EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU
Kikulu Okusaba Katonda?
Oyinza okwebuuza nti, ‘Lwaki nsaba ng’ate Katonda amanyi buli kimu, nga mw’otwalidde n’ebyo bye ndowooza ne bye nneetaaga?’ Tekiba kikyamu kwebuuza kibuuzo ng’ekyo. Ne Yesu yagamba nti Katonda “amanyi ebintu bye mwetaaga nga temunnaba na kubimusaba.” (Matayo 6:8) Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda naye yagamba nti: ‘Tewali kigambo ku lulimi lwange, ai Mukama, ggwe ky’otomanyi.’ (Zabbuli 139:4) Kati olwo lwaki tusaanidde okusaba Katonda? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulabe Bayibuli ky’eyogera ku kusaba.a
“Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”—Yakobo 4:8
OKUSABA KUTUSOBOZESA OKUBA N’ENKOLAGANA EY’OKU LUSEGERE NE KATONDA
Wadde nga Bayibuli egamba nti Yakuwab Katonda amanyi buli kimu, era eraga nti takoma ku kumanya bumanya bitukwatako. (Zabbuli 139:6; Abaruumi 11:33) Yakuwa talinga kompyuta etereka obuteresi ebikwata ku bantu. Mu butuufu, Katonda ayagala tumweyabize olw’okuba ayagala tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye. (Zabbuli 139:23, 24; Yakobo 4:8) Eyo ye nsonga lwaki Yesu yatukubiriza okusaba, wadde nga Kitaawe amanyi bye twetaaga. (Matayo 6:6-8) Gye tukoma okusaba Omutonzi waffe, gye tukoma okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.
Oluusi tuyinza obutamanya bintu byennyini bye tusaanidde okusaba Katonda. Kyokka ne mu mbeera ng’eyo, Katonda asobola okumanya embeera gye tulimu n’atuwa ebyo bye twetaaga wadde nga tuba tetubyatudde mu ssaala zaffe. (Abaruumi 8:26, 27; Abeefeso 3:20) Bwe tumanya nti Katonda azzeemu okusaba kwaffe, kinyweza enkolagana yaffe naye.
KATONDA ADDAMU ESSAALA ZONNA?
Bayibuli etukakasa nti Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna addamu essaala z’abaweereza be abeesigwa, era etubuulira ensonga lwaki essaala ezimu taziddamu. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri bwe baali bayitirizza okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe, Katonda yatuma nnabbi Isaaya okubagamba nti: ‘Bwe munaasabanga, siiwulirenga: emikono gyammwe gijjudde omusaayi.’ (Isaaya 1:15) Abo abamenya amateeka ga Katonda mu bugenderevu, n’abo abasaba n’ebigendererwa ebikyamu Katonda taddamu ssaala zaabwe.—Engero 28:9; Yakobo 4:3.
Ku luuyi olulala, Bayibuli egamba nti: “Bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.” (1 Yokaana 5:14) Naye ekyo kitegeeza nti Katonda ateekwa okuddamu essaala z’abaweereza be zonna? Nedda. Lowooza ku mutume Pawulo eyeegayirira Katonda emirundi esatu, ng’ayagala amuwonye ekizibu kye yayita “eriggwa mu mubiri.” (2 Abakkolinso 12:7, 8) Kirabika Pawulo yali mulwadde wa maaso. Obulwadde obwo buteekwa okuba nga bwamunakuwazanga nnyo! Omutume Pawulo yalina ekirabo eky’okuwonya era yazuukizaako omufu, kyokka yalina okugumira obulwadde bwe. (Ebikolwa 19:11, 12; 20:9, 10) Wadde ng’essaala ye teyaddibwamu nga bwe yali ayagala, Pawulo yasiima engeri Katonda gye yamuyambamu.—2 Abakkolinso 12:9, 10.
“Buno bwe bwesige bwe tulina gy’ali, nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.”—1 Yokaana 5:14
Kyo kituufu nti waliwo abantu aboogerwako mu Bayibuli abaasaba, Katonda n’addamu essaala zaabwe mu ngeri ey’ekyamagero. (2 Bassekabaka 20:1-7) Naye tekyabanga bwe kityo eri buli omu. Abaweereza ba Katonda abamu oluusi baawuliranga nti Katonda aluddewo okuddamu essaala zaabwe. Kabaka Dawudi yabuuza nti: “Olituusa wa, ai Mukama, okunneerabiranga emirembe gyonna?” (Zabbuli 13:1) Naye Dawudi bwe yajjukira engeri Katonda gye yamuyambanga, yeeyongera okumwesiga. Mu ssaala y’emu Dawudi yagamba nti: “Naye nneesize okusaasira kwo.” (Zabbuli 13:5) Okufaananako Dawudi, abaweereza ba Katonda leero kiyinza okubeetaagisa okunyiikirira okusaba, okutuusa Katonda lw’anaabaddamu.—Abaruumi 12:12.
ENGERI KATONDA GY’ADDAMU ESSAALA ZAFFE
Katonda atuwa ebyo byennyini bye twetaaga.
Abazadde ne bwe baba baagala nnyo omwana waabwe, tebamuwa buli kimu ky’abasaba, era oluusi ne bwe baba ab’okumuwa ekyo ky’aba abasabye, bayinza obutakimuweerawo. Mu ngeri y’emu, Katonda ayinza obutaddamu ssaala zaffe nga bwe tusuubira oba mu kiseera kye tusuubiriramu. Kyokka, tusobola okuba abakakafu nti okufaananako taata ayagala ennyo abaana be, Omutonzi waffe ajja kuddamu okusaba kwaffe mu kiseera ekituufu era mu ngeri entuufu.—Lukka 11:11-13.
