Ekigambo Kyo Yee, Kibeerenga Yee
“Naye ekigambo kyammwe Yee, kibeerenga Yee, n’ekigambo kyammwe Nedda, kibeerenga Nedda.”—MAT. 5:37.
1. Kiki Yesu kye yayogera ku kulayira, era lwaki?
EBISEERA ebisinga obungi Abakristaayo ab’amazima tekibeetaagisa kulayira okusobola okulaga nti kye boogera kituufu. Kino kiri kityo olw’okuba bagondera Yesu, eyagamba nti: “Ekigambo kyammwe Yee, kibeerenga Yee.” Mu bigambo ebyo Yesu yakiraga nti omuntu alina okutuukiriza ekyo ky’aba ayogedde. Bwe yali tannayogera bigambo ebyo, Yesu yasooka kugamba nti: “Temulayiranga n’akatono.” Ekyo yakyogera olw’okuba abantu bangi balina omuze ogw’okulayira kyokka nga si beetegefu kukola nga bwe baba boogedde. Omuntu alayira naye n’atakola nga bw’aba agambye, aba akiraga nti si mwesigwa, era nti afugibwa “omubi.”—Soma Matayo 5:33-37.
2. Lwaki ebiseera ebimu tekiba kikyamu kulayira?
2 Ebyo Yesu bye yayogera tebiraga nti kikyamu okulayira. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yakuwa Katonda awamu n’omuweereza we omwesigwa Ibulayimu baalayiranga bwe waabangawo ensonga enkulu ebeetaagisa okulayira. Ate era, Amateeka ga Katonda gaali geetaagisa abantu okulayira okusobola okugonjoola ensonga ezimu. (Kuv. 22:10, 11; Kubal. 5:21, 22) N’olwekyo, Omukristaayo oluusi kiyinza okumwetaagisa okulayira ng’ali mu kkooti z’amateeka okusobola okulaga nti ayogera mazima. Era oluusi Omukristaayo kiyinza okumwetaagisa okulayira okusobola okulaga nti agenda kutuukiriza ekyo ky’ayogedde, oba okusobola okugonjoola ensonga eba ezzeewo. Kabona asinga obukulu bwe yalayiza Yesu ng’ali mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, Yesu teyagaana kumuddamu. (Mat. 26:63, 64) Okuva bwe kiri nti Yesu yayogeranga mazima, kyali tekimwetaagisa kulayira. Naye bwe yabanga ayagala okuyamba abalala okukakasa nti ebyo by’ayogera bituufu, yateranga okukozesa ebigambo bino: “Mazima ddala mbagamba nti.” (Yok. 1:51; 13:16, 20, 21, 38) Kati ka tulabe kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yesu, Pawulo, n’abantu abalala abaakakasa nti ekigambo kyabwe Yee kiba Yee.
YESU YATUTEERAWO EKYOKULABIRAKO EKISINGAYO OBULUNGI
3. Bwe yali asaba Katonda kiki Yesu kye yeeyama, era Kitaawe ow’omu ggulu yamuddamu atya?
3 “Laba! Nzize . . . okukola by’oyagala Ai Katonda.” (Beb. 10:7) Mu bigambo ebyo Yesu bye yayogera ng’asaba, yeeyama okukola Katonda by’ayagala. Ekyo kyalaga nti yali mwetegefu okutuukiriza byonna ebyayogerwa ku Zzadde eryasuubizibwa, nga muno mw’otwalidde n’okuleka Sitaani ‘okumubetenta ekisinziiro.’ (Lub. 3:15) Teri muntu mulala yenna yali yeetisse buvunaanyizibwa bwa maanyi ng’obwo. Yakuwa yawulira essaala eyo era n’akiraga nti yalina obwesige mu Mwana we. Kyali tekyetaagisa Yesu kulayira okusobola okulaga nti yali ajja kutuukiriza ekyo kye yali yeeyamye okukola.—Luk. 3:21, 22.
