Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu ng’Obufumbo Bwo Bulimu Ebizibu
“Abafumbo mbalagira, naye si nze abalagira wabula Mukama waffe.”—1 KOL. 7:10.
OSOBOLA OKUNNYONNYOLA?
Lwaki tuyinza okugamba nti Katonda y’agatta awamu abafumbo?
Abakadde bayinza batya okuyamba Abakristaayo abalina ebizibu mu bufumbo bwabwe?
Abakristaayo basaanidde kutwala batya obufumbo?
1. Abakristaayo batwala batya obufumbo, era lwaki?
ABAKRISTAAYO bwe bafumbiriganwa, baba bakoze obweyamo mu maaso ga Katonda, era obweyamo obwo baba balina okubutuukiriza. (Mub. 5:4-6) Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yatandikawo enteekateeka ey’obufumbo, ‘y’agatta awamu’ abafumbo. (Mak. 10:9) Kyo kituufu nti amateeka agakwata ku bufumbo gaawukana mu nsi ezitali zimu, naye mu maaso ga Katonda omusajja n’omukazi bwe bafumbiriganwa baba bagattiddwa wamu. Abaweereza ba Yakuwa balina okutwala obufumbo bwabwe nga bwa lubeerera ne bwe kiba nti mu kiseera we baafumbiriganirwa baali tebannafuuka baweereza be.
2. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
2 Obufumbo bwe buba obulungi buleetera abo ababulimu essanyu. Naye kiki abafumbo kye bayinza okukola singa obufumbo bwabwe bubaamu ebizibu? Waliwo ekintu kyonna kye basobola okukola okunyweza obufumbo bwabwe? Kiki ekiyinza okuyamba abo abalina ebizibu mu bufumbo bwabwe okufuna essanyu?
OBUFUMBO BWO BUNAABAMU SSANYU OBA NNAKU?
3, 4. Kiki ekiyinza okubaawo singa omuntu tagoberera bulagirizi bwa Yakuwa ng’alonda omuntu ow’okufumbiriganwa naye?
3 Abakristaayo bwe baba n’obufumbo obulungi, baba basanyufu era obufumbo bwabwe buweesa Yakuwa ekitiibwa. Naye obufumbo bwabwe bwe butaba bulungi, buleetera abafumbo ennaku ey’amaanyi. Singa Omukristaayo alowooza ku kuyingira obufumbo akolera ku bulagirizi bwa Katonda, obufumbo bwe busobola okubaamu essanyu. Ku luuyi olulala, singa takolera ku bulagirizi bwa Katonda ng’alonda omuntu ow’okufumbiriganwa naye, obufumbo bwe tebusobola kubaamu ssanyu. Ng’ekyokulabirako, abavubuka abamu batandika okwogerezaganya nga tebannaba kuba beetegefu kwetikka buvunaanyizibwa obubaawo mu bufumbo. Abamu bafumbiriganwa n’abantu be baba bafunye okuyitira ku Intaneeti, bwe batyo ne bayingira obufumbo obutaliimu ssanyu. Abalala bagwa mu bwenzi nga bakyayogerezaganya, ne bayingira obufumbo nga buli omu teyeesiga bulungi munne.
4 Abakristaayo abamu bagaana okugondera etteeka lya Katonda erikwata ku kuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka,” era ekyo kibaviiramu ebizibu bingi mu bufumbo bwabwe. (1 Kol. 7:39) Bw’oba ng’oli mu mbeera ng’eyo, saba Yakuwa akusonyiwe era akuyambe. Yakuwa taggyawo bizibu omuntu by’afuna olw’ensobi ze yakola emabega, naye singa omuntu yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa amuyamba okugumira ebizibu ebyo. (Zab. 130:1-4) N’olwekyo, fuba okukola Katonda by’ayagala, era ‘essanyu lya Yakuwa lijja kuba maanyi go.’—Nek. 8:10.
