Oddukira eri Yakuwa?
“Yakuwa anunula obulamu bw’abaweereza be; tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibaako omusango.”—ZAB. 34:22.
1. Ekibi kye twasikira oluusi kituleetera kuwulira tutya?
“NZE nga ndi muntu munaku!” (Bar. 7:24) Waliwo abaweereza ba Katonda bangi aboogedde ebigambo ebifaananako ebyo omutume Pawulo bye yayogera. Twagala okusanyusa Yakuwa, naye olw’okuba twasikira ekibi oluusi tulemererwa okukola ebisanyusa Yakuwa era ekyo kituleetera ennaku. Abakristaayo abamu abaakola ebibi eby’amaanyi batuuka n’okulowooza nti Katonda tasobola kubasonyiwa.
2. (a) Zabbuli 34:22 walaga watya nti abaweereza ba Katonda tebasaanidde kuggwaamu maanyi nga bakoze ensobi? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Laba akasanduuko “Byalina Kye Bikiikirira?”)
2 Naye Ebyawandiikibwa bitukakasa nti abo abaddukira eri Yakuwa tebasaanidde kukkiriza nsobi ze baakola kubamalamu maanyi. (Soma Zabbuli 34:22.) Biki ebizingirwa mu kuddukira eri Yakuwa? Biki bye tusaanidde okukola Yakuwa okusobola okutusaasira n’okutusonyiwa? Tusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo nga twetegereza enteekateeka y’ebibuga eby’okuddukiramu eyaliwo edda mu Isirayiri. Kyo kituufu nti enteekateeka eyo yali mu ndagaano y’Amateeka eyakoma ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. Naye tusaanidde okukijjukira nti Amateeka ago gaava eri Yakuwa. N’olwekyo bwe twekenneenya ebikwata ku bibuga eby’okuddukiramu tusobola okumanya engeri Yakuwa gy’atwalamu ekibi, aboonoonyi, n’okwenenya. Kati ka tusooke tulabe ensonga lwaki ebibuga ebyo byassibwawo era n’engeri gye byali bitegekeddwamu.
“MWERONDERE EBIBUGA EBY’OKUDDUKIRAMU”
3. Mu Isirayiri ey’edda, omuntu bwe yattanga omulala mu bugenderevu baamukolanga ki?
3 Okuyiwa omusaayi kwonna mu Isirayiri ey’edda, Yakuwa teyakutwalanga ng’ekintu ekitono. Omuntu bwe yattanga munne mu bugenderevu naye yalinanga okuttibwa. Era omusajja eyabanga n’oluganda ku muntu eyabanga attiddwa ye yalinanga okutta omutemu. Oyo eyabanga alina okutta omutemu yali ayitibwa “awoolera eggwanga.” (Kubal. 35:19) Okutta omutemu kyatangiriranga omusaayi ogutaaliiko musango ogwabanga guyiiriddwa. Omutemu bwe yattibwanga mu bwangu kyayambanga obutayonoona Nsi Nsuubize, kubanga Yakuwa yalagira nti: “Temwonoonanga nsi gye mubeeramu, kubanga [okuyiwa omusaayi gw’omuntu kyonoona] ensi.”—Kubal. 35:33, 34.
4. Kiki ekyabangawo ng’Omuyisirayiri asse munne mu butanwa?
4 Naye watya singa Omuyisirayiri yattanga munne nga takigenderedde? Wadde nga yabanga tagenderedde kutta muntu, yabangako omusango ogw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. (Lub. 9:5) Naye omuntu oyo yalagibwanga ekisa ne kiba nti yali asobola okuddukira mu kimu ku bibuga omukaaga eby’okuddukiramu aleme kuttibwa oyo awoolera eggwanga. Bwe yaddukiranga mu kibuga ekyo, yafunanga obukuumi. Oyo eyabanga asse omuntu nga tagenderedde yalinanga okusigala mu kibuga eky’okuddukiramu okutuusa nga kabona asinga obukulu amaze okufa.—Kubal. 35:15, 28.
5. Enteekateeka y’ebibuga eby’okuddukiramu etuyamba etya okwongera okutegeera Yakuwa?
5 Abantu si be baasalawo okuteekawo ebibuga eby’okuddukiramu. Yakuwa kennyini ye yagamba Yoswa nti: “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Mwerondere ebibuga eby’okuddukiramu.’” Ebibuga ebyo ‘byatukuzibwa.’ (Yos. 20:1, 2, 7, 8) Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yalagira ebibuga ebyo bissibwewo, tuyinza okwebuuza nti: Enteekateeka eyo etuyamba etya okutegeera obulungi ekisa kya Yakuwa? Era etuyamba etya okumanya engeri gye tuyinza okuddukira eri Yakuwa leero?
