo era ne balaga nti beenenyezza nga bakola Yakuwa by’ayagala. (Yokaana 3:16; 2 Abakkolinso 7:9, 10) N’olwekyo, basobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, era baba n’essuubi ery’okubaawo emirembe gyonna nga bamuweereza era nga bamutendereza. Kino kibaleetera essanyu erya nnamaddala.—Abaruumi 4:7, 8.
6. Mu ngeri ki abamu gye banakuwala, era babudaabudibwa batya?
6 Ebigambo bya Yesu ebyo era bizingiramu n’abo abanakuwala olw’ebintu ebibi ebiri mu nsi. Yesu yalaga nti obunnabbi obuli mu Isaaya 61:1, 2, bukwata ku ye. Obunnabbi obwo bugamba: “Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, . . . [okubudaabuda abo] bonna abanakuwadde.” Omulimu ogwogerwako mu bunnabbi obwo gukwata ne ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta abakyaliwo ku nsi, era bagukola nga bayambibwako bannaabwe ‘ab’endiga endala.’ Mu ngeri ey’akabonero, bonna beenyigira mu kuteeka akabonero ku “byenyi by’abantu abassa ebikkowe era abakaabira emizizo gyonna egikolerwa wakati mu kyo [Yerusaalemi kyewaggula, ekitegeeza Kristendomu].” (Ezeekyeri 9:4) Abo abakaaba, babudaabudibwa ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka.’ (Matayo 24:14) Basanyuka okumanya nti mu biseera ebitali bya wala, ensi ya Setaani eno embi egya kuggibwawo mu kifo kyayo waddewo ensi ya Yakuwa empya ey’obutuukirivu.
Balina Essanyu Abo Abateefu
7. Ekigambo “obuteefu” tekitegeeza ki?
7 Ng’agenda mu maaso n’Okubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba: ‘Balina essanyu abo abateefu, olw’okuba bajja kusikira ensi.’ (Matayo 5:5) Obuteefu oluusi butwalibwa nti bwoleka bunafu. Kyokka, si bwe kityo bwe kiri. Ng’annyonnyola amakulu g’ekigambo ekivvuunulwa “obuteefu,” omwekenneenya omu owa Baibuli yawandiika: “Engeri esingirayo ddala obulungi ey’omuntu [omuteefu] kwe kuba nti asobola okwefuga. Omuntu okuba omuteefu tekitegeeza nti aba mutiitiizi, oba nti si mumalirivu, era tekitegeeza nti asirika busirisi olw’obutaagala kwenyigira mu mbeera ebaawo.” Yesu kennyini yeeyogerako nti yali “muteefu era omuwombeefu mu mutima.” (Matayo 11:29) Kyokka, yali muvumu nnyo era yanenyanga abo abaamenyanga emisingi egy’obutuukirivu.—Matayo 21:12, 13; 23:13-33.
8. Obuteefu bukwataganyizibwa na ki, era lwaki twetaaga okuba n’engeri eno nga tukolagana n’abalala?
8 N’olwekyo, obuteefu bukwataganyizibwa n’okwefuga. Mu butuufu, omutume Pawulo bwe yali amenya ‘ebibala eby’omwoyo omutukuvu,’ obuteefu yabuddiriŋŋanya okwefuga. (Abaggalatiya 5:22, 23, NW) Omuntu okusobola okubeera omuteefu, ateekwa okuyambibwako omwoyo omutukuvu. Obuteefu ngeri esobozesa Abakristaayo okuba mu mirembe n’abantu abatali bakkiriza era ne bannaabwe mu kibiina. Pawulo yawandiika: “Mwambalenga ng’abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka.”—Abakkolosaayi 3:12, 13.
9. (a) Lwaki okuba abateefu tekikoma ku nkolagana yaffe n’abalala? (b) Abateefu ‘balisikira batya ensi’?
9 Kyokka, okubeera omuteefu tekikoma ku nkolagana gye tuba nayo n’abantu abalala. Bwe tugondera Yakuwa kyeyagalire, kiba kiraga nti tuli bateefu. Yesu Kristo yassawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ku nsonga eno. Bwe yali ku nsi, yali muteefu era ng’akola mu bujjuvu Kitaawe by’ayagala. (Yokaana 5:19, 30) Yesu asikira ensi olw’okuba ye Mufuzi waayo eyalondebwa. (Zabbuli 2:6-8; Danyeri 7:13, 14) Obusika buno abugabanira wamu ne ‘basika banne’ 144,000, ‘abaagulibwa mu nsi’ era abagenda ‘okufuga ensi nga bakabaka.’ (Abaruumi 8:17; Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1, 3, 4; Danyeri 7:27) Kristo ne bafuzi banne, bajja kufuga obukadde n’obukadde bw’abantu abalinga endiga, aboogerwako mu bunnabbi buno obwa zabbuli: “Abawombeefu balisikira ensi: era banaasanyukiranga emirembe emingi.”—Zabbuli 37:11; Matayo 25:33, 34, 46.
