Okunywerera ku Kristo n’Omuddu We Omwesigwa
“Mukama we . . . alimusigira ebintu bye byonna.”—MATAYO 24:45-47.
1, 2. (a) Okusinziira ku Byawandiikibwa, ani Mukulembeze waffe? (b) Kiki ekiraga nti Kristo ye mukulembeze w’ekibiina Ekikristaayo?
“TEMUKKIRIZAANGA bantu kubayita bakulembeze—mulina omukulembeze omu yekka, Kristo!” (Matayo 23:10, The New Testament in Modern English) Ebigambo bya Yesu ebyo byalaga bulungi abagoberezi be nti tewali muntu n’omu ku nsi yandibadde mukulembeze waabwe. Omukulembeze waabwe yandibadde omu yekka, ow’omu ggulu—Yesu Kristo. Yesu, ekifo kino Katonda ye yakimuwa. Yakuwa “yamuzuukiza mu bafu . . . n’amuteekawo okuba omutwe ku byonna eri ekkanisa, gwe mubiri gwe.”—Abaefeso 1:20-23.
2 Okuva Kristo bw’ali “omutwe ku byonna” ebikwata ku kibiina Ekikristaayo, alina obuyinza ku byonna ebikolebwa mu kibiina. Tewali kintu kyonna kibaawo mu kibiina n’atakitegeera. Yekkaanya embeera y’Abakristaayo ey’eby’omwoyo mu bibiina byonna. Kino kyeyoleka bulungi mu kubikkulirwa omutume Yokaana kwe yafuna ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka C.E. Bwe yali awandiikira ebibiina omusanvu, Yesu emirundi etaano yagamba nti yali amaanyi ebikolwa byabwe ebirungi, n’obunafu bwabwe, era yababuulirira ssaako n’okubazzaamu amaanyi nga bwe kyali kyetaagisa. (Okubikkulirwa 2:2, 9, 13, 19; 3:1, 8, 15) Tewali kubuusabuusa, Kristo yali amaanyi bulungi embeera y’eby’omwoyo mu bibiina ebirala mu Asiya Omutono, Palesitayini, Busuuli, Babulooni, Buyonaani, Italiya, n’awalala wonna. (Ebikolwa 1:8) Kiri kitya leero?
Omuddu Omwesigwa
3. Lwaki kituukirawo bulungi okugeraageranya Kristo ku mutwe, n’ekibiina ku mubiri?
3 Oluvannyuma lw’okuzuukira kwe, era ng’ebula akaseera katono agende ewa Kitaawe mu ggulu, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” Era yagamba nti: “Laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” (Matayo 28:18-20) Yali ajja kweyongera okuba nabo ng’Omukulembeze waabwe. Mu bbaluwa ze eri Abakristaayo mu Efeso, ne mu Kkolosaayi, omutume Pawulo yageraageranya ekibiina Ekikristaayo ku “mubiri,” nga Kristo ye Mutwe gwagwo. (Abaefeso 1:22, 23; Abakkolosaayi 1:18) Ekitabo ekiyitibwa Cambridge Bible for Schools and Colleges kigamba nti ekigambo kino “tekikoma ku kulaga nti obumu bwetaagisa nnyo wakati w’Omutwe n’ebitundu by’omubiri, naye era kiraga nti Omutwe kye gusalawo ebitundu by’omubiri kye bikola. Ebitundu bino bye Akozesa.” Baani Kristo b’abadde akozesa okuva lwe yaweebwa Obwakabaka mu 1914?—Danyeri 7:13, 14.
4. Nga bwe kyalagulwa mu bunnabbi bwa Malaki, kiki Yakuwa ne Kristo Yesu kye baasanga bwe bajja okulambula yeekaalu ey’akabonero?
