Okukulaakulanya ‘Ekibala Ky’omwoyo’ Kigulumiza Katonda
“Kitange agulumizibwa bwe mweyongera okubala ebibala bingi.”—YOK. 15:8.
1, 2. (a) Kakisa ki ke tufuna okuzzaamu abalala amaanyi? (b) Kirabo ki Yakuwa ky’atuwa ekituyamba okumuweereza obulungi?
LOWOOZA ku byokulabirako bino ebibiri: Mwannyinaffe omu akuze mu myaka akiraba nti waliwo mwannyinaffe omuto alabika ng’alina ekintu ekimweraliikiriza. Akola enteekateeka okubuulirako naye. Bwe baba banyumya nga bava ku nnyumba emu okugenda ku ndala, mwannyinaffe omuto amubuulira ekimweraliikiriza. Oluvannyuma ng’azzeeyo awaka, mwannyinaffe oyo omuto yeebaza Yakuwa olw’okwagala mwannyinaffe omukulu kw’amulaze; ekyo kyennyini ky’abadde yeetaaga. Ate lowooza ku bafumbo abaakakomawo okuva mu nsi endala gye babadde nga babuulira. Nga baliko we bakuŋŋaaniddeko ne baganda baabwe, batandika okwogera ku bintu ebibasanyusizza ennyo nga bali mu nsi eyo era waliwo ow’oluganda omuto abawuliriza. Nga wayise emyaka egiwerako, ow’oluganda oyo bw’aba ateekateeka okugenda mu nsi gy’asindikiddwa okuweereza ng’omuminsani, ajjukira abafumbo abo era n’ebyo bye baayogera ebyamuleetera okwagala okuweereza ng’omuminsani.
2 Oboolyawo ebyokulabirako ebyo bikujjukiza omuntu eyakuleetera okwagala okukola enkyukakyuka mu bulamu bwo oba omuntu gwe wayamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwe. Kya lwatu nti ekintu omuntu ky’aba awulidde omulundi ogumu kiyinza obutamuleetera kukola nkyukakyuka mu bulamu bwe, naye tulina okukijjukira nti buli lunaku tuba n’akakisa okukubiriza abalala n’okubazzaamu amaanyi. Kirowoozeeko, singa waliwo ekintu ekisobola okukuyamba okwongera ku busobozi bwo n’okulongoosa mu ngeri zo, ne kikuyamba okwongera okuba ow’omugaso eri baganda bo n’eri Katonda, ekintu ekyo tekyandibadde kirabo kirungi nnyo? Mu butuufu Yakuwa atuwa ekirabo ekyo—omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13) Bwe tufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu, gutuyamba okwoleka engeri ennungi mu bulamu bwaffe ezituyamba okuweereza Katonda obulungi. Ng’ekyo kirabo kirungi nnyo!—Soma Abaggalatiya 5:22, 23.
3. (a) Okukulaakulanya ‘ekibala ky’omwoyo’ kigulumiza kitya Katonda? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
3 Engeri ennungi omwoyo omutukuvu ze gutuyamba okufuna ze ngeri zennyini Yakuwa Katonda, Ensibuko y’omwoyo ogwo, z’alina. (Bak. 3:9, 10) Yesu yalaga ensonga esinga obukulu lwaki Abakristaayo basaanidde okufuba okukoppa Katonda bwe yagamba abatume be nti: “Kitange agulumizibwa bwe mweyongera okubala ebibala bingi.”a (Yok. 15:8) Bwe tukulaakulanya ‘ekibala ky’omwoyo’ mu bulamu bwaffe, ekyo kyeyolekera mu bintu bye twogera ne bye tukola; ne kireetera Katonda okugulumizibwa. (Mat. 5:16) Engeri eziri mu kibala ky’omwoyo zaawukana zitya ku ngeri eziri mu nsi ya Sitaani? Tuyinza tutya okukulaakulanya ekibala ky’omwoyo? Lwaki ekyo kiyinza okutuzibuwalira okukola? Tugenda kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino nga twetegereza engeri esatu ezisooka eziri mu kibala ky’omwoyo—okwagala, essanyu, n’emirembe.
