‘Beera Bulindaala’—Ekiseera eky’Okusala Omusango Kituuse!
Ebiri mu kitundu kino byesigamiziddwa ku katabo Beera Bulindaala! akaafulumizibwa mu nkuŋŋaana za disitulikiti ezaaliwo okwetooloola ensi mu 2004/05.
“[Mubeere bulindaala] kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’ajjirako.”—MATAYO 24:42.
1, 2. Yesu okujja kwe yakugeraageranya ku ki?
WANDIKOZE ki singa okitegeera nti waliwo omubbi agenda amenya amayumba g’abantu mu kitundu kyammwe? Okusobola okukuuma ab’omu maka go n’ebintu byo, wandibadde bulindaala okuva bwe kiri nti omubbi tasooka kulaga. Ajjira mu kiseera kyotomusuubiramu.
2 Yesu yakozesa ekyokulabirako ky’omubbi emirundi egiwerako. (Lukka 10:30; Yokaana 10:10) Ng’ayogera ku ebyo ebyandibaddewo mu kiseera eky’enkomerero nga tannajja kutuukiriza musango Katonda gw’asaze, Yesu yagamba nti: “[Mubeere bulindaala] kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’ajjirako. Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa yamanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky’anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.” (Matayo 24:42, 43) Wano Yesu yageraageranya okujja kwe ku kujja kw’omubbi—ajjira mu kiseera kyotomusuubiramu.
3, 4. (a) Abo abandiwulirizza okulabula kwa Yesu okukwata ku kuba obulindaala kibeetaagisa kukola ki? (b) Bibuuzo ki ebijjawo?
3 Ekyokulabirako Yesu kye yakozesa kyali kituukirawo bulungi kubanga tewali amanyi lunaku lwennyini lw’alijjirako. Emabegako, mu bunnabbi bwe bumu Yesu yagamba: “Eby’olunaku luli n’ekiseera tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab’omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.” (Matayo 24:36) N’olw’ensonga eyo, Yesu yakubiriza abaali bamuwuliriza nti: “Mweteeketeeke.” (Matayo 24:44) Abo abakolera ku kulabula kwa Yesu bandibadde beeteefuteefu ebbanga lyonna, nga beeyisa bulungi wadde nga tebamanyi kiseera w’anajjira kutuukiriza omusango gwa Yakuwa.
4 Kati ebibuuzo ebikulu ebijjawo biri nti: Yesu bwe yagamba nti “mubeere bulindaala” yali agamba bantu ba nsi bokka oba n’Abakristaayo? Lwaki kikulu ‘okubeera obulindaala’ era kino tuyinza kukikola tutya?
Baani Abaaweebwa Okulabula Kuno?
5. Tumanya tutya nti okulabula ‘okw’okuba obulindaala’ kukwata ku Bakristaayo ab’amazima?
5 Kyo kituufu nti, eri abantu b’ensi abatafaayo ku kulabula kuno, olunaku lwa Mukama waffe lujja kubatuukako ng’omubbi. (2 Peetero 3:3-7) Ate kiri kitya eri Abakristaayo ab’amazima? Omutume Pawulo yawandiikira bw’ati bakkiriza banne: “[Mmwe] mumanyidde ddala ng’olunaku lwa Mukama waffe lujja ng’omubbi ekiro.” (1 Abasessaloniika 5:2) Ffe tuli bakakafu nti ‘olunaku lwa Yakuwa lujja.’ Naye, ekyo kyanditweyinnuzza ne tutafaayo ku kulabula okwo? Weetegereze nti Yesu yali agamba bayigirizwa be bwe yagamba nti: ‘Mu kiseera kye mutalowoolezaamu Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.’ (Matayo 24:44) Emabegako bwe yali abakubiriza okusooka okunoonyanga eby’Obwakabaka, yabagamba nti: ‘Mweteeketeekenga: kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera mwe mutalowooleza.’ (Lukka 12:31, 40) N’olwekyo, tekyeyoleka kaati nti Yesu yali abuulirira bagoberezi be bwe yagamba nti: “Mubeere bulindaala”?
