Ganyulwa mu Kusoma Akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
1 Twasanyuka nnyo okufuna akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu.” Bangi baasoma akatabo ako amangu ddala nga baakakafuna. Era kirabika n’abalala bangi baakasoma nga bakubirizibwa ekyawandiikibwa ky’omwaka 2003 ekigamba nti: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe.”—Yak. 4:8.
2 Okutandika mu Maaki, tujja kuddamu okwekenneenya akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa mu Kusoma Baibuli okw’Ekibiina nga tutandikira we twakoma. Tuyinza tutya okuganyulwa mu ngeri esingawo mu kusoma akatabo kano? Kikulu nnyo okutegeka. Tujja kusoma obutundu butono buli wiiki. Kino kijja kubasobozesa okuba n’ebiseera ebimala okubaako bye muddamu okuviira ddala ku mutima. Okugatta kw’ekyo, obutundu butono nnyo ddala obujja okwekenneenyezebwa mu wiiki ekomekkereza essuula, kibasobozese okufuna obudde obumala okwekenneenya ekintu eky’enjawulo ekiri mu katabo.
3 Okutandika n’essuula 2, akasanduuko akalina omutwe “Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako” kasangibwa okumpi n’enkomerero ya buli ssuula. Oluvannyuma lw’okwekenneenya akatundu akasembayo mu ssuula, akubiriza okusoma Baibuli okw’ekibiina ajja kukubaganya ebirowoozo n’ekibiina ku kasanduuko ako. Ajja kusaba ab’oluganda okwogera ku ngeri gye baaganyuddwa mu kufumiitiriza ku Byawandiikibwa. (Nge. 20:5) Ng’oggyeko ebibuuzo ebiweereddwa mu kasanduuko, ayinza okubuuza ebibuuzo nga bino wammanga: “Kino kikutegeeza ki ku Yakuwa? Kino kikwata kitya ku bulamu bwo? Oyinza otya okukikozesa okuyamba abalala?” Ajja kuba n’ekigendererwa eky’okuyamba ab’oluganda okuddamu okuviira ddala ku mutima, so si okubabuuza ensonga ezitali nkulu nnyo.
4 Akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa ka njawulo. Wadde ng’ebitabo byonna ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” bireetera erinnya lya Yakuwa okugulumizibwa, akatabo kano ko kaakubibwa n’ekigendererwa eky’okunnyonnyola engeri za Yakuwa. (Mat. 24:45-47) Nga twesunga nnyo okukasoma! Tujja kuganyulwa nnyo mu kwekenneenya engeri za Yakuwa. Okusoma kuno ka kutuyambe okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu, era ka tweyongere okuyamba abalala okukola kye kimu.