Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi
Bayibuli egamba nti walina okubaawo waakiri abajulizi babiri okusobola okukakasa ensonga. (Kubal. 35:30; Ma. 17:6; 19:15; Mat. 18:16; 1 Tim. 5:19) Naye Amateeka gaali gagamba nti singa omusajja yakwatiranga omuwala “ku ttale” eyali yalagaana okufumbiriganwa n’omusajja omuwala oyo n’akuba enduulu, omuwala teyabangako musango gwa bwenzi naye ye omusajja yabangako omusango. Okuva bwe kiri nti waali tewabaddeewo alabye musajja oyo ng’akwata omuwala oyo, lwaki omuwala teyabangako musango ate ye omusajja n’abaako omusango?
Ebiri mu Ekyamateeka 22:25-27 tebyogera ku kukakasa obanga omusajja yaliko omusango oba nedda kubanga baabanga bamaze okukizuula nti aliko omusango. Etteeka eryo lyali ligendereddwa kutaasa muwala ataabangako musango. Lowooza ku nnyiriri eziriraanyewo.
Olunyiriri olwa 23 ne 24 zoogera ku musajja eyeegattanga n’omuwala “mu kibuga” eyabanga yalagaana okufumbiriganwa n’omusajja omulala. Omusajja eyakolanga ekyo, yatwalibwanga ng’eyabanga ayenze kubanga omuwala eyabanga alagaanye okufumbirwa n’omusajja yabanga atwalibwa ng’omufumbo. Ate ye omuwala? Ennyiriri ziraga nti, “teyakuba nduulu ng’ali mu kibuga.” Singa yabanga akubye enduulu, abalala bandibadde bamuwulira ne bamutaasa. Naye teyazikuba. Bwe kityo naye yabanga ayenze era bombi baabangako omusango.—Ma. 22:23, 24.
Ennyiriri eziddako zoogera ku mbeera endala. Zigamba nti: “Naye omusajja bw’anaasanganga ku ttale omuwala eyalagaana okufumbiriganwa n’omusajja, n’amusinza amaanyi ne yeebaka naye, omusajja eyeebaka n’omuwala y’anattibwanga yekka, era omuwala tomukolanga kintu kyonna. Omuwala anaabanga talina kibi kimugwanyiza kuttibwa, kubanga ng’omuntu bw’afubutukira munne n’amutemula, na kino bwe kityo bwe kiri. Kubanga omuwala oyo omusajja yamusanga ku ttale, era yakuba enduulu naye nga tewali ayinza kumuyamba.”—Ma. 22:25-27.
Mu mbeera eyo, abalamuzi baakitwalanga nti omuwala “yakuba enduulu naye nga tewali ayinza kumuyamba.” N’olwekyo, yabanga tayenze. Naye omusajja yabanganko omusango ogw’okukwata omukazi n’ogw’okwenda kubanga yabanga ‘asinzizza omuwala oyo amaanyi ne yeebaka naye.’
N’olwekyo, wadde ng’etteeka eryo lyali ligendereddwa okutaasa omuwala ataabangako musango, era lyali liraga nti omusajja yabangako omusango ogw’okukwata omukazi n’ogw’okwenda. Kya lwatu nti abalamuzi ekyo baasookanga ‘kukinoonyerezaako n’obwegendereza’ ne balyoka basalawo nga bagoberera omutindo Katonda gwe yassaawo era gwe yaddiŋŋana enfunda n’enfunda.—Ma. 13:14; 17:4; Kuv. 20:14.