KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | ABBEERI
“Newakubadde nga Yafa, Akyayogera”
KUBA akafaananyi nga Abbeeri atunuulira endiga ze nga ziriira ku mabbali g’olusozi era nga ziri mu mirembe. Oboolyawo, oluvannyuma atunula ewalako n’alaba ekitangaala. Akimanyi nti awo awali ekitangaala waliwo ekitala ekikyukakyuka buli kiseera nga kizibye ekkubo erigenda mu lusuku olw’omu Adeni. Bazadde be baabeerako mu lusuku olwo, naye bo n’abaana baabwe tebakyasobola kulugendamu. Kuba akafaananyi nga Abbeeri atunula waggulu nga yeetegereza ebyo Katonda bye yatonda era ng’afumiitiriza ku Mutonzi. Abantu bandizzeemu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda? Ekyo kyennyini Abbeeri kye yali ayagala.
Abbeeri alina ky’akugamba leero. Owulira ky’akugamba? Oyinza okugamba nti ekintu ng’ekyo tekisoboka, kubanga Abbeeri mutabani wa Adamu ow’okubiri yafa dda nnyo. Olw’okuba waakayita emyaka nga 6000 bukya afa, yafuuka dda ttaka. Bayibuli egamba nti: “Abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5, 10) Okugatta ku ekyo, tewali kigambo kyonna Abbeeri kye yayogera ekyawandiikibwa mu Bayibuli. Kati olwo ayinza atya okwogera gye tuli?
Katonda yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiika bw’ati ku Abbeeri: “Okuyitira mu kukkiriza okwo, newakubadde nga yafa, akyayogera.” (Abebbulaniya 11:4) Abbeeri ayogera atya? Ayogera okuyitira mu kukkiriza. Abbeeri ye muntu eyasooka okuba n’engeri eyo ennungi ennyo. Yalina okukkiriza kwa maanyi nnyo era tulina bingi bye tumuyigirako leero. Bwe twekenneenya engeri gye yayolekamu okukkiriza era ne tumukoppa, aba ng’ayogera naffe.
Kati olwo, kiki kye tuyinza okuyigira ku Abbeeri, ng’ate ayogerwako kitono nnyo mu Bayibuli? Ka tulabe.
ENSI YALIMU ABANTU BATONO NNYO
Abbeeri we baamuzaalira, ensi yalimu abantu batono ddala. Yesu bwe yali ku nsi, yalaga nti Abbeeri ye yali ‘entandikwa y’ensi.’ (Lukka 11:50, 51) “Ensi” Yesu gye yali ayogerako be bantu abalina essuubi ery’okununulibwa okuva mu kibi. Wadde nga Abbeeri yali wa kuna ku bantu abaasooka okubeerawo ku nsi, kirabika ye yasooka ku bantu Katonda b’ajja okununula.a Kya lwatu nti Abbeeri yakulira mu bantu abataali balungi.
Wadde ng’abantu baali baakamala ekiseera kitono nnyo ku nsi, baali mu nnaku etagambika. Adamu ne Kaawa, bazadde ba Abbeeri, bateekwa okuba nga baali balabika bulungi nnyo era nga ba maanyi. Mu kusooka, baali batuukiridde era nga balina essuubi ery’okubeera abalamu emirembe gyonna, naye baakola ensobi ey’amaanyi ennyo. Baajeemera Yakuwa Katonda ne bagobebwa mu lusuku olw’omu Adeni. Olw’okuba baakulembeza okwegomba kwabwe ne batafaayo ku bizibu ebyandituuse ku baana baabwe, baafiirwa obulamu obutuukiridde era obutaggwawo.—Olubereberye 2:15–3:24.
Adamu ne Kaawa bwe baagobebwa mu lusuku, obulamu bwabazibuwalira nnyo. Kyokka, bwe baazaala omwana waabwe eyasooka, baamutuuma Kayini, ekitegeeza “Ekizaaliddwa,” era Kaawa yagamba nti: “Mukama annyambye ne nzaala omwana ow’obulenzi.” Ebigambo bye biraga nti ayinza okuba nga yali alowooza ku kisuubizo Yakuwa kye yakola mu Lusuku ng’ayogera ku mukazi eyandizadde “ezzadde” eryandizikirizza omubi eyaleetera Adamu ne Kaawa okujeema. (Olubereberye 3:15; 4:1, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Kyandiba nti Kaawa yali alowooza nti ye mukazi eyayogerwako mu bunnabbi obwo era nti Kayini lye “zzadde” eryasuubizibwa? Bw’aba nga bw’atyo bwe yali alowooza, yali mukyamu.
