Twatondebwa Kubeerawo Emirembe Gyonna
ABANTU bonna baagala okubeera mu bulamu obulungi era nga basanyufu emirembe gyonna. Lowooza ku bulamu bwe bwandibadde nga tuli balamu emirembe gyonna, nga tuli balamu bulungi era nga tuli basanyufu! Twandibadde n’obudde obumala okubeera ne mikwano gyaffe, okutambula mu bitundu byonna eby’ensi, okuyiga ebintu ebipya, n’okukola buli kimu ekitunyumira.
Lwaki abantu baagala nnyo okubeerawo emirembe gyonna? Bayibuli eraga nti Katonda ye yakiteeka mu mitima gyabwe. (Omubuulizi 3:11) Ate era egamba nti “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Ddala Katonda alina okwagala yanditutaddemu ekirowoozo eky’okwagala okubeerawo emirembe gyonna singa tekyali kya kubaawo?
Tewali n’omu ayagala kufa. Mu butuufu, okufa Bayibuli ekuyita “omulabe.” (1 Abakkolinso 15:26) Abantu abamu bafa mangu ate abalala ne bawangaalako, naye bonna ekibatuukako kye kimu. Abantu bangi batya okufa era tebaagala na kukulowoozaako. Waliwo essuubi lyonna nti omulabe oyo aliggibwaawo?
EBITUWA ESSUUBI
Katonda teyatonda bantu nga ba kufa. Ekitabo kya Bayibuli eky’Olubereberye kiraga nti Katonda yali ayagala abantu babeere ku nsi emirembe gyonna. Yakuwa Katonda yatonda ensi n’agiteekamu buli kimu abantu kye beetaaga okusobola okuba abalamu. Oluvannyuma yatonda omuntu eyasooka ayitibwa Adamu n’amuteeka mu lusuku Edeni. Oluvannyuma lw’ebyo, ‘Katonda yalaba nga byonna bye yali akoze birungi nnyo.’—Olubereberye 1:26, 31.
Adamu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda era ng’atuukiridde. (Ekyamateeka 32:4) Kaawa mukazi wa Adamu naye yali atuukiridde era nga taliiko kamogo konna. Yakuwa yabagamba nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo, era mufugenga ebyennyanja n’ebiramu ebibuuka mu bbanga n’ensolo zonna eziri ku nsi.”—Olubereberye 1:28.
Adamu ne Kaawa okusobola okuzaala ne bajjuza ensi yonna kyanditutte ekiseera kiwanvu. Bandizadde abaana, n’abaana ne bazaala, okutuusa ensi yonna lwe yandijjuddemu abantu nga Katonda bwe yali ayagala. (Isaaya 45:18) Ddala Yakuwa yandiwadde Adamu ne Kaawa obuvunaanyizibwa obwo singa baali ba kubeerawo kiseera kitono?
Ate lowooza ne ku buvunaanyizibwa bwe yabawa obw’okufuganga ebisolo. Katonda yagamba Adamu okutuuma ebisolo amanya era ekyo kyanditutte ekiseera kiwanvu. (Olubereberye 2:19) Naye okusobola okufuga ebisolo kyali kibeetaagisa okubiyiga obulungi n’okuyiga engeri y’okubirabiriramu. Ekyo kyanditutte ekiseera kiwanvu ddala.
N’olwekyo, Katonda okugamba abantu abaasooka okuzaala bajjuze ensi n’okufuga ebisolo, kiraga nti baali ba kubeerawo ekiseera kiwanvu nnyo ddala. Mu butuufu, Adamu yawangaala nnyo.
KATONDA AYAGALA ABANTU BABEEREWO EMIREMBE GYONNA KU NSI
BAAWANGAALA NNYO
Bayibuli eraga nti edda abantu baawangaalanga nnyo okusinga bwe kiri leero. Egamba nti: “Emyaka gyonna Adamu gye yawangaala gyali 930.” Oluvannyuma, emenya amanya g’abantu mukaaga abaawangaala emyaka egisukka mu 900! Abantu abo baali Seezi, Enosi, Kenani, Yaledi, Mesuseera, ne Nuuwa. Bonna baaliwo ng’amataba g’omu kiseera kya Nuuwa tegannabaawo, era Nuuwa yalina emyaka 600 amataba we gajjira ku nsi. (Olubereberye 5:5-27; 7:6; 9:29) Lwaki abantu abo baawangaalanga nnyo?
Abantu bonna baaliwo nga waakayita ekiseera kitono okuva mu kiseera Adamu ne Kaawa abaali batuukiridde we baabeererawo. Oboolyawo eyo ye nsonga enkulu eyabaviirako okuwangaala ennyo. Naye, okubeera omuntu atuukiridde kikwatagana kitya n’okuwangaala? Era okufa kuliggibwawo kutya? Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, twetaaga okusooka okumanya ensonga lwaki tukaddiwa ne tufa.