Weesige Ekigambo kya Yakuwa
‘Nneesiga ekigambo kyo.’—ZABBULI 119:42.
1. Kiki ky’oyinza okwogera ku muwandiisi wa Zabbuli 119 n’ekyo kye yakola?
OMUWANDIISI wa Zabbuli 119 yayagala nnyo ekigambo kya Yakuwa. Kirabika omuwandiisi oyo yali Keezeekiya Omulangira wa Yuda. Ebiri mu zabbuli eyo bituukana bulungi n’ekyo Keezeekiya kye yakola, ‘eky’okunywerera ku Yakuwa’ bwe yali afuga nga kabaka wa Yuda. (2 Bassekabaka 18:3-7) Kye tumanyi kiri nti: Omuwandiisi wa zabbuli eyo yali amanyi obwetaavu bwe obw’eby’omwoyo.—Matayo 5:3.
2. Nsonga ki enkulu eri mu Zabbuli 119, era zabbuli eno yawandiikibwa etya?
2 Zabbuli 119 eraga obukulu bw’ekigambo kya Katonda oba obubaka obukirimu.a Kyandiba nti okusobola okumuyamba okujjukira, yagiwandiika ng’agoberera walifu, mu ngeri nti ennyiriri zaayo 176 zeesigamiziddwa ku walifu y’Olwebbulaniya. Mu Lwebbulaniya olwasooka, buli kimu ku bitundu 22 ebya zabbuli eyo kirimu ennyiriri 8 ezitandisa ennukuta y’emu. Zabbuli eyo eyogera ku kigambo kya Katonda, amateeka, okujjukizibwa, amakubo, n’ebiragiro bye. Mu kitundu kino n’ekiddako, tugenda kwekenneenya Zabbuli 119 nga tusinziira ku nzivuunula entuufu ey’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Bwe tuneekeneenya ebyokulabirako by’abaweereza ba Katonda ab’omu kiseera eky’emabega n’ab’omu kiseera kino kijja kutuyamba okwongera okusiima oluyimba luno olwaluŋŋamizibwa era tweyongere n’okusiima Ekigambo kya Katonda, Baibuli.
Gondera Ekigambo kya Katonda Obeere Musanyufu
3. Nnyonnyola kye kitegeeza obutabaako kabi, era waayo ekyokulabirako.
3 Okufuna essanyu erya nnamaddala kyesigamye ku kugoberera mateeka ga Katonda. (Zabbuli 119:1-8) Bwe tugagoberera, Yakuwa ajja kututunuulira ‘ng’abataliiko kabi.’ (Zabbuli 119:1, NW) Obutabaako kabi tekitegeeza nti tutuukiridde, wabula kiba kiraga nti tufuba okukola Katonda by’ayagala. Nuuwa “yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye,” ng’omusajja ‘eyatambula ne Katonda.’ Omusajja oyo ow’edda omwesigwa yawonawo ku Mataba n’ab’omu maka ge, olw’okuba yakola Yakuwa by’ayagala. (Olubereberye 6:9; 1 Peetero 3:20) Mu ngeri y’emu, naffe okusobola okuwonawo ku nkomerero y’ensi eno, tulina okukola Katonda by’ayagala nga ‘tukwata ebiragiro bye.’—Zabbuli 119:4.
4. Okufuna essanyu n’okutuuka ku buwanguzi byesigamye ku ki?
4 Yakuwa tajja kutwabulira singa ‘tumutendereza n’omutima ogutalina bukuusa era ne tweyongera okukwata amateeka ge.’ (Zabbuli 119:7, 8) Katonda teyayabulira Yoswa, omukulembeze w’Abaisiraeri, eyagoberera amagezi agaamuwebwa ‘okusomanga ekitabo ky’amateeka emisana n’ekiro asobole okukola byonna ebyali bikiwandiikiddwamu.’ Ekyo kyamusobozesa okutuuka ku buwanguzi n’okweyisa mu ngeri ey’amagezi. (Yoswa 1:8) Ng’anaatera okufa, Yoswa yali akyatendereza Katonda era yajjukiza Abaisiraeri nti: “Nammwe mumanyi mu mitima gyammwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo ekitatuuse.” (Yoswa 23:14) Okufaananako Yoswa n’omuwandiisi wa Zabbuli 119, tusobola okufuna essanyu n’okutuuka ku buwanguzi nga tutendereza Yakuwa n’okwesiga ekigambo kye.
