Ekisa kya Yakuwa Ekyesigamiziddwa ku Kwagala Kingi Nnyo
‘Ekisa kya Yakuwa ekyesigamiziddwa ku kwagala kingi nnyo.’—ZABBULI 145:8, NW.
1. Okwagala kwa Yakuwa kungi kwenkana?
“KATONDA kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Ebigambo ebyo ebibuguumiriza omutima bikakasa nti engeri Yakuwa gy’afugamu yeesigamiziddwa ku kwagala. Mazima ddala, n’abantu abatamugondera baganyulwa mu musana n’enkuba by’atuwa olw’okwagala kwe! (Matayo 5:44, 45) Olw’okuba Katonda ayagala abantu, n’abalabe be basobola okwenenya ne badda gy’ali era ne bafuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 3:16) Kyokka, mangu ddala, Yakuwa ajja kuzikiriza abantu ababi bonna kisobozese abamwagala okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya ey’obutuukirivu.—Zabbuli 37:9-11, 29; 2 Peetero 3:13.
2. Kwagala kwa kika ki Yakuwa kw’alaga abo abeewaddeyo gy’ali?
2 Yakuwa alaga abasinza be ab’amazima okwagala okwa nnamaddala emirembe gyonna. Okwagala ng’okwo kulagibwa mu bigambo eby’Olwebbulaniya ebivvuunulwa “ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala.” Kabaka Dawudi ow’omu Isiraeri ey’edda yasiima nnyo ekisa kya Katonda ekyesigamiziddwa ku kwagala. Okusinziira ku ebyo ebyamutuukako, era n’olw’okufumiitiriza ku ngeri Katonda gy’akolaganamu n’abalala, Dawudi yasobola okugamba bw’ati: “Ekisa kya Yakuwa ekyesigamiziddwa ku kwagala kingi nnyo.”—Zabbuli 145:8, NW.
Okumanya Abeesigwa eri Katonda
3, 4. (a) Zabbuli 145 etuyamba etya okumanya abeesigwa eri Yakuwa? (b) Abeesigwa eri Yakuwa basobola batya ‘okumuwa omukisa?’
3 Ku bikwata ku Yakuwa Katonda, maama wa nnabbi Samwiri yagamba bw’ati: ‘Alikuuma ebigere by’abeesigwa be.’ (1 Samwiri 2:9) ‘Abeesigwa’ abo be baani? Kabaka Dawudi atuwa eky’okuddamu. Oluvannyuma lw’okutendereza engeri za Yakuwa ez’ekitalo, agamba: ‘Abeesigwa gy’oli banaakuwa omukisa.’ (Zabbuli 145:10, NW) Oyinza okwebuuza engeri abantu gye bayinza okuwaamu Katonda omukisa. Kino bakikola nga bamutendereza oba nga bamwogerako bulungi.
4 Abeesigwa eri Yakuwa bamanyika mangu olw’okuba bamwogerako bulungi. Bwe bakuŋŋaana awamu okusanyukamu oba nga bali mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, kiki bonna kye baba boogerako? Kya lwatu, baba boogera ku Bwakabaka bwa Yakuwa! Abaweereza ba Katonda abeesigwa balina endowooza y’emu nga Dawudi gye yalina, bwe yagamba: “Baanayogeranga ku kitiibwa eky’obwakabaka bwo, [obwa Yakuwa] banaanyumyanga ku buyinza bwo.”—Zabbuli 145:11.
5. Tumanya tutya nti Yakuwa awuliriza abeesigwa gy’ali abamwogerako obulungi?
5 Yakuwa awuliriza abeesigwa abamutendereza? Yee, awulira bye boogera. Mu bunnabbi obukwata ku kusinza okw’amazima mu nnaku zaffe, Malaki yagamba: “Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n’awuliririza n’awulira, ekitabo eky’okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinnya lye.” (Malaki 3:16) Yakuwa asanyuka nnyo abeesigwa gy’ali bwe bamwogerako obulungi, era abajjukira.
