Osobola Okwongera ku Busobozi Bwo obw’Okujjukira
YAKUWA KATONDA yatonda obwongo bw’omuntu nga bulina obusobozi obw’ekitalo obw’okujjukira. Yabukola nga busobola okutereka n’okujjukira ebintu eby’omuwendo omuntu by’ayiga. Engeri obwongo gye bwakolebwamu, etuukagana n’ekigendererwa kya Katonda eky’abantu okubeera abalamu emirembe gyonna.—Zab. 139:14; Yok. 17:3.
Kyokka, oyinza okugamba nti bingi by’oyiga obyerabira. Kiki ky’oyinza okukola okwongera ku busobozi bwo obw’okujjukira?
Ssaayo Omwoyo
Kikulu nnyo okussaayo omwoyo bw’oba ow’okwongera ku busobozi bwo obw’okujjukira. Singa tufuba okwetegereza ebiba bigenda mu maaso, era ne tufaayo okumanya ebikwata ku balala, tujja kwongera ku busobozi bwaffe obw’okujjukira. Olwo nno, kijja kutwanguyira okussaayo omwoyo nga tusoma oba nga tuwuliriza ebintu eby’omugaso.
Kya bulijjo omuntu okwerabira amannya g’abantu. Kyokka, ffe ng’Abakristaayo, tumanyi nti Bakristaayo bannaffe, abantu be tuwa obujulirwa, era n’abalala be tukolagana nabo mu bulamu bwaffe obwa bulijjo ba muwendo nnyo. Kiki ekinaatuyamba okujjukira amannya g’abantu ng’abo? Omutume Pawulo yamenya amannya g’abantu 26 mu kibiina kye yawandiikira. Okulaga nti yali abafaako, teyakoma ku kwogera bwogezi mannya gaabwe, naye era yayogera n’ebintu ebirala ebibakwatako kinnoomu. (Bar. 16:3-16) Mu kiseera kyaffe, abalabirizi abamu abatambula basobola okujjukira amannya g’abo be basanga mu kibiina kye bakyalidde wadde nga buli wiiki bakyalira ekibiina ekirala. Kiki ekibayamba okugajjukira? Bayinza okukozesa erinnya ly’omuntu enfunda n’enfunda lwe basooka okwogera naye. Bafuba okukwataganya omuntu n’erinnya lye. Okugatta ku ekyo, babuulira n’abantu ab’enjawulo era ne baliira wamu nabo emmere. Bw’onoosisinkana omuntu, onojjukira erinnya lye? Okusooka, funa ensonga ennungi lwaki wandijjukidde erinnya lye; oluvannyuma kozesa amagezi agaweereddwa waggulu.
Ate era kikulu okujjukira by’osoma. Kiki ekinaakuyamba okulongoosaamu mu nsonga eno? Weetaaga okussaayo omwoyo n’okutegeera by’osoma. Era olina okuba ng’oyagala by’osoma. Singa ebirowoozo byo tobimalira ku ebyo by’osoma tojja kujjukira by’osoma. Ojja kweyongera okutegeera by’osoma singa obikwataganya n’ebintu by’omanyi oba bye wayiga edda. Weebuuze: ‘Bye nsoma nnyinza ntya okubikozesa mu bulamu bwange? Nnyinza ntya okubikozesa okuyamba omuntu omulala?’ Ojja kweyongera okutegeera by’osoma singa osoma ebigambo ebiwerako wamu mu kifo ky’ekigambo kimu kimu. Mu ngeri eyo ojja kutegeera mangu ensonga enkulu eziri mu by’osoma era kikubeerere kyangu okuzijjukira.
Waayo Ebiseera Okwejjukanya
Abakugu mu by’enjigiriza baggumiza obukulu bw’okwejjukanya. Mu kunoonyereza okumu, profesa omu yalaga nti omuntu bw’akozesa eddakiika emu yokka mu kwejjukanya, ebintu by’ajjukira bikubisibwamu emirundi ebiri. N’olwekyo, nga waakamala okusoma ekitundu, ne bw’oba nga tonnakimalayo, wejjukanye ensonga enkulu z’olabyemu osobole okuzijjukira. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okunnyonnyola mu bigambo byo ensonga enkulu z’oyize. Bwe wejjukanya ebyo bye waakamala okusoma, ojja kulwawo okubyerabira.
Mu nnaku eziddirira, wejjukanye by’osomye ng’obibuulirako omuntu omulala. Oyinza okubibuulirako ow’omu maka, omuntu mu kibiina, oyo gw’okola naye, gw’osoma naye, muliraanwa wo, oba omuntu gw’osanze mu buweereza bw’ennimiro. Tokoma ku kwogera nsonga nkulu zokka naye era yogera ne ku ngeri gye ziwagirwamu Ebyawandiikibwa. Bw’onookola bw’otyo ojja kuganyulwa, osobole okujjukira ensonga enkulu; era kijja kuganyula n’abalala.
Fumiitiriza ku Bintu Ebikulu
Ng’oggyeko okwejjukanya by’osomye era n’okubibuulirako abalala, ojja kukisanga nti okufumiitiriza ku bintu ebikulu by’oyize kya muganyulo nnyo. Abawandiisi ba Baibuli, Asafu ne Dawudi, ekyo kye baakola. Asafu yagamba: “Nnajjukiranga eby’ekitalo byo eby’edda. Era n[n]aalowoozanga omulimu gwo gwonna, era n[n]aafumitirizanga ebikolwa byo.” (Zab. 77:11, 12) Mu ngeri y’emu Dawudi yawandiika: “Nnaakulowoolezanga [“nnakufumiitirizangako,” NW] mu bisisimuka eby’ekiro,” era “njijukira ennaku ez’edda; ndowooza [“nfumiitiriza ku,” NW] ebikolwa byo byonna.” (Zab. 63:6; 143:5) Naawe bw’otyo bw’okola?
