“Onoobanga n’Essanyu Jjereere”
“Oneekuumanga embaga eri Mukama . . . , era onoobanga n’essanyu jjereere.”—EKYAMATEEKA 16:15.
1. (a) Nsonga ki Setaani ze yaleetawo? (b) Kiki Yakuwa kye yalagula oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okujeema?
SETAANI bwe yaleetera Adamu ne Kaawa okujeemera Omutonzi waabwe, yaleetawo ensonga bbiri enkulu ennyo. Okusooka, yawakanya obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa. Eky’okubiri, Setaani yagamba nti abantu baweereza Katonda lwa kuba alina ky’abawa. Ensonga eyo ey’okubiri yeeyoleka kaati mu kiseera kya Yobu. (Olubereberye 3:1-6; Yobu 1:9, 10; 2:4, 5) Kyokka Yakuwa alina kye yakolawo mu bwangu okusobola okugonjoola ensonga ezo. Adamu ne Kaawa nga bakyali na mu lusuku Adeni, Yakuwa yalaga engeri gye yali ajja okugonjoolamu ensonga ezo. Yalagula okujja ‘kw’ezzadde,’ era nti oluvannyuma lw’okubetentebwa mu kisinziiro, ezzadde eryo lyandisobodde okubetenta Setaani omutwe.—Olubereberye 3:15.
2. Yakuwa yayogera ki ku ngeri obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 gye bwandituukiriziddwamu?
2 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Yakuwa yeeyongera okutangaaza ebikwata ku bunnabbi obwo, bw’atyo n’akiraga nti ddala bwali bulina okutuukirizibwa. Ng’ekyokulabirako, Katonda yagamba Ibulayimu nti “ezzadde” eryo lyali lijja kuva mu bazzukulu be. (Olubereberye 22:15-18) Muzzukulu wa Ibulayimu ayitibwa Yakobo yavaamu ebika 12 ebya Isiraeri. Mu 1513 B.C.E., ebika ebyo bwe byafuuka eggwanga, Yakuwa yabawa amateeka omwali n’ago agabalagira okukuza embaga ezitali zimu. Omutume Pawulo yagamba nti embaga ezo zaali ‘kisiikirize ky’ebyo ebyali bigenda okujja.’ (Abakkolosaayi 2:16, 17; Abaebbulaniya 10:1) Zaalimu ebintu eby’enjawulo ebisonga ku ngeri Yakuwa gye yali agenda okutuukirizaamu ekigendererwa kye ekikwata ku Zzadde. Okukwata embaga ezo kyaleeteranga Abaisiraeri essanyu lingi nnyo. Bwe tuneekenneenya ebikwata ku mbaga ezo kijja kunyweza okukkiriza kwaffe mu bisuubizo bya Yakuwa.
Ezzadde Lirabika
3. Ezzadde eryasuubizibwa y’ali ani era lyabeteentebwa litya ekisinziiro?
3 Nga wayiseewo emyaka egisukka mu 4,000 oluvannyuma lwa Yakuwa okuwa obunnabbi obwasooka, Ezzadde eryasuubizibwa lyalabika. Ezzadde eryo yali Yesu. (Abaggalatiya 3:16) Ng’omuntu atuukiridde, Yesu yakuuma obugolokofu bwe okutuusa okufa era bw’atyo n’alaga nti ebyo Setaani bye yali ayogedde byali bya bulimba. Okugatta ku ekyo, olw’okuba Yesu teyalina kibi kyonna, okufa kwe yali ssaddaaka ya muwendo mungi nnyo. Olw’ekinunulo kino, Yesu yanunula bazzukulu ba Adamu ne Kaawa okuva mu kibi n’okufa. Okufa kwa Yesu ku muti kwe kwali ‘okubetenta ekisinziiro’ ky’ezzadde eryasuubizibwa.—Abaebbulaniya 9:11-14.
