Tambulira mu Bugolokofu
“Naye nze naatambuliranga mu bugolokofu bwange.”—Zabbuli 26:11, Nw.
1, 2. (a) Lwaki obugolokofu bw’omuntu bukulu nnyo ku nsonga ekwata ku bufuzi bwa Katonda? (b) Ebitonde ebitegeera bisobola bitya okulaga nti biwagira obufuzi bwa Yakuwa?
SETAANI bwe yajeemera Katonda mu lusuku Adeni, yaleetawo okubuusabuusa obanga Katonda y’agwanidde okufuga ebitonde Bye byonna. Oluvannyuma lw’ekiseera, yagamba nti abantu bandiweerezza Katonda bwe bandibadde nga balina kye bafunamu. (Yobu 1:9-11; 2:4) N’olwekyo, obugolokofu bw’omuntu bukulu nnyo ku nsonga ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna.
2 Wadde ng’obufuzi bwa Katonda tebwesigama ku bugolokofu bwa bitonde bye, abantu ne bamalayika basobola okulaga oludda lwe baliko ku nsonga eno. Mu ngeri ki? Nga balondawo okubeera abagolokofu oba nedda. N’olwekyo, Katonda asinziira ku bugolokofu bw’omuntu okumusalira omusango.
3. (a) Kiki Yobu ne Dawudi kye baayagala Yakuwa abakeberemu era abalamule? (b) Bibuuzo ki ebijjawo ebikwata ku bugolokofu?
3 Yobu yayogera bw’ati n’obuvumu: ‘Yakuwa ajja kumpima ku minzaani entuufu, alyoke amanye obugolokofu bwange.’ (Yobu 31:6, NW) Ng’asaba Yakuwa amukebere alabe obanga yali mugolokofu, Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yagamba nti: “Onnamule, ai Yakuwa, kubanga nze ntambulidde mu bugolokofu bwange, era mu ggwe Yakuwa mwe ntadde obwesige bwange nneme okusagaasagana.” (Zabbuli 26:1, NW) Nga kikulu nnyo naffe okutambulira mu bugolokofu! Naye obugolokofu kye ki, era kitegeeza ki okubutambuliramu? Kiki ekinaatuyamba okutambulira mu bugolokofu?
‘Ntambulidde mu Bugolokofu Bwange’
4. Obugolokofu kye ki?
4 Obugolokofu bulina amakulu ag’okubeera omwesigwa, omutuukirivu era ataliiko kya kunenyezebwa. Kyokka, obugolokofu busingawo ku kukola obukozi ekituufu. Kwe kubeera n’empisa ennungi oba okuba n’omutima ogwemalidde ku Katonda. Setaani yabuusabuusa ebiruubirirwa bya Yobu bwe yagamba Katonda: “Naye kaakano golola omukono gwo, okome ku magumba ge ne ku mubiri gwe, era alikwegaanira mu maaso go.” (Yobu 2:5) Ng’oggyeko enneeyisa ennungi, obugolokofu bwetaagisa omuntu okuba n’ekiruubirirwa ekituufu.
5. Kiki ekiraga nti okusobola okubeera omugolokofu tekitwetaagisa kubeera nga tutuukiridde?
5 Kyokka, omuntu okubeera omugolokofu tekimwetaagisa kuba ng’atuukiridde. Kabaka Dawudi yali tatuukiridde era yakola ensobi ez’amaanyi nnyingi mu bulamu bwe. Kyokka, Baibuli emwogerako ng’omusajja ‘eyatambulira mu bugolokofu.’ (1 Bassekabaka 9:4) Lwaki? Kubanga Dawudi yali ayagala nnyo Yakuwa. Omutima gwe gwali gwemalidde ku Katonda. Yakkiriza ensobi ze, yakkiriza okukangavvulwa, era n’akyusa amakubo ge. Mazima ddala, obugolokofu bwa Dawudi bweyolekera ku ngeri gye yali yeemalidde ku Yakuwa Katonda era n’engeri gye yali amwagalamu.—Ekyamateeka 6:5, 6.
6, 7. Okutambulira mu bugolokofu kizingiramu ki?
