EKITUNDU EKY’OKUSOMA 23
“Erinnya Lyo Litukuzibwe”
“Ai Yakuwa, erinnya lyo libeerawo emirembe n’emirembe.”—ZAB. 135:13.
OLUYIMBA 10 Tendereza Yakuwa Katonda Waffe!
OMULAMWAa
1-2. Nsonga ki Abajulirwa ba Yakuwa ze batwala okuba nga nkulu nnyo?
ENSONGA ekwata ku bufuzi bwa Katonda n’eyo ekwata ku kutukuzibwa kw’erinnya lye ffenna zitukwatako. Abajulirwa ba Yakuwa twagala nnyo okwogera ku nsonga ezo enkulu ennyo.
2 Ffenna tukimanyi nti erinnya lya Katonda lirina okuggibwako ekivume. Ate era tukimanyi nti obufuzi bwa Yakuwa oba engeri gy’afugamu erina okukakasibwa nti y’esingayo obulungi. N’olwekyo, ensonga ezo zombi nkulu nnyo. Naye ensonga ezo zirina akakwate? Yee.
3. Erinnya Yakuwa lizingiramu ki?
3 Erinnya Yakuwa lizingiramu ebintu byonna ebikwata ku Katonda waffe, nga mw’otwalidde n’engeri gy’afugamu. N’olwekyo bwe tugamba nti okuggya ekivume ku linnya lya Yakuwa ye nsonga esinga obukulu, era tuba tugamba nti obufuzi bwa Yakuwa bulina okukakasibwa nti bwe busingayo obulungi. Erinnya lya Yakuwa likwatagana butereevu n’engeri gy’afugamu ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna.—Laba akasanduuko “Ebizingirwa mu Nsonga Enkulu Ennyo.”
4. Zabbuli 135:13 woogera watya ku linnya lya Katonda, era bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
4 Erinnya Yakuwa lya njawulo nnyo. (Soma Zabbuli 135:13.) Kiki ekifuula erinnya lya Katonda okuba ekkulu ennyo? Mu ngeri ki gye lyasooka okuleetebwako ekivume? Katonda alitukuza atya? Tuyinza tutya okuyambako mu kutukuza erinnya eryo? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.
OBUKULU BW’ERINNYA
5. Kiki abamu kye bayinza okwebuuza bwe bawulira nti erinnya lya Katonda lirina okutukuzibwa?
5 “Erinnya lyo litukuzibwe.” (Mat. 6:9) Yesu yalaga nti ekyo kye kimu ku bintu ebisinga obukulu bye tusaanidde okusaba. Naye ebigambo bya Yesu ebyo bitegeeza ki? Okutukuza ekintu kitegeeza okukirongoosa oba okukifuula ekiyonjo. Kyokka omuntu ayinza okwebuuza nti, ‘Erinnya lya Yakuwa si lirongoofu oba si liyonjo?’ Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, twetaaga okulowooza ku ekyo ekizingirwa mu linnya.
6. Kiki ekifuula erinnya okuba ekkulu?
6 Erinnya si bigambo bugambo ebiwandiikibwa ku lupapula oba ebyatulwa. Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku linnya: “Okulondawo erinnya eddungi kisinga okulondawo eby’obugagga ebingi.” (Nge. 22:1; Mub. 7:1) Lwaki erinnya kkulu nnyo bwe lityo? Kubanga likiikirira omuntu ky’ali, kwe kugamba, ekyo abalala kye balowooza ku nnannyini linnya eryo. N’olwekyo, engeri erinnya gye liwandiikibwamu ku lupapula oba engeri gye lyatulwamu si kye kikulu; ekikulu ky’ekyo ekijjira abantu mu birowoozo bwe basoma oba bwe bawulira erinnya eryo.
7. Abantu baleeta batya ekivume ku linnya lya Katonda?
7 Abantu bwe boogera eby’obulimba ku Yakuwa, baba baleetera abalala okumulowoozaako obubi. Bwe baleetera abalala okumulowoozaako obubi, baba baleese ekivume ku linnya lye. Erinnya lya Katonda lyasooka okwogerwako obubi mu lusuku Edeni, ne kiviirako abantu okumulowoozaako obubi. Ka tulabe bye tuyigira ku ebyo ebyaliwo.