4. Kiki Yesu kye yali omwetegefu okukola okusobola okukakasa nti ekigambo kye Yee kiba Yee?
4 Bulijjo ekigambo kya Yesu Yee kyabanga Yee. Teyakkiriza kintu kyonna kumuwugula kuva ku mulimu Kitaawe gwe yali amuwadde ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. (Yok. 6:44) Bayibuli eraga nti Yesu yatuukiriza ekyo kye yeeyama okukola, ng’egamba nti: “Ebisuubizo bya Katonda ka bibe bingi kwenkana wa, bifuuse Yee okuyitira mu [Yesu].” (2 Kol. 1:20) Mu butuufu Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi mu kutuukiriza obweyamo bwe eri Kitaawe. Kati ka tulabe omuntu omulala eyafuba okukoppa Yesu.
PAWULO YATUUKIRIZANGA EBYO BYE YEEYAMA OKUKOLA
5. Kyakulabirako ki ekirungi Pawulo kye yatuteerawo?
5 “Nkole ki Mukama wange?” (Bik. 22:10) Bw’atyo Pawulo, mu kiseera ekyo eyali ayitibwa Sawulo, bwe yaddamu Mukama waffe Yesu bwe yamulabikira n’amulagira okulekera awo okuyigganya abayigirizwa be. Sawulo yeenenya olw’ebyo bye yali akoze, n’abatizibwa, era n’akkiriza okukola omulimu ogw’okuwa obujulirwa ku Yesu eri ab’amawanga. Okuva olwo, Pawulo yatandika okutwala Yesu nga ‘Mukama we’ n’okumugondera, era ekyo yakikola obulamu bwe bwonna. (Bik. 22:6-16; 2 Kol. 4:5; 2 Tim. 4:8) Pawulo teyali ng’abo Yesu be yayogerako ng’agamba nti: “Lwaki mumpita nti, ‘Mukama waffe! Mukama waffe!’ ate ne mutakola bye mbagamba?” (Luk. 6:46) Yesu asuubira abo bonna abamuyita Mukama waabwe okutuukiriza ebyo bye beeyama okukola, ng’omutume Pawulo bwe yakola.
6, 7. (a) Lwaki Pawulo yakyusa mu nteekateeka ye ey’okukyalira ekibiina ky’e Kkolinso, era lwaki abo abaagamba nti Pawulo yali teyeesigika baali bakyamu? (b) Tusaanidde kutwala tutya abo abatwala obukulembeze mu kibiina?
6 Pawulo yabuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’obunyiikivu mu Asiya omutono ne mu Bulaaya. Yatandikawo ebibiina bingi mu bitundu ebyo, era yaddangayo okubikyalira. Oluusi kyamwetaagisanga okulayira okusobola okukakasa abalala nti bye yabanga awandiise bituufu. (Bag. 1:20) Abantu abamu abaali mu Kkolinso bwe baagamba nti Pawulo yali teyeesigika, yeewozaako ng’agamba nti: “Katonda bw’ali omwesigwa, bye twabagamba tebyali nti Yee ate oluvannyuma ne biba nti Nedda.” (2 Kol. 1:18) We yawandiikira ebigambo ebyo, Pawulo yali avudde mu Efeso ng’ali mu Makedoni era ng’ateekateeka kugenda Kkolinso. Yali ayagala kugenda Kkolinso nga tannagenda Makedoni. (2 Kol. 1:15, 16) Naye, ng’abalabirizi abakyalira ebibiina leero bwe kiyinza okubeetaagisa okukyusa mu biseera bye baba bategese okukyalira ebibiina, ne Pawulo kyali kimwetaagisa okukyusa mu nteekateeka ye. Abalabirizi baba n’ensonga ey’amaanyi eba ebaleetedde okukyusa mu nteekateeka zaabwe. Ne Pawulo yalina ensonga ey’amaanyi eyamuleetera okwongezaayo ekiseera kye yali ateeseteese okukyalira ekibiina ky’e Kkolinso. Ekyo yakikola ku lwa bulungi bwa kibiina ekyo. Lwaki tugamba bwe tutyo?
