BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
Kati nsobola okuyamba abalala
NNAZAALIBWA: 1981
ENSI: GUATEMALA
EBYAFAAYO: NNABONAABONA NNYO MU BUTO
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnazaalibwa mu kabuga Acul, akali mu bugwanjuba bwa Guatemala. Tuva mu kika ky’abantu abayitibwa Ixil, ekyasibuka mu Bamaya. Ng’oggyeeko Olusipeyini, nnakula njogera n’olulimi lwange oluzaaliranwa. We nnakulira, olutalo olw’ekiyeekera olwamala emyaka 36 nga lulwanibwa mu Guatemala lwali lukyayinda. Abantu bangi ab’eggwanga lyange baafira mu lutalo olwo.
Bwe nnali wa myaka ena, muganda wange omukulu eyali ow’emyaka omusavu yali azannya ne guluneedi n’etulika n’emutta ate nze n’enviirako okuziba amaaso. Oluvannyuma nnatwalibwa mu ssomero ly’abaana abazibe b’amaaso mu kibuga ekikulu ekya Guatemala, era eyo gye nnayigira olulimi lwa bamuzibe. Bwe nnali eyo abasomesa baŋŋaana okwogera n’abaana abalala, olw’esonga gye saamanya era abaana abalala banneewalanga. Nnabeeranga mu kiwuubaalo buli kiseera era nnajjukiranga ekiseera eky’emyezi ebiri buli mwaka, kye nnamalanga awaka ne maama. Maama yali wa kisa nnyo gye ndi. Naye ekuba omunaku tekya; maama wange omwagalwa yafa nga ndi wa myaka kkumi gyokka. Ennaku yabula okunzita kubanga nnali nfiriddwa omuntu eyali anjagala ennyo.
Nga ndi wa myaka 11, nnaddayo mu kabuga k’ewaffe ne ntandika okubeera mu maka ga muganda wange omukulu. Bampanga bye nnali nneetaaga, naye era nnali nneetaaga okubudaabudibwa. Oluusi nnakaabiriranga Katonda nga bwe mmubuuza nti: “Lwaki maama yafa? Lwaki ndi muzibe?” Olw’okuba abantu baŋŋambanga nti ebizibu byange Katonda ye yabiteekateeka, nnalowoozanga nti Katonda tafaayo era nti si mwenkanya. Ensonga yokka eyannemesa okwetta kwe kuba nti nnali sirina ngeri ya kukikolamu.
Okuba muzibe kyandeetera obutaba na bukuumi bwonna. Ng’ekyokulabirako, bwe nnali nkyali mulenzi muto emirundi mingi bankolako ebikolwa eby’ensonyi. Naye ssaalopa kubanga nnali ndowooza nti tewali muntu n’omu anfaako. Abantu tebaateranga kwogera nange era nange saanyumyanga na muntu yenna. Nnabanga mwenyamivu buli kiseera, era nga seesiga muntu yenna.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Bwe nnaweza emyaka 13 egy’obukulu, omwami ne mukyala we Abajulirwa ba Yakuwa, bajja ku ssomero okundaba. Omu ku basomesa bange eyali annumirirwa ennyo ye yabasaba bajje bankyalire. Bambuulira ebisuubizo bya Katonda ebiri mu Bayibuli, nti abafu bajja kuzuukizibwa era nti n’abazibe b’amaaso bajja kulaba. (Isaaya 35:5;Yokaana 5:28, 29) Nnayagala nnyo bye banjigiriza, naye kyanzibuwalira okunyumya nabo kubanga nnali sitera kwogera. Wadde nga bwe ntyo bwe nnali, baali baguumiikiriza era beeyongera okujja okunjigiriza Bayibuli. Baatambulanga olugendo lwa mayiro mukaaga nga bayita mu nsozi okujja awaka okunjigiriza.
Mukulu wange yaŋŋambanga nti bambala bulungi naye tebalabika kuba bagagga. Kyokka banfangako nnyo era bandeeteranga ebirabo. Nnakiraba nti Abakristaayo ab’amazima bokka be basobola okufaayo ku muntu bwe batyo.
Banjigirizanga Bayibuli nga bakozesa ebitabo ebiri mu lulimi lwa bamuzibe. Wadde nnategeeranga bye banjigirizanga, waliwo ebintu ebyanzibuwaliranga okukkiriza. Ng’ekyokulabirako, kyanzibuwalira nnyo okukkiriza nti Katonda anfaako era nti waliwo omuntu yenna anfaako. Nnategeera ensonga lwaki Yakuwa akyaleseewo okubonaabona, naye kyanzibuwalira nnyo okumutwala nga Kitange.a
Oluvannyuma lw’ekiseera, ebyo bye nnali njize mu Byawandiikibwa byannyamba okukyusa endowooza yange. Ng’ekyokulabirako, nnayiga nti Yakuwa awulira bubi nnyo bw’alaba ng’abantu babonaabona. Katonda bwe yali ayogera ku bantu be abaali bayisibwa obubi yagamba nti: ‘Ndabidde ddala okubonaabona kw’abantu bange; kubanga mmanyi ennaku yaabwe.’ (Okuva 3:7) Bwe nnategeera nti Katonda musaasizi era nti wa kisa, nnasalawo okutandika okumuweereza. Mu 1998, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa.
Nga wayiseewo omwaka nga gumu oluvannyuma lw’okubatizibwa, nnagenda okutendekebwa mu tendekero lya bamuzibe kumpi n’ekibuga Escuintla. Ow’oluganda aweereza ng’omukadde mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa yakiraba nti kyali kinzibuwalira nnyo okugenda mu kusinza nga nva mu kabuga k’ewaffe. Okusobola okutuuka mu kifo ekyali okumpi Abajulirwa ba Yakuwa we baasinzizanga, nnalina okuyita mu nsozi era ekyo tekyabanga kyangu. Omukadde oyo yannyamba n’antwala mu maka g’Abajulirwa ba Yakuwa mu kibuga Escuintla basobole okuntwalanga mu nkuŋŋaana. N’okutuusa leero, ab’omu maka ago bakyandabirira ng’omuntu waabwe ddala.
Bwe ntandika okutottola ebintu ebirungi ab’oluganda mu kibiina bye bankoledde, siyinza kubimalayo. Ekyo kindeetedde okuba omukakafu nti Abajulirwa ba Yakuwa be Bakristaayo ab’amazima.—Yokaana 13:34, 35.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Sikyawulira nti sirina mugaso era kati nnina essuubi. Mu butuufu obulamu bwange bulina ekigendererwa. Olw’okuba ndi mubuulizi ow’ekiseera kyonna, kati ebirowoozo byange mbissa ku kuyigiriza abantu abalala amazima agali mu Bayibuli so si ku bizibu byange. Nnina enkizo ey’okuweereza ng’omukadde mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Ate era ntera okuweebwa enkizo ey’okuyigiriza mu nkuŋŋaana zaffe ennene, ezibaamu abantu nkumi na nkumi.
Mu 2010, nnagenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza (kati eriyitibwa Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka) eryali mu El Salvador. Okutendekebwa kwe nnafuna mu ssomero eryo kunnyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange mu kibiina. Ekyo kyannyamba okukitegeera nti Yakuwa anjagala nnyo era antwala nga ndi wa muwendo, era nti asobola okukozesa omuntu yenna.
Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Kati nnina essanyu erya nnamaddala, era kati nsobola okuyamba abalala wadde nga mu kusooka nnali sirowooza nti kisoboka.
a Okumanya ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona, laba essuula 11 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.