Katonda ayinza okuddamu essaala zaffe mu ngeri gye tutasuubira.
Ate watya singa tuba n’ekizibu ne tusaba Katonda atuyambe? Tetusaanidde kulowooza nti olw’okuba Katonda tatukoledde kyamagero, aba tazzeemu kusaba kwaffe. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okwetegereza tulabe obanga waliwo engeri endala Katonda gy’azzeemu okusaba kwaffe. Ng’ekyokulabirako, mukwano gwo ayinza okukuyamba mu kiseera kyennyini we weetaagira obuyambi. (Engero 17:17) Katonda ayinza okuba nga y’asobozesezza mukwano gwo oyo okukuyamba. Ate era, Katonda ayinza okuddamu okusaba kwaffe ng’akozesa Bayibuli. Tuyinza okusoma Bayibuli ne tusangamu amagezi agayinza okutuyamba okugumira ekizibu kye tuba tulina.—2 Timoseewo 3:16, 17.
Oluusi Katonda taggyaawo kizibu kye tuba tulina, naye atuwa amaanyi ne tusobola okukigumira. (2 Abakkolinso 4:7) Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yasaba Kitaawe amuwonye ekyo ekyali kinaatera okumutuukako, Kitaawe yatuma butumi malayika n’amuzzaamu amaanyi. (Lukka 22:42, 43) Mu ngeri y’emu, Katonda ayinza okukozesa mukwano gwaffe okutuzzaamu amaanyi mu kiseera ekizibu. (Engero 12:25) Olw’okuba oluusi Yakuwa addamu okusaba mu ngeri gye tutasuubira, tusaanidde okwetegereza tulabe obanga azzeemu okusaba kwaffe.
Essaala ezimu Katonda aziddamu mu kiseera kye ekituufu.
Bayibuli eraga nti Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ayamba abawombeefu mu kiseera ekituufu. (1 Peetero 5:6) N’olwekyo, essaala zaffe bwe zirabika ng’eziruddewo okuddibwamu, tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa tatufaako. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukijjukira nti olw’okuba Omutonzi waffe alina amagezi mangi, bwe tumusaba atunuulira embeera gye tulimu, n’atuwa ekyo ky’alaba nti kye kinaasinga okutuganyula.
“Mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, asobole okubagulumiza ng’ekiseera kituuse.”—1 Peetero 5:6
Ekyokulabirako: Ka tugambe nti omwana wo akusabye okumugulira eggaali. Onoogimugulira bugulizi? Bw’olaba nga tannatuusa kuvuga ggaali oyinza obutagimugulira. Naye, bw’akula n’aba ng’asobola okugivuga, asobola okugimugulira. Mu ngeri y’emu, mu kiseera ekituufu Katonda asobola okutuwa ebyo bye twetaaga singa tetulekera awo kumusaba.—Zabbuli 37:4.
BEERA MUKAKAFU NTI YAKUWA ADDAMU OKUSABA KWAFFE
Bayibuli ekubiriza Abakristaayo obutakoowa kusaba. Naye abamu bayinza okugamba nti ekyo si kyangu. Kyo kituufu nti bwe tuba tulina ekizibu eky’amaanyi, kiyinza okutuzibuwalira okulindirira okutuusa Yakuwa lw’anaddamu essaala zaffe. Naye Yesu yalaga nti kikulu okunyiikirira okusaba.
Lumu, Yesu yayogera ku nnamwandu omwavu eyagendanga ew’omulamuzi eyali omubi ng’amusaba akole ku nsonga ze mu bwenkanya. (Lukka 18:1-3) Wadde ng’omulamuzi yasooka kugaana, oluvannyuma yagamba nti: “Nja kukola ku nsonga ze mu bwenkanya alekere awo okujjanga gye ndi okuntawaanya.” (Lukka 18:4, 5) Okusinziira ku biwandiiko bya Bayibuli eby’edda, omulamuzi oyo yayamba nnamwandu kubanga yali tayagala ‘linnya lye kwonoonebwa.’c Bwe kiba nti omulamuzi oyo omubi, olw’okutya erinnya lye okwonoonebwa, yayamba nnamwandu, olowooza Katonda omwenkanya ayinza okugaana okuddamu okusaba kw’abo “abamukaabirira emisana n’ekiro”? Yesu yagamba nti Katonda “alisala omusango ku lwabwe mu bwangu era mu bwenkanya.”—Lukka 18:6-8.
“Musabenga, muliweebwa.”—Lukka 11:9
Wadde ng’ebiseera ebimu tuyinza okuwulira nga tukooye okusaba, tetusaanidde kulekulira. Bwe tunyiikirira okusaba, tuba tukiraga nti ddala twagala Katonda atuyambe. Katonda bw’addamu okusaba kwaffe enkolagana yaffe naye yeeyongera okunywera. N’olwekyo bwe tusaba nga tulina okukkiriza era ng’essaala zaffe zituukagana n’ebyo Katonda by’ayagala, Katonda ajja kuddamu essaala zaffe.—Lukka 11:9.
a Bwe tuba twagala Katonda addemu okusaba kwaffe, tusaanidde okufuba okukola by’ayagala. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuganyulwa, ng’ekitundu kino bwe kiraga. Okumanya ebisingawo, laba essuula 17 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, oba genda ku mukutu www.jw.org.
b Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.
c Mu biseera eby’edda, Katonda yalagira abalamuzi bonna mu Isiraeri okufangayo ku bannamwandu ne bamulekwa.—Ekyamateeka 1:16, 17; 24:17; Zabbuli 68:5.