Ab’Oluganda Abaalina Endowooza ez’Enjawulo
OKUSALAWO abazadde kwe bakola awatali kubuusabuusa kukwata ku baana baabwe. Ekyo bwe kiri leero nga bwe kyali emabega mu lusuku Adeni. Obujeemu bwa Adamu ne Kaawa bwakola kinene nnyo ku lulyo lw’omuntu. (Olubereberye 2:15, 16; 3:1-6; Abaruumi 5:12) Newakubadde guli gutyo, bwe tuba nga tusazeewo, buli omu ku ffe asobola okukulaakulanya enkolagana ennungi n’omutonzi. Kino kyeyoleka bulungi ku bikwata ku Kayini ne Abbeeri, ab’oluganda abaasookera ddala mu byafaayo by’omuntu.
Tewaliiwo Byawandiikibwa biraga nti Katonda yayogera eri Adamu ne Kaawa oluvannyuma lw’okugobebwa mu lusuku Adeni. Wadde kyali kityo, Yakuwa teyagaana kwogera eri batabani baabwe. Awatali kubuusabuusa Kayini ne Abbeeri baamanya ebyali bibaddewo okuva ku bazadde baabwe. Baalabanga ‘bakerubi n’ekitala ekimyansa ekyekyusanga okukuuma ekkubo erituusa ku muti ogw’obulamu.’ (Olubereberye 3:24) Abasajja bano baalaba okutuukirira kw’ebyo Katonda bye yayogera nti obulamu bwandibaddemu obulumi n’okutegana.—Olubereberye 3:16, 19.
Kayini ne Abbeeri bateekwa okuba nga baali bamanyi ebigambo Katonda bye yayogera eri omusota nti: “Obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Olubereberye 3:15) Kayini ne Abbeeri kye baali bamanyi ku Yakuwa kyandibasobozesezza okukulaakulanya enkolagana ennungi naye.
Okufumiitiriza ku bunnabbi bwa Yakuwa n’engeri ze ennungi, kyandireetedde Kayini ne Abbeeri okwegomba okusiimibwa Katonda. Naye okwegomba okwo bandikukulaakulanyizza kutuuka wa? Bandikulaakulanyizza okwegomba kwabwe okw’omu butonde okw’okusinza Katonda ne batuuka n’okumukkiririzaamu?—Matayo 5:3.
Ab’Oluganda Baleeta Ebiweebwayo
Ekiseera kyatuuka Kayini ne Abbeeri ne bawaayo ebiweebwayo eri Katonda. Kayini yawaayo ebibala, ate Abbeeri n’awaayo abaana b’endiga ze. (Olubereberye 4:3, 4) Abasajja bano bayinza okuba nga baalina emyaka nga 100, kubanga Adamu we yazaalira Seemu mutabani we ow’okusatu, yalina emyaka 130.—Olubereberye 4:25; 5:3.
Olw’okuwaayo ebiweebwayo, Kayini ne Abbeeri baalaga nti baali bakkiriza embeera yaabwe ey’ekibi era nga baagala okusiimibwa Katonda. Bateekwa okuba nga baafumiitiriza ku kisuubizo kya Yakuwa ekikwata ku Zzadde ly’omukazi okubetenta omutwe gw’omusota. Kyokka, okufuba n’ebbanga lye baamala nga bakulaakulanya enkolagana ennungi ne Katonda tebimanyiddwa. Engeri Katonda gye yatunuuliramu ebiweebwayo byabwe etuyamba okutegeera endowooza yaabwe ey’omunda.
Abeekenneenya abamu bagamba nti, Kaawa yalowooza nti Kayini ye yali “ezzadde’’ eryandibesense omusota, kubanga Kayini bwe yazaalibwa, Kaawa yagamba: “Mpeereddwa omusajja eri Mukama.” (Olubereberye 4:1) Bwe kiba nti ne Kayini yalina endowooza eno, yali mukyamu. Ku luuyi olulala, Abbeeri yawaayo ssaddaaka ye n’okukkiriza. Bwe kityo, “olw’okukkiriza Abbeeri yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini.”—Abaebbulaniya 11:4.
