Engeri Gye Tuyinza Okufunamu Eddembe Erya Nnamaddala
“Singa Omwana abafuula ba ddembe, mujja kubeerera ddala ba ddembe.”—YOK. 8:36.
1, 2. (a) Kiki ekiraga nti abantu baagala okufuna eddembe? (b) Biki ebivudde mu kufuba kwabwe?
LEERO abantu boogera nnyo ku mwenkanonkano ne ku ddembe. Abantu mu bitundu bingi baagala okuva mu mbeera ey’okunyigirizibwa, ey’okusosolebwa, n’ey’obwavu. Abalala baagala okuweebwa eddembe ery’okwogera n’ery’okwesalirawo. Abantu buli wamu baagala okuba n’eddembe okukola byonna bye baagala.
2 Abantu bakola ebintu eby’enjawulo okusobola okufuna eddembe lye baagala. Abamu basalawo okwekalakaasa, okwegugunga, oba okufuba okuleetawo enkyukakyuka. Naye ebintu ng’ebyo biyambye abantu okufuna eddembe lye baagala? Nedda. Mu kifo ky’ekyo, emirundi mingi bivuddemu emitawaana egy’amaanyi n’okufiirwa obulamu. Ekyo kiraga obutuufu bw’ebigambo bino Kabaka Sulemaani bye yayogera: ‘Omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’—Mub. 8:9.
3. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okufuna essanyu n’okuba abamativu?
3 Omuyigirizwa Yakobo yalaga ekintu ekisobola okuyamba abantu okufuna essanyu erya nnamaddala n’okuba abamativu. Yagamba nti: “Oyo eyeetegereza amateeka agaatuukirira, ag’eddembe, era n’aganyiikiriramu, . . . ajja kuba musanyufu mu kukola bw’atyo.” (Yak. 1:25) Yakuwa, eyawa abantu amateeka ago agaatuukirira, amanyi bulungi ebintu bye beetaaga okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala n’okuba abamativu. Yawa abantu abaasooka ebintu byonna bye baali beetaaga okusobola okuba abasanyufu, nga muno mwali n’eddembe erya nnamaddala.
ABANTU BAALINA EDDEMBE ERYA NNAMADDALA
4. Ddembe ki Adamu ne Kaawa lye baalina? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)
4 Ebyo bye tusoma mu ssuula ebbiri ezisooka ez’ekitabo ky’Olubereberye biraga nti Adamu ne Kaawa baalina eddembe erya nnamaddala, abantu leero lye beegomba okuba nalyo. Baalina buli kimu kye baali beetaaga, tebaalina kibatiisa, era tebaalina abanyigiriza. Baali tebeeraliikirira kya kulya, mulimu gwa kukola, bulwadde, na kufa. (Lub. 1:27-29; 2:8, 9, 15) Naye ekyo kitegeeza nti eddembe Adamu ne Kaawa lye baalina lyali lya nkomeredde? Ka tulabe.
5. Kiki ekyetaagisa abantu okusobola okuganyulwa mu ddembe lye balina?
5 Abantu bangi leero balowooza nti okusobola okuba n’eddembe erya nnamaddala, balina okuba nga basobola okukola buli kimu kye baagala, ka kibe ki ekivaamu. Ekitabo ekiyitibwa The World Book Encyclopedia kigamba nti omuntu okuba n’eddembe “aba alina okuba ng’asobola okwesalirawo era n’akolera ku ekyo ky’aba asazeewo.” Kyokka era kigamba nti: “Abantu baba n’eddembe erya nnamaddala singa amateeka gavumenti ge zibateerawo gaba ga bwenkanya, geetaagisa, era nga tegabakugira kiteetaagisa.” Ekyo kiraga nti amateeka agamu geetaagisa abantu bonna okusobola okuganyulwa mu ddembe eriba libaweereddwa. Naye ekyebuuzibwa kiri nti: Ani alina obuyinza okussaawo amateeka ag’obwenkanya, ageetaagisa, era agatakugira kiteetaagisa?
6. (a) Lwaki Yakuwa yekka y’alina eddembe ery’enkomeredde? (b) Ddembe lya ngeri ki abantu lye balina, era lwaki?
