Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Olubereberye—I
“OLUBEREBERYE” kitegeeza “ensibuko,” oba “okuzaalibwa.” Erinnya lino lisaanira ekitabo ekiraga engeri obwengula gye bwajjawo, engeri ensi gye yateekebwateekebwamu abantu okusobola okubeerako, n’engeri omuntu gye yatandika okubeerako. Ekitabo kino Musa yakiwandiikira mu ddungu lye Sinaayi, oboolyawo n’akimaliriza mu 1513 B.C.E.
Ekitabo ky’Olubereberye kitutegeeza ebikwata ku nsi ng’Amataba tegannabaawo, n’ebyaddirira oluvannyuma lwago ng’omulembe omuggya gutandika, era n’engeri Yakuwa Katonda gye yakolaganamu ne Ibulayimu, Isaaka, Yakobo ne Yusufu. Ekitundu kino kigenda kulaga ebikulu ebiri mu Olubereberye 1:1–11:9, okutuuka ku kiseera Yakuwa we yatandikira okolagana ne Ibulayimu.
ENSI BWE YALI NG’AMATABA TEGANNABAAWO
Ekigambo “olubereberye,” ekisooka mu kitabo ky’Olubereberye kyogera ku buwumbi n’obuwumbi bw’emyaka emabega. Ebyaliwo mu “nnaku” omukaaga ez’okutonda oba ekiseera eky’enjawulo eky’emirimu gy’okutonda, byawandiikibwa mu ngeri omuntu gye yandibirabyemu singa yaliwo ku nsi. Ku lunaku olw’omukaaga, Katonda yatonda omuntu. Wadde nga mu kabanga katono abantu baafiirwa Olusuku lwa Katonda olw’obujeemu bwabwe, Yakuwa alina kye yasuubiza. Obunnabbi obusookera ddala obwa Baibuli bwogera ku “zzadde,” erijja okumalawo ebyava mu kibi era libetente Setaani ku mutwe.
Mu byasa 16 ebyaddirira, Setaani yasobola okuwugula abantu bonna okuva ku Katonda ng’oggyeko abeesigwa abatono ennyo nga, Abeeri, Enoka, ne Nuuwa. Ng’ekyokulabirako, Kayini yatta muganda we Abeeri eyali omutuukirivu. ‘Mu biro ebyo mwe baasookera okukoowoolanga erinnya lya Yakuwa,’ kirabika mu ngeri etyoboola. Ng’ayoleka omwoyo ogw’ettemu ogwaliwo mu kiseera ekyo, Lameka yayiiya ekitontome ekikwata ku ngeri gye yattamu omuvubuka nga yeekwasa nti yali yeetaasa. Embeera yeeyongera okwonooneka bamalayika abajeemu bwe baawasa abakazi era ne babazaalamu abaana abawagguufu era abakambwe ennyo abaali bayitibwa Abanefuli. Kyokka, Nuuwa omwesigwa yazimba eryato, n’alabula abantu n’obuvumu ku Mataba agaali gagenda okujja, era ye n’ab’ennyumba ye ne bawona okuzikirizibwa.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:16—Katonda yaleetawo atya ekitangaala ku lunaku olusooka bwe kiba nti ebyaka byakolebwa ku lunaku olw’okuna? Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘okukola’ mu lunyiriri 16 si kye kimu n’ekigambo ‘okutonda’ ekikozesebwa mu Olubereberye essuula 1, olunyiriri 1, 21, ne 27. “Eggulu” eryalimu ebyaka lyali lyatondebwa dda nga ‘n’olunaku olusooka’ terunnatandika. Kyokka ekitangaala kyabyo kyali tekituuka ku nsi. Ku lunaku olwasooka ‘wajjawo obutangaavu,’ kubanga ekitangaala kyayita mu bire ne kituuka ku nsi. Ensi eyeetooloola yatandika okubeerako obudde bw’emisana n’obw’ekiro. (Olubereberye 1:1-3, 5) Ensibuko z’ekitangaala era zaasigala nga tezirabika ku nsi. Kyokka ku lunaku olw’okuna olw’okutonda, wajjawo enkyukakyuka ey’amaanyi. Enjuba, omwezi n’emmunyeenye ‘byatandika okwaka ku nsi.’ (Olubereberye 1:17) “Katonda yabikola” mu ngeri nti, kati byali bisobola okulabibwa ku nsi.