Ekigambo kya Yakuwa Kitukuuma nga Tuli Bayonjo
5. (a) Nnyonnyola engeri gye kisoboka okubeera omuyonjo mu by’omwoyo. (b) Biki ebiyinza okuyamba omuvubuka akoze ekibi eky’amaanyi?
5 Tusobola okuba abayonjo mu by’omwoyo singa tukola Katonda by’atulagira. (Zabbuli 119:9-16) Ekyo kisoboka ne bwe kiba nti bazadde baffe tebatuteereddewo kyakulabirako kirungi. Wadde nga taata wa Keezeekiya yali musinza wa bifaananyi, Keezeekiya ‘yalongoosa ekkubo lye,’ oboolyawo nga yeewala okusinza okw’ekikaafiiri. Kiba kitya singa omuvubuka aweereza Katonda leero akola ekibi ey’amaanyi? Okwenenya, okusaba, obuyambi bw’abazadde n’obw’abakadde Abakristaayo, bisobola okumuyamba okubeera nga Keezeekiya ‘n’alongoosa ekkubo lye.’—Yakobo 5:13-15.
6. Bakazi ki ‘abaalongoosa amakubo gaabwe ne bagoberera ekigambo kya Katonda’?
6 Wadde nga Lakabu ne Luusi baaliwo nga Zabbuli 119 tennawandiikibwa, ‘baalongoosa amakubo gaabwe.’ Lakabu Omukanani mu kusooka yali mwenzi, naye yamanyibwa ng’omusinza wa Yakuwa eyalina okukkiriza okw’amaanyi. (Abaebbulaniya 11:30, 31) Luusi Omumowaabu naye yasalawo okuleka bakatonda ab’obulimba n’aweereza Yakuwa, era n’agondera Amateeka Katonda ge yali awadde Isiraeri. (Luusi 1:14-17; 4:9-13) Abakazi bano bombi abataali Baisiraeri ‘baagoberera ekigambo kya Katonda’ era ne bafuna enkizo ey’okubeera bajjajja ba Yesu Kristo.—Matayo 1:1, 4-6.
7. Mu ngeri ki Danyeri n’abavubuka abasatu Abebbulaniya gye baasigala nga bayonjo mu by’omwoyo?
7 Wadde ‘ng’okulowooza okw’omu mutima gw’omuntu kubi okuva mu buto bwe,’ abavubuka basobola okulongoosa amakubo gaabwe ne mu nsi eno ennyonoonefu efugibwa Setaani. (Olubereberye 8:21; 1 Yokaana 5:19) Bwe baali mu buwaŋŋanguse e Babulooni, Danyeri ne banne Abebbulaniya abasatu, ‘baagoberera ekigambo kya Katonda.’ Ng’ekyokulabirako, baagaana okweyonoona “n’emmere ya kabaka.” (Danyeri 1:6-10) Abababulooni baalyanga ensolo ezaagaanibwa mu Mateeka ga Musa. (Eby’Abaleevi 11:1-31; 20:24-26) Bwe battanga ensolo, tebaazijjangamu musaayi, era okulya ennyama ng’eyo kyalinga kikontana n‘Amateeka Katonda ge yawa Musa. (Olubereberye 9:3, 4) N’olw’ensonga eyo, tekyewuunyisa nti Abebbulaniya abo abasatu baagana okulya ku mmere ya kabaka! Abavubuka abo abaali batya Katonda baasigala nga bayonjo mu by’omwoyo era ne bassaawo ekyokulabirako ekirungi.