‘ANAATEGEEZANGA ABAKADDE ENSONGA ZE’
6, 7. (a) Abakadde b’omu Isirayiri baalinanga buvunaanyizibwa ki nga waliwo omuntu asse munne mu butanwa? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.) (b) Lwaki kyabanga kya magezi omuntu oyo okutuukirira abakadde?
6 Omuntu bwe yattanga munne nga tagenderedde, yalinanga okusooka okutegeeza ensonga ze abakadde abaabanga ku mulyango gw’ekibuga kye yabanga addukiddemu. Abakadde abo baalinanga okumuyisa obulungi ng’atuuse. (Yos. 20:4) Nga wayise ekiseera, omuntu oyo yazzibwangayo eri abakadde b’omu kibuga mwe yabanga attidde omuntu era abakadde abo baatunulanga mu nsonga ze ne bamulamula. (Soma Okubala 35:24, 25.) Bwe baamalanga okukakasa nti omuntu yamutta mu butanwa, yakomezebwangawo mu kibuga eky’okuddukiramu.
7 Lwaki omuntu oyo yalinanga okutuukirira abakadde? Ekyo kyali kityo kubanga abakadde baalina obuvunaanyizibwa obw’okukuuma ekibiina kya Isirayiri nga kiyonjo n’okuyamba omuntu eyabanga asse omulala mu butanwa okuganyulwa mu kisa kya Yakuwa. Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti singa omuntu oyo teyagendanga eri abakadde “yassanga obulamu bwe mu kabi.” Yagattako nti: “Bwe yattibwanga, gwabanga gumusinze kubanga yabanga takozesezza nteekateeka Katonda gye yali assizzaawo.” Yo enteekateeka ey’okuyamba omuntu eyabanga asse munne mu butanwa yaliwo, naye omuntu oyo yalina okubaako ky’akolawo okusobola okugiganyulwamu. Bw’ataddukiranga mu kimu ku bibuga Yakuwa bye yali ataddewo, awoolera eggwanga yabanga wa ddembe okumutta.
8, 9. Lwaki Omukristaayo aba akoze ekibi eky’amaanyi alina okutuukirira abakadde bamuyambe?
8 Ne leero, Omukristaayo bw’akola ekibi eky’amaanyi aba alina okutuukirira abakadde bamuyambe. Lwaki ekyo kikulu? Ekisookera ddala, Ekigambo kya Katonda kiraga nti Yakuwa kennyini ye yassaawo enteekateeka y’abakadde okukola ku nsonga z’abantu ababa bakoze ekibi eky’amaanyi. (Yak. 5:14-16) Eky’okubiri, enteekateeka eyo eyamba aboonoonyi ababa beenenyezza okusigala mu kwagala kwa Katonda era ne beewala okuddiŋŋana ensobi yaabwe. (Bag. 6:1; Beb. 12:11) Eky’okusatu, abakadde baakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okubudaabuda aboonoonyi ababa beenenyezza era batendekeddwa okukola omulimu ogwo. Abakadde Yakuwa abayita “ekifo eky’okuddukiramu enkuba ey’amaanyi.” (Is. 32:1, 2, obugambo obuli wansi.) Enteekateeka eyo eraga nti Yakuwa wa kisa.
9 Abaweereza ba Katonda bangi baganyuddwa nnyo mu buyambi abakadde mu kibiina bwe babawa. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayitibwa Daniel yakola ekibi eky’amaanyi naye n’amala emyezi mingi nga tannatuukirira bakadde. Agamba nti: “Nga wayise ekiseera, nnatandika okuwulira nti abakadde baali tebalina kye basobola kukola kunnyamba. Naye buli kiseera nnabanga ndowooza ku bizibu ebyali bigenda okuva mu ekyo kye nnali nkoze. Era buli lwe nnabanga nsaba Yakuwa nnawuliranga nga nnina okusooka okumwetondera olw’ekibi kye nnakola.” Kyokka oluvannyuma Daniel yatuukirira abakadde bamuyambe. Agamba nti: “Ekituufu kiri nti nnali ntya okubatuukirira. Naye bwe nnamala okubatuukirira nnawulira ng’eyali atikkuddwa omugugu omunene. Kati ntuukirira Yakuwa awatali kinkugira.” Kati Daniel alina omuntu ow’omunda omuyonjo, era gye buvuddeko awo yalondebwa okuba omuweereza mu kibiina.