Balina Essanyu Abo Abalumwa Enjala olw’Obutuukirivu
10. Ngeri ki emu abo abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu gye bayinza okukkusibwamu?
10 Era ng’ali ku Lusozi olw’e Ggaliraaya, Yesu yayogera ekintu ekirala ekituviirako okufuna essanyu. Yagamba: ‘Balina essanyu abo abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu, kubanga balikkusibwa.’ (Matayo 5:6) Yakuwa y’ateerawo Abakristaayo emitindo gy’obutuukirivu. N’olwekyo, abo abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu baba balumwa njala na nnyonta ey’okufuna obulagirizi bwa Katonda. Abalinga abo, baba bamanyi nti boonoonyi era nti tebatuukiridde era baba baagala nnyo okusiimibwa Yakuwa. Nga basanyuka nnyo bwe bamanya okuva mu Kigambo kya Katonda nti bwe beenenya ne basaba okusonyiyibwa ebibi okusinziira ku ssaddaaka ya Kristo, basobola okufuna obutuukirivu mu maaso ga Katonda!—Ebikolwa 2:38; 10:43; 13:38, 39; Abaruumi 5:19.
11, 12. (a) Abakristaayo Abaafukibwako amafuta bafuna batya obutuukirivu? (b) Bannaabwe b’abaafukibwako amafuta baneeyongera batya okuweebwa obutuukirivu?
11 Yesu yagamba nti abalinga abo bajja kuba basanyufu kubanga “balikkusibwa.” (Matayo 5:6) Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaayitibwa okufugira awamu ne Kristo mu ggulu ‘nga bakabaka’ baweebwa ‘obutuukirivu olw’obulamu.’ (Abaruumi 5:1, 9, 16-18) Yakuwa abafuula baana be ab’eby’omwoyo. Bafuuka basika awamu ne Kristo era bayitibwa okufuuka bakabaka era bakabona mu Bwakabaka obw’omu ggulu.—Yokaana 3:3; 1 Peetero 2:9.
12 Bannaabwe b’Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebannaweebwa butuukirivu olw’obulamu. Kyokka, Yakuwa abawa obutuukirivu obw’ekigero olw’okukkiririza mu musaayi gwa Kristo ogwayiibwa. (Yakobo 2:22-25; Okubikkulirwa 7:9, 10) Baweebwa obutuukirivu nga mikwano gya Yakuwa era bajja kuwonyezebwawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Okubikkulirwa 7:14) Bajja kweyongera okuweebwa obutuukirivu bwe banaabeera mu nsi empya ‘obutuukirivu mwe bulituula’ nga bafugibwa “eggulu eriggya.”—2 Peetero 3:13; Zabbuli 37:29.
Balina Essanyu ab’Ekisa
13, 14. Tuyinza tutya okulaga nti tuli ba kisa era miganyulo ki gye tunaafuna?
13 Ng’agenda mu maaso n’Okubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu era yagamba: ‘Balina essanyu ab’ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa.’ (Matayo 5:7) Mu mateeka, ekisa kirina amakulu g’okuddiramu omuzzi w’omusango nga bamukendeereza ku kibonerezo ekimugwanira mu mateeka. Kyokka, ekigambo ekyasooka okukozesebwa mu Baibuli ekivvuunulwa “ekisa,” kitegeeza okufaayo, oba okusaasira abo ababa mu mbeera embi era ne kibaviirako okufuna obuweerero. N’olwekyo, abo ab’ekisa, basaasira abalala nga babaako kye babakolera. Olugero lwa Yesu olw’Omusamaliya omulungi, lulaga ekyokulabirako ekirungi eky’omuntu ‘eyalaga ekisa’ omuntu ali mu bwetaavu.—Lukka 10:29-37.
14 Okusobola okufuna essanyu eriva mu kubeera ab’ekisa, twetaaga okulaga ekisa abali mu bwetaavu. (Abaggalatiya 6:10) Yesu yakwatirwa ekisa abantu be yalaba. ‘Yabasaasira kubanga baalinga endiga ezitalina musumba; era yabayigiriza ebintu bingi.’ (Makko 6:34) Yesu yali akimanyi nti obwetaavu bw’abantu obw’eby’omwoyo, bukulu nnyo okusinga obwetaavu obulala bwonna. Naffe tuyinza okulaga nti tuli basaasizi era ba kisa nga tubuulira abantu ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka.’ (Matayo 24:14) Ate era, tusobola okuyamba Bakristaayo bannaffe abakaddiye, bannamwandu, bamulekwa era nga ‘tubudaabuda abennyamivu.’ (1 Abasessaloniika 5:14; Engero 12:25; Yakobo 1:27) Kino tekijja kutuleetera ssanyu kyokka, naye era kijja kuviirako Yakuwa okutulaga ekisa.—Ebikolwa 20:35; Yakobo 2:13.