Ate era bwe kiba nti Adamu ne Kaawa bwe batyo bwe baagamba Kayini, baamukola bubi era baamuleetera okufuna amalala. Oluvannyuma lw’ekiseera, Kaawa yazaala omwana ow’okubiri, naye teyamwogerako nga bwe yayogera ku Kayini. Baamutuuma Abbeeri, ekiyinza okutegeeza “Omukka,” oba “Ekitagasa.” (Olubereberye 4:2) Kyandiba nti okumutuuma erinnya eryo kiraga nti Kayini gwe baalinamu essuubi okusinga Abbeeri? Oboolyawo bwe kityo bwe kyali.
K’ebe nsonga ki eyabaleetera okukola ekyo, waliwo ebintu bingi abazadde bye bayinza okuyigira ku bazadde abo abaasooka. Ebigambo byo n’ebikolwa byo, biyinza okuleetera omwana wo okufuna amalala n’okwefaako yekka, oba biyinza okumuleetera okwagala Yakuwa Katonda n’okufuba okuba n’enkolagana ennungi naye. Eky’ennaku, abazadde abaasooka baalemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Wadde kyali kityo, Abbeeri teyakoppa mpisa zaabwe embi.
BIKI EBYAYAMBA ABBEERI OKUBA N’OKUKKIRIZA?
Abalenzi bombi bwe baagenda bakula, kirabika Adamu yabayigiriza emirimu egyandibayambye okuyimirizaawo amaka gaabwe. Kayini yafuuka mulimi, ate Abbeeri n’afuuka mulunzi.
Kyokka, Abbeeri yakola ekintu ekikulu ennyo. Yakulaakulanya okukkiriza okumala emyaka mingi, era ng’eno y’engeri ennungi omutume Pawulo gye yawandiikako. Kirowoozeeko, Abbeeri teyalina muntu amuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Kati olwo kiki ekyamuyamba okukkiririza mu Yakuwa Katonda? Lowooza ku bintu bisatu ebikulu ebiyinza okuba nga bye byamuyamba.
Ebitonde bya Yakuwa.
Kyo kituufu nti Yakuwa yakolimira ettaka ne litandika okuleeta amaggwa n’amatovu ekyazibuwaza eby’obulimi. Wadde kyali kityo, ettaka lyabazanga emmere gye baalyanga. Ate era ebisolo, ebinyonyi, ebyennyanja, ensozi, ennyanja, emigga, ebire, enjuba, omwezi, n’emmunyeenye byali birabika bulungi. Buli wamu Abbeeri we yatunulanga, yalabanga ebintu ebiraga nti Yakuwa Katonda, eyatonda ebintu byonna, alina okwagala, mugezi, era mulungi. (Abaruumi 1:20) Okufumiitiriza ku bitonde ne ku ngeri za Katonda, kyanyweza okukkiriza kwe.
Abbeeri ateekwa okuba nga yafumiitirizanga nnyo ku Yakuwa. Kuba akafaananyi ng’alunda endiga ze. Omulunzi kyamwetaagisanga okutambula ennyo. Yayisanga endiga ze ku nsozi, mu bikko, yazisomosanga emigga, asobole okuzifunira omuddo omulungi, amazzi, n’ebifo ebirungi eby’okuwummuliramu. Mu bitonde bya Katonda byonna, kirabika Abbeeri yalaba nti endiga ze zaali zisinga okwetaaga obukuumi, nga gy’obeera nti zaatondebwa ng’omuntu y’alina okuzirabirira n’okuzikuuma. Kyandiba nti Abbeeri yakiraba nti naye yali yeetaaga obukuumi, obulagirizi, n’okulabirirwa Katonda, oyo asingayo okuba ow’amagezi era ow’amaanyi mu butonde bwonna? Ateekwa okuba nga yayogeranga ku bintu ng’ebyo mu ssaala ze, okukkiriza kwe ne kweyongera okunywera.
Ebisuubizo bya Yakuwa.
Adamu ne Kaawa bateekwa okuba nga baanyumizaako batabani baabwe ebyaliwo, ebyabaviirako okugobebwa mu lusuku olw’omu Adeni. N’olwekyo, Abbeeri yalina ebintu bingi eby’okufumiitirizaako.
Yakuwa yagamba nti ettaka lyandikolimiddwa. Abbeeri yalaba amaggwa n’amatovu n’amanya nti ebigambo ebyo byatuukirizibwa. Ate era Yakuwa yagamba nti Kaawa yandiwulidde obulumi bungi ng’ali lubuto era ng’azaala. Bato ba Abbeeri bwe baali bazaalibwa, Abbeeri yakiraba nti ebigambo ebyo nabyo bituukiridde. Yakuwa yakiraga nti Kaawa yandibadde ayagala omwami we amufeeko ekisukkiridde, era nti Adamu yandibadde amufuga. Ebyo byonna Abbeeri yabiraba, era n’akakasa nti buli kimu Yakuwa ky’ayogera kituukirira. Biteekwa okuba nga byamuleetera okukkiriza nti ekisuubizo kya Katonda ekikwata ku “zzadde” eryandiggyewo ebizibu byonna ebyatandikira mu lusuku olw’omu Adeni, kyandituukiriziddwa.—Olubereberye 3:15-19.