7 Pawulo bwe yali amaze okukola enteekateeka okugenda e Kkolinso, yakitegeerako nti ab’oluganda mu kibiina ekyo tebaali bumu era nti mu kibiina ekyo mwalimu omwenzi. (1 Kol. 1:11; 5:1) Mu bbaluwa ye esooka eri Abakkolinso, Pawulo yabawa amagezi agandibayambye okugonjoola ebizibu ebyali bizzeewo mu kibiina. Mu kifo ky’okuva mu Efeso n’agenda butereevu e Kkolinso, Pawulo yasalawo okusooka okuwa baganda be ekiseera okukolera ku ebyo bye yali abagambye, basobole okuzzibwamu amaanyi ng’abakyalidde. Mu bbaluwa ye ey’okubiri, Pawulo yababuulira ensonga lwaki yali akyusizza mu nteekateeka ye. Yabagamba nti: “Mpita Katonda okuba omujulirwa wange nti olw’obutaagala mweyongere kunakuwala, ye nsonga lwaki sinnajja Kkolinso.” (2 Kol. 1:23) Tusaanidde okwewala okuba ng’abo abaali bavumirira Pawulo. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okussa ekitiibwa mu abo abalondeddwa okutwala obukulembeze mu kibiina. Pawulo yatuukirizanga ebyo bye yeeyama okukola. Tusaanidde okumukoppa nga naye bwe yakoppa Kristo.—1 Kol. 11:1; Beb. 13:7.
ABALALA ABASSAAWO EKYOKULABIRAKO EKIRUNGI
8. Kyakulabirako ki ekirungi Lebbeeka kye yatuteerawo?
8 ‘Nja kugenda.’ (Lub. 24:58) Lebbeeka yayogera ebigambo ebyo maama we ne mwannyina bwe baamubuuza obanga yali mwetegefu okufuuka mukyala wa Isaaka mutabani wa Ibulayimu. Yalina okuva ewaabwe ku olwo lwennyini atambule olugendo lwa mayiro 500 n’omuntu gw’atamanyi. (Lub. 24:50-58) Ekigambo kya Lebbeeka Yee kyali Yee. Yafuuka mukyala wa Isaaka era yaweereza Katonda n’obwesigwa. Ekyo kyali kitegeeza nti okuva ku olwo yali wa kubeera mu weema ng’omugenyi mu Nsi Ensuubize. Katonda yamuwa empeera olw’okuba yatuukiriza ekyo kye yeeyama okukola. Yafuuka jjajja wa Yesu Kristo, Ezzadde eryasuubizibwa.—Beb. 11:9, 13.
9. Luusi yakiraga atya nti ekigambo kye Nedda kyali Nedda?
9 “Nedda; naye tuliddayo naawe eri abantu bo.” (Luus. 1:10) Ebyo bye bigambo nnamwandu Omumowaabu Luusi ne Olupa bye baagamba nnyazaala waabwe Nawomi, bwe yali ava mu nsi ya Mowaabu ng’addayo e Besirekemu. Nawomi yabeegayirira baddeyo ewaabwe, era ye Olupa yaddayo. Naye Luusi yakiraga nti ekigambo kye Nedda kyali Nedda. (Soma Luusi 1:16, 17.) Luusi yanywerera ku Nawomi. Yaleka ab’ewaabwe n’eddiini y’Abamowaabu ey’obulimba. Yaweereza Yakuwa n’obwesigwa obulamu bwe bwonna era Yakuwa yamuwa empeera. Luusi y’omu ku bakazi abataano abali mu lunyiriri lw’obuzaale bwa Kristo aboogerwako mu Njiri ya Matayo.—Mat. 1:1, 3, 5, 6, 16.
10. Isaaya yatuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi?
10 “Nze nzuuno: ntuma.” (Is. 6:8) Bwe yali tannayogera bigambo ebyo, Isaaya yayolesebwa, n’alaba Yakuwa ng’atudde ku ntebe ye waggulu wa yeekaalu ya Isiraeri. Mu kwolesebwa okwo, Isaaya yawulira Yakuwa ng’agamba nti: ‘Nnaatuma ani, era anaatugendera ani?’ Yakuwa yali anoonya omuntu anaatwala obubaka bwe eri abantu be abaali abajeemu. Isaaya yakkiriza okugenda, era yakiraga nti ekigambo kye Yee kyali Yee. Okumala emyaka egisukka mu 46, Isaaya yaweereza n’obwesigwa nga nnabbi, ng’alangirira obubaka bwa Yakuwa obw’omusango era ng’alaga nti Yakuwa yali agenda kuzzaawo okusinza okw’amazima.
