Amagezi Agatuyamba Okusemberera Katonda
Katonda gyali era alina engeri ennungi. Ayagala tuyige ebimukwatako era tumusemberere. (Yokaana 17:3; Yakobo 4:8) Eyo ye nsonga lwaki atubuulira ebintu bingi ebimukwatako.
Katonda Alina Erinnya
“Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”—ZABBULI 83:18.
Bayibuli eyigiriza nti Yakuwa ye Katonda omu yekka ow’amazima. Ye yatonda ensi n’ebintu byonna, era ye yekka gwe tulina okusinza.—Okubikkulirwa 4:11.
Yakuwa Ye Katonda Alina Okwagala
“Katonda kwagala.”—1 YOKAANA 4:8.
Okuyitira mu Bayibuli n’ebitonde, Yakuwa atubuulira engeri ze. Engeri ya Yakuwa esinga obukulu kwe kwagala. Okwagala kwe kumuleetera okukola buli kimu ky’akola. Gye tukoma okumanya Yakuwa gye tukoma okumwagala.
Yakuwa Ye Katonda Asonyiwa
“Oli Katonda omwetegefu okusonyiwa.”—NEKKEMIYA 9:17.
Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde. N’olwekyo ‘mwetegefu okutusonyiwa.’ Bwe twenenya mu bwesimbu era ne tufuba obutaddamu kukola bintu bibi, atusonyiwa era taddamu kutuvunaana olw’ebibi bye twakola emabaga.—Zabbuli 103:12, 13.
Yakuwa Addamu Essaala Zaffe
“Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola . . . Awulira okuwanjaga kwabwe n’abanunula.”—ZABBULI 145:18, 19.
Yakuwa tayagala tumusinze nga tugoberera obulombolombo oba nga tukozesa ebifaananyi. Awuliriza essaala zaffe, ng’abazadde abalina okwagala bwe bawuliriza abaana baabwe.