3:8—Katonda yayogeranga ne Adamu butereevu? Baibuli eraga nti Katonda bwe yayogeranga n’abantu, emirundi mingi yayitiranga mu malayika. (Olubereberye 16:7-11; 18:1-3, 22-26; 19:1; Ekyabalamuzi 2:1-4; 6:11-16, 22; 13:15-22) Omwogezi wa Yakuwa omukulu yali Omwana we omu yekka, ayitibwa “Kigambo.” (Yokaana 1:1) Kirabika Katonda yayogeranga ne Adamu ne Kaawa okuyitira mu “Kigambo.”—Olubereberye 1:26-28; 2:16; 3:8-13.
3:17—Mu ngeri ki ensi gye yakolimirwamu, era kumala bbanga ki? Okukolimira ensi kyali kitegeeza nti kati kyandibadde kizibu nnyo okugirimako. Ebyava mu nsi eyakolimirwa n’ebaako amaggwa n’amatovu, byabonyaabonya nnyo bazzukulu ba Adamu, ne kiba nti Lameka taata wa Nuuwa yatuuka n’okwogera ku ‘kutegana okw’emikono gyabwe olw’ensi Mukama gye yakolimira.’ (Olubereberye 5:29) Oluvannyuma lw’Amataba, Yakuwa yawa Nuuwa ne batabani omukisa ng’abagamba ekigendererwa Kye eky’okujjuza ensi. (Olubereberye 9:1) Kirabika ekikolimo kyakoma awo.—Olubereberye 13:10.
4:15—Mu ngeri ki Yakuwa gye ‘yassa akabonero ku Kayini’? Baibuli teraga nti akabonero oba akalambe kaatekebwa ku mubiri gwa Kayini mu ngeri yonna. Kirabika akabonero kaali kiragiro ekyali kimanyiddwa era ekyakwatibwanga abalala nga kyagendererwa okuziyiza abalala okumutta nga bawoolera eggwanga.
4:17—Kayini yajja wa omukazi? Adamu ‘yazaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.’ (Olubereberye 5:4) N’olwekyo, Kayini yatwala omu ku bannyina oba omu ku baana ba baganda be nga mukazi we. Oluvannyuma, Etteeka Katonda lye yawa Abaisiraeri lyagaana omuntu okuwasa oba okufumbirwa gw’alinako oluganda.—Eby’Abaleevi 18:9.
5:24—Mu ngeri ki Katonda gye ‘yatwala Enoka’? Kirabika Enoka yali mu kabi ak’okuttibwa, naye Katonda teyakkiriza balabe be kumubonyaabonya. Omutume Pawulo yawandiika: “Enoka yatwalibwa obutalaba kufa.” (Abaebbulaniya 11:5) Kino tekitegeeza nti Katonda yatwala Enoka mu ggulu abeere eyo. Yesu Kristo ye muntu eyasooka okulinnya mu ggulu. (Yokaana 3:13; Abaebbulaniya 6:19, 20) Enoka ‘okutwalibwa obutalaba kufa’ kiyinza okuba nga kitegeeza nti Katonda yamwebasa oluvannyuma n’akomya obulamu bwe. Mu mbeera ng’ezo, Enoka teyabonaabona oba ‘okulaba okufa,’ mu mikono gy’abalabe be.
6:6—Mu ngeri ki gye kiyinza okugambibwa nti Yakuwa ‘yejjusa’ kubanga yakola omuntu? Wano ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘okwejjusa’ kitegeeza okukyusa endowooza oba ekigendererwa. Yakuwa atuukiridde n’olwekyo teyakola nsobi okutonda omuntu. Kyokka yakyusa endowooza ye ku bikwata ku mulembe omubi ogwaliwo ng’Amataba tegannabaawo. Yakuwa yakyusa endowooza ye n’asalawo okuzikiriza omuntu gwe yatonda olw’okuba teyasanyukira bubi bwe. Eky’okuba nti yawonyawo abantu abamu kiraga nti yejjusa olw’abo bokka abaali ababi.—2 Peetero 2:5, 9.