6. Mulimu ki ogutuyamba okumanya abantu abeesigwa eri Katonda?
6 Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa era basobola okumanyika olw’obuvumu bwe balaga nga boogera n’abantu abatasinza Katonda wa mazima. Mazima ddala, abeesigwa eri Katonda ‘bamanyisa abaana b’abantu ebikolwa bye eby’amaanyi, n’ekitiibwa eky’obukulu bw’obwakabaka bwe.’ (Zabbuli 145:12) Okozesa emikisa gyonna gy’ofuna okubuulira abantu ebikwata ku bwakabaka bwa Yakuwa? Obutafaananako gavumenti z’abantu eziri okumpi okuggibwawo, obwakabaka bwa Katonda bwa mirembe na mirembe. (1 Timoseewo 1:17) Kikulu nnyo abantu okuyiga ebikwata ku bwakabaka bwa Yakuwa obw’emirembe gyonna era n’okubuwagira. Dawudi yagamba: “Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n’okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna.”—Zabbuli 145:13.
7, 8. Kiki ekyaliwo mu 1914, era bujulizi ki obuliwo obulaga nti kati Katonda afuga okuyitira mu Bwakabaka bw’Omwana we?
7 Okuva mu 1914, wabaddewo ensonga endala etuleetera okwogera ku bwakabaka bwa Yakuwa. Mu mwaka ogwo, Katonda yassaawo Obwakabaka mu ggulu nga Yesu Kristo, Omwana wa Dawudi ye Kabaka. Mu ngeri eyo, Yakuwa yatuukiriza ekisuubizo kye nti obwakabaka bwa Dawudi bwandibadde bwa mirembe na mirembe.—2 Samwiri 7:12, 13; Lukka 1:32, 33.
8 Obujulizi obulaga nti kati Yakuwa afuga okuyitira mu Bwakabaka bw’Omwana we, Yesu Kristo, bulabikira mu kutuukirizibwa kw’akabonero akalaga okubeerawo kwa Kristo. Ekintu ekisinga obukulu mu kabonero ako, gwe mulimu Yesu gwe yagamba nti gwandikoleddwa abantu bonna abeesigwa eri Katonda: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:3-14, NW) Olw’okuba abeesigwa eri Katonda banyiikirira okutuukiriza obunnabbi obwo, kati abasajja, abakazi n’abaana abasukka mu bukadde mukaaga, beenyigira mu mulimu guno omukulu, ogutagenda kuddibwamu nate. Mangu ddala enkomerero y’abo bonna abaziyiza Obwakabaka bwa Yakuwa ejja kutuuka.—Okubikkulirwa 11:15, 18.
Okuganyulwa mu Bufuzi bwa Yakuwa
9, 10. Njawulo ki eriwo wakati wa Yakuwa n’abafuzi b’ensi?
9 Bwe tuba nga tuli Bakristaayo abeewaddeyo, enkolagana ennungi gye tulina n’Omufuzi w’Obutonde Bwonna, Yakuwa, etuleetera okufuna emiganyulo. (Zabbuli 71:5; 116:12) Ng’ekyokulabirako, olw’okuba tutya Katonda era nga tukola eby’obutuukirivu, tusiimibwa gy’ali era tulina enkolagana ey’oku lusegere naye. (Ebikolwa 10:34, 35; Yakobo 4:8) Okwawukana ku ekyo, abafuzi b’ensi batera okulabibwa nga bali wamu n’abantu abatutumufu, gamba ng’abakulu mu magye, abasuubuzi abagagga, oba abatutumufu mu by’emizannyo. Okusinziira ku lupapula olumu olw’amawulire olw’omu Afirika oluyitibwa Sowetan, omukungu omu owa gavumenti omwatiikirivu yayogera ebigambo bino ebiddirira ku bitundu ebyalimu obwavu obw’amaanyi ennyo mu nsi ye: “Mmanyi ensonga lwaki bangi ku ffe tetwagala kugenda mu bitundu ng’ebyo. Ensonga eri nti twagala okwerabira embeera eri mu bitundu ebyo. Kirumiriza omuntu waffe ow’omunda era tuwulira nga tuswala nnyo kubanga emmotoka ze tuvuga zigula buwanana.”
10 Kyo kituufu, abafuzi abamu bafaayo nnyo ku mbeera y’abo be bafuga. Naye n’abafuzi abasingayo obulungi tebamanyi bulungi ebikwata ku abo be bafuga. Mazima ddala tusobola okwebuuza: Waliwo omufuzi yenna afaayo ennyo ku bantu bonna b’afuga ne kiba nti asobola okuyamba mu bwangu abo abali mu bizibu? Yee, waali. Dawudi yawandiika: “Mukama awanirira abagwa bonna, era ayimiriza abakutama bonna.”—Zabbuli 145:14.