Okwagala
4. Kwagala kwa ngeri ki Yesu kwe yakubiriza abagoberezi be okwoleka?
4 Okwagala omwoyo omutukuvu gwe kuyamba omuntu okukulaakulanya kwa njawulo nnyo ku kwagala abantu b’ensi kwe balina. Mu ngeri ki? Okwagala okwo kwoleka okwagala kwa Katonda. Yesu yalaga enjawulo eyo mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi. (Soma Matayo 5: 43-48.) Yalaga nti aboonoonyi nabo baagala abo ababaagala era ababayisa obulungi. “Okwagala” ng’okwo tekubaamu kwefiiriza, naye kuba nga kusasula oyo abaako ekintu ekirungi ky’aba akukoledde. Bwe tuba twagala ‘okubeera abaana ba Kitaffe ali mu ggulu,’ tuteekwa okubeera ab’enjawulo. Mu kifo ky’okuyisa abalala nga bwe batuyisa, tulina okubayisa nga Yakuwa bw’abayisa n’okubatunuulira nga bw’abatunuulira. Naye tusobola tutya okwagala abalabe baffe nga Yesu bwe yalagira?
5. Tuyinza tutya okulaga okwagala eri abo abatuyigganya?
5 Lowooza ku kyokulabirako kino. Bwe baali babuulira mu Firipi, Pawulo ne Siira baakwatibwa, ne bakubibwa nnyo, era ne basuulibwa mu kkomera, ebigere byabwe ne biteekebwa mu masamba. Bwe baali mu kkomera, omukuumi w’ekkomera naye ayinza okuba nga yabatulugunya. Bwe baasumululwa mu ngeri ey’ekyamagero oluvannyuma lwa musisi ow’amaanyi okuyita, baagezaako okwesasuza omusajja oyo? Nedda. Okwagala okwa nnamaddala kwe baalina eri omukuumi w’ekkomera oyo kwabakubiriza okubaako kye bakolawo mu bwangu, ekyo ne kisobozesa omusajja oyo awamu n’ab’ennyumba ye okufuuka abakkiriza. (Bik. 16:19-34) Baganda baffe bangi mu kiseera kino nabo bafubye okukola kye kimu nga ‘basabira emikisa abo ababayigganya.’—Bar. 12:14.
6. Tuyinza tutya okulaga okwagala okwa nnamaddala eri baganda baffe? (Laba akasanduuko ku lupapula 21.)
6 Okwagala kwe tulina okulaga bakkiriza bannaffe kulina okusingako awo. “Tuvunaanyizibwa okuwaayo obulamu bwaffe ku lwa baganda baffe.” (Soma 1 Yokaana 3:16-18.) Waliwo engeri ezitali zimu mwe tuyinza okulagira bakkiriza bannaffe okwagala. Ng’ekyokulabirako, singa twogera oba tukola ekintu ne kinyiiza muganda waffe, tusobola okwoleka okwagala nga tumutuukirira tusobole okuzzaawo emirembe. (Mat. 5:23, 24) Ate kiri kitya singa omuntu omulala atunyiiza? ‘Twanguwa okusonyiwa,’ oba ebiseera ebimu tusalawo okusiba ekiruyi? (Zab. 86:5) Okwagala okw’amaanyi omwoyo omutukuvu gwe kutusobozesa okukulaakulanya kutuyamba okubikka ku nsobi z’abalala, nga tubasonyiyira ddala ‘nga Yakuwa bwe yatusonyiyira ddala.’—Bak. 3:13, 14; 1 Peet. 4:8.
7, 8. (a) Kakwate ki akali wakati w’okwagala Katonda n’okwagala abantu? (b) Tuyinza tutya okweyongera okwagala Yakuwa? (Laba ekifaananyi ku lupapula 19.)
7 Tuyinza tutya okukulaakulanya okwagala okwa nnamaddala eri baganda baffe? Nga tweyongera okwagala Katonda. (Bef. 5:1, 2; 1 Yok. 4:9-11, 20, 21) Bwe tuwaayo ekiseera okusoma Bayibuli, okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, n’okusaba Yakuwa kituyamba okwongera okwagala Kitaffe ow’omu ggulu. Kyokka twetaaga okwegulira ebiseera okusobola okusemberera Katonda.
8 Ng’ekyokulabirako: Kyandibadde kitya singa waaliwo ekiseera eky’enkalakkalira buli lunaku ffenna mwe tulina okusomera Ekigambo kya Katonda, okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, n’okusaba Yakuwa. Tewandikoze kyonna ekisoboka okulaba nti tewali kintu kyonna kiyingirira kiseera ekyo? Kya lwatu nti tewali muntu yenna asobola kutulemesa kusaba Katonda, era abasinga obungi ku ffe tusobola okusoma Bayibuli buli we twagalira. Naye tulina okufuba okulaba nti ebintu ebingi bye tulina okukola buli lunaku tebiyingirira nteekateeka yaffe ey’eby’omwoyo. Ofuba okwegulira ebiseera ebimala buli lunaku okusemberera Yakuwa?