6 Bwe kituuka ku ddembe, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa Katonda yekka y’alina eddembe ery’enkomeredde. Lwaki? Kubanga Yakuwa ye Mutonzi w’ebintu byonna era ye Mufuzi w’obutonde bwonna. (1 Tim. 1:17; Kub. 4:11) Lowooza ku bigambo Kabaka Dawudi bye yakozesa ng’ayogera ku kifo ekya waggulu ennyo Yakuwa ky’alina. (Soma 1 Ebyomumirembe 29:11, 12.) Ebitonde byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi birina eddembe naye eddembe eryo si lya nkomeredde, liriko ekkomo. Birina okukimanya nti Yakuwa Katonda y’alina obuyinza obw’enkomeredde okussaawo amateeka ag’obwenkanya, ageetaagisa, era agatakugira kiteetaagisa. Ekyo kyennyini Yakuwa kye yakolera abantu okuviira ddala ku ntandikwa.
7. Agamu ku mateeka agaatutonderwamu agatuleetera essanyu ge galuwa?
7 Wadde nga Adamu ne Kaawa baalina eddembe lingi, era baalina amateeka ge baalina okugoberera. Agamu ku mateeka ago gaabatonderwamu. Ng’ekyokulabirako, bazadde baffe abo abaasooka baali bakimanyi nti okusobola okuba abalamu baalina okussa, okulya, okwebaka, n’okukola ebintu ebirala. Okukola ebintu ebyo kyabaleetera okuwulira nti tebalina ddembe? Nedda, kubanga Yakuwa yakiraba nti okukola ebintu ebyo kyandibaleetedde essanyu n’obumativu. (Zab. 104:14, 15; Mub. 3:12, 13) Ani ku ffe atawulira bulungi ng’assa empewo ennungi, ng’alya emmere esinga okumuwoomera, oba nga yeebase otulo otuwoomu? Ebintu ebyo tubikola n’essanyu era tetuwulira nti bitukugira oba nti mugugu gye tuli. Adamu ne Kaawa nabo bwe batyo bwe baali bawulira.
8. Kiragiro ki Katonda kye yawa bazadde baffe abaasooka, era lwaki yakibawa?
8 Yakuwa era yalagira Adamu ne Kaawa okuzaala bajjuze ensi era bagirabirire. (Lub. 1:28) Etteeka eryo lyabamalako eddembe? Nedda! Yakuwa yalibawa basobole okukolera awamu naye okutuukiriza ekigendererwa kye, eky’okufuula ensi yonna olusuku lwe ng’erimu abantu abatuukiridde era nga bagibeeramu emirembe gyonna. (Is. 45:18) Leero abantu bwe basalawo okusigala obwannamunigina oba okufumbiriganwa naye ne batazaala, baba tebamenye tteeka lya Katonda. Kyokka abantu abasinga obungi bayingira obufumbo era ne bazaala abaana wadde ng’ekyo kirimu okusoomooza kwa maanyi. (1 Kol. 7:36-38) Lwaki? Kubanga, mu mbeera eza bulijjo, abantu bafuna essanyu mu kuzaala n’okukuza abaana. (Zab. 127:3) Adamu ne Kaawa baali bajja kunyumirwa obufumbo bwabwe emirembe gyonna era kyandibaleetedde essanyu lingi okulaba ku baana baabwe ne bazzukulu baabwe.
ENGERI ABANTU GYE BAAFIIRWA EDDEMBE ERYA NNAMADDALA
9. Lwaki si kituufu kugamba nti ekiragiro kya Katonda ekiri mu Olubereberye 2:17 tekyali kya bwenkanya, kyali tekyetaagisa, oba nti kyali kikugira abantu ekiteetaagisa?
9 Yakuwa era yawa Adamu ne kaawa ekiragiro ekirala, era n’ababuulira n’ekibonerezo kye bandifunye nga bakijeemedde. Yabagamba nti: “Omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Lub. 2:17) Ddala ekiragiro ekyo tekyali kya bwenkanya, kyali tekyetaagisa, oba kyali kibakugira ekiteetaagisa? Kyali kimalako Adamu ne Kaawa eddembe? Nedda. Mu butuufu abeekenneenya ba Bayibuli bangi balaga nti ekiragiro ekyo kyali kirungi era nga kisaana. Ng’ekyokulabirako, omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: “Ekiragiro kya Katonda ekiri mu [Olubereberye 2:16, 17] kiraga nti Katonda yekka y’amanyi ekirungi . . . abantu kye beetaaga, era Katonda yekka y’amanyi ekitali kirungi . . . eri abantu. Okusobola okufuna ‘ekirungi’ ekyo, abantu balina okwesiga Katonda n’okumugondera. Bwe bajeemera Katonda, baba balina okwesalirawo ekyo kye balowooza nti kye kirungi . . . n’ekyo kye balowooza nti si kirungi.” Obwo buvunaanyizibwa bwa maanyi bwe batasobola kutuukiriza mu busobozi bwabwe.
