EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ABANTU ABAAFA—BALIDDAMU OKUBA ABALAMU?
Waliwo Essuubi ery’Okuddamu Okulaba Abaafa?
Abafu basobola okuddamu okuba abalamu?
BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi [lya Yesu] ne bavaamu.”—Yokaana 5:28, 29.
Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo, yalaga nti bwe yandibadde afuga nga Kabaka, yandizuukizza abo bonna abali emagombe. Fernando ayogeddwako mu kitundu ekivuddeko agamba nti, “Nneewuunya nnyo lwe nnasooka okusoma Yokaana 5:28, 29. Ekyawandiikibwa ekyo kyampa essuubi ekkakafu erikwata ku biseera eby’omu maaso.”
Yobu omusajja omwesigwa eyaliwo mu biseera eby’edda yali mukakafu nti bwe yandifudde, Katonda yandimuzuukizza. Yobu yabuuza nti: “Omuntu bw’afa aliba mulamu nate?” Yaddamu ekibuuzo ekyo ng’agamba nti: “N[n]andirindiridde ne mmala ennaku zonna ez’olutabaalo lwange [ekiseera kye yandimaze emagombe], okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze. Wandimpise, nange n[n]andikuyitabye.”—Yobu 14:14, 15.
Maliza mwannyina wa Laazaalo yali akimanyi nti abantu abaafa bajja kuzuukira. Laazaalo bwe yafa, Yesu yagamba Maliza nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” Maliza yamuddamu nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.” Yesu yamugamba nti: “Nze kuzuukira n’obulamu. Oyo anzikiriza ne bw’aliba ng’afudde, aliba mulamu.” (Yokaana 11:23-25) Oluvannyuma Yesu yazuukiza Laazaalo! Ekyo Yesu kye yakola kiraga ekyo ky’ajja okukola ku kigero ekinene mu biseera eby’omu maaso. Lowooza ku ssanyu eriribaawo nga Yesu azuukizza abafu mu nsi yonna!
Abamu ku banaazuukizibwa banaatwalibwa mu ggulu?
BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: Okuzuukira kwa Yesu kwali kwa njawulo nnyo ku kuzuukira kw’abantu omunaana aboogerwako mu Bayibuli. Abantu abo omunaana bwe baazukizibwa baddamu okubeera wano ku nsi. Naye Bayibuli bw’eba eyogera ku kuzuukira kwa Yesu, egamba nti: “Yesu Kristo ali ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo, kubanga yagenda mu ggulu.” (1 Peetero 3:21, 22) Yesu ye yekka eyandibadde azuukizibwa n’atwalibwa mu ggulu? Emabegako Yesu yali agambye abatume be nti: “Bwe mba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, nja kukomawo mbatwale gye ndi, nammwe mubeere eyo.”—Yokaana 14:3.
Kristo yagenda mu ggulu n’ateekerateekera abamu ku bayigirizwa be ekifo. Abo abanaagenda mu ggulu bajja kuba 144,000. (Okubikkulirwa 14:1, 3) Naye mu ggulu bagenda kukolayo ki?
Bajja kuba n’eby’okukola bingi! Bayibuli egamba nti: “Balina essanyu era batukuvu abo abazuukirira mu kuzuukira okusooka; abo okufa okw’okubiri tekubalinaako buyinza, naye baliba bakabona ba Katonda era ba Kristo, era balifugira wamu naye nga bakabaka okumala emyaka lukumi.” (Okubikkulirwa 20:6) Abo abanaazuukizibwa ne bagenda mu ggulu bajja kuba bakabona era bajja kufuga ensi nga bakabaka nga bali wamu ne Kristo.
Baani abalala abanaazuukizibwa?
BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: Bayibuli erimu ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa ebyayogerwa omutume Pawulo: “Nnina essuubi eri Katonda, nabo bennyini lye balina, nti wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”—Ebikolwa 24:15.
“Abatuukirivu” omutume Pawulo be yayogerako be baani? Omu ku bo ye Danyeri eyali omusajja omwesigwa. Danyeri bwe yali anaatera okufa yagambibwa nti: ‘Oliwummula, era oliyimirira [n’oweebwa] omugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.’ (Danyeri 12:13) Danyeri bw’alizuukira alibeera wa? Bayibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Ate era Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abateefu, kubanga balisikira ensi.” (Matayo 5:5) Danyeri awamu n’abaweereza ba Katonda abalala abeesigwa bajja kuzuukizibwa babeere ku nsi emirembe gyonna.
“Abatali batuukirivu” omutume Pawulo be yayogerako be baani? Be bantu buwumbi na buwumbi abaafa nga tebafunye kakisa kuyiga oba kukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Bwe banaazuukira, bajja kuyigirizibwa ebikwata ku Yakuwaa ne Yesu. (Yokaana 17:3) Abo abanaakolera ku ebyo Katonda by’ayagala bajja kuba n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna.
Abo bonna abasalawo okuweereza Katonda baba n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna nga balamu bulungi era nga basanyufu
Abo abanaasikira ensi banaabeera mu mbeera ki?
BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: Katonda “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde kukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi.” (Okubikkulirwa 21:4) “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu.”—Isaaya 65:21.
Naawe weesunga okubeera mu bulamu obulungi ng’obwo ng’oli wamu n’abantu bo abaliba bazuukiziddwa? Naye oyinza otya okuba omukakafu nti abafu bajja kuzuukira?
a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.