7:2—Kiki ekyasinziirwako okwawulawo ensolo ennongoofu n’ezitali nnongoofu? Kya lwatu, okuwaayo ssaddaaka mu kusinza kwe kwasinziirwangako okwawulawo ebirongoofu n’ebitali birongoofu so si ebintu ebyandiriiriddwa oba ebitandiriiriddwa. Ng’Amataba tegannabaawo, abantu tebaalyanga nnyama ya nsolo. Ensolo ezimu okutwalibwa okuba “ennongoofu” n’endala ‘obutaba nnongoofu’ kyajjawo wansi w’Amateeka ga Musa, era kyakoma amateeka ago bwe gaakoma. (Ebikolwa 10:9-16; Abaefeso 2:15) Kirabika Nuuwa yali amanyi ekiweebwayo ekyali kisaanira mu kusinza Yakuwa. Amangu ddala nga yaakava mu lyato, ‘yazimbira Mukama ekyoto; n’alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu n’aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto.’—Olubereberye 8:20.
7:11—Amazzi agaaleeta Amataba gaava wa? Ku “lunaku” olw’okubiri olw’okutonda, ebbanga bwe lyali likolebwa, waaliwo amazzi “wansi w’ebbanga” n’amazzi ‘waggulu w’ebbanga.’ (Olubereberye 1:6, 7) Amazzi agaali “wansi” geego agaali ku nsi. Amazzi agaali “waggulu” ge mazzi amangi ennyo agaali waggulu w’ensi. Amazzi gano ge gaayiika ku nsi mu biseera bya Nuuwa.
Bye Tuyigamu:
1:26. Olw’okuba baakolebwa mu kifaananyi kya Katonda, abantu balina obusobozi bw’okwolesa engeri ze. Mazima ddala tusaanidde okufuba okukulaakulanya engeri ng’okwagala, obusaasizi, ekisa, obulungi, n’obugumiikiriza mu ngeri eyo twolese engeri z’Omutonzi waffe.
2:22-24. Obufumbo nteekateeka ya Katonda. Obufumbo bwa lubeerera era butukuvu. Omusajja gwe mutwe gw’amaka.
3:1-5, 16-23. Essanyu lyaffe lyesigamye ku kugondera obufuzi bwa Yakuwa mu bulamu bwaffe kinnoomu.
3:18, 19; 5:5; 6:7; 7:23. Ekigambo kya Yakuwa bulijjo kituukirira.
4:3-7. Yakuwa yasanyukira ekiweebwayo kya Abeeri kubanga yali musajja mutuukirivu eyalina okukkiriza. (Abaebbulaniya 11:4) Ku luuyi olulala, ng’ebikolwa bye bwe byalaga, Kayini teyalina kukkiriza. Ebikolwa bye byali bibi, nga byoleka obuggya, obukyayi, n’ettemu. (1 Yokaana 3:12) Ate era, oboolyawo yafumiitiriza kitono nnyo ku kiweebwayo kye era yakiwaayo lwa kutuukiriza butuukiriza mukolo. Ssaddaaka zaffe ez’okutendereza Yakuwa tezandivudde ku ntobo y’emitima gyaffe, era ne twoleka endowooza ennuŋŋamu n’ebikolwa ebirungi?
6:22. Wadde nga kyatwala emyaka mingi okuzimba eryato, Nuuwa yakolera ddala nga Katonda bwe yamulagira. N’olwekyo, Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonawo mu Mataba. Yakuwa ayogera naffe okuyitira mu Kigambo kye era atuwa obulagirizi okuyitira mu kibiina kye. Ffe tuganyulwa bwe tumuwuliriza era ne tumugondera.
7:21-24. Yakuwa tazikiriza batuukirivu wamu n’ababi.
OLULYO LW’OMUNTU LUYINGIRA OMULEMBE OMUGGYA
Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’ensi eyaliwo ng’Amataba teganabaawo, olulyo lw’omuntu lwayingira omulembe omuggya. Abantu bakkirizibwa okutandika okulya ennyama kyokka ne balagirwa okwewala omusaayi. Yakuwa yateekawo ekibonerezo eky’okutta omuntu atta munne era n’ateekawo endagaano eya musoke ng’asuubiza obutaddamu kuleeta Mataba nate. Batabani ba Nuuwa abasatu baafuuka bajjajja b’olulyo lw’omuntu lwonna, kyokka muzzukulu we Nimuloodi n’aba ‘muyizzi w’amaanyi mu maaso ga Mukama.’ Mu kifo ky’okubuna ensi bagijjuze, abantu baasalawo okuzimba ekibuga ekyali kiyitibwa Babeeri era n’okuzimba omunaala okwefunira erinnya. Ebigendererwa byabwe byagwa butaka Yakuwa bwe yatabulatabula olulimi lwabwe era n’abasaasaanya mu nsi.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
8:11—Bwe kiba nti emiti gyayonoonebwa Amataba, ejjiba lyaggya wa ekikoola ky’omuzeyituuni? Kiyinza okunnyonnyolwa mu ngeri bbiri. Olw’okuba omuzeyituuni gugumiikiriza embeera enzibu, guyinza okuba nga gwasigala wansi mu mazzi nga mulamu okumala emyezi egiwerako mu kiseera ky’Amataba. Amazzi bwe gaakendeera, omuzeyituuni ogwali gubbidde gwatandika okutojjera. Ate era ekikoola ky’omuzeyituuni ejjiba lye kyaleetera Nuuwa liyinza okuba nga lyakiggya ku mutunsi ogwali gulose oluvannyuma lw’amazzi g’amataba okukendeera.