6 Obugolokofu tebukwata ku mbeera emu ey’obulamu bw’omuntu, gamba ng’okwemalira ku ddiini. Wabula bukwata ku mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. Dawudi ‘yatambulira’ mu bugolokofu. Okusinziira ku kitabo The New Interpreter’s Bible, “ekigambo ‘okutambula’ kitegeeza ‘engeri ey’obulamu’ oba ‘enneeyisa.’” Ng’ayogera ku abo ‘abataliiko kya kunenyezebwa,’ omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Balina omukisa abo [abakwata Katonda] bye yategeeza, abamunoonya n’omutima gwonna. Weewaawo, abo tebakola ebitali bya butuukirivu; batambulira mu makubo ge.” (Zabbuli 119:1-3) Okusobola okubeera omugolokofu kyetaagisa okufuba ennyo okukola Katonda by’ayagala era n’okutambulira mu makubo ge.
7 Okutambulira mu bugolokofu kyetaagisa okwemalira ku Katonda wadde ne mu mbeera enzibu. Obugolokofu bwaffe bweyoleka bwe tugumiikiriza nga tugezesebwa, bwe tusigala nga tuli banywevu nga twolekaganye n’ebizibu oba bwe tutatwalirizibwa bikemo ebiva mu nsi eno etatya Katonda. ‘Tusanyusa omutima gwa Yakuwa’ kubanga aba asobola okufuna eky’okuddamu eri oyo amuvuma. (Engero 27:11) N’olwekyo, nga tulina ensonga ennungi, tusobola okwogera nga Yobu: “Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange.” (Yobu 27:5) Zabbuli eya 26 eraga ekyo ekijja okutuyamba okutambulira mu bugolokofu.
‘Longoosa Ensigo Zange n’Omutima Gwange’
8. Kiki ky’oyigira ku kusaba kwa Dawudi nti Yakuwa akebere ensigo ze n’omutima gwe?
8 Dawudi yasaba bw’ati: “Onkebere, ai Yakuwa era ongezese; olongoose ensigo zange n’omutima gwange.” (Zabbuli 26:2, NW) Ensigo zisangibwa munda ddala mu mubiri gw’omuntu. Mu ngeri ey’akabonero, ensingo zikiikirira ebirowoozo by’omuntu n’enneewulira ye ey’omunda. Ate gwo omutima ogw’akabonero, gukiikirira omuntu ky’ali munda, kwe kugamba, ebiruubirirwa bye, enneewulira ye n’amagezi ge. Dawudi bwe yagamba Yakuwa amukebere, yali amusaba akebere era yeekenneenye ebirowoozo bye n’enneewulira ze.
9. Yakuwa akebera atya ensigo zaffe n’omutima eby’akabonero?
9 Dawudi yeegayirira Yakuwa alongoose ensigo ze n’omutima gwe. Yakuwa alongoosa atya ekyo kye tuli munda? Dawudi yagamba: “Nja kwebazanga Yakuwa olw’okumbuulirira. Mazima, ensigo zange zintereeza buli kiro.” (Zabbuli 16:7, NW) Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti okubuulirira kwa Katonda, Dawudi kwamutuukira ddala munda ne kutereeza endowooza ye. Naffe tusobola okukwatibwako mu ngeri y’emu singa tufumiitiriza ku kubuulirira kwe tufuna okuva mu Kigambo kya Katonda, okuva eri abo b’akozesa n’okuva eri ekibiina kye. Singa tusaba Yakuwa bulijjo okutulongoosa mu ngeri eyo, kijja kutuyamba okutambulira mu bugolokofu.
‘Ekisa Kyo Kiri mu Maaso Gange’
10. Kiki ekyayamba Dawudi okutambulira mu mazima ga Katonda?
10 Dawudi yeeyongera n’agamba: ‘Ekisa kyo kiri mu maaso gange; era nnatambuliranga mu mazima go.’ (Zabbuli 26:3) Dawudi yali amanyi bulungi ebikolwa bya Katonda eby’ekisa, era yabifumiitirizangako nnyo. Yagamba bw’ati: “Weebaze Mukama gwe emmeeme yange, so teweerabira birungi bye byonna.” Ng’ajjukira ebimu ku birungi Katonda bye yakola, Dawudi yeeyongera n’agamba: “Mukama akola eby’obutuukirivu, atuukiriza emisango ku lw’abo bonna abajoogebwa. Yamanyisa Musa amakubo ge, n’ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri.” (Zabbuli 103:2, 6, 7) Oboolyawo Dawudi yali alowooza ku ngeri Abaisiraeri gye baajoogebwamu e Misiri mu biseera bya Musa. Bwe kiba bwe kityo, okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yamanyisaamu Musa ebikwata ku kununulibwa kwabwe, kiyinza okuba nga kyakwata nnyo ku mutima gwa Dawudi era ne kimuleetera okubeera omumalirivu okutambulira mu mazima ga Katonda.