NG’OBUFUMBO BWO BWAGALA KUSASIKA
5. Omuntu bw’aba mu bufumbo obutaliimu ssanyu, kiki ky’asaanidde okwewala?
5 Omuntu ali mu bufumbo omutali ssanyu ayinza okulowooza nti tekimwetaagisa kufuba kutaasa bufumbo ng’obwo. Ayinza n’okulowooza nti asobola okuba omusanyufu singa awasa oba afumbirwa omuntu omulala. Ate era ayinza okulowooza ku ky’okugattululwa ne munne mu bufumbo oba okwawukana naye. Mu kifo ky’okwagala okukola bw’atyo oba okulowooza ku ngeri obulamu gye bwandibaddemu singa aleka munne, Omukristaayo asaanidde okufuba okukolera ku bulagirizi bwa Katonda.
6. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 19:9 bitegeeza ki?
6 Singa Omukristaayo agattululwa ne munne mu bufumbo, okusinziira ku Byawandiikibwa, ayinza okuba n’ebbeetu okufumbiriganwa n’omulala oba obutaba nalyo. Yesu yagamba nti: “Buli agattulula mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi, n’awasa omulala, aba ayenze.” (Mat. 19:9) ‘Obwenzi’ obwogerwako wano buzingiramu okwegatta kwonna okukontana n’amateeka ga Katonda. Omukristaayo aba alowooza ku ky’okugattululwa ne munne mu bufumbo nga tewali n’omu ku bo ayenze, asaanidde okusooka okukirowoozaako ennyo n’okusaba Yakuwa amuwe obulagirizi obwetaagisa.
7. Kiki abantu abalala kye bayinza okulowooza singa obufumbo bw’Abakristaayo busasika?
7 Obufumbo bw’omuntu bwe busasika, ekyo kiyinza okulaga nti omuntu oyo munafu mu by’omwoyo. Omutume Pawulo yagamba nti: “Mazima ddala omuntu bw’aba nga tamanyi ngeri ya kufugamu ba mu nnyumba ye, anaalabirira atya ekibiina kya Katonda?” (1 Tim. 3:5) Omusajja n’omukazi bwe baba bagamba nti Bakristaayo naye obufumbo bwabwe ne busasika, ekyo kiyinza okuleetera abantu abalala okulowooza nti tebakolera ku ebyo bye bayigiriza.—Bar. 2:21-24.
8. Singa Abakristaayo abafumbo basalawo okwawukana oba okugattululwa kiba kiraga ki?
8 Singa Abakristaayo abafumbo basalawo okwawukana oba okugattululwa nga tebasinzidde ku Byawandiikibwa, ekyo kiba kiraga nti, mu ngeri emu oba endala, balina obunafu mu by’omwoyo. Kiyinzika okuba ng’omu ku bo oba bombi tebakolera ku misingi gya Bayibuli. Singa ddala baba beesiga Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna basobola okuyamba obufumbo bwabwe obutasasika.—Soma Engero 3:5, 6.
9. Abakristaayo abamu baganyuddwa batya olw’okufuba okutaasa obufumbo bwabwe?
9 Waliwo obufumbo bungi obwali bwolekedde okusasika naye oluvannyuma lw’ekiseera ne butereera. Abakristaayo abali mu bufumbo omuli ebizibu naye ne bakola kyonna ekisoboka okubutaasa batera okuganyulwa. Lowooza ku ekyo ekiyinza okubaawo mu maka ng’omu ku bafumbo si muweereza wa Yakuwa. Omutume Peetero yagamba nti: “Abakazi mugonderenga babbammwe, bwe wabaawo abatakkiriza kigambo balyoke bawangulwe awatali kigambo okuyitira mu mpisa z’abakazi baabwe, olw’okuba baba balabye empisa zammwe ennongoofu n’ekitiibwa eky’amaanyi kye mubassaamu.” (1 Peet. 3:1, 2) Singa Omukristaayo yeeyisa bulungi, ayinza okusikiriza munne okuyiga amazima. Abakristaayo abafuba okutaasa obufumbo bwabwe baweesa Katonda ekitiibwa era ekyo kiganyula bonna abali mu maka.
