EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 34-37
Weesige Yakuwa Okolenga Ebirungi
‘Tokwatirwa Boonoonyi Ensaalwa’
Ababi ne bwe balabika ng’abali obulungi, ekyo tokikkiriza kukulemesa kuweereza Yakuwa. Ebirowoozo byo bimalire ku mikisa Yakuwa gy’akuwadde ne ku biruubirirwa byo eby’omwoyo
“Weesigenga Yakuwa era kolanga ebirungi”
Bw’oba olina ekikweraliikiriza oba ng’obuusabuusa, weesige Yakuwa. Ajja kukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa
Beera munyiikivu mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka
“Yakuwa abeerenga ensibuko y’essanyu lyo”
Beera n’enteekateeka ey’okusoma Bayibuli n’okugifumiitirizaako osobole okweyongera okutegeera Yakuwa
“Amakubo go gakwasenga Yakuwa”
Weesige Yakuwa nti ajja kukuyamba okwaŋŋanga ekizibu kyonna
Sigala ng’olina empisa ennungi ng’oziyizibwa, ng’oyigganyizibwa, oba ng’oyogerwako eby’obulimba
“Sirika mu maaso ga Yakuwa era mulindirire n’obugumiikiriza”
Weewale okwanguyiriza okukola ebintu ebiyinza okukumalako essanyu n’okukuggyako obukuumi bwa Yakuwa
“Abawombeefu balisikira ensi”
Beera muwombeefu era lindirira Yakuwa okuggyawo obutali bwenkanya bwonna
Yamba bakkiriza banno, era budaabuda abennyamivu ng’obabuulira ku kisuubizo kya Katonda eky’ensi empya enaatera okutuuka