4 Malaki yalagula nti Yakuwa, “Mukama ow’amazima,” ng’awerekerwako ‘omubaka we ow’endagaano,’ ng’ono ye Mwana we Yesu Kristo, kabaka eyali yaakatuuzibwa ku ntebe, yandizze okulambula n’okusalira omusango “yeekaalu” Ye, oba ennyumba ye ey’okusinzizaamu ey’akabonero. “Ekiseera ekigereke” eky’okusalira ‘ennyumba ya Katonda omusango’ kyatuuka mu 1918.a (Malaki 3:1, NW; 1 Peetero 4:17, NW) Abo abaali bagamba nti bakiikirira Katonda mu kusinza okw’amazima baakeberwa. Amakanisa ga Kristendomu, agaali gamaze ebyasa nga gayigiriza ebintu ebityoboola Katonda era agaali geenyigidde ennyo mu kutta abantu mu Ssematalo I, baageesamba. Ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa baagezesebwa, ne balongoosebwa nga zaabu bw’erongoosebwa n’omuliro, bwe kityo ne bafuuka eri Yakuwa ‘abo abawaayo ebiweebwayo mu butuukirivu.’—Malaki 3:3.
5. Okusinziira ku bunnabbi bwa Yesu obukwata ku ‘kubeerawo’ kwe, ani yasangibwa ng’akola ‘ng’omuddu’ omwesigwa?
5 Nga bwe kyali mu bunnabbi bwa Malaki, akabonero Yesu ke yawa abayigirizwa be okubasobozesa okutegeera ekiseera ‘ky’okubeerawo kwe n’eky’enkomerero y’ebintu,’ kaali kazingiramu okutegeera “omuddu omwesigwa.” Yesu yagamba: “Kale aluwa nate omuddu omwesigwa era ow’amagezi, mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo? Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw’alisanga ng’azze ng’akola bw’atyo. Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.” (Matayo 24:3, 45-47, NW) Bwe yali “azze” okulambula “omuddu” mu 1918, Kristo yasanga ensigalira y’abayigirizwa be abeesigwa abaafukibwako amafuta nga babadde bakozesa akatabo kano n’ebitabo ebirala eby’esigamiziddwa ku Baibuli okuwa abantu ‘emmere yaabwe ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo’ okuviira ddala 1879. Yasiima omulimu gwabwe n’asalawo okubakozesa ‘ng’omuddu’ we, era mu 1919 yabasigira ogw’okuddukanya ebintu bye byonna eby’oku nsi.
Okuddukanya Ebintu bya Kristo eby’Oku Nsi
6, 7. (a) Bigambo ki ebirala Yesu bye yakozesa ng’ayogera ku ‘muddu’ omwesigwa? (b) Ekigambo “omuwanika” Yesu kye yakozesa kitegeeza ki?
6 Emyezi mitono nga tannawa bunnabbi bwe obukwata ku kabonero ak’okubeerawo kwe obwalimu n’okubeerawo ‘kw’omuddu’ amukiikirira ku nsi, Yesu yakozesa ebigambo ebirala ebyalaga obuvunaanyizibwa “omuddu” ono bwe yandibadde nabwo. Yagamba: “Kale ani oyo omuwanika omwesigwa ow’amagezi, mukama we gw’alisigira ab’omu nnyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw’emmere mu kiseera kyayo? Mazima mbagamba ng’alimusigira byonna by’ali nabyo.”—Lukka 12:42, 44.
7 Mu nnyiriri zino omuddu ayitibwa omuwanika, ekigambo ekikyusibwa okuva mu Luyonaani nga kitegeeza “omuntu addukanya eby’awaka.” Omuwanika ono teyandibadde kibiina kya bantu abagezigezi abandibaddeko bye basobola okunnyonnyola mu Baibuli. Ng’oggyeko eky’okugabanga emmere ey’eby’omwoyo “mu kiseera kyayo,” “omuwanika omwesigwa” yandiweereddwa obuvunaanyizibwa okulabirira ab’omu nju ya Kristo, “byonna by’ali nabyo”—ekibiina kye n’emirimu gyonna gye kikola. Ebintu byonna Kristo by’ali nabyo bye biruwa?
8, 9. “Ebintu” omuddu bye yakwasibwa okulabirira bye biruwa?
