Engeri y’Okufuna Essanyu mu Maka
Okukolagana Obulungi ne Bazadde ba Munno
Jennya agamba: Maama wa Ryan teyakwatibwanga nsonyi kunnenya. Era ekyo kye kyatuuka ku Ryan bwe twakyalira bazadde bange. Mu butuufu, nnali sibalabangako nga boogera bubi nnyo bwe batyo eri omuntu omulala yenna! Okukyalira abazadde ab’enjuyi zombi kyafuuka kizibu gye tuli.
Ryan agamba: Maama wange talowoozaangako nti waliwo omuntu yenna asaanira abaana be, n’olwekyo okuva lwe twafumbiriganwa yatandikirawo okunoonya ensobi mu Jenny. Era ne bazadde ba Jenny bwe batyo bwe bampisanga—nga buli kiseera baŋŋamba nti sisaanira muwala waabwe. Buli lwe kyabangawo nga nze ne Jenny buli omu awolereza bazadde be era nga buli omu anenya munne.
OBUKUUBAGANO wakati wo ne bazadde ba munno buyinza okulabika ng’obw’olusaago, naye mu butuufu buzibu bwa maanyi. Reena, omukyala abeera mu India agamba nti, “Okumala emyaka mingi nnyazaala wange yeeyingizanga mu nsonga z’amaka gaffe. Emirundi egisinga obungi, obusungu nnabumaliranga ku mwami wange kubanga ekyo nnali sisobola kukikola nnyazaala wange. Kino kyali ng’ekiraga nti yalinanga okusalawo okunsanyusa oba okusanyusa nnyina.”
Lwaki abazadde abamu beeyingiza mu nsonga z’abaana baabwe abafumbo? Jenny, eyayogeddwako ku ntandikwa, ayogera ku nsonga eyinza okuba nga y’ebaviirako okukola ekyo. Agamba, “Muli bayinza okuwulira nti omuntu akyali omuto era atalina bumanyirivu tasobola kulabirira bulungi mutabani waabwe oba muwala waabwe.” Dilip, bba wa Reena, agattako nti, “Abazadde ababa beerekereza ebintu ebitali bimu okusobola okukuza omwana waabwe bayinza okuwulira ng’ababulidde. Era bayinza okuba nga beeraliikirira nti mutabani waabwe oba muwala waabwe tamanyi bulungi ngeri ya kuddukanyaamu maka.”
Ku luuyi olulala, oluusi abafumbo be bayita bazadde baabwe okuyingira mu nsonga zaabwe. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Michael ne Leanne, abafumbo ababeera mu Australia. Michael agamba nti “Leanne yakulira mu maka agali obumu nga buli omu tatya kwogera kimuli ku mutima. N’olwekyo, nga tumaze okufumbiriganwa, yeebuuzanga ku kitaawe ku nsonga ze twabanga tulina okwesalirawo ffekka. Kitaawe yalina amagezi amalungi ge yatuwanga, naye kyampisanga bubi olw’okuba nti mu kifo ky’okuneebuuzaako yeebuuzanga ku kitaawe!”
Mu butuufu, obukuubagano obubaawo wakati wo ne bazadde ba munno busobola okuleeta ebizibu mu bufumbo. Naawe oli mu mbeera efaananako bw’etyo? Nkolagana ki gy’olina ne bazadde ba munno mu bufumbo era naye alina nkolagana ki n’ababo? Lowooza ku buzibu buno obuyinza okubaawo era n’ekyo ky’oyinza okukola.
OBUZIBU 1: Munno mu bufumbo ayagala nnyo okubeera ne bazadde be. Luis abeera mu Spain agamba nti, “Mukyala wange yali awulira nti singa tetubeera kumpi ne bazadde be, yandibadde ng’ababuulidde. Ku luuyi olulala, bwe twazaala omwana omulenzi, bazadde bange batukyaliranga kyenkana buli lunaku, era ekyo kyayisanga bubi mukyala wange era kyatuleeteranga obutakkaanya.”