“ANADDUKIRANGA MU KIMU KU BIBUGA EBYO”
10. Biki oyo eyabanga asse omuntu mu butanwa bye yalinanga okukola?
10 Omuntu eyabanga asse munne mu butanwa yabanga alina okubaako ky’akolawo okusobola okusaasirwa. Yalinanga okuddukira mu kibuga eky’okuddukiramu ekyabanga okumpi. (Soma Yoswa 20:4.) Omuntu oyo yali tasobola kulonzalonza kuddukira mu kibuga ekyo, kubanga bw’ataakikolanga mu bwangu yabanga asobola okufiirwa obulamu bwe! Ekyo kyali kimwetaagisa okubaako bye yeefiiriza. Yabanga alina okuleka omulimu gwe, ennyumba ye, era teyafulumanga kibuga ekyo okutuusa nga kabona asinga obukulu amaze okufa.a (Kubal. 35:25) Naye kyabanga kigwana okwefiiriza ebintu ebyo. Singa omuntu oyo yavanga mu kibuga eky’okuddukiramu, kyabanga kiraga nti obulamu bw’omuntu gwe yatta yali tabututte nga kikulu, era obulamu bwe bwabanga mu kabi.
11. Biki Omukristaayo eyeenenyezza by’akola ebiraga nti asiima ekisa kya Katonda?
11 Ne leero omwonoonyi aba alina okubaako ky’akolawo okusobola okuganyulwa mu kisa kya Katonda. Aba alina okulekayo ebikolwa bye ebibi, nga takoma ku kwewala kukola bibi bya maanyi kyokka, wabula nga yeewala n’okukola ebibi ebitonotono ebisobola okumuviirako okukola ebibi ebinene. Ng’aluŋŋamizibwa Katonda, omutume Pawulo yayogera bw’ati ku Bakristaayo ab’omu Kkolinso abeenenya: “Bino bye byava mu kunakuwala mu ngeri Katonda gy’ayagala: okufuba ennyo, okutereeza ensonga, okusunguwala, okutya Katonda, okwagala ennyo okwenenya, okunyiikira, okutereeza ekikyamu!” (2 Kol. 7:10, 11) Bwe tufuba okulekayo ebikolwa ebibi tuba tulaga Yakuwa nti tusiima ekisa ky’atulaga.
12. Biki Omukristaayo by’ayinza okwetaaga okwefiiriza okusobola okuganyulwa mu kisa kya Katonda?
12 Biki Omukristaayo by’ayinza okwetaaga okwefiiriza okusobola okuganyulwa mu kisa kya Katonda? Aba alina okuba omwetegefu okulekayo n’ebintu by’ayagala ennyo bwe kiba nti bisobola okumuviirako okukola ekibi. (Mat. 18:8, 9) Bwe kiba nti mikwano gyo bakuleetera okukola ebintu ebitasanyusa Yakuwa, onoobeekutulako? Bwe kiba nti kikuzibuwalira okwefuga bwe kituuka ku mwenge, oli mwetegefu okwewala embeera yonna eyinza okukuleetera okunywa ennyo? Bw’oba ng’olwanyisa okwegomba okubi okw’okwegatta, weewala firimu, emikutu gya Intaneeti, oba ekintu kyonna ekiyinza okukuleetera okufuna ebirowoozo ebibi? Kijjukire nti bwe twefiiriza ekintu kyonna okusobola okusanyusa Yakuwa, tetusobola kwejjusa. Tewali kiruma nga kumanya nti Yakuwa akukyaye. Ate era tewali kireeta ssanyu lisinga eryo lye tufuna mu kukimanya nti Yakuwa atwagala “n’okwagala okutajjulukuka okw’emirembe n’emirembe.”—Is. 54:7, 8.
“BINAABANGA BIBUGA BYE MUNADDUKIRANGAMU”
13. Nnyonnyola ensonga lwaki omuntu eyabanga addukidde mu kibuga eky’okuddukiramu yabanga n’obukuumi era nga musanyufu.
13 Omuntu bwe yaddukiranga mu kibuga, yabanga n’obukuumi. Ng’ayogera ku bibuga ebyo, Yakuwa yagamba nti: “Binaabanga bibuga bye munaddukirangamu.” (Yos. 20:2, 3) Yakuwa teyalagira nti omuntu eyabanga addukidde mu kibuga yalinanga okuddamu okuvunaanibwa omusango gwe yazza, era n’oyo eyawooleranga eggwanga teyakkirizibwanga kuyingira mu kibuga kutta oyo eyabanga addukiddeyo. Omuntu eyabanga addukidde mu kibuga yali talina kutya nti wandibaddewo amwesasuza. Bwe yabanga mu kibuga yabanga mugumu ng’akimanyi nti alina obukuumi. Mu kibuga ekyo, teyabanga ng’ali mu kkomera. Yabanga asobola okukola emirimu gye, okuyamba abalala, n’okuweereza Yakuwa mu mirembe. Mu butuufu yabanga asobola okuweereza Yakuwa n’essanyu!
