Essuula Ey’okutaano
Eddembe Abasinza Yakuwa Lye Balina
1, 2. (a) Ddembe lya ngeri ki Katonda lye yawa abantu ababiri abaasooka? (b) Menya agamu ku mateeka Adamu ne Kaawa ge baalina okugoberera.
YAKUWA bwe yatonda omusajja n’omukazi abaasooka, baalina eddembe erisingira ewala eryo abantu lye balina leero. Amaka gaabwe gaali Lusuku lwa Katonda, Olusuku Adeni olwali lufaanana obulungi ennyo. Baanyumirwanga obulamu awatali kulwala kwonna, kubanga baali batuukiridde. Tebaali ba kufa nga bwe kiri kati. Era tebaalinga ba kumala gagoberera bugoberezi biragiro awatali kulowooza, wabula baalina eddembe ery’okwesalirawo. Kyokka, okusobola okweyongera okuba n’eddembe eryo ery’ekitalo, baalina okussa ekitiibwa mu mateeka ga Katonda.
2 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mateeka agafuga obutonde Katonda ge yateekawo. Kya lwatu nti amateeka gano tegaali mu buwandiike, naye Adamu ne Kaawa mu butonde baakolebwa nga ba kugagondera. Enjala yabalaganga nti beetaaga okulya; ennyonta nti beetaaga okunywa; enjuba okugolooba nti beetaaga okwebaka. Ate era Yakuwa yabawa omulimu ogw’okukola. Mu butuufu, omulimu ogwo gwali tteeka, kubanga gwali gwoleka bye baalina okukola. Baali ba kuzaala, okufuga ebitonde ebirala ebyalina obulamu, n’okugaziya olusuku lwa Katonda okutuusa bwe lwandibunye ensi yonna. (Olubereberye 1:28; 2:15) Ng’eryo lyali tteeka lya muganyulo nnyo! Lyabawa omulimu ogumatiza, ogwandibasobozesezza okukozesa obusobozi bwabwe mu bujjuvu mu ngeri ezizimba. Era baalina eddembe okusalawo engeri gye bandikozeemu omulimu ogwo ogwabaweebwa. Kati olwo, kiki ekirala kye baali beetaaga?
3. Adamu ne Kaawa bandiyize batya okukozesa eddembe lyabwe mu ngeri ey’amagezi nga basalawo?
3 Kya lwatu, Adamu ne Kaawa bwe baaweebwa enkizo ey’okwesalirawo, kyali tekitegeeza nti buli kyonna kye bandisazeewo kyandivuddemu ebirungi. Eddembe ly’okwesalirawo lye baalina, lyalina okukozesebwa nga bagoberera amateeka ga Katonda n’emisingi gye. Emisingi egyo n’amateeka bandibitegedde batya? Nga bawuliriza Omutonzi waabwe era nga beetegereza bye yakola. Katonda yawa Adamu ne Kaawa amagezi ge baali beetaaga okusobola okussa mu nkola bye baayiga. Okuva bwe baatondebwa nga batuukiridde, bandibadde basobola okwoleka engeri za Katonda nga basalawo eby’okukola. Mazima ddala, bandifubye okukikola singa ddala baali basiima ebyo Katonda bye yali abakoledde era nga baagala okumusanyusa.—Olubereberye 1:26, 27; Yokaana 8:29.
4. (a) Ekiragiro ky’obutalya ku kibala eky’omuti ogumu ekyaweebwa Adamu ne Kaawa, kyabaggyako eddembe lyabwe? (b) Lwaki ekiragiro ekyo kyali kisaanira?
4 N’olwekyo, Katonda yasalawo okugezesa okwagala kwe baalina gy’ali ng’Oyo Eyabawa Obulamu, era n’okulaba obanga baali beetegefu okumugondera. Yakuwa yawa Adamu ekiragiro kino: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:16, 17) Ne Kaawa yategeezebwa etteeka lino ng’amaze okutondebwa. (Olubereberye 3:2, 3) Etteeka eryo lyabaggyako eddembe lyabwe? N’akatono. Baalina emmere nnyingi ey’ebika ebitali bimu nga tekibeetaagisa kulya ku muti ogwo ogumu gwe baagaanibwa okulyako. (Olubereberye 2:8, 9) Kyali kibeetaagisa okukitegeera nti ensi ya Katonda, okuva bwe kiri nti ye yagitonda. N’olwekyo, y’alina obuyinza okussaawo amateeka agatuukana n’ekigendererwa kye era agaganyula abantu.—Zabbuli 24:1, 10.