Ekigambo kya Katonda Kituyamba Okubeera Abeesigwa
8. Kiki kye twetaaga okusobola okutegeera n’okukolera ku mateeka ga Katonda?
8 Tusobola okubeera abeesigwa eri Yakuwa, singa tusiima ekigambo kye. (Zabbuli 119:17-24) Singa tubeera ng’omuwandiisi wa zabbuli, tujja kufuba okutegeera “eby’ekitalo” ebiri mu mateeka ga Katonda. Tujja ‘kuyaayaaniranga amateeka ga Yakuwa’ era tulage nti ‘gatusanyusa.’ (Zabbuli 119:18, 20, 24) Ne bwe kiba nti twakeewaayo eri Yakuwa, ‘twegomba ekigambo kya Katonda’? (1 Peetero 2:1, 2) Kitwetaagisa okumanya enjigiriza enkulu eza Baibuli tusobole okutegeera n’okukolera ku mateeka ga Katonda.
9. Twandikoze ki singa ab’obuyinza batukaka okukola ekintu ekikontana n’amateeka ga Katonda?
9 Tuyinza okuba nga twagala amateeka ga Katonda, naye tunaakola ki singa “abalangira” batwogerako bubi? (Zabbuli 119:23, 24) Leero, ab’obuyinza bagezaako okutukaka okukola ebintu ebikontana n’amateeka ga Katonda. Singa weesanga mu mbeera ng’eyo, onookola ki? Bwe tuba nga tusiima ekigambo kya Katonda tujja kusigala nga tuli beesigwa gyali. Okufaananako abatume ba Yesu Kristo abaali bayigganyizibwa, naffe tujja kugamba: “Kigwaana okuwulira Katonda okusinga abantu.”—Ebikolwa 5:29.
10, 11. Nnyonnyola engeri gye tusobola okubeera abeesigwa eri Yakuwa ne mu mbeera enzibu ennyo.
10 Tusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ne mu mbeera enzibu ennyo. (Zabbuli 119:25-32) Bwe tuba ab’okubeera abeesigwa eri Katonda, tulina okukolera ku ebyo by’atuyigiriza era ne tumusaba atuwe obulagirizi. Ate era tulina okugoberera “ekkubo ery’obwesigwa.”—Zabbuli 119:26, 30.
11 Keezeekiya, ayinza okuba nga ye yawandiika Zabbuli 119, yalonda “ekkubo ery’obwesigwa.” Kino yakikola ne bwe yali mu bantu abataali basinza ba Yakuwa era nga kirabika balangira banne baamusekereranga. Kyandiba nti, embeera eno yamuleeteranga ‘ennaku n’abulwa n’otulo.’ (Zabbuli 119:28, NW) Wadde kyali kityo, Keezeekiya yeesiga Katonda, yali kabaka mulungi, era ‘yakola ebyali ebirungi mu maaso ga Yakuwa.’ (2 Bassekabaka 18:1-5) Singa naffe twesiga Katonda, tusobola okugumira ebigezo.—Yakobo 1:5-8.
Ekigambo kya Yakuwa Kituwa Obuvumu
12. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira okuli mu Zabbuli 119:36, 37?
12 Bwe tugoberera ekigambo kya Katonda tufuna amaanyi agatusobozesa okugumiikiriza ebizibu. (Zabbuli 119:33-40) N’obuwombeefu, tusaba Yakuwa atuwe obulagirizi tusobole okugondera amateeka ge ‘n’omutima gwaffe gwonna.’ (Zabbuli 119:33, 34) Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, naffe tusaba Katonda nti: “Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, so si eri okwegomba.” (Zabbuli 119:36) Era ng’omutume Pawulo, ‘tubeera beesigwa mu buli kintu.’ (Abaebbulaniya 13:18, NW) Singa oyo atukozesa atulagira okukola ekintu ekikontana n’emisingi gya Katonda, tufuna obuvumu ne tutekkiriranya. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa atuwa emikisa. Mu butuufu, atuyamba obutatwalirizibwa ndowooza nkyamu. N’olwekyo, ka ffenna tusabe nti: “Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu.” (Zabbuli 119:37) Ekintu kyonna Katonda ky’akyawa tetwandyagadde kukitwala ng’ekirungi. (Zabbuli 97:10) Ebimu ku bintu bye tulina okwewala bye by’obusamize n’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu.—1 Abakkolinso 6:9, 10; Okubikkulirwa 21:8.