11. Kiki ekisobola okutuyamba okutambulira mu bugolokofu?
11 Okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa era n’okufumiitiriza ku ebyo bye tukiyigamu, kijja kutuyamba okutambulira mu bugolokofu. Ng’ekyokulabirako, bwe tujjukira nti Yusufu yadduka, mukyala Potifali bwe yali ng’ayagala okwetaba naye, kijja kutuyamba okukola ekintu kye kimu singa embeera ng’eyo ebaawo mu bifo gye tukolera, ku ssomero, oba awalala wonna. (Olubereberye 39:7-12) Naye ate kiba kitya singa tukemebwa okufuna eby’obugagga oba ettuttumu ku mulimu? Tuyinza okukoppa ekyokulabirako kya Musa, eyagaana ebitiibwa by’omu Misiri. (Abaebbulaniya 11:24-26) Bwe tujjukira engeri Yobu gye yagumiikirizaamu, awatali kubuusabuusa kijja kutuyamba okweyongera okubeera abeesigwa eri Yakuwa ka tube nga tuli balwadde oba nga tulina ebizibu ebirala. (Yakobo 5:11) Naye kiba kitya singa tuyigganyizibwa? Bwe tujjukira ebyo ebyatuuka ku Danyeri ng’ali mu kinnya ky’empologoma, tusobola okufuna obuvumu!—Danyeri 6:16-22.
‘Saatuulanga Wamu n’Abantu Abatayogera Mazima’
12, 13. Mikwano gya ngeri ki gye tulina okwewala?
12 Ng’ayogera ku nsonga endala eyamusobozesa okutambulira mu bugolokofu, Dawudi yagamba: ‘Saatuulanga wamu n’abantu abatayogera mazima; so ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa. Ekibiina ky’abo abakola obubi nkikyawa, so siituulenga wamu n’ababi.’ (Zabbuli 26:4, 5) Dawudi yali tayinza n’akamu okutuula n’abantu ababi. Yakyawa emikwano emibi.
13 Kiri kitya gye tuli? Twewala okukolagana n’abantu abatayogera mazima ku ttivi, vidiyo, ebifaananyi eby’oku ntimbe, ku Internet oba mu ngeri endala yonna? Twewala okutuula n’abo abakweka kye bali? Abantu abamu ku ssomero oba ku mulimu bayinza okwefuula mikwano gyaffe nga balina ebigendererwa ebikyamu. Ddala twandyagadde okukola omukwano ogw’oku lusegere n’abantu ng’abo abatatambulira mu mazima ga Katonda? Bakyewaggula nabo bayinza okukweka ekiruubirirwa kyabwe eky’okutulemesa okuweereza Yakuwa wadde nga bagamba nti beesimbu. Watya singa mu kibiina mubaamu abamu abatambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri? Abo nabo bakweka kye bali. Jayson, kati akola ng’omuweereza mu kibiina, yalina emikwano bwe gityo ng’akyali muvubuka. Agyogerako bw’ati: “Lumu, omu ku bo yaŋŋamba: ‘Kye tukola kati si kikulu kubanga enteekateeka empya w’erijjira, tuliba twafa dda. Tetugenda kumanya nti waliwo ekintu kyonna kye twasubwa.’ Ebigambo ebyo byanzibula amaaso. Ssaagala kuba mufu ng’enteekateeka empya ezze.” Jayson yeekutula ku mikwano egyo. Omutume Pawulo yalabula bw’ati: “Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33) Nga kikulu nnyo okuba nti twewala emikwano emibi!
‘Nnaayogeranga ku Bikolwa Byo Byonna eby’Ekitalo’
14, 15. Tusobola tutya ‘okwetooloola ekyoto kya Yakuwa’?