“Essanyu ery’Omwoyo Omutukuvu”
9. Kiki kye tulina okumanya ku ssanyu ery’omwoyo omutukuvu?
9 Ekintu kye tulina okumanya ku kibala ky’omwoyo kiri nti tusobola okweyongera okukyoleka ne bwe tuba mu mbeera enzibu. Essanyu, engeri ey’okubiri gye tugenda okwetegereza, lituyamba okutegeera obulungi ensonga eno. Essanyu lisobola okugeraageranyizibwa ku kimera ekisobola okweyongera okukula obulungi embeera y’obudde ne bw’eba mbi. Okwetooloola ensi yonna, abaweereza ba Katonda bangi ‘bakkirizza ekigambo mu kubonaabona okungi nga balina essanyu ery’omwoyo omutukuvu.’ (1 Bas. 1:6) Abalala boolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Kyokka Yakuwa abawa amaanyi ng’akozesa omwoyo gwe ne ‘basobola okugumira byonna n’okugumiikiriza n’essanyu.’ (Bak. 1:11) Bintu ki ebituleetera essanyu?
10. Bintu ki ebituleetera essanyu?
10 Obutafaananako ‘eby’obugagga ebitali bya lubeerera’ ebiri mu nsi ya Sitaani, eby’obugagga eby’omwoyo bye tufuna okuva eri Yakuwa bya kubeerawo emirembe gyonna. (1 Tim. 6:17; Mat. 6:19, 20) Atusuubiza okubeerawo emirembe gyonna nga tuli basanyufu. Tuli basanyufu olw’okuba tuli mu kibiina Ekikristaayo ekiri mu nsi yonna. N’ekisinga byonna, tuli basanyufu olw’okuba tulina enkolagana ennungi ne Katonda. Tuwulira nga Dawudi, wadde nga yali mmomboze, eyatendereza Yakuwa mu luyimba ng’agamba nti: “Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu; emimwa gyange ginaakutenderezanga. Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu.” (Zab. 63:3, 4) Ne bwe tuba nga tulina ebizibu tusobola okusigala nga tutendereza Katonda n’essanyu.
11. Lwaki kikulu nnyo okuweereza Katonda n’essanyu?
11 Omutume Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne ng’agamba nti: “Musanyukirenga mu Mukama waffe. Nziramu nate okugamba nti, Musanyuke!” (Baf. 4:4) Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okuweereza Yakuwa n’essanyu? Olw’ensonga Sitaani gye yaleetawo ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa. Sitaani agamba nti tewali muntu n’omu aweereza Katonda n’omutima ogutawalirizibwa. (Yob. 1:9-11) Bwe tuweereza Yakuwa olw’okutuusa obutuusa omukolo era nga tetuli basanyufu, ssaddaaka yaffe ey’okutendereza eba tetuukiridde. N’olwekyo, tusaanidde okukolera ku bigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli bino: “Mumuweereze Mukama n’essanyu: mujje mu maaso ge n’okuyimba.” (Zab. 100:2) Bwe tuweereza Katonda n’omutima ogujjudde essanyu era ogutawalirizibwa, ekyo kimuleetera okugulumizibwa.
12, 13. Kiki ekiyinza okutuyamba okweggyamu endowooza enkyamu?
12 Kyo kituufu nti oluusi n’abaweereza ba Katonda abeesigwa ebiseera ebimu baggwaamu amaanyi era balemererwa okusigala nga balina endowooza ennuŋŋamu. (Baf. 2:25-30) Kiki ekiyinza okutuyamba nga tuli mu mbeera ng’eyo? Abeefeso 5:18, 19 wagamba nti: “Mujjuzibwenga omwoyo, . . . nga mutendereza Katonda, nga muyimba ennyimba ez’eby’omwoyo, nga muyimba era nga mutendereza Yakuwa mu mitima gyammwe.” Tuyinza tutya okukolera ku magezi ago?
13 Bwe tufuna endowooza enkyamu, tusobola okusaba Yakuwa era ne tufuba okufumiitiriza ku bintu ebirungi. (Soma Abafiripi 4:6-9.) Ab’oluganda abamu bakizudde nti okuteekako ennyimba z’Obwakabaka era ne bagenderako nga bwe bawuuna, kibazzaamu amaanyi era kibayamba okuzza ebirowoozo byabwe ku bintu ebirungi. Ow’oluganda omu eyafuna ekizibu ekyamuleetera okuwulira ng’aweddemu amaanyi, agamba nti: “Ng’oggyeko okunyiikirira okusaba, nnagezaako okukwata mu mutwe ennyimba z’Obwakabaka ezimu. Nnafunanga emirembe mu mutima buli lwe nnayimbanga ennyimba ezo mu ddoboozi ery’omwanguka oba mu kasirise. Era mu kiseera ekyo, akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa kaafulumizibwa. Nnakasoma emirundi ebiri miramba mu mwaka ogwaddako. Akatabo ako kaali ng’eddagala eryaweweeza omutima gwange. Nkimanyi nti Yakuwa yampa emikisa olw’okufuba kwange.”