8 Obuvunaanyizibwa bw’omuddu buzingiramu okulabirira ebifo abagoberezi ba Kristo mwe baddukanyiza emirimu gy’Ekikristaayo, gamba ng’ekitebe ekikulu eky’ensi yonna ne ofiisi z’amatabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa, era n’ebifo mwe basinzizza, ng’Ebizimbe by’Obwakabaka n’Ebizimbe by’Ekuŋŋaana Ennene mu nsi yonna. N’ekisinga obukulu, omuddu akola enteekateeka ez’okuyiga Baibuli mu nkuŋŋaana eza buli wiiki, n’enkuŋŋaana ennene ezibaawo mu mwaka. Mu nkuŋŋaana zino, mubaamu okunnyonnyola engeri obunnabbi bwa Baibuli gye butuukirizibwamu, n’obulagirizi ku ngeri y’okussa emisingi gya Baibuli mu nkola mu bulamu obwa bulijjo.
9 Obuvunaanyizibwa bw’omuwanika buzingiramu n’okulabirira omulimu ogusinga gyonna obukulu ogw’okubuulira ‘enjiri y’obwakabaka’ n’okufuula “amawanga gonna abayigirizwa.” Muno mulimu n’okuyigiriza abantu okukwata byonna Kristo, Omutwe gw’ekibiina, by’alagira okukolebwa mu kiseera kino eky’enkomerero. (Matayo 24:14; 28:19, 20; Okubikkulirwa 12:17) Olw’omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza, ‘ab’ekibiina ekinnene,’ mikwano gy’ensigalira y’abaafukibwako amafuta, basobodde okukuŋŋaanyizibwa. Bano abayitibwa “ebyegombebwa okuva mu mawanga gonna” awatali kubuusabuusa babalirwa mu ‘bintu’ bya Kristo eby’omuwendo ebirabirirwa omuddu omwesigwa.—Okubikkulirwa 7:9; Kaggayi 2:7, NW.
Akakiiko Akafuzi Akakiikirira Omuddu Omwesigwa
10. Kakiiko ki akaasalangawo ensonga mu kyasa ekyasooka, era bye kaasalangawo byakwatanga bitya ku bibiina?
10 Obuvunaanyizibwa bw’omuddu omwesigwa buno obuzito buzingiramu okusalawo ku nsonga nnyingi ezitali zimu. Ng’ekibiina Ekikristaayo kyakatandika, abatume n’abakadde mu Yerusaalemi be baakiikiriranga omuddu omwesigwa, nga basalawo ensonga ezikwata ku kibiina Ekikristaayo kyonna. (Ebikolwa 15:1, 2) Ebyasalibwangawo akakiiko kano ak’omu kyasa ekyasooka, byategeezebwanga ebibiina okuyitira mu mabaluwa ne mu balabirizi abatambula. Abakristaayo abaasooka baasanyukira obulagirizi buno, era olw’okuba baakolera ku byasalibwangawo akakiiko akafuzi, kyaleetawo emirembe n’obumu.—Ebikolwa 15:22-31; 16:4, 5; Abafiripi 2:2.
11. Kristo akozesa baani leero okuwa ekibiina kye obulagirizi, era tusaanidde kutwala tutya akakiiko kano ak’Abakristaayo abaafukibwako amafuta?
11 Nga bwe kyali mu kiseera ng’Obukristaayo bwakatandika, abakadde abaafukibwako amafuta abatonotono bakola Akakiiko Akafuzi ak’abagoberezi ba Kristo leero. Ng’akozesa ‘omukono gwe ogwa ddyo’ ogw’obuyinza, Kristo, Omutwe gw’ekibiina, awa abasajja abeesigwa obulagirizi nga balabirira omulimu gw’Obwakabaka. (Okubikkulirwa 1:16, 20) Ng’atannamaliriza bulamu bwe obw’oku nsi, Albert Schroeder, eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi okumala ebbanga eddene, yawandiika ebimukwatako n’agamba nti: “Akakiiko Akafuzi katuula buli Lwakusatu, era kaggulawo n’okusaba obulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa. Kafuba okulaba nti buli nsonga ekwatibwa era esalibwawo nga yeesigamizibwa ku Kigambo kya Katonda, Baibuli.”b N’olwekyo, tusobola okwesiga Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta. Naddala bwe kituuka ku Kakiiko Akafuzi, twetaaga okuwuliriza omutume Pawulo kye yagamba nti: “Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw’obulamu bwammwe.”—Abaebbulaniya 13:17.