10, 11. Mbeera ki enzibu eyinza okubaawo mu bufumbo, naye buyambi ki Omukristaayo ali mu mbeera ng’eyo bw’ayinza okufuna?
10 Olw’okuba Abakristaayo baba baagala okusanyusa Yakuwa, abasinga obungi ku bo basalawo okuwasa oba okufumbirwa bakkiriza bannaabwe. Wadde kiri kityo, oluusi ebintu biyinza obutagenda nga bwe babadde basuubira. Ng’ekyokulabirako, omwami oba omukyala ayinza okufuna ebizibu ne bimuleetera okugwebwako essanyu. Oba omu ku bafumbo ayinza okulekera awo okubuulira. Ekintu ekifaananako bwe kityo kyatuuka ku mwannyinaffe Linda,a omuzadde aweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Yayisibwa bubi nnyo okulaba ng’omwami we atandise okwenyigira mu mpisa embi n’agaana okwenenya, bw’atyo n’agobebwa mu kibiina. Kiki Omukristaayo ali mu mbeera ng’eyo ky’ayinza okukola?
11 Bw’oba oli mu mbeera ng’eyo oyinza okwebuuza, ‘Ddala kinnetaagisa okweyongera okufuba okutaasa obufumbo bwange wadde ng’embeera erabika ng’etasobola kutereera?’ Tewali muntu n’omu asaanidde kukusalirawo kya kukola. Naye waliwo ensonga ennungi lwaki wandifubye okukola kyonna ekisoboka okulaba nti obufumbo bwo tebusasika. Abakristaayo abagumiikiriza nga bali mu bufumbo omuli ebizibu olw’okwagala okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo baba ba muwendo nnyo mu maaso ga Katonda. (Soma 1 Peetero 2:19, 20.) Yakuwa akozesa Ekigambo kye awamu n’omwoyo gwe omutukuvu okuyamba Abakristaayo abakola kyonna ekisoboka okunyweza obufumbo bwabwe.
BEETEGEFU OKUKUYAMBA
12. Abakadde banaawulira batya singa obatuukirira n’obasaba okukuyamba?
12 Bw’ofuna ebizibu mu bufumbo bwo, tosaanidde kutya kutuukirira bakadde. Abakadde bakola ng’abasumba mu kibiina era bajja kukuyamba nga bakozesa Ebyawandiikibwa. (Bik. 20:28; Yak. 5:14, 15) Tosaanidde kulowooza nti abakadde bajja kulekera awo okukussaamu ekitiibwa awamu ne munno mu bufumbo singa obabuulira ku bizibu bye mulina mu bufumbo bwammwe. Mu kifo ky’ekyo, abakadde bajja kweyongera okukwagala n’okukussaamu ekitiibwa olw’okuba bajja kuba bakirabye nti oyagala okusanyusa Katonda.
13. Magezi ki agali mu 1 Abakkolinso 7:10-16?
13 Abakadde bwe baba bayamba Omukristaayo ali mu maka agatali bumu mu kukkiriza, bayinza okukozesa amagezi gano omutume Pawulo ge yawa: “Abafumbo mbalagira, naye si nze abalagira wabula Mukama waffe, nti omukyala talekanga mwami we; naye bw’amulekanga, tafumbirwanga, oba si ekyo addiŋŋane n’omwami we; era n’omwami talekanga mukyala we. . . . Ggwe omukyala, omanyi otya obanga ojja kulokola omwami wo? Oba ggwe omwami, omanyi otya obanga ojja kulokola mukyala wo?” (1 Kol. 7:10-16) Nga kiba kya ssanyu nnyo okulaba ng’omwami oba mukyala wa mukkiriza munnaffe afuuse omuweereza wa Yakuwa!