14. Omukristaayo aba yeenenyezza alina kuba mukakafu ku ki?
14 Abamu ku bantu ba Katonda abaakola ebibi eby’amaanyi naye ne beenenya bawulira ng’omutima gukyabalumiriza era ng’emirembe gibaweddeko. Batuuka n’okuwulira nti Yakuwa tasobola kuggya birowoozo bye ku kibi kye baakola. Bw’oba nga bw’otyo bw’owulira, osaanidde okukimanya nti Yakuwa bw’akusonyiwa aba akusonyiyidde ddala! Daniel, eyayogeddwako waggulu ekyo akimanyi. Oluvannyuma lw’abakadde okumuyamba n’asobola okuddamu okufuna omuntu ow’omunda omulungi, yagamba nti: “Nnawulira obuweerero. Abakadde bwe baamala okutunula mu nsonga zange, omuntu ow’omunda yalekera awo okunnumiriza. Yakuwa bw’amala okutusonyiwa ebibi byaffe, abiggirawo ddala n’abissa wala nnyo.” Omuntu bwe yamalanga okuddukira mu kibuga eky’okuddukiramu, yabanga talina kweraliikirira nti awoolera eggwanga ejja kumutta. Mu ngeri y’emu, Yakuwa bw’amala okutusonyiwa, tetulina kulowooza nti ekiseera kijja kutuuka addemu okutuvunaana ekibi kye tuba twakola.—Soma Zabbuli 103:8-12.
15, 16. Okuba nti Yesu yawaayo ssaddaaka era nti ye Kabona Asinga Obukulu kikukakasa kitya nti Yakuwa bw’akusonyiwa akusonyiyira ddala?
15 Tulina ensonga nnyingi n’okusinga Abayisirayiri ezandituleetedde okuba abakakafu nti Yakuwa bw’atusonyiwa aba atusonyiyidde ddala. Oluvannyuma lwa Pawulo okugamba nti yali munakuwavu olw’okulemererwa okukola Yakuwa by’agala mu ngeri etuukiridde, yagamba nti: “Katonda yeebazibwe okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe!” (Bar. 7:25) Wadde nga Pawulo yali afuba okulwanyisa ekibi era ng’oluusi anakuwala olw’ebibi bye yakola emabega naye ne yeenenya, yali mukakafu nti Katonda yamusonyiwa okuyitira mu Yesu. Olw’okuba Yesu yawaayo ekinunulo, tusobola okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo n’emirembe mu mutima. (Beb. 9:13, 14) Nga Kabona Asinga Obukulu, Yesu “asobola okulokolera ddala abo abatuukirira Katonda okuyitira mu ye, kubanga bulijjo aba mulamu okwegayirira ku lwabwe.” (Beb. 7:24, 25) Bwe kiba nti obuweereza bwa kabona asinga obukulu bwaleeteranga Abayisirayiri okuba abakakafu nti ebibi byabwe bijja kusonyiyibwa, ffe twandisinzeewo nnyo okuba abakakafu nti okuyitira mu Yesu, Kabona waffe Asinga Obukulu, ‘tusaasirwa era tulagibwa ekisa eky’ensusso mu kiseera we twetaagira obuyambi’?—Beb. 4:15, 16.
16 Okusobola okuddukira eri Yakuwa olina okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu. Tokoma ku kukkiriza nti ssaddaaka ya Yesu eganyula abantu. Wabula ba mukakafu nti ekuganyula ggwe kinnoomu. (Bag. 2:20, 21) Ba mukakafu nti Yakuwa akusonyiwa ebibi byo ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu. Era ba mukakafu nti okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, olina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Ssaddaaka ya Yesu kirabo Yakuwa kye yakuwa.
17. Lwaki osaanidde okuddukira eri Yakuwa?
17 Ebibuga eby’okuddukiramu bukakafu obulaga nti Yakuwa wa kisa. Okuyitira mu nteekateeka eyo, Katonda yakiraga nti obulamu abutwala nti butukuvu, yalaga engeri abakadde gye batuyambamu, yalaga ekizingirwa mu kwenenya mu bwesimbu, era yakiraga nti bw’asonyiwa asonyiyira ddala. Oddukira eri Yakuwa? Tewali kifo kirala kisinga ekyo gy’oyinza kuddukira! (Zab. 91:1, 2) Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri enteekateeka y’ebibuga eby’okuddukiramu gy’eyinza okutuyamba okukoppa obwenkanya bwa Yakuwa n’obusaasizi bwe.
a Okusinziira ku bitabo ebyogera ku byafaayo by’Abayudaaya, ab’omu maka g’oyo eyabanga asse omuntu mu butanwa baamwegattangako mu kibuga gye yabanga addukidde.