Okussa Ekitiibwa mu Muddu Omwesigwa
12, 13. Nsonga ki eziri mu Byawandiikibwa eziraga nti tusaanidde okussa ekitiibwa mu muddu omwesigwa?
12 Ensonga enkulu lwaki tusaanidde okuwa omuddu omwesigwa ekitiibwa eri nti, bwe tukikola tuba tussa ekitiibwa mu Mukama waabwe Yesu Kristo. Pawulo yawandiika ku baafukibwako amafuta n’agamba nti: “Eyayitibwa nga wa ddembe ye muddu wa Kristo. Mwagulibwa na muwendo.” (1 Abakkolinso 7:22, 23; Abaefeso 6:6) N’olwekyo, bwe tugondera obulagirizi bw’omuddu omwesigwa n’Akakiiko Akafuzi akamukikirira, tuba tugondera Kristo, Mukama w’omuddu. Bwe tuwa ekitiibwa abo Kristo b’akozesa okulabirira ebintu bye eby’oku nsi, y’engeri emu mwe tuyitira ‘okwatula nti Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa.’—Abafiripi 2:11.
13 Ensonga endala eri mu Byawandiikibwa eraga lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu muddu omwesigwa eri nti Abakristaayo bano abaafukibwako amafuta abali ku nsi, mu ngeri ey’akabonero boogerwako nga “yeekaalu” Yakuwa gy’abeeramu “mu [m]woyo.” Mu ngeri eno babeera ‘batukuvu.’ (1 Abakkolinso 3:16, 17; Abaefeso 2:19-22) Bano aboogerwako nga yeekaalu entukuvu, Yesu yabasigira ebintu bye eby’oku nsi, ekitegeeza nti ensonga ezimu ezikwata ku kibiina Ekikristaayo omuddu yekka y’alina obuyinza n’obuvunaanyizibwa okuzisalawo. N’olw’ensonga eyo, bonna mu kibiina basaanidde okujjukira nti Katonda abeetaagisa okugondera n’okuwagira omuddu omwesigwa n’Akakiiko Akafuzi akamukikirira. Mazima ddala, ‘ab’endiga endala’ bagitwala nga nkizo ya maanyi okuyamba omuddu omwesigwa mu kukola emirimu gya Mukama we.—Yokaana 10:16.
Okuwagira Omuddu Omwesigwa
14. Nga Isaaya bwe yalagula, ab’endiga endala batambulira batya emabega w’omuddu eyafukibwako amafuta era ne baweereza ‘ng’abakozi abatasasulwa’?
14 Ab’endiga endala okugondera abaafukibwako amafuta kyalagulwako mu bunnabbi bwa Isaaya nti: “Bw’atyo bw’ayogera Yakuwa nti abakozi b’e Misiri abatasasulwa n’obuguzi bw’e Esiyopya n’Abasabeya, abasajja abawanvu, balikusenga ne baba babo; balikugoberera; nga bali mu masamba balisenga: era balikuvunnamira balikwegayirira nga boogera nti Mazima Katonda ali mu ggwe; so tewali mulala, tewali Katonda.” (Isaaya 45:14, NW) Mu ngeri ey’akabonero, ab’endiga endala leero batambulira mabega w’omuddu eyafukibwako amafuta n’Akakiiko Akafuzi akamukikirira, nga bagondera obulagirizi bwabwe. ‘Ng’abakozi abatasasulwa,’ ab’endiga endala bakozesa amaanyi gaabwe n’eby’obugagga byabwe okuwagira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna Kristo gwe yawa abagoberezi be abaafukibwako amafuta abali ku nsi.—Ebikolwa 1:8; Okubikkulirwa 12:17.