14, 15. Nsonga ki eziyinza okuleetera omukyala Omukristaayo okuleka omwami we, naye lwaki asaanidde okusaba n’okufumiitiriza ennyo ku nsonga eyo?
14 Nsonga ki eziyinza okuleetera omukyala Omukristaayo ‘okuleka’ omwami we? Omukyala ayinza okusalawo okwawukana n’omwami we singa omwami we agaana okulabirira ab’omu maka ge mu bugenderevu ne kiba nti awaka tewakyaliwo ssente oba mmere. Era ayinza okusalawo okwawukana naye singa amutulugunya nnyo ne kiba nti obulamu bwe buli mu kabi, oba singa amulemesa okuweereza Yakuwa.
15 Omukristaayo y’alina okwesalirawo okwawukana ne munne mu bufumbo oba okusigala awamu naye. Kyokka bw’aba tannasalawo kya kukola, asaanidde okusooka okusaba Yakuwa n’okufumiitiriza ennyo ku nsonga eyo. Omukristaayo ayinza okwebuuza, ‘Kyandiba nti munnange atali mukkiriza y’andeetedde okuddirira mu by’omwoyo oba kyandiba nti nange nnina engeri gye ndagajjaliddemu ebintu eby’omwoyo, gamba ng’okwesomesa Bayibuli, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okubuulira?’
16. Lwaki Abakristaayo tebasaanidde kwanguyiriza kusalawo kugattululwa na bannaabwe mu bufumbo?
16 Olw’okuba enkolagana yaffe ne Yakuwa tugitwala nga ya muwendo era nga tussa ekitiibwa mu kirabo ky’obufumbo, tusaanidde okwewala okwanguyiriza okusalawo okugattululwa ne bannaffe mu bufumbo. Olw’okuba tuli baweereza ba Yakuwa, tetwagala kusalawo mu ngeri eneereta ekivume ku linnya lye ettukuvu. N’olwekyo, tusaanidde okwewala okugattululwa ne bannaffe mu bufumbo nga twagala okuwasa oba okufumbirwa omuntu omulala.—Yer. 17:9; Mal. 2:13-16.
17. Ddi lwe kiyinza okugambibwa nti Katonda ayise Omukristaayo okuba mu mirembe?
17 Omukristaayo alina munne atali mukkiriza asaanidde okukola kyonna ekisoboka okulaba nti obufumbo bwabwe tebusasika. Kyokka singa Omukristaayo akola kyonna ekisoboka okutaasa obufumbo bwe naye munne n’asalawo okumuleka, Omukristaayo tasaanidde kulowooza nti avunaanyizibwa mu maaso ga Yakuwa. Pawulo yagamba nti: “Atali mukkiriza bw’asalawo okugenda, muleke agende; ow’oluganda oba mwannyinaffe tavunaanyizibwa mu mbeera ng’eyo, naye Katonda yabayita okuba mu mirembe.”—1 Kol. 7:15.b
WEESIGE YAKUWA
18. Wadde nga kiyinza obutasoboka kutaasa bufumbo bwo, birungi ki ebiyinza okuvaamu singa ofuba okubutaasa?
18 Bw’oba oyolekagana n’ebizibu mu bufumbo, saba Yakuwa akuyambe okuba omuvumu era mwesige. (Soma Zabbuli 27:14.) Lowooza ku Linda, eyayogeddwako waggulu. Wadde nga yamala emyaka mingi ng’afuba okutaasa obufumbo bwe, oluvannyuma yamala n’agattululwa n’omwami we. Mwannyinaffe oyo awulira nga yateganira bwereere okugezaako okutaasa obufumbo bwe? Nedda. Agamba nti, “Ekyo kye nnakola kyawa abalala obujulirwa. Nnina omuntu ow’omunda omuyonjo. N’ekisinga byonna, nnasobola okuyamba muwala waffe okunywerera mu mazima. Yakulaakulana mu by’omwoyo ne yeewaayo eri Yakuwa era kati aweereza Yakuwa n’obunyiikivu.”