10. Lwaki tulina okumanya enjawulo eriwo wakati w’okuba n’eddembe ly’okwesalirawo n’okuba n’obuyinza okusalawo ekituufu n’ekikyamu?
10 Abamu bwe basoma ku kiragiro Yakuwa kye yawa Adamu bagamba nti Adamu yaggibwako eddembe okukola ky’ayagala. Mu kwogera batyo baba tebategeera njawulo eriwo wakati w’okukozesa eddembe ery’okwesalirawo n’okuba n’obuyinza okusalawo ekituufu n’ekikyamu. Adamu ne Kaawa baalina eddembe okusalawo okugondera Katonda oba obutamugondera. “Omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi” ogwali mu lusuku Edeni gwali gulaga nti Yakuwa yekka y’alina obuyinza okusalawo ekituufu n’ekikyamu. (Lub. 2:9) Ekituufu kiri nti, oluusi tetusobola kumanya ebyo ebinaava mu ebyo bye tuba tusazeewo, era tetusobola kukakasa nti ebinaava mu ebyo bye tusazeewo binaaba birungi. Eyo ye nsonga lwaki emirundi mingi tulaba abantu nga basalawo ku bintu ebitali bimu nga balina ebigendererwa ebirungi naye bye basalawo ne bivaamu okubonaabona, obutyabaga, n’ennaku. (Nge. 14:12) Ekyo kiri kityo kubanga obusobozi bw’abantu buliko ekkomo. Mu kuwa Adamu ne Kaawa ekiragiro ekyo, Yakuwa yali abayigiriza engeri gye baalina okukozesaamu eddembe lyabwe. Lwaki tugamba tutyo era kiki Adamu ne Kaawa kye baakola?
11, 12. Lwaki ekyo Adamu ne Kaawa kye baasalawo okukola tekyali kya magezi? Waayo ekyokulabirako.
11 Adamu ne Kaawa baasalawo okujeemera Katonda. Sitaani yagamba nti bwe bandijeemedde Katonda ‘amaaso gaabwe gandizibuse ne baba nga Katonda nga bamanyi ekirungi n’ekibi,’ era Kaawa yakkiriza obulimba obwo. (Lub. 3:5) Ekyo Adamu ne Kaawa kye baasalawo okukola kyayongera ku ddembe lye baalina? Nedda. Ekyo kye baasalawo okukola tekyabayamba kufuna ekyo Sitaani kye yabagamba nti bandifunye. Mu kifo ky’ekyo, baakiraba nti okujeemera Yakuwa ne basalawo okukola bo kye baagala kyabaviiramu emitawaana. (Lub. 3:16-19) Lwaki? Kubanga Yakuwa teyawa bantu buyinza kusalawo kituufu na kikyamu.—Soma Engero 20:24 n’obugambo obuli wansi; Yeremiya 10:23.
12 Kino kiyinza okugeraageranyizibwa ku muvuzi w’ennyonyi. Okusobola okutuuka obulungi gy’alaga, aba alina okuvugira mu kkubo ettuufu eryassibwawo. Ennyonyi ebaamu kompyuta kw’afunira obulagirizi era ezimusobozesa okuwuliziganya n’abo ababa ku kisaawe ky’ennyonyi abamuwa obulagirizi asobole okutuuka gy’alaga. Naye singa omuvuzi w’ennyonyi asalawo obutagoberera bulagirizi obwo n’akwata ekkubo lyonna ly’ayagala, ebivaamu bisobola okuba ebibi ennyo. Okufaananako omuvuzi w’ennyonyi oyo, Adamu ne Kaawa baasalawo okukola ebintu nga bo bwe baali baagala. Baagaana okukolera ku bulagirizi Katonda bwe yabawa. Biki ebyavaamu? Baagwa mu mitawaana. Bo bennyini awamu n’abaana baabwe baafuuka baddu ba kibi n’okufa. (Bar. 5:12) Olw’okuba baali baagala okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu, baafiirwa eddembe erya nnamaddala Yakuwa lye yali abawadde.