ENGERI ERINNYA LYA KATONDA GYE LYASOOKA OKULEETEBWAKO EKIVUME
8. Biki Adamu ne Kaawa bye baali bamanyi, era bibuuzo ki ebijjawo?
8 Adamu ne Kaawa baali bamanyi erinnya lya Katonda, n’amazima agakwata ku nnannyini linnya eryo. Ng’ekyokulabirako, baali bakimanyi nti ye Mutonzi, ye yabawa obulamu, olusuku olulungi, n’omubeezi. (Lub. 1:26-28; 2:18) Naye beeyongera okufumiitiriza ku ebyo byonna Yakuwa bye yali abakoledde? Beeyongera okwagala n’okusiima nnannyini linnya Yakuwa? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo byeyoleka omulabe wa Katonda bwe yabakema.
9. Okusinziira ku Olubereberye 2:16, 17 ne 3:1-5, kiki Yakuwa kye yagamba abafumbo abaasooka, era Sitaani yanyoolanyoola atya amazima?
9 Soma Olubereberye 2:16, 17 ne 3:1-5. Ng’ayitira mu musota, Sitaani yabuuza Kaawa nti: “Ddala Katonda yagamba nti temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” Ekibuuzo ekyo kyalimu obulimba obwekusifu obwali ng’obutwa obuteekeddwa mu kintu. Katonda yali abagambye nti basobola okulya ku miti gyonna, okuggyako omuti gumu gwokka. Adamu ne Kaawa baalina emiti mingi egy’enjawulo gye baali basobola okulyako. (Lub. 2:9) Mazima ddala Yakuwa mugabi. Naye Katonda yali agaanye Adamu ne Kaawa okulya ku muti gumu gwokka. N’olwekyo, ekibuuzo Sitaani kye yabuuza Kaawa kyali kinyoolanyoola amazima. Sitaani yalinga alaga nti Katonda mukodo. Kaawa ayinza okuba nga yeebuuza, ‘Kyandiba nti waliwo ekintu ekirungi Katonda ky’atayagala kumpa?’
10. Sitaani yasiiga atya obutereevu erinnya lya Katonda enziro, era biki ebyavaamu?
10 Mu kiseera ekyo, Kaawa yali akyatwala Yakuwa ng’Omufuzi we. Yabuulira Sitaani ekiragiro Katonda kye yali abawadde. Era yagamba nti tebaalina wadde okukwata ku muti ogwo. Kaawa yali amanyi ekyo Katonda kye yabagamba nti bwe bandijeemye kyandibaviiriddeko okufa. Naye Sitaani yamugamba nti: “Okufa temujja kufa.” (Lub. 3:2-4) Sitaani kati yali ayogera butereevu eby’obulimba ku Katonda. Yali asiiga butereevu erinnya lya Katonda enziro bwe yagamba Kaawa nti Katonda mulimba. Bwe kityo Sitaani yafuuka omulyolyomi, oba oyo awaayiriza. Kaawa yalimbibwa n’akkiriza ebyo Sitaani bye yamugamba. (1 Tim. 2:14) Yeesiga Sitaani okusinga Yakuwa. Ekyo kyakifuula kyangu eri Kaawa okusalawo mu ngeri embi ennyo. Yasalawo okujeemera Yakuwa. Yalya ku bibala Yakuwa bye yali yamugaana okulyako. Oluvannyuma yawa ne Adamu naye n’alya.—Lub. 3:6.
11. Kiki bazadde baffe abaasooka kye bandikoze, naye kiki kye baalemererwa okukola?
11 Lowooza ku ekyo Kaawa kye yali asobola okugamba Sitaani. Yandimugambye nti: “Ggwe sikumanyi, naye Yakuwa Kitange mmumanyi, mmwagala, era mmwesiga. Ye yawa Adamu nange buli kintu kye tulina. Oyinza otya okumwogerako obubi bw’otyo? Nviira genda!” Nga kyandisanyusizza nnyo Yakuwa okuwulira muwala we ng’ayogera ebigambo ebyo! (Nge. 27:11) Naye Kaawa teyalina kwagala okutajjulukuka eri Yakuwa, era ne Adamu naye teyakulina. Olw’okuba tebaalina kwagala ng’okwo eri Kitaabwe, Adamu ne Kaawa baalemererwa okulwanirira erinnya lya Yakuwa lireme kusiigibwa nziro.