4. Kiki ekyasonganga ku ssaddaaka ya Yesu?
4 Yesu yafa nga Nisani 14, 33 C.E.a Mu Isiraeri, Nisani 14 lwabanga lunaku lwa ssanyu olw’embaga ey’Okuyitako. Buli mwaka ku lunaku olwo, ab’omu maka balyanga ekijjulo kwe baaliranga akaliga akataliiko kamogo. Mu ngeri eno, bajjukiranga engeri omusaayi gye gwakozesebwa mu kununula abaana Abaisiraeri ababereberye malayika bwe yatta abaana Abamisiri ababereberye nga Nisani 14, 1513 B.C.E. (Okuva 12:1-14) Akaliga akattibwanga ku lunaku lw’Okuyitako kaali kasonga ku Yesu, omutume Pawulo gwe yayogerako nti: ‘Kristo okuyitako kwaffe yattibwa.’ (1 Abakkolinso 5:7) Okufaananako omusaayi gw’endiga ey’oku mbaga y’Okuyitako, n’omusaayi gwa Yesu ogwayiika gusobozesa bangi okufuna obulokozi.—Yokaana 3:16, 36.
‘Ebibala Ebibereberye Okuva mu Bafu’
5, 6. (a) Yesu yazuukira ddi era ekyo kyalagibwa kitya mu Mateeka? (b) Mu ngeri ki okuzuukira kwa Yesu gye kwasobozesa ebiri mu Olubereberye 3:15 okutuukirizibwa?
5 Ku lunaku olw’okusatu, Yesu yazuukizibwa okusobola okulabika mu maaso ga Kitaawe n’omuwendo gw’ekinunulo kye. (Abaebbulaniya 9:24) Waliwo embaga endala eyali esonga ku kuzuukizibwa kwe. Olunaku oluddirira Nisani 14 lwe lwali olunaku olusooka olw’Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Nga Nisani 16, Abaisiraeri baaleetanga ekinywa eky’ebibereberye ebya sayiri eri kabona okukiwuubawuuba mu maaso ga Yakuwa. Gano ge gali amakungula agaasokanga mu Isiraeri. (Eby’Abaleevi 23:6-14) Nga kyali kituukirawo okuba nti 33 C.E., ku lunaku olwo lwe nnyini, Yakuwa yalemesa ekigendererwa kya Setaani eky’okuzikiriza ‘omujulirwa we omwesigwa era ow’amazima’! Nga Nisani 16, 33 C.E., Yakuwa yazuukiza Yesu ng’ekitonde eky’omwoyo n’amuwa obulamu obutasobola kuzikirizibwa.—Okubikkulirwa 3:14; 1 Peetero 3:18.
6 Yesu ye yali “omwaka omubereberye ogw’abo abeebaka [mu kufa].” (1 Abakkolinso 15:20) Obutafaanana abo abaazuukizibwa ne baddamu ne bafa, Yesu ye teyaddamu kufa. Wabula, yagenda mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Yakuwa, n’alindirira okutuusa lwe yatuuzibwa ku ntebe nga Kabaka ow’Obwakabaka bwa Yakuwa. (Zabbuli 110:1; Ebikolwa 2:32, 33; Abaebbulaniya 10:12, 13) Okuva lwe yafuuka Kabaka, kati Yesu asobola okubetenta Setaani omutwe era n’amuzikiririza ddala awamu n’ezzadde lye.—Okubikkulirwa 11:15, 18; 20:1-3, 10.
