Footnote
a Abamu ku abo abanoonyereza ku bintu eby’edda bagamba nti Yakobo okuwa Yusufu ekirabo kyaleetera baganda be okulowooza nti yali agenda kumuwa omugabo ogwaweebwanga omwana omubereberye. Baali bakimanyi nti Yusufu ye mwana wa Laakeeri omubereberye, omukazi Yakobo gwe yali asinga okwagala era gwe yali agenda okusooka okuwasa. N’ekirala, Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye yali yeegatta n’omuzaana wa kitaawe. Ekyo kyaweebuula kitaawe era kyaviirako Lewubeeni okufiirwa omugabo ogwaweebwanga omwana omubereberye.—Olubereberye 35:22; 49:3, 4.