Abaweereza ba Yakuwa.
Tewali muntu n’omu eyateerawo Abbeeri ekyokulabirako ekirungi, naye abantu si bye bitonde ebitegeera byokka ebyali ku nsi mu kiseera ekyo. Adamu ne Kaawa bwe baagobebwa mu lusuku, Yakuwa teyakkiriza muntu yenna kugenda mu lusuku olwo. Okusobola okukuuma ekkubo erigenda mu lusuku, Yakuwa yateekawo bamalayika abali ku ddaala erya waggulu ennyo abayitibwa bakerubi, n’ekitala ekyaka era ekikyukakyuka buli kiseera.—Olubereberye 3:24.
Kuba akafaananyi nga Abbeeri akyali muto era ng’atunuulira bamalayika abo. Olw’okuba baali bambadde emibiri gy’abantu, baali balabika nga ba maanyi nnyo. “Ekitala” ekyali kyaka era nga kikyukakyuka buli kiseera, nakyo kirina okuba nga kyamwewuunyisa nnyo. Abbeeri bwe yagenda akula, tewali lunaku na lumu lwe yasanga nga bamalayika abo balese omulimu ogwabaweebwa. Kiro na misana, mwaka ku mwaka, ebitonde ebyo eby’amagezi era eby’amaanyi, tebyava mu kifo ekyo. Bwe kityo, Abbeeri yayiga nti waliwo abaweereza ba Yakuwa Katonda abawulize era abatuukirivu. Abbeeri yakiraba nti bamalayika abo baali beesigwa era nga bagondera Yakuwa, ab’omu maka ge kye baali batakola. Ekyokulabirako kya bamalayika abo kiteekwa okuba nga kyanyweza okukkiriza kwe.
Okufumiitiriza ku bitonde bya Yakuwa, ku bisuubizo bye, ne ku kyokulabirako ky’abaweereza be, kyanyweza okukkiriza kwa Abbeeri. Mu butuufu, waliwo bingi bye tuyigira ku Abbeeri. Abavubuka basobola okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa Katonda, ka kibe nti ab’omu maka gaabwe tebakulina. Olw’okuba waliwo Bayibuli, ebitonde bingi ebitwetoolodde, n’abaweereza ba Yakuwa abatuteerawo ekyokulabirako ekirungi, tusobola okufuna okukkiriza okw’amaanyi.
ENSONGA LWAKI YAKUWA YASIIMA SSADDAAKA YA ABBEERI
Okukkiriza kwa Abbeeri bwe kwagenda kweyongera, yayagala okukwoleka mu bikolwa. Naye, kiki omuntu obuntu kye yali asobola okuwa Omutonzi w’ebintu byonna? Ekituufu kiri nti Katonda yali teyeetaaga kirabo kyonna, oba buyambi bwonna okuva eri abantu. Nga wayiseewo ekiseera, Abbeeri yakimanya nti bwe yandiwadde Yakuwa ekisingayo obulungi ku ebyo bye yalina, era ng’alina ekiruubirirwa ekirungi, Yakuwa yandisanyuse nnyo.
N’olwekyo, Abbeeri yasalawo okuwaayo ezimu ku ndiga ze. Yalondamu embereberye, era ezisingayo obulungi. Mu kiseera kye kimu, Kayini naye yali ayagala Katonda amusiime era amuwe emikisa, era yasalawo okuwaayo ebimu ku birime bye. Naye ekigendererwa kye kyali kya njawulo ku kya Abbeeri. Ekyo kyeyoleka kaati bombi bwe baawaayo ebiweebwayo byabwe.
Kirabika Abbeeri ne Kayini bwe baali bawaayo ebiweebwayo byabwe baabyokera ku byoto. Ate era kirabika baabiweerayo mu kifo bamalayika abaali bakuuma olusuku we baali babalabira, kubanga bamalayika abo be bokka abaali bakiikirira Yakuwa wano ku nsi mu kiseera ekyo. Yakuwa yali abalaba, era Bayibuli egamba nti: “Mukama n’akkiriza [Abbeeri] ne ky’awaddeyo.” (Olubereberye 4:4) Bayibuli tetulaga ngeri Katonda gye yakiragamu nti akkirizza oba asiimye ssaddaaka ya Abbeeri. Naye lwaki yasiima eya Abbeeri?