6. Lwaki kikulu nnyo ‘okubeera obulindaala’?
6 Lwaki twetaaga ‘okuba obulindaala’ ‘n’okweteekateeka’? Yesu yagamba nti: “Abasajja babiri baliba mu kyalo; omu alitwalibwa, n’omulala alirekebwa: abakazi babiri baliba nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa n’omulala alirekebwa.” (Matayo 24:40, 41) Abo abanaasangibwa nga beeteeseteese bajja ‘kutwalibwa,’ oba okulokolebwa ng’ensi y’abatatya Katonda ezikirizibwa. Ate abalala bajja ‘kulekebwa’ oba okuzikirizibwa kubanga babadde beenoonyeza byabwe. Mu bano muyinza okubaamu n’abo abaaliko mu mazima naye ne batabeera bulindaala.
7. Okuva bwe kiri nti tetumanyi ddi enkomerero lw’erijja twandikoze ki?
7 Olw’okuba tetumanyi lunaku lwennyini enkomerero y’omulembe guno lw’enajja, kituleetera okulaga nti tuweereza Katonda nga tulina ekiruubirirwa ekituufu. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga enkomerero eyinza okulabika ng’eruddewo okutuuka. Kya nnaku nnyo nti Abakristaayo abamu baddiridde mu buweereza bwabwe eri Yakuwa nga beekwasa nti enkomerero eruddewo okutuuka. Kyokka bwe twewaayo okuweereza Yakuwa tweyama okumuweereza ekiseera kyonna. Tukimanyi bulungi nti omuntu bwe yeefuula omunyiikivu ku ssaawa esembayo, Yakuwa tasiima buweereza bwe. Ye akebera mitima.—1 Samwiri 16:7.
8. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutusobozesa kutya okusigala nga tuli bulindaala?
8 Olw’okuba twagala nnyo Yakuwa, tusanyukira okukola by’ayagala. (Zabbuli 40:8; Matayo 26:39) Twagala okumuweereza emirembe gyonna. Tetwandirekedde awo kumuweereza olw’okuba bye tubadde twesunga tebituukiridde mu kiseera kye tubadde tubisuubiramu. Ekisinga obukulu, kwe kusigala nga tutunula kubanga olunaku lwa Yakuwa lujja kutuukiriza ebigendererwa bye. Olw’okuba twagala okukola Katonda by’ayagala tugezaako okussa mu nkola okubuulirira okuli mu Kigambo kye era tukulembeza Obwakabaka bwe mu bulamu bwaffe. (Matayo 6:33; 1 Yokaana 5:3) Ka tulabe engeri okuba obulindaala gye kikwata ku bye tusalawo n’engeri gye tweyisaamu.
Obulamu Bwaffe Bwolekedde Ki?
9. Ku bikwata ku mbeera eziriwo mu nsi, kiki abantu kye beetaaga okumanya?
9 Abantu bangi leero bakiraba nti buli lunaku wabaawo ebizibu eby’amaanyi, n’ebintu eby’entiisa, era bayinza okuba nga si basanyufu olw’embeera gye balimu. Naye, ddala bamanyi amakulu g’embeera eziriwo mu nsi? Bakimanyi nti tuli mu ‘nnaku ez’enkomerero’? (Matayo 24:3) Bakimanyi nti abantu okwefaako bokka, okuba abakambwe, n’okuba nti tebaagala Katonda kiraga nti tuli mu ‘nnaku za luvannyuma’? (2 Timoseewo 3:1-5) Beetaaga okumanya bino byonna kye bitegeeza n’ekyo ekinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.
