Funa Essanyu mu Kufuula Abalala Abayigirizwa
‘Kale mugende mufuule abalala abayigirizwa.’—MAT. 28:19.
1-3. (a) Tuwulira tutya bwe tufuna omuntu gwe tuyigiriza Baibuli? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
MWANNYINAFFE omu ow’omu Amerika aweerereza mu kibiina ekyogera olulimi Oluhindi yagamba nti: “Mmaze wiiki 11 nga nsoma n’ab’omu maka agamu abaava e Pakistan.” Yayongerako nti: “Kati twafuuka ba mukwano. Amaziga gannyunguka buli lwe ndowooza ku ky’okuba nti abantu bano banaatera okuddayo e Pakistan. Sikaaba lwa kuba sijja kuddamu kubalaba kyokka, wabula n’olw’essanyu lye nfunye mu kubayigiriza ebikwata ku Yakuwa.”
2 Okufaananako mwannyinaffe oyo, wali owulidde ku ssanyu eriva mu kuyigiriza omuntu Baibuli? Yesu n’abayigirizwa be ab’omu kyasa ekyasooka baafuna essanyu lingi mu kufuula abalala abayigirizwa. Abayigirizwa ba Yesu 70 bwe baamutegeeza ebirungi ebyali bivudde mu kubuulira kwabwe, Yesu kennyini ‘yasanyukira mu mwoyo omutukuvu.’ (Luk. 10:17-21) Ne leero, bangi bafuna essanyu lingi mu kufuula abalala abayigirizwa. Mu butuufu, mu 2007, ababuulizi baayigiriza Baibuli abantu ng’obukadde mukaaga n’ekitundu buli mwezi!
3 Kyokka ababuulizi abamu tebafunanga ku ssanyu liva mu kuyigiriza muntu Baibuli. Abalala bayinza okuba nga baludde okufunayo omuntu gwe bayigiriza Baibuli. Buzibu ki bwe tuyinza okwolekagana nabwo nga tufuba okuyigiriza abantu Baibuli? Tuyinza tutya okuvvuunuka obuzibu obwo? Era tufuna miganyulo ki bwe tufuba okugondera ekiragiro kya Yesu kino: ‘Mugende mufuule abantu abayigirizwa.’?—Mat. 28:19.
Ebintu Ebiyinza Okutumalako Essanyu
4, 5. (a) Mu nsi ezimu, abantu batwala batya obubaka bwaffe? (b) Buzibu ki ababuulizi bwe basanga mu nsi endala?
4 Mu nsi ezimu, abantu bakkiriza okusoma ebitabo byaffe era baagala nnyo okuyiga Baibuli. Omwami omu ne mukyala we ab’omu Australia abaaweerezaako mu Zambia okumala akaseera baawandiika nti: “Bye twali tuwulira byali bituufu. Abantu b’omu Zambia baagala nnyo okuyiga amazima. Twewuunya nnyo nga tubuulira ku nguudo! Abantu be bajjanga gye tuli, abamu nga bamanyi ne magazini gye baagala tubawe.” Mu gumu ku myaka egyakayita, ab’oluganda mu Zambia baasomesa Baibuli abantu abasukka mu 200,000—okutwalira awamu, buli mubuulizi yasomesa abantu abasukka mu omu.
5 Kyokka, mu nsi endala ababuulizi bakisanga nga kizibu okufuna abantu abaagala okusoma ebitabo byaffe, n’okuyiga Baibuli. Lwaki? Emirundi egimu, ababuulizi bwe bakyalira abantu mu maka gaabwe tebabasangayo, ate n’abo be basangayo, bangi baba tebaagala bikwata ku ddiini. Abamu baba baakulira mu maka omutali ddiini, oba nga baakyawa eby’eddiini olw’obunnanfuusi obuli mu madiini ag’obulimba. Abantu bangi balina enjala ey’eby’omwoyo era basaasaanye olw’okuba n’abasumba ab’obulimba. (Mat. 9:36) Tekyewuunyisa nti abantu ng’abo baba tebaagala kuwulira kintu kyonna kikwata ku Baibuli.
6. Buzibu ki ababuulizi abamu bwe boolekagana nabwo?
6 Ababuulizi abamu boolekagana n’obuzibu obulala obuyinza okubamalako essanyu. Wadde nga baali bakola kinene mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa, kati tebakyasobola kubuulira nnyo olw’okuba balwadde oba bakaddiye. Ate lowooza ku buzibu ffe ffennyini bwe tuyinza okwereetera. Ng’ekyokulabirako, owulira nti tolina busobozi bwa kuyigiriza muntu Baibuli? Oyinza okuba ng’owulira nga Musa bwe yawulira nga Yakuwa amutumye eri Falaawo. Musa yagamba: “Ai Mukama, nze siri muntu wa bigambo okuva ddi na ddi.” (Kuv. 4:10) Ekintu ekirala ekitera okugendera awamu n’okuwulira nti tolina busobozi kwe kutya nti ojja kulemererwa. Tuyinza okulowooza nti tetusobola kufuula muntu muyigirizwa olw’okuba tetuli basomesa balungi. Bwe kityo tuyinza okwewala okusomesa omuntu Baibuli olw’okutya nti tajja kufuuka muyigirizwa. Obuzibu ng’obwo tuyinza tutya okubuvvuunuka?