Abalala ab’Ezzadde lya Ibulayimu
7. Embaga eya Ssabbiiti y’eruwa?
7 Yesu ye yali Ezzadde eryasuubizibwa mu Adeni era Yakuwa mwe yandiyitidde ‘okumalawo ebikolwa bya Setaani.’ (1 Yokaana 3:8) Kyokka, Yakuwa bwe yayogera ne Ibulayimu, Yakiraga nti “ezzadde” lya Ibulayimu lyandisusse mu muntu omu. Lyandibadde “ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, ng’omusenyu oguli ku ttale ly’ennyanja.” (Olubereberye 22:17) Abalala abali mu ‘zzadde’ baasongebwako embaga endala eyabanga ey’essanyu. Ennaku ataano oluvannyuma lwa Nisani 16, Isiraeri yakwatanga Embaga eya Ssabbiiti. Etteeka erigikwatako ligamba: “Okutuusa olw’enkya oluddirira ssabbiiti ey’omusanvu munaabalanga ennaku ataano: awo munaawangayo ekiweebwayo eky’obutta obuggya eri Mukama. Munnafulumyanga mu nnyumba zammwe emigaati ebiri egiwuubibwawuubibwa egy’ebitundu ebibiri eby’ekkumi ebya efa: ginaabanga gya butta bulungi, ginaayokebwanga n’ekizimbulukusa, okuba ebibereberye eri Mukama.”b—Eby’Abaleevi 23:16, 17, 20.
8. Kiki eky’enjawulo ekyaliwo ku Pentekoote eya 33 C.E.?
8 Yesu we yabeerera ku nsi ng’Embaga ya Ssabbiiti eyitibwa Pentekoote (Mu Luyonaani ekitegeeza “olw’ataano”). Ku Pentekoote 33 C.E., Kabona Asinga Obukulu, Yesu Kristo eyali azuukidde yafuka omwoyo omutukuvu ku bagoberezi be 120 bokka abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi. Bwe kityo abayigirizwa abo baafuuka abaana ba Katonda abaafukibwako amafuta era baganda ba Yesu Kristo. (Abaruumi 8:15-17) Baafuuka eggwanga eriggya, “Isiraeri wa Katonda.” (Abaggalatiya 6:16) Ab’eggwanga lino ettono oluvannyuma bandiweredde ddala 144,000.—Okubikkulirwa 7:1-4.
9, 10. Ebyabangawo ku Pentekoote byasonga bitya ku kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta?
9 Emigaati ebiri emizimbulukuse egyawuubibwawuubibwanga mu maaso ga Yakuwa ku Pentekoote gyali gisonga ku kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Emigaati okuba nti gyabanga mizimbulukuse kyalaga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta bandibadde bakyalina ekizimbulukusa eky’ekibi ekisikire. Wadde kiri bwe kityo, bandibadde bakkirizibwa mu maaso ga Yakuwa olwa ssaddaaka ya Yesu. (Abaruumi 5:1, 2) Lwaki emigaati gyabanga ebiri? Ekyo kyandiba kyali kiraga nti abaana ba Katonda abaafukibwako amafuta bandivudde mu bibinja by’abantu bibiri—okusooka okuva mu Bayudaaya n’oluvannyuma mu b’Amawanga.—Abaggalatiya 3:26-29; Abaefeso 2:13-18.
10 Emigaati ebiri egyaweebwangayo ku Pentekoote gyavanga mu ŋŋaano eyasookanga okukungulwa. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bayitibwa “omwaka omubereberye ogw’ebitonde bye.” (Yakobo 1:18) Be baasooka okusonyiyibwa ebibi ku lw’omusaayi gwa Yesu, era ekyo kibasobozesa okufuna obulamu obutayinza kuzikirizibwa mu ggulu, gye bajja okufugira ne Yesu mu Bwakabaka bwe. (1 Abakkolinso 15:53; Abafiripi 3:20, 21; Okubikkulirwa 20:6) N’olwekyo, mangu ddala bajja ‘kulunda amawanga n’omuggo ogw’ekyuma’ era balabe nga ‘Setaani abetentebwa wansi w’ebigere byabwe.’ (Okubikkulirwa 2:26, 27; Abaruumi 16:20) Omutume Yokaana yagamba nti: “Abo be bagoberera Omwana gw’endiga buli gy’agenda. Abo baagulibwa mu bantu okuba ebibala eby’olubereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’endiga.”—Okubikkulirwa 14:4.