14 Dawudi yeeyongera n’agamba: ‘Nnaaba mu ngalo zange okulaga bwe sirina musango; ne nneetooloola ekyoto kyo, ai Mukama.’ Lwaki? ‘Ndyoke nkwebazenga, era njogerenga ku bikolwa byo byonna eby’ekitalo.’ (Zabbuli 26:6, 7) Dawudi yayagala okusigala nga mulongoofu mu mpisa asobole okusinza Yakuwa era n’okulaga nti amwemaliddeko.
15 Buli ekyalina akakwate n’okusinza okw’amazima mu weema ate oluvannyuma mu yeekaalu, kyali ‘kikiikirira eby’omu ggulu.’ (Abaebbulaniya 8:5; 9:23) Ekyoto kyali kyoleka nti Yakuwa yali mwetegefu okukkiriza ssaddaaka ya Yesu Kristo ey’okununula abantu. (Abaebbulaniya 10:5-10) Tunaaba engalo zaffe okulaga bwe tutalina musango ne ‘twetooloola ekyoto kya Yakuwa’ nga twoleka okukkiriza mu ssaddaaka eyo.—Yokaana 3:16-18.
16. Tuganyulwa tutya bwe tumanyisa abalala ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo?
16 Bwe tulowooza ku ebyo byonna ekinunulo bye kisobozesa okubaawo, tetusiima nnyo Yakuwa n’Omwana we eyazaalibwa omu yekka? N’olwekyo, nga twoleka okusiima okuviira ddala ku mitima gyaffe, ka tumanyise abalala ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo—nga tubategeeza ebyaliwo okuviira ddala ku kutondebwa kw’omuntu mu lusuku Adeni, okutuukira ddala ku kuzzibwa kw’ebintu byonna obuggya mu nsi empya eya Katonda. (Olubereberye 2:7; Ebikolwa 3:21) Ng’omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa gutukuuma mu by’omwoyo! (Matayo 24:14; 28:19, 20) Bwe tugukola n’obunyiikivu, kituyamba okunyweza essuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso, okunyweza okukkiriza kwe tulina mu bisuubizo bya Yakuwa, era n’okunyweza okwagala kwaffe gy’ali n’eri abantu abalala.
‘Njagala Okubeera mu Nnyumba Yo’
17, 18. Twanditutte tutya enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo?
17 Eweema n’ekyoto okwaweerwanga ssaddaaka, kye kyali ekifo eky’okusinzizaamu Yakuwa mu Isiraeri. Ng’alaga nti asiima ekifo ekyo, Dawudi yagamba: ‘Mukama, njagala okubeera mu nnyumba yo, n’ekifo omubeera ekitiibwa kyo.’—Zabbuli 26:8.
18 Twagala okukuŋŋaanira mu bifo gye tuyigira ebikwata ku Yakuwa? Buli Kizimbe ky’Obwakabaka awamu n’enteekateeka ez’eby’omwoyo ezikolebwayo, kye kifo eky’okusinzizaamu Yakuwa mu kitundu mwe kiri. Okugatta ku ekyo, buli mwaka tubeera n’enkuŋŋaana ennene ez’olunaku olumu, ez’ennaku ebbiri n’eza disitulikiti. Mu nkuŋŋaana ezo, tufuna ‘okujjukizibwa’ okuva eri Yakuwa. Singa tuyiga ‘okuzaagala ennyo,’ tujja kwesunganga okuzibeeramu era tujja kufuba okussaayo omwoyo nga tuzirimu. (Zabbuli 119:167) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okubeera ne bakkiriza bannaffe abatulumirirwa era abatuyamba okweyongera okutambulira mu bugolokofu!—Abaebbulaniya 10:24, 25.
‘Obulamu Bwange Tobuggyawo’
19. Bibi ki Dawudi bye yali tayagala kukola?
19 Okuva Dawudi bwe yali amanyi obulungi ebiyinza okuvaamu singa alekera awo okutambulira mu mazima ga Katonda, yagamba: “Obulamu bwange tobuggyawo wamu n’ababi, newakubadde n’abo abavunaanibwa okuyiwa omusaayi: emikono gyabwe gikola ebibi, n’omukono gwabwe ogwa ddyo gujjudde enguzi.” (Zabbuli 26:9, 10, NW) Dawudi yali tayagala kuteekebwa mu ttuluba lye limu n’ery’abantu abatatya Katonda, ab’empisa embi oba abalya enguzi.
20, 21. Kiki ekiyinza okutuleetera okutambulira mu kkubo ly’abantu abatatya Katonda?