9:20-25—Lwaki Nuuwa yakolimira Kanani? Kirabika Kanani alina ekintu eky’obugwenyufu kye yakola ku jjajjaawe. Wadde nga taata we Kaamu yakiraba, teyagezaako kukiziyiza naye kirabika yagenda asaasaanya olugambo. Kyokka, batabani ba Nuuwa abalala ababiri, Seemu ne Yafeesi, baabikka ku taata waabwe. Olw’ensonga eno baawebwa omukisa, kyokka Kanani yakolimirwa, era Kaamu yayisibwa bubi olw’okukolimirwa kwa bazukkulu be.
10:25—Ensi ‘yagabanyizibwamu’ etya mu biseera bya Peregi? Peregi yaliwo okuva mu 2269 okutuuka 2030 B.C.E. ‘Mu nnaku ze’ Yakuwa mwe yatabuliratabulira olulimi lw’abazimbi e Babeeri n’abasaasaanya mu nsi yonna. (Olubereberye 11:9) N’olwekyo “ensi [oba omuwendo gw’abantu ku nsi] gwagabanyizibwamu” mu biseera bya Peregi.
Bye Tuyigamu:
9:1; 11:9. Tewaliwo nteekateeka oba kufuba kwa bantu ebiyinza okuziyiza ekigendererwa kya Yakuwa.
10:1-32. Essuula 5 ne 10 eziraga olunyiriri lw’obuzaale ng’Amataba tegannabaawo era n’oluvannyuma lwago, zikwataganya olulyo lw’omuntu lwonna n’omuntu eyasooka Adamu, okuyitira mu batabani ba Nuuwa abasatu. Abaasuli, Abakaludaaya, Abaebbulaniya, Abasuuli n’amawanga agamu aga Buwalabu, baava mu Seemu. Abaesiyopya, Abamisiri, Abakanani, amawanga agamu okuva mu Africa ne Buwalabu baava mu Kaamu. Abayindi n’amawanga g’omu Bulaaya baava mu Yafeesi. Abantu bonna balina oluganda ku bannaabwe era bonna bazaalibwa nga benkana mu maaso ga Katonda. (Ebikolwa 17:26) Amazima gano galina okubaako kye gatukolako ku ngeri gye tutunuuliramu era gye tuyisaamu abalala.
Ekigambo kya Katonda Kirina Amaanyi
Ekitundu ekisooka eky’ekitabo ky’Olubereberye kirimu ebyafaayo ebituufu ddala ebikwata ku lulyo lw’omuntu. Mu Byawandikibwa bino tutegeera ekigendererwa kya Katonda eky’okuteeka omuntu ku nsi. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okulaba nti tewaliwo kufuba kw’abantu, ng’okwa Nimuloodi, okuyinza okuziyiza okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda!
Mu kusoma Baibuli okwa buli wiiki nga weetekerateekera Essomero ly’Omulimu gwa Katonda ojja kuyambibwa okutegeera ebimu ku bitundu ebizibu eby’omu Byawandiikibwa bw’oneekenneenya ekitundu ekigamba nti: “Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu.” Ebyo ebiri wansi w’omutwe: “Bye Tuyigamu” bijja kukulaga engeri gy’oyinza okuganyulwa mu kusoma Baibuli okwa buli wiiki. We kyetaagisa era biyinza okuba mu kitundu ky’ebyetaago by’ekibiina mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza. Mazima ddala Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola n’amaanyi mu bulamu bwaffe.—Abaebbulaniya 4:12.