Olunaku Olusonga ku Kununulibwa
11, 12. (a) Kiki ekyabangawo ku Lunaku lw’Okutangiririrako? (b) Abaisiraeri baaganyulwanga batya mu ssaddaaka y’ente ennume n’embuzi?
11 Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwa Esanimu (Tisiri),c Abaisiraeri baakwatanga embaga eyali esonga ku miganyulo gya ssaddaaka ya Yesu. Ku lunaku olwo, Olunaku lw’Okutangiririrako eggwanga lyonna lyakuŋŋaananga wamu ne bawaayo ssaddaaka okutangirira ebibi byabwe.—Eby’Abaleevi 16:29, 30.
12 Ku Lunaku lw’Okutangiririrako, kabona omukulu yattanga ente ennume ento, era n’amansira omusaayi gwayo mu Awasinga Obutukuvu ku ngulu wa Essanduuko y’Endagaano emirundi musanvu, bwe kityo mu ngeri ey’akabonero n’aguwaayo eri Yakuwa. Ekiweebwayo ekyo kyabanga kya kutangirira bibi bya kabona omukulu “n’ennyumba ye,” ne bakabona abalala n’Abaleevi. Oluvannyuma, kabona omukulu yaddiranga embuzi bbiri, emu yagittanga okutangirira ebibi ‘eby’abantu.’ Ogumu ku musaayi gwayo gwamansirwanga mu maaso ga Ssanduuko mu Awasinga Obutukuvu. Ng’amaze ekyo, yassanga emikono gye ku mutwe gw’embuzi ey’okubiri n’ayatula ebibi by’abaana ba Isiraeri. Oluvannyuma baagitwalanga ne bagiteera mu ddungu mu ngeri ey’akabonero n’etwala ebibi by’eggwanga.—Eby’Abaleevi 16:3-16, 21, 22.
13. Mu ngeri ki ebyakolebwanga ku Lunaku lw’Okutangiririrako gye byali bisonga ku Yesu?
13 Ebyo ebyakolebwanga byali biraga engeri omusaayi gwa Kabona Asingayo Obukulu, Yesu, gye gusobola okusonyiyisa ebibi. Okusooka gusobozesa ‘ab’ennyumba ey’omwoyo,’ Abakristaayo 144,000 abaafukibwako amafuta, okuweebwa obutuukirivu n’okuba n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Yakuwa. (1 Peetero 2:5; 1 Abakkolinso 6:11) Omusaayi gwa Yesu ogusobozesa ekyo okutuukibwako, gwali gukiikirirwa ssaddaaka y’ente ennume. Bwe kityo, bafuna enkizo ey’okusikira obulamu mu ggulu. Abalala abaganyulwa mu musaayi gwa Yesu bwe bukadde bw’abantu abakkiririza mu Kristo, ng’ate kino kyali kikiikirirwa ssaddaaka y’embuzi. Bano bajja kufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi, obulamu Adamu ne Kaawa bwe baafiirwa. (Zabbuli 37:10, 11) Olw’omusaayi gwe, Yesu yaggyawo ebibi by’abantu, ng’embuzi mu ngeri ey’akabonero bwe yatwalanga ebibi bya Isiraeri mu ddungu.—Isaaya 53:4, 5.
Okusanyukira mu Maaso ga Yakuwa
14, 15. Kiki ekyabangawo ku Mbaga ey’Ensiisira, era kino kyajjukizanga ki Abaisiraeri?
14 Oluvannyuma lw’Olunaku lw’Okutangiririrako, Abaisiraeri baakwatanga Embaga ey’Ensiisira, era nga ye yali esinga okuba ey’essanyu. (Eby’Abaleevi 23:34-43) Embaga eyo yabangawo okuva nga 15 okutuuka nga 21 mu mwezi ogwa Esanimu era n’efundikirwa n’olukuŋŋaana olutukuvu nga 22. Yalaganga nti amakungula gawedde era kino kyabanga kiseera kya kwebaza olw’ebirungi ebingi okuva eri Katonda. N’olwekyo, Yakuwa yabagamba nti: “Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byo byonna, ne mu mulimu gwonna ogw’engalo zo, era onoobanga n’essanyu jjereere.” (Ekyamateeka 16:15) Nga kino kyabanga kiseera kya ssanyu!
