“Muleke Ekitangaala Kyammwe Kyakenga”
1 Ensi etwetoolodde eri mu kizikiza mu by’empisa ne mu by’omwoyo. Ekitangaala eky’amazima kyanika ‘ebikolwa by’ekizikiza’ ne kisobozesa okwewala ebyesitaza eby’akabi. Bwe kityo, omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo: “Mutambulenga ng’abaana b’ekitangaala.”—Bef. 5:8, 11, NW.
2 “Ebibala by’ekitangaala” byawukanira ddala ku kizikiza ky’ensi. (Bef. 5:9, NW) Okusobola okubala ebibala ebyo kitwetaagisa okwoleka ebyokulabirako ebirungi ennyo mu bulamu bw’Ekikristaayo, abantu Yesu baasiima. Era tuteekwa okulaga engeri gamba nga ez’okwagala amazima n’omutima gwaffe gwonna, obwesimbu, n’ebbugumu. Ebibala bino birina okwolesebwa mu bulamu bwaffe obwa bulijjo ne mu buweereza bwaffe.
3 Yaka Buli lwe Wabaawo Akakisa Konna: Yesu yagamba abayigirizwa be: “Muleke ekitangaala kyammwe kyakenga mu maaso g’abantu.” (Mat. 5:16, NW) Mu kukoppa Yesu, twoleka ekitangaala kya Yakuwa nga tubuulira Obwakabaka bwa Katonda n’ebigendererwa bye. Twaka ng’ettabaaza bwe tukyalira amaka g’abantu era bwe tubuulira amazima ku mulimu, ku ssomero, eri baliraanwa baffe, oba buli lwe tuba n’akakisa okukikola.—Baf. 2:15.
4 Yesu yagamba nti abamu bandikyaye ekitangaala. (Yok. 3:20, NW) N’olwekyo, tetuggwamu maanyi abasinga obungi bwe bagaana okuleka ‘ekitangaala ky’amawulire amalungi ag’ekitiibwa kya Kristo’ okubaakira. (2 Kol. 4:4, NW) Yakuwa asoma emitima gy’abantu era mu bantu be tayagalamu bakola ebitali bya butuukirivu.
5 Bwe tugoberera amakubo ga Yakuwa era ne tufuna ekitangaala eky’eby’omwoyo, tusobola okukyolesa eri abalala. Singa bakiraba mu nneeyisa yaffe nti ‘tulina ekitangaala ky’obulamu,’ olwo nno nabo kijja kubaleetera okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okufuuka aboolesa ekitangaala.—Yok. 8:12.
6 Bwe tuleka ekitangaala kyaffe ne kyaka, tuleetera Omutonzi waffe okutenderezebwa era tuyamba abeesimbu okumumanya n’okufuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. (1 Peet. 2:12) Okuva bwe tulina ekitangaala, ka tukikozese okuyamba abalala okulaba ekkubo eribajja mu kizikiza ky’eby’omwoyo era babale ebibala eby’ekitangaala.