11. (a) Lwaki kikulu okutuukiriza ekyo kye tuba tusuubizza? (b) Bantu ki aboogerwako mu Bayibuli abaalemererwa okutuukiriza ebyo bye baasuubiza?
11 Lwaki Yakuwa yateeka ebyokulabirako ebyo mu Kigambo kye? Era lwaki kikulu nnyo okukakasa nti ekigambo kyaffe Yee kiba Yee? Bayibuli eraga nti omuntu ‘atatuukiriza ekyo ky’aba asuubizza’ aba ‘asaanidde kufa.’ (Bar. 1:31, 32) Falaawo owa Misiri, Kabaka Zeddekiya owa Yuda, ne Ananiya ne Safira be bamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abataatuukiriza ebyo bye baasuubiza. Ekigambo kyabwe Yee tekyali Yee era ebyabaviiramu tebyali birungi. Tetusaanidde kuba nga bo.—Kuv. 9:27, 28, 34, 35; Ez. 17:13-15, 19, 20; Bik. 5:1-10.
12. Kiki ekinaatuyamba okutuukiriza ebyo bye tuba tusuubizza?
12 ‘Mu nnaku zino ez’oluvannyuma,’ abantu abasinga obungi “si beesigwa.” “Balina ekifaananyi eky’okwemalira ku Katonda naye nga tebooleka maanyi gaakwo.” (2 Tim. 3:1-5) Tusaanidde okwewala okuba n’enkolagana ey’okulusegere n’abantu ng’abo. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukuŋŋaananga awamu n’abo abafuba okulaba nti ekigambo kyabwe Yee kiba Yee.—Beb. 10:24, 25.
OBWEYAMO BWO OBUSINGAYO OKUBA OBUKULU
13. Bweyamo ki obusingayo okuba obukulu omugoberezi wa Yesu Kristo bw’akola?
13 Obweyamo obusingayo okuba obukulu, bwebwo omuntu bw’akola nga yeewaayo eri Yakuwa. Emirundi esatu egy’enjawulo abo abaagala okufuuka abayigirizwa ba Yesu babuuzibwa obanga ddala beetegefu okutuukiriza ekyo kye baba basazeewo okukola. (Mat. 16:24) Abakadde babiri bwe batuula n’omuntu ayagala okufuuka omubuulizi atali mubatize, bamubuuza nti, “Ddala oyagala okubeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa?” Oluvannyuma omuntu oyo bw’aba yeeyongedde okukulaakulana era n’aba ng’ayagala okubatizibwa, abakadde batuula naye ne bamubuuza nti, “Omaze okwewaayo eri Yakuwa ng’oyitira mu kusaba?” Ate ku lunaku omuntu lw’aba agenda okubatizibwa, abuuzibwa nti, “Okusinziira ku ssaddaaka ya Yesu Kristo, weenenyezza ebibi byo era ne weewaayo eri Yakuwa okukola by’ayagala?” Omuntu aba agenda okubatizibwa addamu nti Yee mu maaso g’abo bonna ababaawo, bw’atyo n’akiraga nti yeeyamye okuweereza Katonda emirembe gyonna.
14. Bibuuzo ki bulijjo bye tusaanidde okwebuuza?
14 Ka kibe nti waakabatizibwa oba nti omaze emyaka mingi ng’oweereza Katonda, buli kiseera weetaaga okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Okufaananako Yesu, nange nfuba okutuukiriza obweyamo bwe nnakola, okuweereza Yakuwa emirembe gyonna? Omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa gwe nkulembeza mu bulamu bwange nga Yesu bwe yatulagira okukola?’—Soma 2 Abakkolinso 13:5.