13. Kiki ekyayamba abayigirizwa ba Yesu abaali bayigganyizibwa okubuulira n’obuvumu?
13 Bwe tuba tumanyi bulungi ekigambo kya Katonda, kituyamba okuwa abalala obujulirwa n’obuvumu. (Zabbuli 119:41-48) Ate era, twetaaga obuvumu ‘okusobola okuddamu abo abatuvuma.’ (Zabbuli 119:42) Ebiseera ebimu tuyinza okuba ng’abayigirizwa ba Yesu abaali bayigganyizibwa, abaasaba nti: “Mukama, . . . owe abaddu bo bagume nnyo okwogera ekigambo kyo.” Kiki ekyavaamu? “Bonna ne bajjula [o]mwoyo [o]mutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.” Katonda y’omu oyo atuyamba okwogera ekigambo kye n’obuvumu.—Ebikolwa 4:24-31.
14. Biki ebituyamba okuwa obujulirwa n’obuvumu nga Pawulo?
14 Bwe tuba twagala “[e]kigambo eky’amazima” tujja kusobola okubuulira n’obuvumu era ‘tukwatenga amateeka ga Katonda ennaku zonna.’ (Zabbuli 119:43, 44) Okwesomesa Ekigamba kya Katonda kituyamba ‘okwogera mu maaso ga bakabaka.’ (Zabbuli 119:46) Era okusaba n’omwoyo gwa Katonda bijja kutuyamba okwogera ebintu ebituufu era ebituukirawo. (Matayo 10:16-20; Abakkolosaayi 4:6) Pawulo yayogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu eri abafuzi mu kyasa ekyasooka. Ng’ekyokulabirako, yawa Gavana Omuruumi Ferikisi obujulirwa, ‘eyawuliriza ebigambo ebikwata ku kukkiriza Kristo Yesu.’ (Ebikolwa 24:24, 25) Era Pawulo yawa Gavana Fesuto ne Kabaka Agulipa obujulirwa. (Ebikolwa 25:22–26:32) Nga tulina obuyambi bwa Katonda, naffe tusobola okuwa obujulirwa n’obuvumu nga ‘tetukwatibwa nsonyi olw’enjiri.’—Abaruumi 1:16.
Ekigambo kya Katonda Kitubudaabuda
15. Ekigambo kya Katonda kiyinza kitya okutubudaabuda abalala bwe batusekerera?
15 Ekigambo kya Yakuwa kitubudaabuda. (Zabbuli 119:49-56) Waliwo ekiseera lwe tuba twetaaga ennyo okubudaabudibwa. Wadde twogera n’obuvumu ng’Abajulirwa ba Yakuwa, ‘ab’amalala mu maaso ga Katonda’ oluusi ‘batusekerera.’ (Zabbuli 119:51) Bwe tuba tusaba, tuyinza okujjukira ebigambo ebizzaamu amaanyi mu Kigambo kya Katonda, ne ‘bitubudaabuda.’ (Zabbuli 119:52) Ate era bwe tuba tusaba tuyinza okujjukira etteeka oba omusingi mu Byawandiikibwa oguyinza okutubudaabuda n’okutuwa obuvumu ebitusobozesa okugumiikiriza embeera enzibu.