10. Kiki kye tulina okukola okusobola okukakasa nti tubeera bulindaala?
10 Ate kiri kitya eri ffe? Buli lunaku twolekagana n’eby’okusalawo, gamba nga ku by’emirimu, amaka gaffe, n’okusinza kwaffe. Tumanyi bulungi Baibuli ky’egamba era tufuba okukikolerako. N’olwekyo tusaanidde okwebuuza nti: ‘Nzikiriza ebizibu okunziggya ku biruubirirwa byange eby’omwoyo? Bwe mba nnina kye nsalawo nsinziira ku bufirosoofo n’endowooza z’ensi?’ (Lukka 21:34-36; Abakkolosaayi 2:8) Tulina okwongera okukiraga nti twesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, era nti tetwesigama ku ndowooza zaffe. (Engero 3:5) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola ‘okunyweza obulamu obutaggwaawo’—tujja kufuna obulamu mu nsi ya Katonda empya.—1 Timoseewo 6:12, 19.
11-13. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo (a) mu biseera bya Nuuwa? (b) ne mu biseera bya Lutti?
11 Baibuli erimu ebyokulabirako bingi ebisobola okutuyamba okusigala nga tuli bulindaala. Lowooza ku ebyo ebyaliwo mu biseera bya Nuuwa. Katonda yasooka kulabula bantu nga tannaleeta mataba. Kyokka, Nuuwa n’ab’omu maka ge be bokka abaakolera ku kulabula okwabaweebwa. (2 Peetero 2:5) Ng’ayogera ku byaliwo mu kiseera ekyo Yesu yagamba nti: “Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, bwe kutyo bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu. Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka amataba nga balya nga banywa, nga bawasa nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabatwala bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu.” (Matayo 24:37-39) Kino tukiyigirako ki? Singa tuleka ebintu ebya bulijjo okututwalako ebiseera bye twandikozesezza ku bintu eby’omwoyo, Katonda by’atukubiriza okuteeka mu kifo ekisooka, tuba tusaanidde okwekebera.—Abaruumi 14:17.
12 Ate lowooza ku ebyo ebyaliwo mu nnaku za Lutti. Ekibuga Sodomu Lutti n’ab’omu maka ge mwe baabeeranga, kyalimu eby’obugagga naye ng’abantu baamu bagwenyufu. Yakuwa yatuma bamalayika okuzikiriza ekibuga ekyo. Bamalayika baakubiriza Lutti n’ab’omu maka ge okuva mu Sodomu n’obutatunula mabega. Baakolera ku kulabula okwo era ne bava mu kibuga ekyo. Kyokka, ye muka Lutti yali akyalowooza ku bintu bye yali aleese mu Sodomu. Teyafaayo ku kulabula okwamuweebwa, n’atunula emabega, era yafiirwa obulamu bwe. (Olubereberye 19:15-26) Yesu bwe yali awa okulabula okukwata ku biseera eby’omu maaso, yagamba nti: “Mujjukire mukazi wa Lutti.” Ofaayo ku kulabula okwo?—Lukka 17:32.
13 Abo abaakolera ku kulabula okwabaweebwa Katonda baawonawo. Nuuwa n’ab’omu maka ge ne Lutti ne bawala be baakolera ku kulabula era ne bawonawo. (2 Peetero 2:9) Bwe tufumiitiriza ku byokulabirako ebyo byombi, tuzzibwamu amaanyi okukimanya nti abo abaakola eby’obutuukirivu baawonawo. Kino kitukakasa nti ebisuubizo bya Katonda ebikwata ku ‘ggulu eriggya n’ensi empya obutuukirivu mwe bulituula,’ bijja kutuukirira—2 Peetero 3:13.
‘Ekiseera eky’Omusango Kituuse’!
14, 15. (a) “Ekiseera” ky’okusala omusango kizingiramu ki? (b) Kiki ekizingirwa mu ‘kutya Katonda n’okumuwa ekitiibwa’?