15. Obunnabbi obuli mu Isaaya 61:5, 6 bulaga butya enkolagana eriwo wakati w’ab’endiga endala ne Isiraeri ow’omwoyo?
15 Ab’endiga endala basanyufu okuweereza Yakuwa wansi w’obulagirizi bw’omuddu omwesigwa n’Akakiiko Akafuzi akamukikirira. Bakitwala nti abaafukibwako amafuta ye “Isiraeri wa Katonda.” (Abaggalatiya 6:16) Nga “bannaggwanga” era “abagenyi” ab’akabonero abakolera awamu ne Isiraeri ow’omwoyo, baweereza n’essanyu ‘ng’abalimi’ era ‘ng’abalongoosa emizabbibu’ wansi w’obulagirizi bwa “bakabona ba Mukama” abaafukibwako amafuta, era ‘abaweereza ba Katonda.’ (Isaaya 61:5, 6) N’obunyiikivu beenyigira mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula amawanga abayigirizwa. N’omwoyo gumu bayamba omuddu omwesigwa mu kulunda n’okulabirira abalinga endiga abakyali abappya.
16. Kiki ekireetera ab’endiga endala okuwagira n’amaanyi omuddu omwesigwa era ow’amagezi?
16 Ab’endiga endala basiima nnyo okuba nti omuddu omwesigwa afuba okubatuusaako emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo. Bakimanyi bulungi nti singa teyali muddu mwesigwa, tebanditegedde mazima gali mu Baibuli, gamba ng’okuba nti Yakuwa ye mufuzi w’obutonde bwonna, okutukuzibwa kw’erinnya lye, Obwakabaka, eggulu eriggya n’ensi empya, emmeeme, embeera y’abafu, enjawulo eriwo wakati wa Yakuwa, Omwana we, n’omwoyo omutukuvu. Okulaga okusiima kwabwe, ab’endiga endala bawagira n’amaanyi “baganda” ba Kristo abaafukibwako amafuta abali ku nsi mu kiseera kino eky’enkomerero.—Matayo 25:40.
17. Kiki Akakiiko Akafuzi kye kasanze nga kyetaagisa okukola, era kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekinaddako?
17 Olw’okuba omuwendo gw’abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi gugenda gukendeera, tebasobola kubeera mu bibiina byonna okusobola okulabirira ebintu bya Kristo. Bwe kityo, Akakiiko Akafuzi kalonda abasajja okuva mu b’endiga endala okulabirira ofiisi z’amatabi, disitulikiti, ebitundu n’ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa. Engeri gye tutwalamu abasumba bano abaweerereza wansi w’obulagirizi bwa Kristo erina akakwate n’obwesigwa bwaffe eri Kristo n’omuddu omwesigwa? Kino kijja kwekenneenyezebwa mu kitundu ekinaddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebisingawo ku nsonga eno, laba Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Maaki 1, 2004, olupapula 26-31, ne Watchtower eya Desemba 1, 1992, olupapula 13.
b Byafulumira mu Watchtower eya Maaki 1, 1988, olupapula 10-17.
Okwejjukanya
• Omukulembeze waffe y’ani, era kiki ekiraga nti amanyi embeera ebibiina mwe biri?
• “Yeekaalu,” bwe yalambulwa, baani abaasangibwa nga bakola ‘ng’omuddu omwesigwa,’ era bintu ki bye baakwasibwa?
• Nsonga ki eziri mu Byawandiikibwa eziraga nti tusaanidde okuwagira ennyo omuddu omwesigwa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
“Ebintu” ebirabirirwa “omuwanika” bizingiramu ebintu ebikalu, programu ez’eby’omwoyo, n’omulimu gw’okubuulira
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Ab’endiga endala bawagira omuddu omwesigwa nga babuulira n’obunyiikivu