ENGERI GYE TUYINZA OKUFUNA EDDEMBE ERYA NNAMADDALA
13, 14. Tuyinza tutya okufuna eddembe erya nnamaddala?
13 Abantu abamu balowooza nti bwe baba n’eddembe eritaliiko kkomo kibayamba okuba n’obulamu obulungi. Naye ddala ekyo kituufu? Wadde ng’okuba n’eddembe kirimu emiganyulo, olowooza ensi yandibadde etya singa eddembe abantu lye baalina teririiko kkomo. Ekitabo The World Book Encyclopedia kigamba nti amateeka agafuga abantu n’amawanga si mangu kubanga galina okukuuma abantu ate nga mu kiseera kye kimu gabakugira. Ekyo tekitera kuba kyangu. Eyo ye nsonga lwaki mu bitundu bingi ne mu mawanga mangi eriyo amateeka mangi ne bannamateeka n’abalamuzi bangi abafuba okutaputa n’okukwasisa abantu amateeka.
14 Kyokka Yesu yalaga engeri ennyangu ey’okufunamu eddembe erya nnamaddala. Yagamba nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala, era mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yok. 8:31, 32) Okusinziira ku bigambo bya Yesu ebyo, waliwo ebintu bibiri ebyetaagisa okusobola okufuna eddembe erya nnamaddala: Ekisooka, kwe kukkiriza amazima ge yayigiriza. Ate eky’okubiri kwe kufuuka omuyigirizwa we. Ekyo kisobozesa omuntu okufuna eddembe erya nnamaddala. Naye omuntu okufuna eddembe eryo aba asumuluddwa kuva mu ki? Yesu yagamba nti: “Buli akola ekibi aba muddu wa kibi. . . . Singa Omwana abafuula ba ddembe, mujja kubeerera ddala ba ddembe.”—Yok. 8:34, 36.
15. Lwaki eddembe Yesu lye yasuubiza liyinza okutufuulira ddala ‘eb’eddembe’?
15 Eddembe Yesu lye yasuubiza abayigirizwa be lisingira wala eddembe abantu lye banoonya mu nsi eno. Yesu bwe yagamba nti, “Singa Omwana abafuula ba ddembe, mujja kubeerera ddala ba ddembe,” yali ayogera ku ddembe omuntu ly’afuna ng’asumuluddwa mu buddu obusingayo okuba obw’amaanyi abantu bwe balimu, kwe kugamba, ‘obuddu bw’ekibi.’ Ng’oggyeeko okuba nti ekibi kituleetera okukola ebintu ebibi era kitulemesa n’okukola ebintu bye tumanyi nti bituufu oba bye tumanyi nti tusobola okubikola. Mu ngeri eyo tuli baddu ba kibi, era obuddu obwo butuviirako okwetamwa, okulumwa, okubonaabona, n’okufa. (Bar. 6:23) N’omutume Pawulo yawulira obulumi obwo. (Soma Abaruumi 7:21-25.) Okuggyako ng’ekibi kituggiddwako, tetusobola kufuna ddembe erya nnamaddala bazadde baffe abaasooka lye baalina.
16. Tuyinza tutya okufuna eddembe erya nnamaddala?
16 Yesu okugamba nti “bwe musigala mu kigambo kyange,” kiraga nti omuntu okusobola okufuna eddembe Yesu lye yasuubiza aba alina okubaako by’atuukiriza. Olw’okuba twewaayo eri Katonda twalekera awo okwetwala ffekka, era twasalawo okukolera ku njigiriza za Kristo. (Mat. 16:24) Nga Yesu bwe yasuubiza, emiganyulo gya ssaddaaka ye bwe ginaatuukirira mu bujjuvu, tujja kufuna eddembe erya nnamaddala.
17. (a) Kiki ekisobola okutuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
17 Bwe tukolera ku njigiriza za Yesu, obulamu bwaffe buba bwa makulu era tuba bamativu. N’ekivaamu, tuba n’essuubi ery’okusumululwa okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa. (Soma Abaruumi 8:1, 2, 20, 21.) Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri gye tuyinza okukozesaamu obulungi eddembe lye tulina tusobole okuweesa ekitiibwa Yakuwa Katonda, ensibuko y’eddembe erya nnamaddala, emirembe gyonna.