14 Nga bwe tweyongera okuba obulindaala, biki bye tusuubira mu biseera eby’omu maaso? Ekitabo ky’Okubikkulirwa kitulaga ebintu nga bwe byandigenze biddiriŋŋana mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda. Singa twagala okusigala nga tuli beeteefuteefu, kiba kirungi okukolera ku kulabula okuli mu kitabo ekyo. Obunnabbi obukirimu bulaga bulungi ebyo ebyandibaddewo mu “lunaku lwa Mukama waffe,” olwatandika mu 1914, Kristo bwe yatuuzibwa ku ntebe nga kabaka. (Okubikkulirwa 1:10) Ekitabo ky’Okubikkulirwa era kitubuulira ku malayika alina “enjiri ey’emirembe n’emirembe.” Malayika oyo alangirira mu ddoboozi eddene nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse.” (Okubikkulirwa 14:6, 7) “Ekiseera” ky’omusango ekyo kimpi; kizingiramu ekiseera ky’okulangirira n’okutuukiririzaamu omusango ogwogeddwako mu bunnabbi. Ekiseera ekyo kye tulimu kati.
15 Ng’ekiseera ky’omusango tekinnaggwaako, tukubirizibwa nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa.” Kino kizingiramu ki? Okutya Katonda kwandituleetedde okwewala okukola ekibi. (Engero 8:13) Bwe tuba tuwa Katonda ekitiibwa, tujja kumugondera. Tetujja kubulwa biseera kusomanga Kigambo kye, Baibuli. Tetujja kubuusa maaso kubuulirira kw’atuwa okw’okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Tujja kukitwala nga nkizo okulangirira amawulire agakwata ku Bwakabaka bwa Masiya era tujja kugabuulira n’obunyiikivu. Tujja kwesiga Yakuwa ekiseera kyonna n’omutima gwaffe gwonna. (Zabbuli 62:8) Olw’okuba tukitegedde nti Yakuwa ye Mufuzi w’Obutonde bwonna, tumuwa ekitiibwa nga tugondera obufuzi bwe. Otya Katonda n’omuwa ekitiibwa ng’okola ebintu ebyo byonna?
16. Lwaki tuyinza okugamba nti omusango gwa Babulooni Ekinene ogwogerwako mu Okubikkulirwa 14:8 gumaze okutuukirizibwa?
16 Essuula 14 ey’ekitabo ky’Okubikkulirwa yeeyongera okunnyonnyola ebyandibaddewo mu kiseera ky’omusango. Ekitabo kino kisooka kwogera ku Babulooni Ekinene, amadiini gonna ag’obulimba nga kigamba nti: “Malayika omulala ow’okubiri n’agoberera, ng’ayogera nti Kigudde kigudde Babulooni ekinene.” (Okubikkulirwa 14:8) Okusinziira ku ndaba ya Katonda, Babulooni Ekinene kigudde. Mu 1919 abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta baasumululwa mu busibe bw’enjigiriza n’empisa z’Ekibabulooni, ebisimbye amakanda mu bantu okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. (Okubikkulirwa 17:1, 15) Baali basobola okwenyigira mu kusinza okulongoofu nga tewali abakuba ku mukono. Okuva olwo, amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabadde gabuulirwa mu nsi yonna.—Matayo 24:14.
17. Kiki ekizingirwa mu kuva mu Babulooni Ekinene?
17 Kyokka era waliwo ekirala ekigenda okutuuka ku Babulooni Ekinene—kiri kumpi kuzikirizibwa ddala. (Okubikkulirwa 18:21) N’olw’ensonga eyo, Baibuli ekubiriza abantu bonna nti: “Mukifulumemu [Babulooni Ekinene] . . . muleme okussa ekimu n’ebibi bye.” (Okubikkulirwa 18:4, 5) Tuyinza tutya okufuluma mu Babulooni Ekinene? Kino kisingawo ku kuva obuvi mu ddiini ez’obulimba. Enkola ya Babulooni yeeyolekera mu mikolo n’obulombolombo ebicaase ennyo leero, mu ndowooza enkyamu ensi gy’erina ku by’okwetaba, eby’okwesanyusaamu ebikubiriza obusamize n’ebirala bingi. N’olwekyo okusobola okusigala nga tuli bulindaala, endowooza zaffe n’ebikolwa byaffe birina okukiraga nti twekutulidde ddala ku Babulooni Ekinene.