12. Sitaani yaleetera atya Kaawa okutandika okubuusabuusa, era kiki Adamu ne Kaawa kye baalemererwa okukola?
12 Nga bwe tulabye, Sitaani yasookera ku kuleetera Kaawa kuba na kubuusabuusa. Yamuleetera okwebuuza obanga ddala Yakuwa Taata mulungi. Era Adamu ne Kaawa tebaalwanirira linnya lya Yakuwa nga Sitaani alisiiga enziro. Ekyo kyakifuula kyangu gye bali okuwuliriza Sitaani n’okujeemera Kitaabwe. Sitaani akozesa obukodyo bwe bumu leero. Aleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa ng’amwogerako eby’obulimba. Abantu abakkiriza obulimba bwa Sitaani kiba kyangu gye bali okugaana obufuzi bwa Yakuwa.
YAKUWA ATUKUZA ERINNYA LYE
13. Ezeekyeri 36:23 walaga watya obubaka obukulu obuli mu Bayibuli?
13 Yakuwa atunula butunuzi ng’erinnya lye lireetebwako ekivume n’atabaako ky’akolawo? Nedda! Bayibuli yonna okutwalira awamu eyogera ku ebyo Yakuwa by’akoze okulaga nti ebyo ebyamwogerwako mu Edeni bya bulimba. (Lub. 3:15) Mu butuufu, obubaka obukulu obuli mu Bayibuli tusobola okubuwumbawumbako bwe tuti: Yakuwa atukuza erinnya lye okuyitira mu Bwakabaka obufugibwa Omwana we era azzaawo obutuukirivu n’emirembe ku nsi. Bayibuli erimu ebintu ebituyamba okumanya engeri Yakuwa gy’atukuzaamu erinnya lye.—Soma Ezeekyeri 36:23.
14. Engeri Yakuwa gy’akuttemu obujeemu obwajjawo mu Edeni etukuzza etya erinnya lye?
14 Sitaani afubye nnyo okulaba nti alemesa Yakuwa okutuukiriza ekigendererwa kye. Naye enfunda n’enfunda Sitaani alemereddwa. Bayibuli eraga ebyo Yakuwa by’akozeewo, era eraga nti teri n’omu alinga Yakuwa Katonda. Kyo kituufu nti obujeemu bwa Sitaani n’abo bonna abamuwagira bireetedde Yakuwa obulumi bungi. (Zab. 78:40) Naye ensonga eyo agikutte mu ngeri ey’amagezi era ayolese obugumiikiriza n’obwenkanya. Ate era ayolese amaanyi ge agatenkanika mu ngeri nnyingi. N’okusingira ddala, ayolese okwagala mu byonna by’akola. (1 Yok. 4:8) Yakuwa azze ekola kyonna ekyetaagisa okutukuza erinnya lye.
15. Sitaani aleeta atya ekivume ku linnya lya Katonda leero, era biki ebivuddemu?
15 Sitaani akyeyongera okuleeta ekivume ku linnya lya Katonda. Aleetera abantu okubuusabuusa obanga Katonda alina amaanyi, mwenkanya, wa magezi, era alina okwagala. Ng’ekyokulabirako, Sitaani agezaako okuleetera abantu okulowooza nti Yakuwa si ye Mutonzi oba nti taliiyo. Ate abantu bwe baba nga bakkiriza nti Katonda gy’ali, Sitaani agezaako okubaleetera okulowooza nti emitindo gya Katonda gikugira nnyo era nti si gya bwenkanya. Ate era aleetera abantu okulowooza nti Yakuwa Katonda wa ttima era mukambwe nnyo, ayokya abantu mu muliro. Bwe bakkiriza obulimba ng’obwo, emirundi mingi kiba kyangu gye bali okugaana obufuzi bwa Yakuwa obw’obutuukirivu. Nga Sitaani tannazikirizbwa, ajja kweyongera okwogera eby’obulimba ku Yakuwa era naawe ajja kufuba okulaba ng’agezaako okukukwasa. Anaakukwasa?
OBUVUNAANYIZIBWA BW’OLINA MU NSONGA ENKULU
16. Kiki ky’osobola okukola ekyalema Adamu ne Kaawa?
16 Yakuwa akkiriza abantu abatatuukiridde okubaako kye bakola mu kutukuzibwa kw’erinnya lye. Mu butuufu, osobola okukola ekyo Adamu ne Kaawa kye baalemererwa okukola. Wadde ng’abantu abasinga obungi mu nsi boogera eby’obulimba ku Yakuwa era bamuvvoola, olina akakisa okulwanirira erinnya lya Yakuwa n’oyamba abantu okukiraba nti Yakuwa mutukuvu, mutuukirivu, mulungi, era alina okwagala. (Is. 29:23) Osobola okuwagira obufuzi bwa Yakuwa. Osobola okuyamba abantu okukiraba nti obufuzi bwa Yakuwa bwokka bwe bw’obutuukirivu era bwe bwokka obujja okuleeta emirembe n’essanyu eri ebitonde byonna.—Zab. 37:9, 37; 146:5, 6, 10.