Ensonga Enkulu: Bw’eba eyogera ku nteekateeka y’obufumbo, Baibuli egamba nti “omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.” (Olubereberye 2:24) Okubeera “omubiri gumu” kisingawo ku kubeera obubeezi awamu. Mazima ddala, kino kitegeeza nti omwami n’omukyala baba batandiseewo amaka amaggya era nga ge balina okusooka okulowoozaako so si amaka mwe baava. (1 Abakkolinso 11:3) Kya lwatu, omwami n’omukyala bombi baba bakyalina okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe, era ng’oluusi kino kizingiramu okubafaako. (Abeefeso 6:2) Watya singa engeri munno gy’afaayo ku bazadde be ekuleetera okuwulira nti gwe takufaako?
Ky’oyinza okukola: Beera n’endowooza ennuŋŋamu. Ddala munno mu bufumbo akolagana nnyo ne bazadde be oba kyandiba nti ggwe atalina nkolagana ng’eyo ne bazadde bo? Bwe kiba bwe kityo, kyandiba nti engeri gye wakuzibwamu erina ky’ekola ku ngeri gy’otunuuliramu ensonga eyo? Wandiba ng’olina obuggya?—Engero 14:30; 1 Abakkolinso 13:4; Abaggalatiya 5:26.
Kyetaagisa okwekebera mu bwesimbu okusobola okuddamu ebibuuzo ng’ebyo. Naye kikulu okukikola. Bwe kiba nti ensonga ezikwata ku bazadde ze zibaleetera okuba n’obutategeeragana, ekizibu ekyo kiba kikwata ku mmwe ng’abafumbo so si ku bazadde bammwe.
Ebizibu bingi ebibaawo mu bufumbo biva ku kuba nti abafumbo baba n’endowooza ez’enjawulo ku nsonga ezimu. Gezaako okwessa mu bigere bya munno. (Abafiripi 2:4; 4:5) Ekyo kyennyini Adrián abeera mu Mexico kye yakola. Agamba bw’ati, “Mukyala wange yakulira mu maka agataali malungi, n’olwekyo nneewala okukolagana ennyo ne bazadde be. N’ekyavaamu, nnabeekutulirako ddala okumala emyaka egiwerako. Kino kyaleetawo obutakkaanya mu bufumbo bwaffe kubanga mukyala wange yali ayagala nnyo okukolagana ne bazadde be, naddala maama we.”
Oluvannyuma lw’ekiseera, Adrián yatunuulira ensonga eyo mu ngeri ennuŋŋamu. Agamba nti, “Wadde nga nnali nkimanyi nti okukolagana ennyo ne bazadde be kiyinza okubaako ekikyamu kye kikola ku ndowooza ye, naye era nnakiraba nti okubeeyawulirako ddala kisobola okuleeta ebizibu. N’olwekyo, ngezezaako okuzzaawo enkolagana ennungi ne bazadde ba mukyala wange.”b
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Ggwe ne munno mu bufumbo buli omu awandiike ky’alowooza nti kye kisinga okuvaako obutakkaanya bwe mulina olwa bazadde bammwe. Bwe kiba kisoboka, buli omu atandike ng’agamba nti “Ndowooza . . .” Oluvannyuma muwaanyise empapula ze muwandiiseeko. Nga mukolera wamu, mulowooze ku ngeri gye muyinza okugonjoolamu ebizibu ebyo buli omu by’awandiise.
OBUZIBU 2: Buli kiseera bazadde bammwe beeyingiza mu nsonga z’amaka gammwe nga babawa amagezi ge mutabasabye. Nelya abeera mu Kazakhstan agamba nti, “Emyaka omusanvu egyasooka mu bufumbo bwaffe twabeeranga mu maka ga bazadde b’omwami wange. Buli kiseera twafunanga obutakkaanya ku ngeri y’okukuzaamu abaana baffe, okufumba, n’okuyonja awaka. Kino nnakitegeezaako omwami wange ne nnyazaala wange, naye obutakkaanya bweyongera bweyongezi!”