18. Okusinziira ku ebyo ebinnyonnyolwa mu Okubikkulirwa 14:9, 10, kiki Abakristaayo abali obulindaala kye beewala okukola?
18 Okubikkulirwa 14:9, 10, lwogera ne ku kintu ekirala ekyandibaddewo mu ‘kiseera eky’omusango.’ Okusinziira ku malayika omulala: “Omuntu yenna bw’asinza ensolo n’ekifaananyi kyayo, era bw’akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe, oyo naye alinywa ku mwenge ogw’obusungu bwa Katonda.” Lwaki? Kubanga “ensolo n’ekifaananyi kyayo” bubonero obukiikirira obufuzi bw’abantu obuwakanya obufuzi bwa Yakuwa. Abakristaayo abali obulindaala beewala okutwalirizibwa endowooza n’ebikolwa by’abo abagaana okugondera obufuzi bwa Katonda ow’amazima, Yakuwa. Abakristaayo bakimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwateekebwawo dda mu ggulu, era nti bujja kukomya obufuzi bw’abantu bwonna, bwo bubeerewo emirembe gyonna.—Danyeri 2:44.
Teweerabira Bukulu bwa Kiseera Kye Tulimu!
19, 20. (a) Nga tusemberera enkomerero, kiki Setaani ky’amaliridde okukola? (b) Twandibadde bamalirivu kukola ki?
19 Gye tukoma okusemberera enkomerero, gye tukoma okufuna okupikirizibwa n’ebikemo. Olw’okuba tetutuukiridde era nga tukyali mu mulembe guno omubi, tufuna ebizibu ng’okulwala, okukaddiwa, okufiirwa abaagalwa baffe, okuyisibwa obubi ng’abantu tebafuddeyo ku mawulire amalungi ag’Ekigambo kya Katonda, n’ebirala bingi. Teweerabiranga nti bwe tufuna ebizibu Setaani akozesa embeera eyo okutuleetera okuggwaamu amaanyi—tulekere awo okubuulira amawulire amalungi oba tusuule muguluka emitindo gya Katonda egikwata ku mpisa. (Abaefeso 6:11-13) N’olwekyo, kino si kye kiseera okwerabira obukulu bw’ekiseera kye tulimu!
20 Yesu yali amanyi nti tujja kuba n’ebizibu bingi ebyandituleetedde okuggwaamu amaanyi, ye nsonga lwaki yatukubiriza nti: “[Mubeere bulindaala] kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’alijjirako.” (Matayo 24:42) N’olwekyo ka tube bulindaala, nga tumanyi bulungi obukulu bw’ekiseera kye tulimu. Ka twekuume enkwe za Setaani eziyinza okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo oba okuva mu mazima. Ka tube bamalirivu okubuulira amawulire ag’Obwakabaka bwa Katonda n’obunyiikivu. Mu buli kye tukola, ka tuleme kubuusa maaso bukulu bwa kiseera kye tulimu era tukolere ku kubuulirira kwa Yesu okugamba nti: “Mubeere bulindaala.” Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuweesa Yakuwa ekitiibwa era tujja kuba bamu ku abo abajja okufuna emikisa egy’olubeerera.
Wandizzeemu Otya?
• Tumanyi tutya nti okulabula kwa Yesu ‘okw’okubeera obulindaala’ kukwata ku Bakristaayo ab’amazima?
• Byakulabirako ki ebiri mu Baibuli ebiyinza okutuyamba ‘okusigala nga tuli bulindaala’?
• Ekiseera eky’omusango kye kiruwa, era tukubirizibwa okukola ki nga tekinnaggwaako?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Babulooni Ekinene kiri kumpi kuzikirizibwa ddala