Teekateeka Omutima Gwo
7. Kiki ekyakubiriza Yesu mu buweereza bwe?
7 Ekisookera ddala kwe kuteekateeka omutima gwo. Yesu yagamba nti: ‘Ebyo ebijjula mu mutima akamwa bye koogera.’ (Luk. 6:45) Okuba n’omutima ogulumirirwa abalala kyakubiriza nnyo Yesu mu buweereza bwe. Ng’ekyokulabirako, ‘yasaasira’ Bayudaaya banne bwe yalaba embeera y’eby’omwoyo embi gye baalimu. Yagamba abayigirizwa be nti: ‘Eby’okukungula bingi. N’olwekyo musabe Omwami w’eby’okukungula, asindike abakozi mu by’okukungula bye.’—Mat. 9:36-38.
8. (a) Kiki kye tusaanidde okulowoozaako? (b) Tuyiga ki mu ebyo omuyizi wa Baibuli omu bye yayogera?
8 Bwe tuba tukola omulimu ogw’okufuula abalala abayigirizwa, kiba kirungi okulowooza ku ngeri naffe gye tuganyuddwa mu kuba nti waaliwo ow’oluganda eyawaayo ebiseera bye okutuyigiriza Baibuli. Lowooza ne ku ngeri abantu be tubuulira gye bajja okuganyulwa mu bubaka bwe tubatwalira. Omukyala omu yawandiika ku ofiisi y’ettabi eri mu ggwanga gy’abeera n’agamba nti: “Njagala okubategeeza nti nsiima nnyo Abajulirwa abajja ewange okunsomesa. Nkimanyi nti oluusi mbakaluubiriza olw’ebibuuzo ebingi bye mbuuza, era buli lwe bajja ewange mbalwisa. Naye baŋŋumiikiriza era bafuba okunsomesa byonna bye bamanyi. Nneebaza nnyo Yakuwa ne Yesu olw’engeri abantu bano gye bannyambye.”
9. Essira Yesu yalissa ku ki, era tuyinza tutya okumukoppa?
9 Kya lwatu nti abamu Yesu be yagezaako okuyamba tebakkiriza. (Mat. 23:37) Ate abalala baamugoberera okumala ekiseera, naye oluvannyuma baasambajja bye yabayigiriza ‘ne balekera awo okutambula naye.’ (Yok. 6:66) Naye ekyo Yesu tekyamuleetera kulowooza nti obubaka bwe tebwali bwa mugaso. Wadde ng’ensigo ezisinga obungi ze yasiga tezaavaamu bibala, essira yalissa ku birungi bye yali akola. Yagamba nti ennimiro zaali zituuse okukungula era yafuna essanyu okwenyigira mu makungula ago. (Soma Yokaana 4:35, 36.) Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku ttaka eritabala, kiba kirungi ne tutunuulira ebirungi bye tuyinza okufuna mu kubuulira mu kitundu kyaffe. Ka tulabe engeri kino gye tuyinza okukikolamu.
Siga ng’Olina Ekigendererwa eky’Okukungula
10, 11. Kiki ekinaakuyamba okusigala ng’oli musanyufu?
10 Omulimi bw’asiga ensigo aba asuubira okukungula. Naffe bwe tuba tubuulira twetaaga okuba n’ekigendererwa eky’okutandika okusomesa abantu Baibuli. Naye watya ng’omala ebiseera bingi ng’obuulira, naye nga totera kusanga bantu mu maka gaabwe oba ng’abo b’oba osanzeeyo bw’oddayo tobasanga? Kino oluusi kimalamu amaanyi. Naye kyandikuleetedde okulekera awo okubuulira nnyumba ku nnyumba? N’akatono! Tukyasanga abantu bangi nga tubuulira mu ngeri eno emaze ebbanga eddene ennyo ng’ekozesebwa.
11 Okusobola okusigala ng’oli musanyufu, lwaki togezaako okubuulira abantu ne mu ngeri endala? Ng’ekyokulabirako, ogezezzaako okubuulira abantu ku nguudo oba mu bifo gye bakolera? Osobola okubuulira nga weeyambisa essimu oba okufuna essimu z’abo be wabuulira ku mawulire g’Obwakabaka musobole okweyongera okuwuliziganya? Bw’onooba omunyiikivu era n’ofuba okubuulira mu ngeri ez’enjawulo, ojja kusanga abantu abaagala amawulire g’Obwakabaka era ekyo kijja kukuleetera essanyu lingi.