19. Singa Omukristaayo afuba okutaasa obufumbo bwe, birungi ki ebiyinza okuvaamu?
19 Mwannyinaffe ayitibwa Marilyn musanyufu nnyo olw’okuba yeesiga Katonda era n’afuba okutaasa obufumbo bwe. Agamba nti, “Nnali njagala kwawukana n’omwami wange olw’okuba yali takyandabirira bulungi era nga n’embeera yange ey’eby’omwoyo eri mu kabi. Omwami wange yali aweereza ng’omukadde mu kibiina bwe yali tannatandika kukola bizineesi etaali nnungi. Yalekera awo okugenda mu nkuŋŋaana era ne ndekera awo okwogera naye. Kyokka obulumbaganyi bwa bannalukalala obwakolebwa ku kibuga kyaffe bwantiisa nnyo, ekyo ne kindeetera okwagala okuddamu okwogera n’omwami wange. Oluvannyuma nnakiraba nti nange nnali nvunaanyizibwa olw’ebizibu bye twalina mu maka gaffe. Nnaddamu okwogera naye, ne tuddamu okuba n’okusoma kw’amaka, era ne tuddamu okugendanga mu nkuŋŋaana obutayosa. Abakadde baatulaga ekisa era baatuyamba nnyo. Obufumbo bwaffe bwatereera, era oluvannyuma lw’ekiseera, omwami wange yaddamu okuweebwa enkizo mu kibiina. Wadde nga tekyanyanguyira kugumira mbeera eyo, okufuba kwange kwavaamu emiganyulo mingi.”
20, 21. Kiki Abakristaayo abafumbo kye basaanidde okumalirira okukola?
20 Ka tube nga tuli bafumbo oba nga tetuli bafumbo, tusaanidde bulijjo okuba abavumu n’okwesiga Yakuwa. Bwe tuba n’ebizibu mu bufumbo bwaffe, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okubigonjoola nga tukijjukira nti abantu bwe bafumbiriganwa baba “tebakyali babiri naye nga bali omubiri gumu.” (Mat. 19:6) Ate era Omukristaayo asaanidde okukijjukira nti singa asigala ng’ali wamu ne munne atali mukkiriza, wadde ng’obufumbo bwabwe bulimu ebizibu, asobola okumuyamba okufuuka omuweereza wa Yakuwa.
21 Ka tube mu mbeera ki, tusaanidde bulijjo okweyisa mu ngeri ejja okuwa obujulirwa abantu abatali mu kibiina kya Yakuwa. Obufumbo bwaffe bwe bubaamu ebizibu eby’amaanyi, ne tuwulira nga twagala okuleka munnaffe, kiba kikulu okusaba Yakuwa, okulowooza ennyo ku nsonga eyo, okufumiitiriza ku Byawandiikibwa, n’okutuukirira abakadde batuyambe. N’ekisinga obukulu, tusaanidde okuba abamalirivu okusanyusa Yakuwa Katonda mu buli kimu kye tukola n’okulaga nti tussa ekitiibwa mu kirabo kye yatuwa eky’obufumbo.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya gakyusiddwa.
b Laba akatabo ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda,’ olupapula 219-221; ne Watchtower eya Noovemba 1, 1988, olupapula 26-27; n’eya Ssebutemba 15, 1975, olupapula 575.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 10]
Abakristaayo ababa mu bufumbo obutaliimu ssanyu naye ne bakola kyonna ekisoboka okubutaasa batera okuganyulwa
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 12]
Bulijjo weesige Yakuwa era musabe akuyambe okuba omuvumu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Yakuwa ayamba Abakristaayo abafumbo abafuba okunyweza obufumbo bwabwe obulimu ebizibu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Ab’oluganda mu kibiina basobola okuzzaamu amaanyi abo abali mu bufumbo obutaliimu ssanyu