11. Bizibu ki ebituuka ku beesigwa eri Katonda, era buyambi ki bwe basobola okufuna?
11 Ebizibu bingi bituuka ku bantu abeesiga eri Katonda olw’obutali butuukirivu bwabwe era n’olw’okuba nti bali mu nsi eri mu buyinza bwa Setaani, ‘omubi.’ (1 Yokaana 5:19; Zabbuli 34:19) Abakristaayo bayigganyizibwa. Abamu balina endwadde ez’olukonvuba oba ennaku ey’amaanyi. Ebiseera ebimu, ensobi abantu abeesigwa eri Yakuwa ze bakola zibaleetera ‘okukutama’ olw’okuggwaamu amaanyi. Kyokka, ka kibe kizibu ki ekibatuukako, Yakuwa aba mwetegefu buli kiseera okubabudaabuda era n’okubanyweza mu by’omwoyo. Kabaka Yesu Kristo naye bw’atyo bw’afaayo ku bantu abeesigwa b’afuga.—Zabbuli 72:12-14.
Emmere Ematiza mu Kiseera Ekituufu
12, 13. Yakuwa akola atya ku bwetaavu bwa “buli ekirina obulamu”?
12 Olw’ekisa kye ekyesigamiziddwa ku kwagala, Yakuwa awa abaweereza be bonna bye beetaaga. Ekyo kizingiramu okubawa emmere ennungi era ematiza. Kabaka Dawudi yawandiika: “Amaaso g’ebintu byonna gakulindirira; naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo. Oyanjuluza engalo zo, n’okussa buli kintu ekiramu bye kyagala.” (Zabbuli 145:15, 16) Wadde ne mu biseera ebizibu, Yakuwa akakasa nti abantu abamwesiga bafuna ‘emmere.’—Lukka 11:3; 12:29, 30.
13 Dawudi yagamba nti “buli kintu ekiramu” kifuna bye kyetaaga. Ekyo kizingiramu n’ebisolo. Singa tebyali bimera ebingi ennyo ebiri ku lukalu ne mu nnyanja, ebiramu eby’omu nnyanja, ebinyonyi, n’ebisolo ebiri ku lukalu, tebyandibadde na mukka gwa kussa oba emmere ey’okulya. (Zabbuli 104:14) Kyokka, Yakuwa akakasa nti byonna bifuna kye byetaaga.
14, 15. Emmere ey’eby’omwoyo egabibwa etya leero?
14 Obutafaananako bisolo, abantu, bo, balina obwetaavu obw’eby’omwoyo. (Matayo 5:3) Yakuwa akola ku byetaago eby’eby’omwoyo eby’abantu abeesigwa gy’ali mu ngeri ey’ekitalo. Nga tannafa, Yesu yasuubiza nti “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” yandiwadde abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo ‘mu kiseera ekituufu.’ (Matayo 24:45) Abakyasigaddewo ku baafukibwako amafuta 144,000, be bakola ng’ekibiina ky’omuddu oyo leero. Okuyitira mu muddu oyo, Yakuwa atuwadde emmere ey’eby’omwoyo mu bungi.
15 Ng’ekyokulabirako, abasinga obungi ku bantu ba Yakuwa kati baganyulwa mu Baibuli empya ezivvuunuddwa mu nnimi zaabwe. Nga enzivuunula eya New World Translation of the Holy Scriptures ebadde ya muganyulo nnyo! Okugatta ku ekyo, obukadde n’obukadde bw’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli byeyongera okukubibwa mu nnimi ezisukka mu 300. Emmere eno ey’eby’omwoyo yonna ebadde ya muganyulo nnyo eri abasinza ab’amazima mu nsi yonna. Ani agwana okutenderezebwa olwa bino byonna? Yakuwa Katonda. Olw’ekisa kye ekyesigamiziddwa ku kwagala, asobozesezza ekibiina ky’omuddu omwesigwa okugaba ‘emmere mu kiseera ekituufu.’ Okuyitira mu nteekateeka ng’ezo, ‘buli kiramu kifuna bye kyetaaga’ mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo oluliwo kati. Era ng’abaweereza ba Yakuwa basanyuka nnyo olw’essuubi lye balina ery’okulaba ensi ng’efuuliddwa olusuku lwa Katonda!—Lukka 23:42, 43.