Abantu Bwe Baba Tebawuliriza
12. Tuyinza kukola ki singa abantu b’omu kitundu kyaffe baba tebaagala kuwulira bikwata ku ddiini?
12 Watya nga mu kitundu kyammwe abantu bangi tebaagala bya ddiini? Olina ky’oyinza okukola okubasikiriza okuwuliriza? Omutume Pawulo yagamba bakkiriza banne ab’omu Kkolinso nti: “Eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya . . .; eri abatalina mateeka nnafuuka ng’atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda.” Pawulo yalina kigendererwa ki? Yagamba nti: “Eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu.” (1 Kol. 9:20-22) Tuyinza okukola nga Pawulo ne tufuba okwogera ku bintu ebikwata ku bantu b’omu kitundu kyaffe? Abantu bangi abatayagala bya ddiini baagala okuba n’obulamu bw’amaka obulungi. Bayinza n’okuba nga baagala okumanya ekigendererwa ky’obulamu. Kijja kutuyamba nnyo bwe tunaabuulira abantu ng’abo amawulire g’Obwakabaka mu ngeri ebasikiriza.
13, 14. Tuyinza tutya okwongera ku ssanyu lye tufuna mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa?
13 Ababuulizi bangi basobodde okwongera ku ssanyu lye bafuna mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa, wadde ng’abantu b’omu bitundu gye babuulira tebeefiirayo. Bakikoze batya? Nga bayiga olulimi olulala. Omwami omu ne mukyala we abatemera mu myaka 60 baakizuula nti mu kitundu kyabwe mwalimu abayizi bangi Abakyayina. Omwami agamba nti: “Kino kyatusikiriza okuyiga Olukyayina.” Ayongerako nti: “Wadde ng’okusobola okuluyiga twawaayo ebiseera buli lunaku, kyatuviiramu essanyu lingi kubanga twafuna abayizi ba Baibuli Abakyayina bangi mu kitundu kyaffe.”
14 Ne bwe kiba nti tosobola kuyiga lulimi lulala, osobola okukozesa akatabo Good News for People of All Nations ng’osanze abantu aboogera olulimi lw’otomanyi. Oyinza n’okufuna ebitabo mu lulimi olwogerwa abantu b’oba osisinkanye. Kituufu nti olina okufuba n’okuwaayo ebiseera okusobola okuyiga okwogera olulimi olulala. Naye teweerabira musingi guno oguli mu Kigambo kya Katonda: “Asiga ennyingi, alikungula nnyingi.”—2 Kol. 9:6.
Ekibiina Kyonna Kyenyigiramu
15, 16. (a) Lwaki omulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa gutwaliramu ekibiina kyonna? (b) Baganda baffe abakaddiye bayamba batya mu mulimu ogwo?
15 Kikulu okukijjukira nti okufuula abalala abayigirizwa kizingiramu ekibiina kyonna, so si muntu omu yekka. Lwaki? Yesu yagamba nti: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yok. 13:35) Abayizi ba Baibuli bwe bajja mu nkuŋŋaana zaffe bakwatibwako nnyo olw’okwagala kwe balaba mu b’oluganda. Omuyizi wa Baibuli omu yawandiika nti: “Nnyumirwa nnyo okugenda mu nkuŋŋaana. Abantu basanyuka nnyo okundaba!” Yesu yagamba nti abamu ku bandifuuse abagoberezi be bandiyigganyiziddwa ab’omu nju yaabwe. (Soma Matayo 10:35-37.) Naye yasuubiza nti bandifunye ‘ab’oluganda, ne bannyinaabwe ne bannyaabwe, n’abaana’ ab’eby’omwoyo bangi nnyo mu kibiina.—Mak. 10:30.
16 Baganda baffe ne bannyinaffe abakaddiye bakola kinene nnyo mu kuyamba abayizi ba Baibuli okukulaakulana. Mu ngeri ki? Ne bwe kiba nti bannamukadde abamu tebakyasobola kuyigiriza muntu Baibuli, bye baddamu nga bali mu nkuŋŋaana bizimba okukkiriza kw’abo bonna ababiwulira. Emyaka emingi gye bamaze nga batambulira “mu kkubo ery’obutuukirivu” gireetera ekibiina kyonna essanyu era ekyo kiyamba mu kusikiriza abantu ab’emitima emirungi okujja mu kibiina kya Katonda.—Nge. 16:31.