5. (a) Adamu ne Kaawa baafiirwa batya eddembe ery’ekitalo lye baalina? (b) Kiki ekyadda mu kifo ky’eddembe Adamu ne Kaawa lye baalina, era tukwatiddwako tutya?
5 Naye kiki ekyabaawo? Nga yeenoonyeza ebibye, malayika omu yakozesa bubi eddembe lye ery’okwesalirawo era n’afuuka Setaani, ekitegeeza “Omuziyiza.” Yalimba Kaawa ng’amusuubiza ekintu ekyali kikontana ne Katonda by’ayagala. (Olubereberye 3:4, 5) Adamu yeegatta ku Kaawa mu kumenya etteeka lya Katonda. Olw’okutwala ekitaali kyabwe, baafiirwa eddembe lyabwe ery’ekitalo. Ekibi kyatandika okubafuga, era nga Katonda bwe yali alabudde, oluvannyuma baafa. N’abaana baabwe baasikira ekibi. Era ekibi kyaleeta okulwala, okukaddiwa, n’okufa. Ekibi n’enkola ya Setaani byaleetera abantu okwoleka obukyayi, okwenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka, okunyigiriza abalala, era n’okwenyigira mu ntalo eziviiriddeko obukadde n’obukadde bw’abantu okufa. Ng’embeera eyo ya njawulo nnyo ku eyo ey’eddembe Katonda lye yawa abantu ku ntandikwa!—Ekyamateeka 32:4, 5; Yobu 14:1, 2; Abaruumi 5:12; Okubikkulirwa 12:9.
Eddembe Gye Liyinza Okusangibwa
6. (a) Eddembe erya nnamaddala liyinza kusangibwa wa? (b) Ddembe lya ngeri ki Yesu lye yayogerako?
6 Olw’embeera embi eziriwo leero, tekyewuunyisa nti abantu bayaayaanira eddembe erisingako. Naye eddembe erya nnamaddala liyinza kusangibwa wa? Yesu yagamba: “Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala; era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:31, 32) Eddembe lino si lyeryo abantu lye baba basuubira okufuna bwe bakyusa omufuzi oba enkola ya gavumenti. Wabula lino liyamba okukola ku bizibu by’abantu. Wano Yesu yali ayogera ku kusumululwa mu buddu bw’ekibi. (Yokaana 8:24, 34-36) Bwe kityo, omuntu bw’afuuka omuyigirizwa wa Yesu Kristo, afuna enkyukakyuka ey’amaanyi mu bulamu bwe, anunulibwa!
7. (a) Tuyinza tutya okusumululwa mu kibi mu kiseera kino? (b) Okusobola okusumululwa mu ngeri eyo, tuteekwa kukola ki?
7 Kino tekitegeeza nti mu kiseera kino Abakristaayo ab’amazima tebakyatwalirizibwa kibi. Okuva bwe baasikira ekibi, balwanagana nakyo. (Abaruumi 7:21-25) Kyokka, singa omuntu agoberera okuyigiriza kwa Yesu, tajja kubeera muddu wa kibi. Ekibi tekijja kumufuga. Tajja kubeera mu bulamu obutalina kigendererwa era obuleetera omuntu we ow’omunda okumulumiriza. Ajja kuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo mu maaso ga Katonda, kubanga ebibi bye eby’emabega bijja kuba bisonyiyiddwa olw’okukkiririza mu ssaddaaka ya Kristo. Engeri z’ekibi ziyinza okugezaako okumutwaliriza, naye bw’azeesamba ng’ajjukira enjigiriza za Kristo ennyonjo, alaga nti ekibi tekikyamufuga.—Abaruumi 6:12-17.
8. (a) Ddembe ki Obukristaayo obw’amazima lye butuwadde? (b) Twandibadde na ndowooza ki eri ab’obuyinza abafuga?
8 Lowooza ku ddembe lye tulina ng’Abakristaayo. Tununuddwa okuva ku njigiriza ez’obulimba, endowooza ez’obulimba, n’obuddu obw’ekibi. Amazima ag’ekitalo agakwata ku mbeera y’abafu n’okuzuukira gatusumuludde okuva mu kutya okufa. Okumanya nti mu kifo kya gavumenti z’abantu wajja kuddawo Obwakabaka bwa Katonda, kitusumulula mu mbeera ey’obutaba na ssuubi. (Danyeri 2:44; Matayo 6:10) Kyokka, eddembe eryo terituwa bbeetu kunyooma ba buyinza n’amateeka gaabwe.—Tito 3:1, 2; 1 Peetero 2:16, 17.