16. Kiki abaweereza ba Katonda kye batakoze nga bayigganyizibwa?
16 Ab’amalala abaasekerera omuwandiisi wa zabbuli baali Baisiraeri—abaali mu ggwanga eryali lyewaddeyo eri Katonda. Ng’ekyo kyali kya nnaku nnyo! Okwawukana ku Baisiraeri abo, ka tube bamalirivu obutava ku mateeka ga Katonda. (Zabbuli 119:51) Mu myaka egiyise, abaweereza ba Yakuwa Katonda bangi bwe babaddenga bayigganyizibwa Abanazi oba abantu abalala banyweredde ku mateeka ge n’emisingi gye. (Yokaana 15:18-21) Okugondera amateeka ga Yakuwa si mugugu, kubanga galinga oluyimba olutubudaabuda.—Zabbuli 119:54; 1 Yokaana 5:3.
Siima Ekigambo kya Yakuwa
17. Okusiima ekigambo kya Katonda kinaatuleetera kukola ki?
17 Tulaga nti tusiima ekigambo kya Katonda nga tukigondera. (Zabbuli 119:57-64) Omuwandiisi wa zabbuli ‘yeeyama okukwatanga ebigambo bya Yakuwa,’ nga ‘ne mu ttumbi agolokoka okwebaza Katonda olw’amateeka ge ag’obutuukirivu.’ Bwe tugolokoka ekiro, ng’ekyo kiba kiseera kirungi okutegeeza Katonda nti tumwagala nga tusaba! (Zabbuli 119:57, 62) Okusiima ekigambo kya Katonda n’ebyo by’atuyigiriza kituyamba okwegatta ku abo ‘abatya Yakuwa.’ (Zabbuli 119:63, 64) Teri mikwano gisinga egyo mu nsi yonna.
18. Yakuwa addamu atya okusaba kwaffe ‘ng’ababi batuteze emiguwa’?
18 Yakuwa ajja ‘kutusaasira’ singa tumusaba mu buwombeefu okutuyigiriza. Naddala ‘ababi bwe baba batuteze emiguwa,’ twetaaga okusaba ennyo. (Zabbuli 119:58, 61) Yakuwa asobola okutusumulula emiguwa gy’ababi ne tusobola okweyongera okubuulira amawulire ag’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Kino tukirabye enfunda n’enfunda mu nsi omulimu gwaffe gye guwereddwa.
Kkiririza mu Kigambo kya Katonda
19, 20. Mu ngeri ki okuyigganyizibwa gye kuyinza okuba okw’omuganyulo?
19 Bwe tuba tukkiririza mu Katonda n’ekigambo kye kituyamba okugumiikiriza nga tuyigganyizibwa era ne tukola by’ayagala. (Zabbuli 119:65-72) Wadde ng’omuwandiisi wa zabbuli ab’amalala ‘baamwogerako eby’obulimba,’ yagamba: ‘Kya mugaso gye ndi okubonyaabonyezebwa.’ (Zabbuli 119:66, 69, 71) Mu ngeri ki gye kiyinza okuba eky’omugaso omuweereza wa Katonda okubonyaabonyezebwa?
20 Bwe tuba tuyigganyizibwa, tusaba nnyo Yakuwa, era ekyo kituleetera okuwulira ng’atuli ku lusegere. Tuyinza okutwala ebiseera ebiwerako nga twesomesa Ekigambo kya Katonda era ne tufuba okukolera ku ekyo kye kigamba. Kino kituleetera essanyu. Kiri kitya singa twoleka engeri ezitali nnungi ng’obutaba bagumiikiriza n’amalala nga tuyiganyizibwa? Okusaba, okusoma Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe, bisobola okutuyamba okuvvuunuka engeri ezo embi, ne ‘twambala omuntu omuggya.’ (Abakkolosaayi 3:9-14) Ate era, okukkiriza kwaffe kunywera bwe tugumiikiriza ebizibu. (1 Peetero 1:6, 7) Pawulo yaganyulwa nnyo mu bizibu kubanga byamuleetera okweyongera okwesiga Yakuwa. (2 Abakkolinso 1:8-10) Naffe tuleka okubonaabona okutuviiramu ebirungi?