Abbeeri okubeera nga yalina okutegeera okw’eby’omwoyo ate nga ye Kayini takulina, si ye yali enjawulo yokka eyaliwo wakati w’ab’oluganda bano. Baalina n’enjawulo mu ndowooza. N’olwekyo, “Mukama n’akkiriza [Abbeeri] ne ky’awaddeyo: naye Kayini ne ky’awaddeyo teyamukkiriza.” Kyandiba nga Kayini mu kuwaayo ekiweebwayo, yali atuukiriza butuukiriza mukolo. Katonda teyasiima kusinzibwa mu ngeri bw’etyo. Kayini yali afunye omutima omubi era Yakuwa yakitegeera nti yalina ebigendererwa ebikyamu. Engeri Kayini gye yeeyisaamu oluvannyuma lw’ekiweebwayo kye okugaanibwa, yayoleka endowooza ye. Mu kifo ky’okukyusa endowooza ye n’ebigendererwa bye, ‘Kayini yasunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka.’ (Olubereberye 4:5) Engeri gye yeeyisaamu yalaga nti yalina endowooza n’ebiruubirirwa ebikyamu.
Okulabula n’Ekyavaamu
Olw’okuba Katonda yali amanyi endowooza ya Kayini, yamubuulirira n’amugamba: ‘Kiki ekikusunguwaza? Era kiki ekikwonoonesa amaaso go? Bw’onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? Bw’otokola bulungi ekibi kikusemberedde era kyagala kukutwaliriza; onookiwangula?’—Olubereberye 4:6, 7, NW.
Waliwo kye tuyinza okuyigira ku kino. Mu butuufu essaawa yonna tusobola okugwa mu nsobi. Kyokka, Katonda atuwadde eddembe ly’okwesalirawo era tuyinza okulondawo okukola ekituufu. Yakuwa yagamba Kayini ‘akyuke akole obulungi,’ naye teyamukaka. Kayini yeesalirawo eky’okukola.
Ebyawandiikibwa byongera ne bigamba: “Kayini n’ayogera ne [Abbeeri] muganda we. Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n’alyoka agolokokera ku [Abbeeri] muganda we n’amutta.” (Olubereberye 4:8) Bwe kityo, Kayini yafuuka omujeemu era kalibutemu. Teyalaga nnyiike n’akatono Yakuwa bwe yamubuuza nti: “Aluwa [Abbeeri] muganda wo?” Wabula, awatali kulumwa kwonna, Kayini yaddamu nti: “Simanyi: nze mukuumi wa muganda wange?” (Olubereberye 4:9) Obulimba obwo obw’enkukunala n’okweggyako obuvunaanyizibwa obw’ekyo ky’akoze, byalaga nti Kayini yali talumirirwa muganda we n’akamu.
Yakuwa yakolimira Kayini era n’amugoba okuva awali olusuku Adeni. Kayini ye yandisinze okukwatibwako okukolimirwa kw’ettaka, era bwe yalimanga ebimera tebyaddanga. Yali wa kubeera mmomboze era omutambuze mu nsi. Kayini okwemulugunya olw’ekibonerezo ekyamuweebwa, kyalaga nti yali yeeraliikirira okuttibwa olw’okuba yatta muganda we. Naye kino kyali tekiraga nti yali yeenenyezza mu bwesimbu. Yakuwa yakolera Kayini “akabonero”—nga kirabika kyali kirangiriro ekimanyiddwa era ekyagobererwanga, era nga kirina ekigendererwa eky’okuziyiza abantu okumutta olw’okuwoolera eggwanga.—Olubereberye 4:10-15.
“Kayini n’ava mu maaso ga Mukama, n’atuula mu nsi ya Enodi mu maaso ga Adeni.” (Olubereberye 4: 16) Ng’afunye omukyala okuva mu bannyina oba mu baana ba bannyina, yazimba ekibuga kye yabbulamu erinnya lya mutabani we omuggulanda, Enoka. Muzzukulu wa Kayini Lameka yafuuka mutemu nga jjajjaawe. Naye olunyiriri lwa Kayini lwasaanawo mu Mataba ga Nuuwa.—Olubereberye 4:17-24.