Abalina Omutima Omulongoofu era Abatabaganya
15. Tusobola tutya okuba ab’emitima emirongoofu era abatabaganya?
15 Yesu yayogera ebintu ebirala ebireeta essanyu ng’agamba nti: ‘Balina essanyu abo abalina omutima omulongoofu: kubanga abo baliraba Katonda. Ba ssanyu abatabaganya kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.’ (Matayo 5:8, 9) Omuntu alina omutima omulongoofu taba muyonjo mu mpisa kyokka, naye era aba muyonjo mu by’omwoyo era nga yeemalidde ku Yakuwa. (1 Ebyomumirembe 28:9; Zabbuli 86:11) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “abatabaganya” kitegeeza “abo abaleetawo emirembe.” Abatabaganya babeera mu mirembe ne Bakristaayo bannaabwe, era bafuba nga bwe basobola okubeera mu mirembe ne baliraanwa baabwe. (Abaruumi 12:17-21) ‘Banoonya emirembe era ne bagigoberera.’—1 Peetero 3:11.
16, 17. (a) Lwaki abaafukibwako amafuta bayitibwa “baana ba Katonda,” era ‘balaba batya Katonda’? (b) ‘Ab’endiga endala’ balaba batya Katonda? (c) Ddi era mu ngeri ki ‘ab’endiga endala’ lwe banaafuuka “abaana ba Katonda” mu bujjuvu?
16 Abatabaganya era abalina omutima omulongoofu, basuubizibwa nti “baliyitibwa baana ba Katonda,” era nti “baliraba Katonda.” Abakristaayo abaafukibwako amafuta bazaalibwa omwoyo, era bayitibwa “baana” ba Yakuwa nga bakyali ku nsi. (Abaruumi 8:14-17) Bwe bazuukizibwa okubeera awamu ne Kristo mu ggulu, baweereza mu maaso ga Yakuwa era bamulaba.—1 Yokaana 3:1, 2; Okubikkulirwa 4:9-11.
17 ‘Ab’endiga endala’ abatabagana n’abalala baweereza Yakuwa wansi w’Omusumba Omulungi, Yesu Kristo, afuuka ‘Kitaabwe ataggwaawo.’ (Yokaana 10:14, 16; Isaaya 9:6) Abo abanaayita mu kigezo ekisembayo oluvannyuma lw’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, bajja kufuulibwa baana ba Yakuwa ab’oku nsi era bajja ‘kufuna eddembe ly’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.’ (Abaruumi 8:21; Okubikkulirwa 20:7, 9) Nga beesunga ebintu bino, bayita Yakuwa, Kitaabwe, okuva bwe beewaayo gy’ali, era nga bakimanyi nti ye yabawa obulamu. (Isaaya 64:8) Okufaananako Yobu ne Musa ab’edda, basobola ‘okulaba Katonda,’ n’amaaso gaabwe ag’okukkiriza. (Yobu 42:5; Abebbulaniya 11:27) Nga bakozesa ‘amaaso g’emitima gyabwe,’ era n’okuyiga ebikwata ku Katonda, bategeera engeri za Yakuwa ez’ekitalo, era ne bafuba okumukoppa nga bakola by’ayagala.—Abaefeso 1:18; Abaruumi 1:19, 20; 3 Yokaana 11.
18. Okusinziira ku bintu omusanvu ebisooka ebireeta essanyu Yesu bye yamenya, baani abalina essanyu erya nnamaddala leero?
18 Tukirabye nti, abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, abalina ennaku, abateefu, abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu, ab’ekisa, abalongoofu mu mutima n’abatabaganya, bafuna essanyu erya nnamaddala nga baweereza Yakuwa. Kyokka, abalinga abo bulijjo baziyizibwa, era ne bayigganyizibwa. Kino kibamalako essanyu lyabwe? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu kifo ky’okukozesa ebigambo “balina omukisa,” enzivuunula ya New World Translation n’enzivunuula endala gamba nga The Jerusalem Bible ne Today’s English Version, zikozesa ebigambo “ba ssanyu,” ebijjayo obulungi amakulu. N’olwekyo, mu kitundu kino n’ekiddako tugenda kukozesa ebigambo “balina essanyu” mu kifo kya “balina omukisa.”
Okwejjukanya
• Abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, bafuna ssanyu ki?
• Mu ngeri ki abo abalina ennaku gye babudaabudibwamu?
• Tulaga tutya nti tuli bateefu?
• Lwaki tusaanidde okubeera ab’ekisa, abalongoofu mu mutima, era abatabaganya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
‘Ba ssanyu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo’
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
‘Ba ssanyu abo abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
‘Ba ssanyu abo ab’ekisa’