15 Ku mbaga eno, Abaisiraeri baabeeranga mu nsiisira okumala ennaku musanvu. Kino kyabajjukizanga nti baabeeranga mu nsiisira nga bali mu ddungu. Nga bali ku mbaga eno, baafunanga ekiseera okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’abalabiriramu obulungi. (Ekyamateeka 8:15, 16) Era okuva bonna, abagagga n’abaavu, bwe baasulanga mu nsiisira ze zimu, kino kyajjukizanga Abaisiraeri nti bonna benkanankana.—Nekkemiya 8:14-16.
16. Embaga ey’Ensiisira yali ekiikirira ki?
16 Embaga ey’Ensiisira yabanga ya kujaguza olw’amakungula, era yali esonga ku makungula ag’essanyu ag’abo abakkiririza mu Yesu Kristo. Amakungula gano gaatandika ku Pentekoote 33 C.E., abayigirizwa ba Yesu 120 abaafukibwako amafuta bwe baafuuka abamu ku “bakabona abatukuvu.” Ng’Abaisiraeri bwe baabeeranga mu nsiisira okumala ennaku ntono, n’abaafukibwako amafuta bamanyi nti ‘bayise buyise’ mu nsi eno etatya Katonda. Essuubi lyabwe lya kubeera mu ggulu. (1 Peetero 2:5, 11) Okukuŋŋaanya Abakristaayo abaafukibwako amafuta kukomekkerezebwa mu kiseera ‘ky’ennaku zino ez’oluvannyuma,’ abasigaddeyo ku 144,000 lwe bakuŋŋaanyizibwa.—2 Timoseewo 3:1.
17, 18. (a) Kiki ekiraga nti ng’oggyeko Abakristaayo abaafukibwako amafuta waliwo n’abalala abaganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu? (b) Baani leero abaganyulwa mu Mbaga y’Ensiisira ey’akabonero, era ddi lw’erituuka ku ntikko yaayo?
17 Ku Mbaga y’Ensiisira ey’edda, ente ennume 70 zaaweebwangayo. (Okubala 29:12-34) Nnamba 70 yenkana 7 emirundi 10, era ennamba zino zombi mu Baibuli zikiikirira obutuukirivu bw’ebiri mu ggulu ne ku nsi. N’olwekyo, ssaddaaka ya Yesu ejja kuganyula abantu abeesigwa okuva mu bika byonna 70 ebya bazzukulu ba Nuuwa. (Olubereberye 10:1-29) Nga kituukana n’ekyo, mu biseera bino abantu abakkiririza mu Yesu okuva mu mawanga gonna bakuŋŋanyiziddwa era balina essuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi.
18 Omutume Yokaana yayolesebwa okukuŋŋaanya kuno. Okusooka yawulira okulangirira kw’okussa akabonero ku basigaddeyo ku 144,000. Oluvannyuma yalaba “ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala,” nga bayimiridde mu maaso ga Yakuwa ne Yesu, nga bakutte “amatabi g’enkindu mu mikono gyabwe.” Bano be ‘bava mu kibonyoobonyo ekinene’ ne bayingira mu nsi empya. Nabo bayise buyise mu nteekateeka eno embi ey’ebintu, era beesunga nnyo ekiseera ‘Omwana gw’endiga lw’anaabalunda, era n’abaleeta eri enzizi ez’amazzi ag’obulamu.’ Mu kiseera ekyo, “Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.” (Okubikkulirwa 7:1-10, 14-17) Embaga y’Ensiisira ey’akabonero ejja kutuuka ku ntikko yaayo ng’Emyaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo giweddeko, ab’ekibiina ekinene awamu n’abantu abeesigwa abaliba bazuukiziddwa lwe baliweebwa obulamu obutaggwaawo.—Okubikkulirwa 20:5.