“Obumu obw’Omwoyo mu Mirembe Eginyweza”
14. Kintu ki abantu ba Katonda kye balina olw’okuba n’emirembe egireetebwa omwoyo omutukuvu?
14 Ku nkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna, ab’oluganda okuva mu nsi ezitali zimu basanyuka nnyo okubeerako awamu ne bakkiriza bannaabwe. Enkuŋŋaana ng’ezo ziraga ekintu abantu ba Katonda kye basobodde okuba nakyo olw’okuba n’emirembe—obumu obw’ensi yonna. Bangi beewuunya okulaba abantu be bandisuubidde okuba nga tebakwatagana “nga [ba]fuba nnyo okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe eginyweza.” (Bef. 4:3) Kyewuunyisa okulaba ng’abantu abo bali bumu naddala bw’olowooza ku nkyukakyuka ennyingi ze baali balina okukola.
15, 16. (a) Peetero yakulira mu mbeera ki, era ekyo kyakwata kitya ku ndowooza gye yalina eri abantu? (b) Yakuwa yayamba atya Peetero okukyusa endowooza ye?
15 Tekiba kyangu abantu abava mu mawanga ag’enjawulo okuba obumu. Okusobola okutegeera enkyukakyuka abantu ng’abo ze balina okukola okusobola okuba obumu, ka twetegereze ekyokulabirako ky’omutume Peetero. Endowooza gye yalina eri Ab’amawanga abataali bakomole yeeyolekera mu bigambo bye bino: “Mumanyi bulungi nti tekikkirizibwa mu Mateeka Omuyudaaya okukolagana n’omuntu ow’eggwanga eddala oba okumusemberera; naye Katonda andaze nti sirina kuyita muntu yenna nti si mulongoofu oba nti si muyonjo.” (Bik. 10:24-29; 11:1-3) Okusinziira ku ndowooza abantu abasinga obungi abaaliwo mu kyasa ekyasooka gye baalina, Peetero alina okuba nga yakula akimanyi nti yali alina kwagala Bayudaaya banne bokka. Ayinza okuba nga yakitwalanga ng’ekintu ekya bulijjo okuyisa Ab’amawanga ng’abalabe.b
16 Lowooza ku ngeri Peetero gye yawuliramu ng’ayingira mu nnyumba ya Koluneeriyo. Ddala omuntu eyakula ng’alina endowooza enkyamu ku B’amawanga yali asobola ‘kugattibwa awamu’ nabo ‘n’akuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe eginyweza’? (Bef. 4:3, 16) Yee, ennaku ntono emabega, omwoyo gwa Katonda gwali guggudde omutima gwa Peetero ne gumuyamba okukyusa endowooza ye n’okweggyamu obusosoze. Ng’ayitira mu kwolesebwa, Yakuwa yalaga Peetero nti ye tasosola mu langi oba mu mawanga. (Bik. 10:10-15) Bw’atyo Peetero yagamba Koluneeriyo nti: “Mazima ddala ntegedde nti Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.” (Bik. 10:34, 35) Peetero yakyusa endowooza ye n’asobola okuba obumu ne ‘baganda be bonna.’—1 Peet. 2:17.
17. Lwaki kyewuunyisa okuba nti abantu ba Katonda bali bumu?
17 Ekyokulabirako kya Peetero ekyo kituyamba okutegeera enkyukakyuka ez’amaanyi abantu ba Katonda ze bakola leero. (Soma Isaaya 2:3, 4.) Abantu bukadde na bukadde ‘okuva mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi’ bakyusizza endowooza yaabwe n’esobola okutuukana ‘n’ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.’ (Kub. 7:9; Bar. 12:2) Bangi ku bo baali balina obukyayi, empalana, n’enjawukana ebiri mu nsi ya Sitaani. Naye okuyitira mu kusoma Ekigambo kya Katonda awamu n’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, bayize ‘okuluubirira ebintu ebireeta emirembe.’ (Bar. 14:19) Obumu bwabwe buleetedde Katonda okutenderezebwa.