16, 17. (a) Byakulabirako ki ebiraga engeri emmere ey’eby’omwoyo gye yatuukira mu kiseera ekituufu? (b) Zabbuli 145 eraga etya enneewulira y’abantu abeesigwa eri Katonda ku nsonga enkulu eyaleetebwawo Setaani?
16 Lowooza ku kyokulabirako ekikulu ennyo ekikwata ku mmere ey’eby’omwoyo eyafunibwa mu kiseera ekituufu. Mu 1939, Ssematalo ow’okubiri yatandika mu Bulaaya. Mu mwaka ogwo gwennyini, Watchtower aka Noovemba 1 kaalimu ekitundu ekyalina omutwe, “Obutabaako Ludda lw’Owagira.” Olw’ebyo ebyalimu ebyannyonnyolwa obulungi, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna baalaba obwetaavu obw’okusigala nga tebalina ludda lwe bawagira mu nsi ezo ezaali zirwanagana. Ekyo kyabaviirako okukyayibwa gavumenti ezaali zirwanagana okumala emyaka mukaaga. Wadde nga baawerebwa era ne bayigganyizibwa, abantu abeesigwa eri Katonda beeyongera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Okuva mu 1939 okutuuka 1946, baafuna okweyongera okw’ekitalo okw’ebitundu 157 ku buli kikumi. Okugatta ku ekyo, obwesigwa bwe baayoleka mu kiseera ky’olutalo olwo, bukyeyongera okuyamba abantu okwawulawo eddiini ey’amazima.—Isaaya 2:2-4.
17 Emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’agaba tetuukira mu kiseera kituufu kyokka, naye era ematiza. Wadde ng’amawanga gaali geemalidde mu kulwanagana mu kiseera kya Ssematalo ow’okubiri, bo, abantu ba Yakuwa baayambibwa okussa ebirowoozo byabwe ku kintu ekikulu ennyo ekisinga n’okulokolebwa kwabwe. Yakuwa yabayamba okutegeera nti ensonga esinga obukulu, ezingiramu obutonde bwonna, yali ekwata ku bwannannyini Yakuwa bw’alina okufuga obutonde bwonna. Nga kizzaamu amaanyi okumanya nti okuyitira mu bwesigwa bwabwe, buli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yalina omugabo mu kugulumiza obufuzi bwa Yakuwa era n’okulaga nti Omulyolyomi mulimba! (Engero 27:11) Obutafaananako Setaani ayogera eby’obulimba ku Yakuwa n’engeri gy’afugamu, abantu abeesigwa eri Yakuwa beeyongera okulangirira mu lujjudde nti: “Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna.”—Zabbuli 145:17.
18. Kyakulabirako ki ekirala eky’emmere ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera ekituufu ate ng’ematiza?
18 Ekyokulabirako ekirala eky’emmere ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera ekituufu era ematiza, ke katabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, akaafulumizibwa mu bikumi n’ebikumi eby’enkuŋŋaana eza “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu” ezaaliwo mu 2002/03 okwetooloola ensi yonna. Akatabo kano akaafulumizibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” era ne kakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, kassa essira ku ngeri za Yakuwa ennungi ennyo nga mw’otwalidde n’ezo ezoogerwako mu Zabbuli 145. Akatabo kano akalungi ennyo kajja kuyamba nnyo abeesigwa eri Katonda okwongera okufuna enkolagana ennungi naye.
Ekiseera eky’Okweyongera Okunyweza Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
19. Kiseera ki ekikulu ekigenda kisembera, era kiki kye tunaakola nga kituuse?
19 Ekiseera ekikulu ennyo eky’okugonjooleramu ensonga ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa kigenda kisembera. Nga bwe kiri mu Ezeekyeri essuula 38, Setaani ali kumpi okumaliriza omulimu gwe nga “Googi ow’e Magoogi.” Kino kijja kutwaliramu okulumba abantu ba Yakuwa. Mu kiseera ekyo, Setaani ajja kukola olulumba ssinziggu ku bantu abeesigwa eri Katonda. N’okusinga bwe kyali kibadde, abantu abasinza Yakuwa bajja kwetaaga okumukaabirira okusobola okufuna obuyambi. Ekitiibwa kye bawa Katonda n’okwagala kwe bamulaga, binaaba bya bwereere? N’akatono, kubanga Zabbuli 145 eraga: “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, bonna abamukaabira n’amazima. Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; era anaawuliranga okukaaba kwabwe, anaabalokolanga. Mukama akuuma abo bonna abamwagala; naye ababi bonna alibazikiriza.”—Zabbuli 145:18-20.
20. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 145:18-20 binaatuukirizibwa bitya mu kiseera ekitali kya wala?
20 Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okumanya nti Yakuwa ali kumpi naffe era n’okufuna obukuumi bwe ng’azikiriza ababi! Ekiseera ekyo ekya kazigizigi ekinaatera okutuuka, Yakuwa ajja kuwuliriza abo bokka ‘abamukaabirira mu mazima.’ Tajja kuwuliriza bannanfuusi. Ekigambo kya Katonda kiraga bulungi nti ababi abagezezzaako okukaabirira erinnya lye mu kiseera ekivannyuma, tekibaganyudde n’akamu.—Engero 1:28, 29; Mikka 3:4; Lukka 13:24, 25.
21. Abeesigwa eri Yakuwa balaga batya nti basanyuka okukozesa erinnya lye?
21 N’okusinga bwe kyali kibadde, kino kye kiseera abo abatya Yakuwa ‘okumukaabirira mu mazima.’ Abeesigwa gy’ali basanyuka okukozesa erinnya lye mu kusaba kwabwe era ne mu ebyo bye baddamu mu nkuŋŋaana. Bakozesa erinnya lya Katonda nga banyumya n’abalala. Era n’obuvumu, balangirira erinnya lya Yakuwa mu lujjudde.—Abaruumi 10:10, 13-15.
22. Lwaki kikulu okweyongeranga okwewala endowooza n’okwegomba kw’ensi?
22 Okusobola okweyongera okuganyulwa mu nkolagana ennungi gye tulina ne Yakuwa Katonda, era kikulu okwewala ebintu eby’akabi eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo gamba ng’okwagala ebintu, eby’amasanyu ebitali birungi, omwoyo ogw’obutasonyiwa balala oba obutafaayo ku abo abali mu bwetaavu. (1 Yokaana 2:15-17; 3:15-17) Engeri ng’ezo n’ebiruubirirwa ng’ebyo bwe bitakyusibwamu, bisobola okuleetera omuntu okukola ekibi eky’amaanyi era ne kimuviirako obutasiimibwa Yakuwa. (1 Yokaana 2:1, 2; 3:6) Kya magezi okutegeera nti Yakuwa ajja kweyongera okutulaga ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala singa tweyongera okubeera abeesigwa gy’ali.—2 Samwiri 22:26.
23. Biki abeesigwa eri Katonda bye basuubira okufuna mu biseera eby’omu maaso?
23 N’olwekyo, ka tweyongere okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu Yakuwa by’ateekeddeteekedde abeesigwa gy’ali mu biseera eby’omu maaso. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuba n’essuubi ery’ekitalo ery’okubeera mu abo abajja okugulumiza, okuwa omukisa n’okutendereza Yakuwa “olunaku lwonna” era ‘n’emirembe n’emirembe.’ (Zabbuli 145:1, 2) Era, ka ‘tunywerere mu kwagala kwa Katonda okunaatutuusa mu bulamu obutaggwaawo.’ (Yuda 20, 21) Nga tweyongera okuganyulwa mu ngeri za Kitaffe ow’omu ggulu ennungi ennyo, nga mw’otwalidde n’ekisa ekyesigamiziddwa kwagala ky’alaga abo abamwagala, ka tubeere n’endowooza Dawudi gye yayoleka mu bigambo ebyasembayo mu Zabbuli 145: “Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama; era ne byonna ebirina emibiri byebazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n’emirembe.”
Wandizzeemu Otya?
• Zabbuli 145 etuyamba etya okumanya abeesigwa eri Katonda?
• Yakuwa ‘akkusa atya obwetaavu bwa buli ekiramu’?
• Lwaki twetaaga okweyongera okunyweza enkolagana ennungi ne Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Abeesigwa eri Katonda basanyukira okukubaganya ebirowoozo ku bikolwa bye eby’ekitalo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Abaweereza ba Yakuwa bayamba abantu abalala okuyiga ku bwakabaka bwe obw’ekitiibwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]
Yakuwa awa emmere “buli ekirina obulamu”
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Animals: Parque de la Naturaleza de Cabárceno
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Yakuwa awa amaanyi n’obulagirizi abantu abaagala okufuna obuyambi bwe okuyitira mu kusaba