17. Yesu yamanyisa atya erinnya lya Kitaawe?
17 Bwe tulwanirira erinnya lya Yakuwa, tuba tukoppa Yesu Kristo. (Yok. 17:26) Yesu yamanyisa abalala erinnya lya Yakuwa ng’alikozesa era ng’ayamba abantu okutegeerera ddala Yakuwa ky’ali. Ng’ekyokulabirako, yanenya Abafalisaayo, abaali baleetera abantu okulowooza nti Yakuwa mukambwe, tabalirira, yeesudde abantu, era nti tasaasira. Yesu yayamba abantu okukiraba nti Kitaawe si mukakanyavu, mugumiikiriza, alina okwagala, era asonyiwa. Era yayamba abantu okutegeera Yakuwa ng’ayoleka engeri za Yakuwa mu bulamu bwe.—Yok. 14:9.
18. Tuyinza tutya okukiraga nti ebintu ebibi ebyogeddwa ku Yakuwa bya bulimba?
18 Okufaananako Yesu, naffe tusobola okubuulira abantu bye tumanyi ku Yakuwa, nga tubayamba okukiraba nti Yakuwa Katonda alina okwagala era wa kisa. Bwe tukola tutyo, tuba tuggya ekivume ku linnya lya Yakuwa. Tutukuza erinnya lya Yakuwa nga tuyamba abantu okukitegeera nti erinnya eryo ttukuvu. Naffe tusobola okukoppa Yakuwa. Ekyo tusobola okukikola wadde nga tetutuukiridde. (Bef. 5:1, 2) Ebigambo byaffe n’ebikolwa byaffe bwe biraga abantu ekyo Yakuwa ky’ali, tuba tuyambako mu kutukuza erinnya lye. Tutukuza erinnya lya Yakuwa nga tuyamba abantu okutegeera amazima agamukwatako.b Ate era tukiraga nti abantu abatatuukiridde basobola okukuuma obugolokofu.—Yob. 27:5.
19. Isaaya 63:7 watuyamba watya okumanya ekigendererwa ekikulu kye tulina okuba nakyo nga tuyigiriza?
19 Waliwo ekintu ekirala kye tusobola okukola okutukuza erinnya lya Yakuwa. Bwe tuba tuyigiriza abantu Bayibuli, tutera okukiggumiza nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna, era ekyo kituufu. Kyokka, wadde nga kikulu okuyigiriza abantu amateeka ga Katonda, ekigendererwa kyaffe ekikulu kwe kuyamba abantu okwagala Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, n’okuba abeesigwa gy’ali. N’olwekyo, tusaanidde okukkaatiriza engeri za Yakuwa, tuyambe abantu okumanya ekyo ddala Yakuwa ky’ali. (Soma Isaaya 63:7.) Bwe tuyigiriza tutyo, tuyamba abantu okwagala Yakuwa n’okumugondera olw’okuba baagala okuba abeesigwa gy’ali.
20. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
20 Kati olwo tuyinza tutya okukakasa nti enneeyisa yaffe n’engeri gye tuyigirizaamu bireetera abantu okuba n’ekifaananyi ekirungi ku Yakuwa nga bawulidde erinnya lye, kibayambe okumwagala? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.
OLUYIMBA 2 Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa
a Nsonga ki enkulu ekwata ku bantu ne bamalayika? Lwaki ensonga eyo nkulu nnyo, era ffe tukwatibwako tutya mu kugonjoola ensonga eyo? Okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo n’ebirala, kijja kutuyamba okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa.
b Okumanya enkyukakyuka eyakolebwa ku nsonga emu ekwata ku linnya lya Yakuwa laba programu ya Jjanwali 2018 ku jw.org®. Genda wansi wa LIBRARY > JW BROADCASTING®.
c EBIFAANANYI: Omulyolyomi yaleeta ekivume ku linnya lya Katonda bwe yabuulira Kaawa eby’obulimba ku Katonda. Okumala emyaka mingi Sitaani azze atumbula enjigiriza ez’obulimba, gamba nga nti Katonda mukambwe era nti si ye yatonda abantu.
d EBIFAANANYI: Ow’oluganda bw’aba ayigiriza omuntu Bayibuli, akkaatiriza engeri za Katonda.