19. Okwetegereza ebyakolebwanga ku embaga ezaakwatibwanga mu Isiraeri kituganyula kitya?
19 Naffe tusobola ‘okuba n’essanyu ejjereere’ bwe tufumiitiriza ku makulu g’embaga z’Abayudaaya ez’edda. Kya ssanyu okuba nti Yakuwa yatulaga engeri obunnabbi bwe yawa mu Adeni gye bwandituukiriziddwamu, era kibuguumiriza okulaba nti mpola mpola bugenda butuukirizibwa. Leero, tukimanyi nti Ezzadde lyalabika era nti lyabeteentebwa ekisinziiro. Kaakati Kabaka afuga mu ggulu. Ate era, abasinga ku 144,000 bafudde nga beesigwa. Kati kiki ekisigaddeyo? Obunnabbi buno bunaatuukirizibwa ddi mu bujjuvu? Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Nisani gubeerawo wakati wa Maaki ne Apuli ku kalenda yaffe.
b Mu kiweebwayo kino, Kabona yakwatanga emigaati ebiri mu bibatu bye n’agiwanika era n’agiwuubawuuba. Okuwuubawuuba kuno kwategeezanga okuwaayo okw’ekiweebwayo eri Yakuwa.—Laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, olupapula 528, kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
c Esanimu (Tisiri), gubeerawo wakati wa Ssebutemba ne Okitobba ku kalenda yaffe.
Osobola Okunnyonnyola?
• Akaliga akattibwanga ku lunaku lw’Okuyitako kaali kasonga ku ki?
• Embaga ya Pentekoote yali esonga ku makungula ki?
• Biki ebyakolebwanga ku Lunaku lw’Okutangiririrako ebyali bisonga ku miganyulo gya ssaddaaka ya Yesu?
• Mu ngeri ki Embaga y’Ensiisira gye yali esonga ku kukuŋŋaanyizibwa kw’Abakristaayo?
[Ekipande ekiri ku lupapula 24, 25]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
Embaga: Kye yasongangako:
Okuyitako Nisani 14 Endiga y’oku Yesu aweebwayo
Pentekoote ettibwa
Nisani 15 Ssabbiiti
Embaga y’Emigaati Nisani 16 Sayiri eweebwayo Yesu
azuukizibwa
Egitazimbulukusiddwa
(Nisani 15-21)
↑
ennaku 50
↓
Embaga ya
Ssabbiiti Sivaani 6 Emigaati ebiri Yesu yawaayo (Pentekoote) giweebwayo baganda be
abaafukibwako
amafuta eri Yakuwa
Olw’Okutangiririrako Tisiri 10 Ente ennume Yesu yayiwa
n’embuzi ziweebwayo omusaayi gwe
ku lwa bonna
Embaga y’Ensiisira Tisiri 15-21 Ensiisira Okukuŋŋaanya
(Okukuŋŋaanya) n’amakungula abaafukibwako
byabasanyusanga amafuta
Abaisraeri, ente ‘n’ab’ekibiina
ennume 70 ziweebwayo ekinene’
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Ng’omusaayi gw’endiga ey’oku mbaga y’Okuyitako n’omusaayi gwa Yesu ogwayiika gusobozesa bangi okufuna obulokozi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Ebibala ebisooka ebya sayiri ebyaweebwangayo nga Nisani 16 byali bisonga ku kuzuukira kwa Yesu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Emigaati ebiri egyaweebwangayo ku lwa Pentekoote gyali gisonga ku kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Embaga ey’Ensiisira yali esonga ku kiseera eky’essanyu eky’okukuŋŋaanya abaafukibwako amafuta ‘n’ab’ekibiina ekinene’ okuva mu mawanga gonna