EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI ABANTU ABALUNGI BAFUNA EBIZIBU?
Lwaki Abantu Abalungi Bafuna Ebizibu?
Olw’okuba Yakuwa Katondaa ye muyinza w’ebintu byonna era nga ye yatonda buli kimu, abantu bangi balowooza nti y’avunaanyizibwa ku bintu byonna ebiriwo ku nsi, nga mw’otwalidde n’ebintu ebibi. Naye, lowooza ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku Katonda ow’amazima:
Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna.”—Zabbuli 145:17.
Amakubo ge gonna ga bwenkanya. Katonda omwesigwa ataliimu butali bwenkanya; Mutuukirivu era mwenkanya.”—Ekyamateeka 32:4, NW.
Yakuwa alina okwagala kungi n’obusaasizi.”—Yakobo 5:11.
Katonda si y’aleetera abantu ebizibu era si y’abaleetera okukola ebintu ebibi. Bayibuli egamba nti: “Omuntu yenna bw’agezesebwanga tagambanga nti: ‘Katonda y’angezesa.’” Lwaki? Kubanga “Katonda tayinza kugezesebwa na bintu bibi era ye kennyini tagezesa muntu yenna.” (Yakobo 1:13) Katonda tagezesa muntu yenna ng’amuleetera okukola ebintu ebibi. Kati olwo, lwaki waliwo ebikolwa ebibi n’okubonaabona?
OKUBEERA MU KIFO EKIKYAAMU MU KISEERA EKIKYAAMU
Bayibuli etuyamba okumanya emu ku nsonga eziviirako abantu okubonaabona. Egamba nti: “Ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa bibatuukako bonna.” (Omubuulizi 9:11, NW) Omuntu ayinza okufuna ekizibu olw’okuba abadde mu kifo ekizibu ekyo we kigudde. Emyaka nga 2,000 emabega, Yesu Kristo yayogera ku bantu 18 omunaala be gwagwira ne bafa. (Lukka 13:1-5) Abantu abo baafa olw’okuba baali wansi w’omunaala mu kiseera we gwagwira, so si olw’okuba baali boonoonyi. Mu Jjanwali 2010, musisi ow’amaanyi yayita mu ggwanga lya Haiti, era gavumenti ya Haiti yagamba nti abantu abasukka mu 300,000 be baafa. Musisi yatta abantu abo awatali kusosola mulungi na mubi. Ng’oggyeeko ebyo, omuntu yenna asobola okulwala.
Lwaki Katonda takuuma abantu abalungi ne batafuna bizibu?
Abamu bayinza okwebuuza nti: ‘Lwaki Katonda taziyiza bintu ng’ebyo? Lwaki takuuma abantu abalungi ne batafuna bizibu?’ Katonda okusobola okukola ekyo, aba alina okumanya ebintu ebibi ebiba bigenda okubaawo. Kyo kituufu nti Katonda alina obusobozi obw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, naye akozesa obusobozi obwo okumanya buli kimu ekinaabaawo?—Isaaya 42:9.
Bayibuli egamba nti: ‘Katonda waffe ali mu ggulu: akola byonna by’ayagala.’ (Zabbuli 115:3) Yakuwa akola ebyo byokka ebyetaagisa, so si ebyo byonna by’asobola okukola. Bw’atyo bw’akola ne bwe kituuka ku kumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, abantu b’omu kibuga Sodomu ne Ggomola bwe beeyongera okukola ebikolwa ebibi, Katonda yagamba Ibulayimu nti: ‘Nnakka kaakano ndabe nga bakolera ddala ng’okukaaba kwayo bwe kuli, era obanga [si bwe kiri], n[n]aamanya.’ (Olubereberye 18:20, 21) Okumala ekiseera, Yakuwa yasalawo obutamanya bikolwa ebibi ebyali bikolebwa mu bibuga ebyo. Ekyo kiraga nti Yakuwa ayinza okusalawo obutamanya ebintu ebimu ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. (Olubereberye 22:12) Naye tekitegeeza nti Yakuwa tatuukiridde oba nti alina obunafu. Olw’okuba “omulimu gwe gwatuukirira,” Katonda akozesa obusobozi bwe obw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye, naye takaka bantu kukola by’ayagala.b—Ekyamateeka 32:4.
ABANTU BE BAVUNAANYIZIBWA?
Abantu nabo bavunaanyizibwa ku kubonaabona okuliwo. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe. Oluvannyuma okwegomba bwe kuba olubuto kuzaala ekibi; ate ekibi bwe kimala okukolebwa kireeta okufa.” (Yakobo 1:14, 15) Abantu tebatuukiridde era balina okwegomba okubi. Ekyo kibaleetera okukola ebintu ebibi ebibaviirako okubonaabona. (Abaruumi 7:21-23) Ebyafaayo biraga nti abantu bakoze ebikolwa ebibi bingi nnyo, era ng’ekyo kivuddemu okubonaabona okutagambika. Ate era, abantu ababi basobola okusendasenda abalala okwenyigira mu bikolwa ebibi, era ekyo kiviirako ebikolwa ebyo okweyongera.—Engero 1:10-16.