Okuvvuunuka Okwetya
17. Kiki ekinaatuyamba okuvvuunuka ekizibu ky’okwetya?
17 Watya ng’owulira nti tosobola kuyigiriza muntu Baibuli? Kijjukire nti Yakuwa yayamba Musa n’amuwa omwoyo gwe omutukuvu era n’alagira ne muganda we Alooni okumuyamba. (Kuv. 4:10-17) Yesu yasuubiza nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwandituyambye mu mulimu gw’okubuulira. (Bik. 1:8) N’ekirala, Yesu yasindikanga abayigirizwa babiri babiri okugenda okubuulira. (Luk. 10:1) N’olwekyo, bw’oba ozibuwalirwa okuyigiriza abantu Baibuli, saba Katonda akuwe omwoyo gwe omutukuvu era buulira n’omuntu alina obumanyirivu era anaakugumya. Era kijjukire nti Yakuwa yasalawo okukozesa abantu aba bulijjo—“[ebintu] ebinafu eby’ensi”—okutuukiriza omulimu guno omukulu ennyo.—1 Kol. 1:26-29.
18. Tuyinza tutya okuvvuunuka okutya nti tetusobola kuyamba muntu kufuuka muyigirizwa?
18 Tuyinza tutya okuggwamu okutya nti tetusobola kuyamba muntu kufuuka muyigirizwa? Kirungi okukijjukira nti okufuula omuntu omuyigirizwa tekiba nga kufumba mmere, ng’emmere okuwooma oba obutawooma kiva ku mufumbi. Okufuula omuntu omuyigirizwa kizingiramu abantu basatu. Yakuwa y’akola omulimu ogusinga obukulu, okusembeza omuntu gy’ali. (Yok. 6:44) Ffe awamu n’abalala mu kibiina tufuba okuyigiriza obulungi omuyizi n’okumuyamba okukulaakulana. (Soma 2 Timoseewo 2:15.) Omuyizi naye kimwetaagisa okukolera ku ebyo by’ayiga. (Mat. 7:24-27) Kiyinza okutumalamu amaanyi ng’omuntu alekedde awo okuyiga Baibuli. Tuba n’essuubi nti abo be tusomesa Baibuli bajja kugenda mu maaso, naye buli muntu alina ‘okwennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.’—Bar. 14:12, NW.
Miganyulo Ki Egivaamu?
19-21. (a) Birungi ki ebiri mu kuyigiriza abantu Baibuli? (b) Yakuwa atunuulira atya abo bonna abeenyigira mu mulimu gw’okubuulira?
19 Okuyigiriza abantu Baibuli kituyamba okukulembeza Obwakabaka. Era kituyamba okuyingiza Ekigambo kya Katonda mu mitima gyaffe ne mu birowoozo byaffe. Mu ngeri ki? Payoniya omu ayitibwa Barak agamba bw’ati: “Okuyigiriza abantu Baibuli kikuwaliriza okusoma ennyo Ekigambo kya Katonda. Nneesanga nga nnina okufuna obukakafu ku kintu nga sinnakiyigiriza mulala.”
20 Bw’oba tolina muntu gw’oyigiriza Baibuli kitegeeza nti obuweereza bwo Katonda tabusiima? Si bwe kiri! Yakuwa asiima nnyo bwe tufuba okumutendereza. Abo bonna abeenyigira mu mulimu gw’okubuulira baba ‘bakolera wamu ne Katonda.’ Naye, tweyongera okuwulira essanyu bwe tuyigiriza omuntu Baibuli era ne tulaba engeri Katonda gy’akuzaamu ensigo gye twasiga. (1 Kol. 3:6, 9) Payoniya omu ayitibwa Amy agamba nti: “Okulaba omuntu gw’oyigiriza Baibuli ng’akulaakulana kikuleetera okusiima Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo olw’okukukozesa okuwa omuntu ekirabo eky’omuwendo ennyo bwe kityo—okumanya okukwata ku Yakuwa era okutuusa mu bulamu obutaggwawo.”
21 Okufuba okunoonya n’okuyamba abo abaagala okuyiga Baibuli kijja kutuyamba okwemalira ku buweereza bwaffe eri Katonda kati, era kinyweze n’essuubi lyaffe ery’okuwonawo tuyingire mu nsi empya. Ate bwe twesiga Yakuwa, tuyinza n’okuyamba abo abatuwuliriza okuwonawo. (Soma 1 Timoseewo 4:16.) Nga ekyo kiba kya ssanyu nnyo!
Ojjukira?
• Buzibu ki obuyinza okulemesa abamu okuyigiriza abalala Baibuli?
• Tuyinza kukola ki singa abantu bangi mu kitundu kyaffe baba tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe?
• Miganyulo ki gye tufuna mu kuyigiriza abantu Baibuli?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]
Okozesa engeri ez’enjawulo ng’obuulira okusobola okuzuula abantu ab’emitima emirungi?