15. Bintu ki ebirala ebikulu mwe twetaagira okukakasa nti ekigambo kyaffe Yee kiba Yee?
15 Okutuukiriza obweyamo bwaffe eri Yakuwa kizingiramu n’okutuukiriza ebintu ebirala ebikulu bye tuba tweyamye okukola. Ng’ekyokulabirako: Oli mufumbo? Bwe kiba kityo, fuba okutuukiriza ekyo kye wasuubiza, okwagala munno n’okumussaamu ekitiibwa. Olina endagaano gye wakola mu bizineesi oba oliko foomu gye wajjuza okusobola okufuna enkizo ey’enjawulo mu kibiina kya Yakuwa? Bwe kiba kityo, fuba okulaba nti otuukiriza ekyo kye weeyama. Waliwo ow’oluganda atali bulungi mu by’enfuna eyakuyita omukyalire oliireko wamu naye emmere era n’okkiriza? Bwe kiba kityo, osaanidde okutuukiriza ekyo kye wasuubiza ne bwe kiba nti oluvannyuma waliwo ow’oluganda omulala alina ku ssente akuyise omukyalire ku lunaku olwo lwennyini. Kyandiba nti oliko omuntu gwe wasuubiza okuddira okuyigiriza Bayibuli? Fuba okulaba nti ekigambo kyo Yee kiba Yee. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja kukuwa omukisa mu buweereza bwo.—Soma Lukka 16:10.
KABONA WAFFE ASINGA OBUKULU ERA KABAKA WAFFE ASOBOLA OKUTUYAMBA
16. Singa tulemererwa okutuukiriza ekyo kye tuba tweyama okukola, kiki kye tusaanidde okukola?
16 Bayibuli eraga nti olw’okuba tetutuukiridde, “emirundi mingi ffenna tusobya,” naddala mu bintu bye twogera. (Yak. 3:2) Kiki kye tusaanidde okukola singa tulemererwa okutuukiriza ekyo kye twasuubiza? Amateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri gaalaga ekintu omuntu eyayanguyirizanga okulayira kye yalina okukola okusobola okusonyiyibwa. (Leev. 5:4-7, 11) Abakristaayo nabo basobola okusonyiyibwa singa balemererwa okutuukiriza ekyo kye baba beeyamye okukola. Bwe twenenya olw’okulemererwa okutuukiriza ekyo kye tuba tweyama okukola, Yakuwa atulaga ekisa era n’atusonyiwa. Tulina Kabona Asinga Obukulu, Yesu Kristo, asobola okutuyamba okutabagana ne Katonda. (1 Yok. 2:1, 2) Kyokka bwe tuba twagala Katonda atusonyiwe, tulina okukola ebintu ebiraga nti twenenyezza mu bwesimbu. Tulina okwewala omuze ogw’okweyama ne tutatuukiriza era tulina okukola kyonna ekisoboka okutereeza ebyo ebiba bisobye olw’okweyama ne tutatuukiriza. (Nge. 6:2, 3) N’olwekyo, kiba kya magezi okusooka okufumiitiriza nga tetunnaba kweyama.—Soma Omubuulizi 5:2.
17, 18. Mikisa ki abo bonna abafuba okulaba nti ekigambo kyabwe Yee kiba Yee gye bajja okufuna?
17 Abaweereza ba Yakuwa bonna abafuba okulaba nti ekigambo kyabwe Yee kiba Yee bagenda kufuna emikisa mingi mu biseera eby’omu maaso. Abaafukibwako amafuta 144,000 bajja kugenda mu ggulu bafune obulamu obutasobola kuzikirizibwa, era ‘bafugire wamu ne Yesu nga bakabaka okumala emyaka lukumi.’ (Kub. 20:6) Ate obukadde n’obukadde bw’abantu abalala bajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Kristo. Bajja kuyambibwa okufuuka abantu abatuukiridde.—Kub. 21:3-5.
18 Ku nkomerero y’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi wajja kubaawo okugezesebwa okusembayo. Abo abaliyita mu kugezesebwa okwo be balisigala mu Lusuku lwa Katonda era bonna baliba beesigaŋŋana. (Kub. 20:7-10) Bonna abalibaawo mu kiseera ekyo ekigambo kyabwe Yee kijja kubanga Yee, n’ekigambo kyabwe Nedda, kijja kubanga Nedda. Baliba bakoppa Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, “Katonda ow’amazima,” mu ngeri etuukiridde.—Zab. 31:5.