Ensonga Enkulu: Bw’oyingira obufumbo oba tokyali wansi wa buyinza bwa bazadde bo. Mu kifo ky’ekyo Baibuli egamba nti “omutwe gw’omusajja ye Kristo; ate omutwe gw’omukazi ye musajja”—ng’ono ye mwami we. (1 Abakkolinso 11:3) Wadde kiri kityo, nga bwe twalabye waggulu, bombi omwami n’omukyala basaanidde okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe. Mu butuufu, Engero 23:22 lugamba nti: “Owuliranga kitaawo eyakuzaala, so tonyoomanga nnyoko ng’akaddiye.” Naye watya singa bazadde bo—oba aba munno mu bufumbo—basukka we balina okukoma era ne bagezaako okubakakaatikako endowooza zaabwe?
Ky’oyinza okukola: Gezaako okutegeera ensonga lwaki bazadde bammwe beeyingiza mu nsonga z’amaka gammwe. Ryan eyayogeddwako waggulu, agamba nti, “Oluusi abazadde baba baagala okulaga nti bakyali ba mugaso eri abaana baabwe.” Abazadde okweyingiza mu nsonga z’abaana baabwe bayinza okuba nga tebakikola mu bugenderevu era nga kino kiyinza okugonjoolwa nga mukolera ku kubuulirira okuli mu Baibuli okugamba nti, “mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne.” (Abakkolosaayi 3:13) Naye watya singa bazadde bammwe beeyongera okweyingiza mu nsonga z’amaka gammwe ne kibaviirako okufuna obutakkaanya?
Abafumbo abamu bataddewo ekkomo ku ngeri gye bakolaganamu ne bazadde baabwe. Naye kino tekitegeeza nti mulina okubakambuwalira nga mubalaga we balina okukoma.c Emirundi egisinga obungi, kiba kyetaagisa okukiraga mu bikolwa nti munno mu bufumbo y’atwala ekifo ekisooka mu bulamu bwo. Ng’ekyokulabirako, omwami abeera mu Japan ayitibwa Masayuki agamba nti: “Bazadde bo ne bwe bakuwa amagezi, togakkiririzaawo. Kijjukire nti, muzimba amaka gammwe amaggya. N’olwekyo, sooka weebuuze ku munno nga tonnakolera ku magezi ago.”
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Yogera ne munno mu bufumbo ku nsonga zennyini ezikwata ku bufumbo bwammwe bazadde bammwe ze beeyingizaamu ne kibaleetera okufuna obutakkaanya. Mwembi muwandiike ebyo bye muyinza okukola okubakugira okweyingiza mu nsonga z’amaka gammwe, mubinywerereko, era mweyongere okubassaamu ekitiibwa.
Obutakkaanya obubaawo wakati w’abafumbo ne bazadde baabwe buyinza obutaba bwa maanyi singa abafumbo bategeera ekigendererwa kya bazadde baabwe era ne batabukkiriza kubaleetera nnyombo mu maka gaabwe. Ku nsonga eno, Jenny agamba nti: “Emirundi egimu nze n’omwami wange bwe twayogeranga ku nsonga ezikwata ku bazadde baffe, kyatuleeteranga okukaayana era kino kyavanga ku kuba nti buli omu yayogeranga ku nsobi za bazadde ba munne. Naye oluvannyuma, twasalawo okugonjoolamu ekizibu ekiba kizzeewo mu kifo ky’okwogera ku nsobi za bazadde baffe nga buli omu agenderera kulumya munne. N’ekivuddemu, tweyongedde okuba n’enkolagana ey’okulusegere ng’omwami n’omukyala.”
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya gakyusiddwa.
b Kyo kituufu nti singa abazadde bakola ekibi ekya maanyi—kyokka ne bagaana okwenenya—kiyinza okwonoona enkolagana yaabwe n’ab’omu maka gaabwe.—1 Abakkolinso 5:11.
c Oluusi kiyinza okukwetaagisa okubuulira bazadde bo oba aba munno mu bufumbo ekikuli ku mutima. Bwe kiba bwe kityo, yogera nabo mu ngeri ey’obukakkamu era ng’obassaamu ekitiibwa.—Engero 15:1; Abeefeso 4:2; Abakkolosaayi 3:12.
WEEBUUZE . . .
▪ Birungi ki bye ndaba mu bazadde ba munnange mu bufumbo?
▪ Nnyinza ntya okussa ekitiibwa mu bazadde bange naye era ne nsigala nga nfaayo ku munnange mu bufumbo?