9. (a) Yakuwa atuyamba atya okufuna eddembe eriyinza okufunibwa abantu kati? (b) Tuyinza tutya okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
9 Yakuwa tatuleka kwezuulira ku lwaffe ngeri esinga obulungi ey’okweyisaamu. Amanyi engeri gye twakolebwamu, n’ekyo ekituleetera okumatira okwa nnamaddala, era n’ekinaatuganyula ebbanga lyonna. Amanyi ebirowoozo n’empisa ebiyinza okwonoona enkolagana ennungi omuntu gy’alina naye era ne bantu banne, n’ebiyinza okumulemesa okutuuka mu nsi empya. Mu ngeri ey’okwagala, Yakuwa atutegeeza ebintu bino byonna okuyitira mu Baibuli n’entegeka ye ey’oku nsi. (Makko 13:10; Abaggalatiya 5:19-23; 1 Timoseewo 1:12, 13) Kati olwo kiri eri ffe okukozesa eddembe Katonda lye yatuwa okusalawo kye tunaakola. Okwawukana ku Adamu, bwe tugoberera Baibuli ky’etugamba, tujja kusalawo mu ngeri ey’amagezi. Tujja kukiraga nti enkolagana ennungi ne Yakuwa kye kisinga obukulu mu bulamu bwaffe.
Abamu Baagala Eddembe ery’Ekika Ekirala
10. Ddembe lya kika ki Abajulirwa ba Yakuwa abamu lye baluubirira?
10 Emirundi egimu, abavubuka abamu Abajulirwa ba Yakuwa, era n’abakulu abamu bayinza okuwulira nga baagala eddembe ery’ekika ekirala. Ensi eyinza okubasikiriza, era gye bakoma okugirowoozaako, gye bakoma okwegomba ebintu ebiganzi mu nsi ebikontana n’enneeyisa ey’Ekikristaayo. Abalinga abo bayinza obutaba na kiruubirirwa kya kwekamirira malagala, okutamiira oba okwenda. Naye bayinza okutandika okukolagana n’abo abatali Bakristaayo b’amazima nga baagala okusiimibwa abantu abo. Bayinza n’okutandika okukoppa enjogera n’empisa zaabwe.—3 Yokaana 11.
11. Emirundi egimu, okusikirizibwa okukola ebikyamu kuva wa?
11 Emirundi egimu, okusikirizibwa okwenyigira mu mpisa ezitali za Kikristaayo kuyinza okuva eri omuntu agamba nti aweereza Yakuwa. Nga bwe kyali eri abamu ku Bakristaayo abaasooka, kiyinza okubaawo ne leero. Emirundi mingi abantu ng’abo bakola ebintu bye balowooza nti bijja kubaleetera essanyu, naye ng’ate bikontana n’amateeka ga Katonda. Bakubiriza abalala ‘okwesanyusaamu.’ ‘Babasuubiza eddembe, so nga ate bo bennyini baddu ba bikolwa ebibi.’—2 Peetero 2:19.
12. Bintu ki ebibi ebiva mu mpisa ezikontana n’amateeka ga Katonda era n’emisingi gye?
12 Ebibala ebiva mu ddembe ng’eryo biba bibi nnyo, olw’okuba okwo kuba kujeemera mateeka ga Katonda. Ng’ekyokulabirako, obwenzi buyinza okuviirako omuntu we ow’omunda okumulumiriza, endwadde, okufa, embuto ezitaagalibwa era oboolyawo n’obufumbo okusattulukuka. (1 Abakkolinso 6:18; 1 Abasessalonika 4:3-8) Okwekamirira amalagala kuleetera omuntu okunyiiganyiiga amangu, okwogera obubi, obutalaba bulungi, okufuna kantoolooze, obutassa bulungi, okufuna akalogojjo era n’okufa. Kiyinza okumuviiramu okubeera omuddu w’amalagala ago, ekiyinza okumuleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka asobole okuwanirira omuze ogwo. Ebintu bye bimu biyinza okuva mu kwekamirira omwenge. (Engero 23:29-35) Abo abeenyigira mu mpisa ng’ezo bayinza okulowooza nti balina eddembe, naye bakizuula luvannyuma nti bafuuse baddu ba kibi. Ekibi nga kifuga bubi nnyo! Okufumiitiriza ku nsonga eyo kati kiyinza okutukuuma ne tutatuuka mu mbeera ng’eyo.—Abaggalatiya 6:7, 8.