Bw’ofumiitiriza mu ngeri eyo ku bikolwa bya Yakuwa, engeri ze, ne by’ayagala, kijja kukuyamba nnyo okujjukira ebintu ebikulu. Singa ogifuula mpisa yo okufumiitiriza mu ngeri eyo, ensonga enkulu zijja kukakata mu mutima gwo. Era kijja kukusobozesa okulongoosa engeri zo. By’onojjukira bijja kwoleka ebiri mu mutima gwo.—Zab. 119:16.
Ekifo ky’Omwoyo Omutukuvu
Nga tufuba okujjukira ebikwata ku bikolwa bya Yakuwa n’ebyo Yesu Kristo bye yayogera, tetulekebwa ku lwaffe. Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yagamba abagoberezi be: “Ebigambo ebyo m[bi]babuulidde nga nkyali nammwe. Naye omubeezi, omwoyo omutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.” (Yok. 14:25, 26) Matayo ne Yokaana be bamu ku abo abaaliwo. Omwoyo omutukuvu gwabayamba? Mazima ddala! Nga wayiseewo emyaka munaana, Matayo yamaliriza okuwandiika ebikwata ku bulamu bwa Kristo, nga mw’otwalidde n’ebyo bye yawulira mu Kubuulira kwa Yesu okw’Oku Lusozi era ne byonna ebikwata ku kabonero k’okubeerawo kwa Kristo n’akamafundikira g’embeera zino ez’ebintu. Emyaka 65 oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, omutume Yokaana yawandiika Enjiri ye, nga mw’otwalidde n’ebyo Yesu bye yayogera mu kiro kye yasembayo okuba n’abatume be nga tannawaayo bulamu bwe ku lwaffe. Awatali kubuusabuusa, Matayo ne Yokaana baali bakyajjukira ebintu Yesu bye yayogera ne bye yakola ng’akyali nabo, naye omwoyo omutukuvu gwabayamba obuteerabira bintu bikulu Yakuwa bye yali ayagala biwandiikibwe mu Kigambo kye.
Omwoyo omutukuvu guyamba abaweereza ba Katonda leero? Mazima ddala! Kya lwatu omwoyo omutukuvu tegutujjukiza bintu bye tutayigangako, wabula gutujjukiza ebintu ebikulu bye twayiga emabega. (Luk. 11:13; 1 Yok. 5:14) Olwo nno, bwe wajjawo obwetaavu, tusobola “okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n’ekiragiro ky’abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi.”—2 Peet. 3:1, 2.
‘Toteekwa Kwerabira’
Enfunda n’enfunda Yakuwa yalabula Isiraeri: ‘Toteekwa kwerabira.’ Tekyali nti yali abasuubira okujjukira buli kintu. Wadde kyali kityo, tebaalina kwemalira nnyo ku biruubirirwa byabwe ne kiba nti beerabira ebikolwa bya Yakuwa. Baalina okujjukira engeri Yakuwa gye yabanunulamu malayika we bwe yatta abaana b’Abamisiri ababereberye bonna, era ne bwe yayawulamu Ennyanja Emmyufu ate oluvannyuma n’akomyawo amazzi ne gatta Falaawo n’eggye lye. Abaisiraeri baalina okujjukira nti Katonda yabawa Amateeka ge ku Lusozi Sinaayi era n’abayisa mu ddungu okubatuusa mu Nsi Ensuubize. Tebaalina kwerabira mu ngeri nti ebintu ebyo byandyeyongedde okubakwatako mu bulamu bwabwe obwa buli lunaku.—Ma. 4:9, 10; 8:10-18; Kuv. 12:24-27; Zab. 136:15.
Naffe tulina okwegendereza tuleme okwerabira. Nga twolekagana n’ebizibu mu bulamu, tulina okujjukira Yakuwa ky’ali, n’okwagala kwe yayoleka okuyitira mu mwana we eyawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo olw’ebibi byaffe tusobole okubaawo emirembe gyonna. (Zab. 103:2, 8; 106:7, 13; Yok. 3:16; Bar. 6:23) Okusoma Baibuli obutayosa n’okwenyigira mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu buweereza obw’omu nnimiro kijja kutusobozesa okujjukiranga amazima gano ag’omuwendo.
Bw’oba oyolekaganye n’eby’okusalawo ka bibe binene oba bitono, jjukiranga amazima ago ag’omuwendo, era galeke gakuyambe mu kusalawo. Teweerabira. Weesige Yakuwa okukuwa obulagirizi. Mu kifo ky’okutunuulira ensonga mu ngeri ey’obuntu oba okwesiga emitima gyaffe egitatuukiridde, weebuuze, ‘Kubuulirira ki oba misingi ki okuva mu Kigambo kya Katonda egikwata ku bye ŋŋenda okusalawo?’ (Nge. 3:5-7; 28:26) Toyinza kujjukira bintu by’otosomangako oba by’otowulirangako. Naye bwe weeyongera okukulaakulana mu kumanya okutuufu era n’okwagala Yakuwa, ebintu omwoyo gwa Katonda bye guyinza okukuyamba okujjukira bijja kweyongera, era okwagala kwo eri Yakuwa kujja kukukubiriza okubikolerako.