20 Ensi leero ejjudde obugwenyufu. Ttivi, magazini, n’ebifaananyi eby’oku ntimbe bikubiriza empisa embi, kwe kugamba, “obwenzi, empitambi, obukaba.” (Abaggalatiya 5:19) Abamu bafuuse baddu ba bifaananyi eby’obugwenyufu, era nga bino bitera okuviirako abantu okugwa mu bukaba. Okusingira ddala abavubuka be batwalirizibwa ebintu ebyo. Mu nsi ezimu, kya bulijjo abatafaanaganya kikula okusanyukirako awamu nga bali bokka era abavubuka bapikirizibwa okufunayo omuntu ow’okusanyukirako awamu naye. Ekyo kibaviirako okukulaakulanya omukwano ogw’oku lusegere wadde nga baba bakyali bato nnyo okuyingira obufumbo. Olw’okwagala okumatiza okwegomba kwabwe okw’okwetaba, beenyigira mu mpisa embi eziyinza okubaleetera okugwa mu bukaba.
21 N’abantu abakulu basobola okutwalirizibwa empisa embi. Obutali bugolokofu bulabikira ne mu bizineesi ezitaliimu bwesigwa era ne mu kusalawo mu ngeri ey’okwerowoozaako. Bwe tutambulira mu makubo g’ensi, kijja kutuleetera obutaba na nkolagana nnungi ne Yakuwa. Ka ‘tukyawenga ekibi, twagalenga ekirungi’ era tweyongerenga okutambulira mu bugolokofu.—Amosi 5:15.
“Onnunule, era Onsaasire”
22-24. (a) Ozzibwamu otya amaanyi bw’osoma ebigambo ebisembayo mu Zabbuli 26? (b) Kyambika ki ekijja okwogerwako mu kitundu ekiddako?
22 Dawudi yafundikira okusaba kwe eri Yakuwa ng’agamba: ‘Naye nze naatambuliranga mu bugolokofu bwange onnunule, era onsaasire. Ekigere kyange kiyimiridde mu kifo ekitereevu: mu bibiina nneebazanga Mukama.’ (Zabbuli 26:11, 12) Obumalirivu Dawudi bwe yalina obw’okutambulira mu bugolokofu bukwataganyizibwa bulungi n’okwegayirira kwe okukwata ku kununulibwa. Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi! Wadde nga tuli boonoonyi, Yakuwa ajja kutuyamba bwe tuba abamalirivu okutambulira mu bugolokofu.
23 Ka engeri gye tweyisaamu ne byonna bye tukola mu bulamu bwaffe erage nti tuwagira obufuzi bwa Katonda era nti tubusiima. Buli omu ku ffe asobola okusaba Yakuwa amukebere era alongoose ebirowoozo bye n’enneewulira ze. Buli kiseera tusobola okufumiitiriza ku mazima ge nga tunyiikirira okusoma Ekigambo kye. Mu buli ngeri yonna, ka twewale emikwano emibi era tutendereze Yakuwa mu bibiina by’abantu. Ka tunyiikirire okubuulira Obwakabaka era n’okufuula abantu abayigirizwa, era ka tuleme kukkiriza nsi kwonoona nkolagana yaffe ennungi ne Katonda. Nga tukola kyonna kye tusobola okutambulira mu bugolokofu, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa omukisa.
24 Okuva obugolokofu bwe buzingiramu engeri zonna ez’obulamu, tulina okwegendereza tuleme okugwa mu kyambika eky’okukozesa obubi omwenge. Ekyo kye kijja okwogerwako mu kitundu ekiddako.
Ojjukira?
• Lwaki ebitonde bya Yakuwa ebirina amagezi bisobola okusalirwa omusango okusinziira ku bugolokofu bwabyo?
• Obugolokofu kye ki, era okubutambuliramu kizingiramu ki?
• Kiki ekijja okutuyamba okutambulira mu bugolokofu?
• Okusobola okutambulira mu bugolokofu, biki bye tulina okwegendereza n’okwewala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Buli kiseera osaba Yakuwa akebere ebirowoozo byo eby’omunda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Ofumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekisa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Bwe tutambulira mu bugolokofu nga tugezesebwa, kisanyusa omutima gwa Yakuwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Weeyambisa enteekateeka Yakuwa z’akukolera okukuyamba okweyongera okutambulira mu bugolokofu?