Yasinziira ku ekyo kye yawaayo? Abbeeri yawaayo ensolo ennamu, era yayiwa omusaayi gwayo ogw’omuwendo. Kirabika Abbeeri yakimanya nti ssaddaaka ng’eyo yali ya muwendo nnyo mu maaso ga Katonda. Nga wayiseewo ebyasa bingi, Katonda yakozesa ssaddaaka y’omwana gw’endiga ogutaliiko bulemu okukiikirira ssaddaaka y’Omwana we atuukiridde, eyandiyitiddwa “Omwana gw’Endiga owa Katonda,” era eyandiyiye omusaayi gwe ku lw’abantu. (Yokaana 1:29; Okuva 12:5-7) Wadde kyali kityo, Abbeeri teyamanya nti ekyo Katonda kye yandikoze.
Kye tumanyi kiri nti, Abbeeri yawaayo ekisingayo obulungi ku ebyo bye yalina. Yakuwa yasiima ssaddaaka era n’asiima ne Abbeeri eyagiwaayo. Yakuwa yamusiima olw’okuba yalina okukkiriza okw’amaanyi era ng’ayagala nnyo Yakuwa.
Naye Yakuwa teyasiima Kayini era ne ssaddaaka ye nayo teyagisiima. (Olubereberye 4:5) Tekitegeeza nti ssaddaaka ya Kayini yali nkyamu, kubanga oluvannyuma Katonda yakkiriza abantu okuwaayo ebiweebwayo eby’ebirime. (Eby’Abaleevi 6:14, 15) Ng’eyogera ku Kayini, Bayibuli egamba nti: “Ebikolwa bye byali bibi.” (1 Yokaana 3:12) Okufaananako abantu bangi nnyo leero, Kayini yali alowooza nti okuwaayo obuwi ssaddaaka kye kyandiraze nti ayagala Katonda. Ebikolwa bye byakyoleka bulungi nti teyalina kukkiriza era nti tayagala Yakuwa.
Kayini bwe yalaba nti Yakuwa tamusiimye, yayigira ku Abbeeri? Nedda. Yamukyawa bukyayi. Yakuwa yalaba ekyali mu mutima gwa Kayini era n’agezaako okumuyamba okukyusa endowooza ye. Yalabula Kayini nti yali anaatera okukola ekibi eky’amaanyi, era n’amugamba nti bwe yandikoze ebirungi, yandisiimiddwa.—Olubereberye 4:6, 7.
Mu kifo ky’okuwuliriza Katonda, Kayini yagamba muganda we bagendeko mu nnimiro, era eyo gye yamuttira. (Olubereberye 4:8) Tuyinza okugamba nti, Abbeeri ye muntu eyasookera ddala okuttibwa olw’okukkiririza mu Katonda. Wadde nga yafa, waliwo bingi bye tumuyigirako.
Mu ngeri ey’akabonero, omusaayi gwa Abbeeri gwakaabirira Yakuwa awoolere eggwanga. Era Katonda yasala omusango mu bwenkanya n’abonereza Kayini. (Olubereberye 4:9-12) Emyaka nga kikumi Abbeeri gye yamala ku nsi gyali mitono nnyo bw’ogigeraageranya ku myaka abantu ab’omu kiseera ekyo gye baawangalanga, naye Abbeeri yakozesa bulungi emyaka egyo ng’akola Katonda by’ayagala. Yafa ng’akimanyi nti Yakuwa, Kitaawe ow’omu ggulu, amwagala era amusiima. (Abebbulaniya 11:4) N’olwekyo, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa akyamujjukira, era ajja kumuzuukiza abeere mu lusuku lwa Katonda olujja okubeera ku nsi. (Yokaana 5:28, 29) Olibeerayo mu lusuku lwa Katonda osobole okumulaba? Oyinza okubeerayo singa owuliriza Abbeeri ky’agamba era n’ofuba okukoppa okukkiriza kwe.
a Ebigambo ‘entandikwa y’ensi’ bisobola okuba n’amakulu ag’okuzaala omwana, n’olwekyo biyinza okutegeeza omwana eyasooka okuzaalibwa. Kati olwo, lwaki Yesu yalaga nti Abbeeri ye yali ‘entandikwa y’ensi,’ ng’ate Kayini ye yasooka okuzaalibwa? Kayini yajeemera Yakuwa Katonda. Okufaananako bazadde be, kirabika Kayini y’omu ku bantu abatajja kuzuukizibwa oba okununulibwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 14]
Okwetegereza ebitonde kyayamba Abbeeri okukkiririza mu Mutonzi ow’okwagala