Weesigenga Yakuwa
21. Kiki ekivaamu Katonda bw’akwasa ab’amalala ensonyi?
21 Ekigambo kya Katonda kituwa ensonga ennungi kwe tusinziira okumwesiga. (Zabbuli 119:73-80) Singa tuba twesiga Omutonzi waffe, tewali kijja kutukwasa nsonyi. Kyokka, olw’ebibi abalala bye batukola tuyinza okwetaaga okubudaabudibwa era ne tusaba: ‘Ab’amalala bakwatibwe ensonyi.’ (Zabbuli 119:76-78) Yakuwa akwasa ab’amalala ensonyi ng’ayanika ebikolwa byabwe, era kino kisobozesa erinnya lye okutukuzibwa. Tuli bakakafu nti abo abayigganya abantu ba Katonda tebalina kye baganyulwa. Ng’ekyokulabirako, tebasobola—era tebaliyinza kumalawo Bajulirwa ba Yakuwa, abassa obwesige bwabwe mu Katonda.—Engero 3:5, 6.
22. Mu ngeri ki omuwandiisi wa zabbuli gye yali ‘ng’eddiba eriwanikiddwa okumpi n’omuliro’?
22 Ekigambo kya Katonda kinyweza okukkiriza kwaffe bwe tuba tuyigganyizibwa. (Zabbuli 119:81-88) Olw’okuba ab’amalala baali bamuyigganya, omuwandiisi wa zabbuli yawulira ng’alinga ‘eddiba eriwanikiddwa okumpi n’omuliro.’ (Zabbuli 119:83, 86) Mu biseera bya Baibuli, amaliba g’ensolo gaateekebwangamu ebintu nga amazzi, oba omwenge. Amaliba gano bwe gaabanga tegakozesebwa, geefunyanga olw’okuwanikibwa ku kibanyi ekiri okumpi n’omuliro. Oluusi okuyigganyizibwa oba ebizibu bikuleetera okuwulira ‘ng’olinga eddiba eriri okumpi n’omuliro’? Bwe kiba bwe kityo, ssa obwesige mu Yakuwa era omusabe nti: “[Mponya] ng’ekisa kyo ekirungi bwe kiri.”—Zabbuli 119:88.
23. Kiki kye twekenneenyezza mu Zabbuli 119:1-88, era kiki kye tuyinza okwebuuza nga bwe twesunga okusoma Zabbuli 119:89-176?
23 Bye twetegerezza mu kitundu ekisooka ekya Zabbuli 119 biraze nti Yakuwa alaga abaweereza be ekisa kubanga beesiga Ekigambo kye, era baagala amateeka ge. (Zabbuli 119:16, 47, 64, 70, 77, 88) Kimusanyusa nnyo abaweereza be bwe banywerera ku kigambo kye. (Zabbuli 119:9, 17, 41, 42) Nga weesunga okwekenneenya ekitundu ekisigaddeyo ekya zabbuli eno ezzaamu amaanyi, oyinza okwebuuza, ‘Ddala ndeka ekigambo kya Yakuwa okumulisa ekkubo lyange?’
[Obugambo obuli wansi]
a Mu zabbuli eno ekigambo kitegeeza obubaka bwa Yakuwa, so si Baibuli.
Wandizzeemu Otya?
• Essanyu erya nnamaddala lyesigamye ku ki?
• Ekigambo kya Yakuwa kituyamba kitya okusigala nga tuli bayonjo mu by’omwoyo?
• Ekigambo kya Katonda kituwa kitya obuvumu n’okubudaabudibwa?
• Lwaki tusaanidde okussa obwesige mu Yakuwa n’ekigambo kye?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]
Luusi, Lakabu, n’abavubuka abasatu Abebbulaniya abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni ‘baagondera ekigambo kya Katonda’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Pawulo n’obuvumu ‘yayogera ekigambo kya Katonda mu maaso ga bakabaka’