Bye Tuyigamu
Tulina bye tuyinza okuyigira ku Kayini ne Abbeeri. Omutume Yokaana akubiriza Abakristaayo okwagalana, “si nga Kayini bwe yali ow’omubi n’atta muganda we.” Ebikolwa bya Kayini ‘byali bibi naye ebya muganda we byali bituukirivu.’ Yokaana agamba: “Buli muntu yenna akyawa muganda we ye mussi; era mumanyi nga tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo nga bubeera mu ye.” Yee, engeri gye tuyisaamu Bakristaayo bannaffe erina kinene ky’ekola ku nkolagana yaffe ne Katonda wamu n’ebiseera byaffe eby’omu maaso. Tetuyinza kukyawa wa luganda yenna ne tusuubira okusiimibwa Katonda.—1 Yokaana 3:11-15; 4:20.
Kayini ne Abbeeri bateekwa okuba nga baakuzibwa mu ngeri y’emu, wabula Kayini teyakkiririza mu Katonda. Mu butuufu, yayoleka omwoyo gw’Omulyolyomi, ‘omussi omubereberye era kitaawe w’obulimba.’ (Yokaana 8:44) Enneeyisa ya Kayini eraga nti ffenna tusobola okwesalirawo, era abo abalondawo okwonoona beeyawula ku Katonda, era Yakuwa abonereza abo abateenenya.
Ku luuyi olulala, Abbeeri yakkiririza mu Yakuwa. Mazima ddala, “olw’okukkiriza [Abbeeri] yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, eyamutegeezesa okuba n’obutuukirivu, Katonda bwe yategeereza ku birabo bye.” Wadde nga mu Byawandiikibwa temuliimu byayogerwa Abbeeri, okuyitira mu kyokulabirako kye ekirungi eky’okukkiriza kye yateekawo, “akyayogera.”—Abaebbulaniya 11:4.
Abbeeri ye yali omubereberye mu lukalala lw’abatambulira mu bugolokofu. Omusaayi gwe ‘ogwakaabirira Yakuwa,’ tegwerabirwanga. (Olubereberye 4:10; Lukka 11:48-51) Singa tubeera n’okukkiriza ng’okwa Abbeeri, naffe tusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.
[Akasanduuko akali ku lupapula 20]
OMULIMI N’OMULUNZI
Okulima n’okulabirira ebisolo bwe bumu ku buvunaanyizibwa Katonda bwe yawa Adamu. (Olubereberye 1:28; 2:15; 3:23) Mutabani wa Adamu, Kayini, yafuuka mulimi, ate Abbeeri n’abeera mulunzi. (Olubereberye 4:2) Okuva abantu bwe baali tebalya nnyama okutuusiza ddala oluvannyuma lw’Amataba, lwaki baalundanga endiga?—Olubereberye 1:29; 9:3, 4.
Okusobola okubeerawo, endiga zeetaaga okulabirirwa abantu. Omulimu Abbeeri gwe yakola, gulaga nti omuntu yali mulunzi wa nsolo zino okuviira ddala ku ntandikwa ye byafaayo bye. Ebyawandiikibwa tebyogera oba ng’abantu abaasooka baanywanga amata g’ebisolo, kyokka n’abatalya nnyama basobola okukozesa ebyoya by’endiga. Era ne bwe ziba zifudde, amaliba gaazo gasobola okweyambisibwa. Ng’ekyokulabirako, Katonda yakolera Adamu ne Kaawa “ebyambalo by’amaliba” n’abambaza.—Olubereberye 3:21.
Kirabika nti mu ntandikwa Kayini ne Abbeeri baakoleranga wamu. Baakolanga ebintu ebyasobozesanga ab’omu maka gaabwe okwambala n’okulya.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
“Ebikolwa bya Kayini byali bibi naye ebya muganda we byali bya butuukirivu”