Abantu bakoze ebikolwa ebibi bingi nnyo, era ng’ekyo kivuddemu okubonaabona okutagambika
Naye lwaki Katonda taziyiza bantu kukola bintu bibi? Lowooza ku ngeri omuntu gye yatondebwamu. Bayibuli egamba nti Katonda yatonda omuntu mu kifaananyi kye. Ekyo kitegeeza nti abantu basobola okwoleka engeri za Katonda. (Olubereberye 1:26) Katonda yawa abantu eddembe ery’okwesalirawo, era basobola okusalawo okumwagala n’okumunywererako nga bakola by’ayagala. (Ekyamateeka 30:19, 20) Singa Katonda akaka abantu okukola ebyo by’ayagala, tekyandiraze nti tayagala bakozese ddembe lyabwe ery’okwesalirawo? Ate era singa buli kimu kye tukola Katonda yakituteekerateekera dda, twandibadde ng’ebyuma ebikola ebyo byokka bye babiragira okukola. Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti Katonda ayagala tukozese eddembe lyaffe ery’okwesalirawo! Naye ekyo tekitegeeza nti ebizibu ebireetebwa abantu awamu n’ebintu ebigwa bitalaze bijja kubeerawo emirembe gyonna.
EBIBI OMUNTU BY’ABA YAKOLA BYE BIMUVIIRAKO OKUBONAABONA?
Singa obuuza Omuhindu oba owa Budda ekibuuzo ekiri kungulu ku katabo kano, ajja kukuddamu nti: “Abantu abalungi bafuna ebizibu olw’etteeka lya Karma. Baba bakungula bye baasiga nga bakyali mu bulamu obulala.”c
Okusobola okumanya obanga enjigiriza eyo ntuufu, kiba kikulu okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku kufa. Katonda bwe yatonda Adamu, omusajja eyasooka n’amuteeka mu lusuku Adeni, yamugamba nti: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:16, 17) Singa Adamu teyajeemera Katonda, yandibadde mulamu emirembe gyonna. Okufa kwajjawo ng’ekibonerezo olw’okujeemera Katonda. Oluvannyuma Adamu ne Kaawa bwe baatandika okuzaala, ‘okufa kwabuna ku bantu bonna.’ (Abaruumi 5:12) Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti “empeera y’ekibi kwe kufa.” (Abaruumi 6:23) Bayibuli egattako nti: “Oyo afudde aba takyaliko musango gwa kibi.” (Abaruumi 6:7) Ekyo kitegeeza nti, omuntu bw’afa aba takyavunaanibwa bibi bye yakola ng’akyali mulamu.
Abamu bagamba nti bangi bafuna ebizibu leero olw’okuba beeyisanga bubi nga tebannabbulukukira mu bulamu bwe balimu kati. Omuntu akkiririza mu njigiriza eyo bw’afuna ebizibu oba abalala bwe bafuna ebizibu akitwala nti kya bulijjo. Naye enjigiriza eyo tewa bantu ssuubi nti ekiseera kirituuka ebizibu ne biggwaawo. Abo abagikkiririzaamu bagamba nti ekiyinza okuyamba omuntu obutafuna bizibu kwe kufuba okweyisa obulungi n’okufuna okumanya okw’enjawulo. Enjigiriza eyo eyawukanira ddala ku ekyo Bayibuli ky’eyigiriza.d
OYO ASINGA OKULEETA OKUBONAABONA
Abantu si be basinga okuleeta okubonaabona. Sitaani Omulyolyomi, eyali malayika wa Katonda omwesigwa, “teyanywerera mu mazima” era ye yaleeta ekibi mu nsi. (Yokaana 8:44) Ye yaleetera abantu okujeemera Katonda mu lusuku Adeni. (Olubereberye 3:1-5) Yesu Kristo yamuyita “omubi” era “omufuzi w’ensi.” (Matayo 6:13; Yokaana 14:30) Abantu bangi bagoberera Sitaani nga nabo bagaana okukola ebyo Yakuwa by’ayagala. (1 Yokaana 2:15, 16) Mu 1 Yokaana 5:19, Bayibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” Waliwo ne bamalayika abaajeemera Katonda ne beegatta ku Sitaani. Ate era Bayibuli egamba nti Sitaani ne badayimooni be ‘babuzaabuza ensi yonna.’ (Okubikkulirwa 12:9, 12) N’olwekyo, Sitaani y’asinga okuleetera abantu okubonaabona.
Kya lwatu, Katonda si y’avunaanyizibwa ku bizibu abantu bye bafuna era si y’abaleetera okubonaabona. Asuubizza okumalawo okubonaabona kwonna, ng’ekitundu ekiddako bwe kiraga.
a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.
b Okumanya ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona, laba essuula 11 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
c Enjigiriza eno eraga nti ebituuka ku muntu kati bisinziira ku ebyo bye yakola nga tannabbulukukira mu bulamu bw’alimu kati. Okumanya ebisingawo, laba olupapula 8-12 mu katabo, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
d Okumanya ebisingawo ebikwata ku mbeera abafu gye balimu ne ku ssuubi ery’okuzuukira, laba essuula 6 ne 7 ez’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?