18, 19. (a) Kiki buli omu ku ffe ky’ayinza okukola okusobola okukuuma emirembe n’obumu mu kibiina? (b) Kiki kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?
18 Kiki buli omu ku ffe ky’ayinza okukola okusobola okukuuma emirembe n’obumu ebiri mu bantu ba Katonda? Ebibiina bingi birimu abantu abava mu mawanga agatali gamu. Abamu bayinza okuba nga beeyisa mu ngeri za njawulo oba nga tebasobola kwogera bulungi lulimi lwaffe. Tufuba okutegeera obulungi abantu ng’abo? Ekyo kyennyini Ekigambo kya Katonda kye kitukubiriza okukola. Bwe yali awandiikira ekibiina ky’e Rooma, omwali ab’oluganda Abayudaaya n’Ab’amawanga, Pawulo yagamba nti: “Musembezeganyenga nga Kristo bwe yatusembeza, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.” (Bar. 15:7) Mu kibiina kyo mulimu omuntu gwe weetaaga okwongera okutegeera obulungi?
19 Kintu ki ekirala kye tusobola okukola okulaba nti omwoyo omutukuvu gukolera mu bulamu bwaffe? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo nga twetegereza engeri endala eziri mu kibala ky’omwoyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebibala Yesu bye yayogerako bizingiramu ‘ekibala ky’omwoyo’ ‘n’ekibala eky’emimwa’ Abakristaayo kye bawaayo eri Katonda nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka.—Beb. 13:15.
b Eby’Abaleevi 19:18 wagamba nti: “Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b’abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baayigirizanga nti “abaana b’abantu bo” ne “muliraanwa wo” be Bayudaaya bokka. Kituufu nti Amateeka gaali galagira Abaisiraeri okweyawula ku bantu ab’amawanga amalala. Naye gaali tegawagira ndowooza bakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka gye baalina egamba nti abantu abataali Bayudaaya baalina kuyisibwanga ng’abalabe.
Wandizzeemu Otya?
• Tuyinza tutya okulaga okwagala okwa nnamaddala eri baganda baffe?
• Lwaki kikulu nnyo okuweereza Katonda nga tuli basanyufu?
• Tuyinza kukola ki okusobola okukuuma emirembe n’obumu mu kibiina?
[Akasanduuko akali ku lupapula 21]
“Bano Be Bakristaayo ab’Amazima”
Ekitabo ekiyitibwa Between Resistance and Martyrdom—Jehovah’s Witnesses in the Third Reich kiraga ebyo omuvubuka Omuyudaaya eyali asibiddwa mu kkomera bye yayogera ku Bajulirwa ba Yakuwa ku mulundi gwe yasooka okubasisinkana mu nkambi y’abasibe ey’e Neuengamme:
“Ffe Abayudaaya bwe twali twakayingizibwa mu nkambi y’e Dachau, Bayudaaya bannaffe be twasangayo baakweka ebintu byabwe byonna bye baalina nga tebaagala kutuwaako. . . . Bwe twali tetunnatwalibwa [mu nkambi y’abasibe], twali tuyambagana. Naye mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, buli omu yali yeefaako yekka, nga talowooza ku mulala yenna. Naye lowooza ku ekyo Abayizi ba Bayibuli bo kye baakola. Mu kiseera ekyo, baali bakola nnyo nga baliko emidumu gy’amazzi gye baddaabiriza. Obudde bwali bunnyogovu nnyo era ng’olunaku lwonna baali balumaze nga bayimiridde mu mazzi agannyogoga ennyo. Kyali kizibu okutegeera engeri gye baasobola okugumira embeera eyo. Baagamba nti Yakuwa y’abawa amaanyi. Baali beetaaga nnyo emmere, nga naffe bwe twali tugyetaaga, kubanga nabo enjala yali ebaluma. Naye kiki kye baakola? Bwe baalaba bakkiriza bannaabwe abaali baakatuuka okuva e Dachau, baabaaniriza n’essanyu era ne babanywegera. Baakuŋŋaanya emmere yaabwe yonna gye baali bafunye ne bagyawulamu, emu nga yaabwe endala ne bagiwa bakkiriza bannaabwe abo. Baasooka kusaba nga tebannalya. Oluvannyuma lw’okulya, bonna baawulira nga bakkuse era nga basanyufu. Baali tebakyawulira njala. Ekyo kye kyandeetera okukiraba nti: Bano be Bakristaayo ab’amazima.”
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]
Weegulira ebiseera buli lunaku okusobola okusemberera Yakuwa?