Engeri Emitawaana Gye Gitandikamu
13. (a) Okwegomba okuvaamu emitawaana kutandika kutya? (b) Ndowooza y’ani gye twetaaga okusobola okutegeera ‘emikwano emibi’? (c) Ng’oddamu ebibuuzo ebiri mu katundu 13, ggumiza endowooza ya Yakuwa.
13 Lowooza ku ngeri emitawaana gye gitandikamu. Baibuli ennyonnyola: “Buli muntu akemebwa, ng’awalulwa okwegomba kwe ye n’asendebwasendebwa. Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n’okwonoona okwo, bwe kumala okukula, ne kuzaala okufa.” (Yakobo 1:14, 15) Okwegomba kutandika kutya? Okuva ku ebyo by’olowooza. Emirundi mingi ekyo kiva ku kukolagana n’abantu abatagoberera misingi gya Baibuli. Kya lwatu tukimanyi nti tusaanidde okwewala ‘emikwano emibi.’ (1 Abakkolinso 15:33) Naye emikwano emibi gye giruwa? Ensonga Yakuwa agitunuulira atya? Okufumiitiriza ku bibuuzo ebiddirira wammanga n’okukebera ebyawandiikibwa ebiweereddwa kijja kutuyamba okutuuka ku kusalawo okutuufu.
Okuba nti abantu abamu bassibwamu ekitiibwa, kitegeeza nti mikwano mirungi? (Olubereberye 34:1, 2, 18, 19)
Engeri gye banyumyamu era gye basaagamu naffe eraga nti mikwano gyaffe egy’oku lusegere? (Abeefeso 5:3, 4)
Yakuwa awulira atya bwe tukola omukwano ogw’oku lusegere n’abantu abatamwagala? (2 Ebyomumirembe 19:1, 2)
Wadde nga tuyinza okukola oba okusoma n’abantu bwe tutafaananya nzikiriza, lwaki kitwetaagisa okwegendereza? (1 Peetero 4:3, 4)
Okulaba ttivi, firimu, okukozesa Internet, okusoma ebitabo, magazini n’empapula z’amawulire ngeri ez’enjawulo ez’okukolaganamu n’abantu abalala. Naye biki bye twandyekuumye mu bintu ng’ebyo? (Engero 3:31; Isaaya 8:19; Abeefeso 4:17-19)
Emikwano gye tulonda giraga nti tuli bantu ba ngeri ki mu maaso ga Yakuwa? (Zabbuli 26:1, 4, 5; 97:10)
14. Ddembe ki ery’ekitalo abo abagoberera okubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda lye bajja okufuna?
14 Mu maaso awo tusuubira ensi ya Katonda empya. Okuyitira mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu, abantu bajja kununulibwa mu nkola ya Setaani n’embeera ze embi ez’ebintu. Mpolampola, byonna ebyava mu kibi bijja kuggibwawo, abantu baddemu okuba nga batuukiridde mu birowoozo ne mu mubiri, era kibasobozese okubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Ebitonde byonna bijja kufuna eddembe erituukagana ‘n’omwoyo gwa Yakuwa.’ (2 Abakkolinso 3:17) Kyandibadde kya magezi okufiirwa ebyo byonna olw’okusuula omuguluka okubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda? Nga tukozesa bulungi eddembe lyaffe ery’Ekikristaayo leero, ffenna ka tukirage nti ddala twagala ‘eddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.’—Abaruumi 8:21.
Eby’Okwejjukanya
• Ddembe lya ngeri ki abantu ababiri abaasooka lye baalina? Lyawukana litya n’embeera abantu gye balimu kati?
• Ddembe ki Abakristaayo ab’amazima lye balina? Lyawukana litya n’ekyo ensi ky’etwala okuba eddembe?
• Lwaki kikulu nnyo okwewala emikwano emibi? Okwawukana ku Adamu, ani gwe twanditunuu- lidde okusobola okusalawo ekituufu n’ekikyamu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 46]
Ekigambo kya Katonda kirabula: ‘Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi’