ESSOMO 24
Bamalayika Be Baani era Biki Bye Bakola?
Yakuwa ayagala tumanye ebikwata ku b’omu maka ge abali mu ggulu. Ab’omu maka abo be bamalayika, era bayitibwa “abaana ba Katonda.” (Yobu 38:7) Kiki Bayibuli ky’eyogera ku bamalayika? Bye bakola bikwata bitya ku bantu? Bamalayika bonna balungi?
1. Bamalayika be baani?
Yakuwa yasooka kutonda bamalayika nga tannatonda nsi. Okufaananako Yakuwa, bamalayika nabo balina emibiri gya mwoyo era babeera mu ggulu. (Abebbulaniya 1:14) Bamalayika bali bukadde na bukadde, era buli omu wa njawulo ku munne. (Okubikkulirwa 5:11) ‘Bakolera ku kigambo kya Yakuwa era bagondera eddoboozi lye.’ (Zabbuli 103:20) Mu biseera eby’edda, oluusi Yakuwa yatumanga bamalayika okutuusa obubaka ku bantu be, okubayamba, n’okubanunula. Leero bamalayika bayamba Abakristaayo okutuuka ku bantu abaagala okumanya ebikwata ku Katonda.
2. Sitaani ne badayimooni be baani?
Bamalayika abamu tebaasigala nga beesigwa eri Yakuwa. Malayika eyasookera ddala okujeemera Katonda y’oyo ayitibwa “Omulyolyomi era Sitaani, alimbalimba ensi yonna.” (Okubikkulirwa 12:9) Olw’okuba Sitaani yali ayagala okubaako b’afuga, yasendasenda abantu abaasooka okujeemera Yakuwa era oluvannyuma n’asendasenda ne bamalayika abalala okukola kye kimu. Bamalayika abo abaajeema bayitibwa badayimooni. Yakuwa yakozesa Yesu okubagoba mu ggulu ne basuulibwa wano ku nsi, era ekiseera kijja kutuuka bazikirizibwe.—Soma Okubikkulirwa 12:9, 12.
3. Sitaani ne badayimooni bagezaako batya okutulimbalimba?
Sitaani ne badayimooni balimbalimba abantu bangi okuyitira mu by’obusamize. Obusamize kwe kugezaako okuwuliziganya oba okukolagana n’emyoyo emibi. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu beebuuza ku balaguzisa emmunyeenye, abalagula ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, abasawuzi, n’abalogo. Abalala bakozesa obujjanjabi obuzingiramu eby’obusamize. Ate era abantu balimbibwalimbibwa nti basobola okwogera n’abantu baabwe abaafa. Naye Yakuwa atulabula nti: “Togendanga mu basamize, era teweebuuzanga ku balaguzi.” (Eby’Abaleevi 19:31) Atuwa okulabula okwo okusobola okutukuuma tuleme kukolagana ne Sitaani ne badayimooni. Sitaani ne badayimooni balabe ba Katonda era baagala okutulumya.
YIGA EBISINGAWO
Laba ebintu ebirungi bamalayika bye bakola, akabi akali mu kwenyigira mu by’obusamize, n’engeri gye tuyinza okwekuumamu Sitaani ne badayimooni.
4. Bamalayika bayamba abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa
Bamalayika ba Katonda tebeenyigira butereevu mu mulimu gwʼokubuulira. Naye oluusi bayamba abaweereza ba Katonda okutuuka ku bantu abaagala okumanya ebimukwatako. Soma Okubikkulirwa 14:6, 7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Lwaki twetaaga bamalayika okutuyambako mu mulimu gw’okubuulira?
Kikuzzaamu amaanyi okukimanya nti bamalayika basobola okukuyamba okutuuka ku bantu abaagala okumanya ebikwata ku Katonda? Lwaki ogamba bw’otyo?
5. Weewale eby’obusamize
Sitaani ne badayimooni balabe ba Yakuwa era balabe baffe. Soma Lukka 9:38-42, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Badayimooni bayisa batya abantu?
Tetwagala kukolagana na badayimooni mu ngeri yonna. Soma Ekyamateeka 18:10-12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Badayimooni bagezaako batya okutubuzaabuza n’okuwuliziganya naffe? Bikolwa ki eby’obusamize ebikolebwa mu kitundu gy’obeera?
Okiraba nti kikola amakulu Yakuwa okutugaana okwenyigira mu by’obusamize? Lwaki ogamba bw’otyo?
Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ki bibuuzo bino wammanga.
Olowooza ensiriba Palesa gye yali asibye ku muwala we yali ya bulabe? Lwaki ogamba bw’otyo?
Kiki Palesa kye yalina okukola obutalumbibwa badayimooni?
Okuva edda, Abakristaayo ab’amazima babaddenga baziyiza badayimooni. Soma Ebikolwa 19:19 ne 1 Abakkolinso 10:21, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki kikulu okusaanyaawo ekintu kyonna ky’oyinza okuba nakyo ekirina akakwate n’eby’obusamize?
6. Osobola okuwangula Sitaani ne badayimooni
Sitaani ye mufuzi wa badayimooni. Naye bamalayika abeesigwa bakulemberwa Mikayiri, malayika omukulu, era ng’ono ye Yesu. Mikayiri wa maanyi kwenkana wa? Soma Okubikkulirwa 12:7-9, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Baani abasinga amaanyi? Mikayiri ne bamalayika be oba Sitaani ne badayimooni?
Olowooza abagoberezi ba Yesu basaanidde okutya Sitaani ne badayimooni?
Osobola okuwangula Sitaani ne badayimooni. Soma Yakobo 4:7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Osobola otya okwekuuma Sitaani ne badayimooni?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Tewali kikyamu kiri mu kuzannya mizannyo oba okulaba firimu ezirimu eby’obusamize. Omuntu aba yeesanyusaamu bwesanyusa.”
Lwaki endowooza eyo ya kabi nnyo?
MU BUFUNZE
Bamalayika abalungi batuyamba. Sitaani ne badayimooni balabe ba Yakuwa era balimbalimba abantu nga bayitira mu by’obusamize.
Okwejjukanya
Bamalayika ba Yakuwa bayamba batya abantu okuyiga ebimukwatako?
Sitaani ne badayimooni be baani?
Lwaki wandyewaze eby’obusamize?
LABA EBISINGAWO
Laba obukakafu obulaga nti Yesu ye Mikayiri, malayika omukulu.
Laba obukakafu obulaga nti Sitaani si ndowooza mbi eri mu bantu, wabula nti w’ali ddala.
Laba engeri omukazi omu gye yeekutula ku badayimooni.
“Yazuula Obulamu obw’Amakulu” (Watchtower, Jjulaayi 1, 1993)
Laba engeri Sitaani gy’akozesaamu eby’obusamize okubuzaabuza abantu.
“Amazima Agakwata ku Busamize n’Obulogo” (Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo, ekitundu 5)