Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
“Kiwummulo” ki ekyogerwako mu Abaebbulaniya 4:9-11, era omuntu ‘ayingira atya mu kiwummulo ekyo’?
Omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ebigambo bino: “Kale wasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda. Kubanga ayingidde mu kiwummulo kye, era naye ng’awummudde mu mirimu gye, nga Katonda bwe yawummula mu gigye. Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna aleme okugwa mu ngeri eyo ey’obutagonda.”—Abaebbulaniya 4:9-11.
Pawulo bwe yayogera ku kya Katonda okuwummula emirimu gye, kirabika yali ajuliza ebyo ebiri mu Olubereberye 2:2, we tusoma: “Katonda n’amalira ku lunaku olw’omusanvu emirimu gye gye yakola; n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu mu mirimu gye gyonna gye yakola.” Lwaki Katonda ‘yawummulira ku lunaku olw’omusanvu’? Kya lwatu, tekiri nti yali yeetaaga okuddamu endasi ‘olw’ebyo byonna bye yali amaze okukola.’ Olunyiriri oluddako lulina kye lututegeeza ku nsonga eyo: “Katonda n’awa omukisa olunaku olw’omusanvu n’alutukuza: kubanga olwo lwe yawummuliramu mu mirimu gye gyonna Katonda gye yatonda gye yakola.”—Lubereberye 2:3; Isaaya 40:26, 28.
“Olunaku olw’omusanvu” lwali lwawukana ku nnaku omukaaga ezaasooka, kubanga lwe lunaku Katonda lwe yawa omukisa era lwe yatukuza, kwe kugamba, olunaku lwe yayawulako, oba lwe yawaayo, olw’ekigendererwa eky’enjawulo. Ekyo kyali kigendererwa ki? Emabegako, Katonda yali abikkudde ekigendererwa kye ekikwata ku bantu n’ensi. Katonda yagamba omusajja n’omukazi abasooka ebigambo bino: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.” (Olubereberye 1:28) Wadde nga Katonda yali awadde abantu n’ensi entandikwa etuukiridde, kyanditute ekiseera okufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda olujjudde abantu abatuukiridde, ng’ekigendererwa kye bwe kyali. N’olwekyo, ku “lunaku olw’omusanvu,” Katonda yawummula emirimu gy’okutonda ebintu ebirala ku nsi kisobozese bye yali amaze okutonda okukulaakulana ng’ekigendererwa kye bwe kyali. Ku nkomerero ‘y’olunaku olw’omusanvu,’ ebigendererwa bya Katonda byonna byandibadde bituukiriziddwa. Ekiwummulo ekyo kyenkana wa obuwanvu?
Mu bigambo bya Pawulo ebiri mu Abaebbulaniya, yagamba nti “wasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda,” era yakubiriza Bakristaayo banne okukola kyonna ekisoboka “okuyingira mu kiwummulo ekyo.” Ekyo kiraga nti Pawulo we yawandiikira ebigambo ebyo, “olunaku olw’omusanvu” olw’ekiwummulo kya Katonda, olwali lwatandika emyaka nga 4000 emabega, lwali lukyagenda mu maaso. Telujja kukoma okutuusa ng’ekigendererwa kya Katonda ekikwata ku bantu n’ensi, kimaze okutuukirizibwa mu bujjuvu ku nkomerero y’emyaka Olukumi egy’obufuzi bwa Yesu Kristo, “Mukama wa Ssabbiiti.”—Matayo 12:8; Okubikkulirwa 20:1-6; 21:1-4.
Ng’alina essuubi eryo ery’ekitalo, Pawulo yannyonnyola engeri omuntu gy’ayinza okuyingiramu mu kiwummulo kya Katonda. Yawandiika: ‘Omuntu ayingidde mu kiwummulo kya Katonda nga naye awummudde mu mirimu gye.’ Ekyo kitutegeeza nti wadde nga baalina entandikwa etuukiridde, abantu bonna okutwalira awamu baali tebayingiranga mu kiwummulo kya Katonda. Ekyo kiri bwe kityo kubanga Adamu ne Kaawa tebaamala kiseera kiwanvu mu kiwummulo kya Katonda ku “lunaku olw’omusanvu” nga bagoberera enteekateeka gye yali abakoledde. Wabula, baajeema era ne baagala okwetwala bokka awatali bulagirizi bwa Katonda. Mu butuufu, baagoberera enteekateeka za Setaani mu kifo ky’okukkiriza obulagirizi bwa Katonda obw’okwagala. (Lubereberye 2:15-17) N’ekyavaamu, baafiirwa essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda olw’oku nsi emirembe gyonna. Okuva olwo, abantu bonna, baafuuka baddu b’ekibi n’okufa.—Abaruumi 5:12, 14.
Obujeemu bw’omuntu tebwaziyiza kigendererwa kya Katonda. Olunaku lwe olw’ekiwummulo lukyagenda mu maaso. Kyokka, Yakuwa yakola enteekateeka ey’okwagala. Enteekateeka eyo kye kinunulo, okuyitira mu Mwana we, Yesu Kristo, kisobozese bonna abagikkiriza okusumululwa mu buddu bw’ekibi n’okufa. (Abaruumi 6:23) Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne ‘okuwummula emirimu gyabwe.’ Kyali kibeetaagisa okukkiriza enteekateeka ya Katonda ey’okubanunula mu kifo ky’okugezaako okukolerera biseera byabwe eby’omu maaso mu ngeri eyaabwe ku bwabwe nga Adamu ne Kaawa bwe baakola. Era kyali kibeetaagisa okwewala ebikolwa eby’okwefaako bokka.
Okwewala ebikolwa eby’okwefaako wekka n’okuluubirira ebintu ebitaliimu okusobola okukola Katonda by’ayagala, mazima ddala kizzaamu nnyo amaanyi. Yesu yagamba bw’ati: “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.”—Matayo 11:28-30.
Pawulo bye yayogera ku kiwummulo kya Katonda ne ku ngeri omuntu gy’ayinza okukiyingiramu, mazima ddala kyazzaamu nnyo amaanyi Abakristaayo Abaebbulaniya abaali mu Yerusaalemi, abaali bagumiikirizza okuyigganyizibwa n’okuvumibwa olw’okukkiriza kwabwe. (Ebikolwa 8:1; 12:1-5) Mu ngeri y’emu, ebigambo bya Pawulo bisobola okuzzaamu Abakristaayo amaanyi leero. Bwe tutegeera nti Katonda ali kumpi okutuukiriza ekisuubizo kye eky’okufuula ensi olusuku lwe wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwe obutukuvu, naffe tusaanidde okuwummula emirimu gyaffe era tukole kyonna kye tusobola okuyingira mu kiwummulo kye.—Matayo 6:10, 33; 2 Peetero 3:13
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Ekisuubizo kya Katonda eky’okufuula ensi olusuku lwe, kijja kutuukirizibwa ku nkomerero y’ekiwummulo kye