Okusigala ng’Oli Musanyufu Wadde ng’Okaddiwa
OWULIRA otya bw’olowooza ku kukaddiwa? Ekyo bangi kibatiisa era kibeeraliikiriza. Ekyo kiri bwe kityo kubanga okukaddiwa kuleeta ebizibu gamba ng’enkanyanya, obunafu mu mubiri, okwerabira amangu, n’endwadde ezitawona mangu.
Kyokka, abantu bakaddiwa mu ngeri za njawulo. Abamu ne bwe bakaddiwa, basigala bakyali balamu bulungi. Enkulaakulana mu by’obujjanjabi esobozesa abamu okuziyiza n’okujjanjaba endwadde ezitawona mangu. Kino kiviiriddeko abantu mu nsi nnyingi okuwangaala emyaka egiwerako n’okusigala nga balamu bulungi.
Kyokka, ka babe nga bafunye ebizibu ebiva mu kukaddiwa oba nedda, abantu bangi baagala okusigala nga basanyufu wadde nga bakaddiye. Naye ekyo kisoboka kitya? Kisoboka singa omuntu aba n’endowooza ennuŋŋamu era nga mwetegefu okwaŋŋanga embeera enzibu ezibaawo ng’agenda akaddiwa. Ka tulabe amagezi agali mu Bayibuli agayinza okutuyamba mu nsonga eno.
MANYA OBUSOBOZI BWO: “Amagezi gaba n’abeetoowaza.” (Engero 11:2) Ebigambo “abeetoowaza” mu lunyiriri luno biyinza okukozesebwa ne ku bannamukadde abamanyi nti tebasobola kukola bintu nga bwe baabikolanga edda era abatagezaako kwewaliriza kukola kye batasobola. Charles ow’emyaka 93, abeera mu Brazil, yagamba nti: “Gy’okoma okuwangaala gy’okoma okukaddiwa. Oba tokyasobola kudda buto.”
Okumanya obusobozi bwo tekitegeeza kubeera na ndowooza etali nnuŋŋamu egamba nti, “Nkaddiye, sikyali wa mugaso.” Endowooza ng’eyo ereetera omuntu obutaba musanyufu. Engero 24:10, NW, wagamba nti: “Bw’oterebuka mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, amaanyi go gajja kuba matono.” Mu kifo ky’ekyo, omuntu alina endowooza ennuŋŋamu akola ekyo ky’asobola.
Corrado ow’emyaka 77, abeera mu Yitale, agamba nti: “Bw’ogenda okula, oba ng’omuntu alinnya akasozi, era oba olina okutambula empola.” Mu butuufu omuntu bw’akula, engeri gy’akolamu ebintu ekyuka. Corrado ne mukyala we baafuna engeri ennyangu ey’okukolamu emirimu gy’awaka, era ekyo kibasobozesa obutakoowa nnyo olunaku we luggweerako. Marian ow’emyaka 81, abeera mu Brazil, alina endowooza ennuŋŋamu bwe kituuka ku kukaddiwa. Agamba nti: “Njize okukola ebintu okusinziira ku busobozi bwange. Bwe mba nnina emirimu gye nkola, mpummulamu buli luvannyuma lw’akaseera. Ntuula wansi oba ngalamira ne mbaako bye nsoma oba ne mpuliriza obuyimba. Nkimanyi bulungi nti sikyasobola kukola bintu nga bwe nnabikolanga edda.”
TOGWA LUBEGE: “Abakazi beekoleko nga bambala ebyambalo ebisaana, ebiweesa ekitiibwa era nga beegendereza.” (1 Timoseewo 2:9) Ebigambo “ebyambalo ebisaana” biraga endowooza ennuŋŋamu era etagudde lubege. Barbara ow’emyaka 74, abeera mu Canada, agamba nti: “Nfuba okubeera omuyonjo n’okufaayo ku ndabika yange. Saagala kumala gambala olw’endowooza egamba nti, ‘nkaddiye; ne bwe sifaayo ku ndabika yange.’ ” Fern ow’emyaka 91, abeera mu Brazil, agamba nti: “Ngulayo engoye empya buli luvannyuma lw’ekiseera era ekyo kindeetera essanyu.” Ate bo abasajja abakaddiye? Antônio ow’emyaka 73, abeera mu Brazil agamba nti: “Nfuba nga bwe nsobola okulabika obulungi nga nnyambala engoye ennyonjo era ezirabika obulungi.” Bwe kituuka ku buyonjo bw’omubiri gwe agamba nti: “Nnaaba era nsala ebirevu buli lunaku.”
Ku luuyi olulala, kikulu nnyo okwewala okufaayo ku ndabika yo ey’oku ngulu yokka ne kikuleetera n’obutaba ‘mwegendereza.’ Bok-im ow’emyaka 69, abeera mu South Korea, alina endowooza etegudde lubege bwe kituuka ku ngoye z’ayambala. Agamba nti: “Nkimanyi nti kiyinza obutampeesa kitiibwa bwe nnyambala engoye ze nnayambalanga nga nkyali muvubuka.”
BEERA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU: “Ennaku zonna ez’abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo alina omutima ogujaguza alya embaga etevaawo.” (Engero 15:15) Bw’ogenda okaddiwa, oyinza okuwulira obubi bw’ojjukira ebiseera eby’obuvubuka bwo n’ebintu eby’enjawulo bye walinga osobola okukola. Buli muntu akaddiwa abeera n’enneewulira eyo. Kyokka, tokkiriza nneewulira ng’ezo kukumalamu maanyi. Okulowooza ennyo ku biseera ebyayita kiyinza okukuleetera okwennyamira, n’olemererwa n’okukola ekyo ky’okyasobola okukola. Joseph ow’emyaka 79, abeera mu Canada, alina endowooza ennuŋŋamu. Agamba nti: “Nkola ebyo bye nsobola okukola era nfuba obutalowooza ku bye nnakolanga naye nga kati sikyasobola kubikola.”
Bwe weemanyiiza okusoma n’okuyiga ebintu ebipya, weeyongera okufuna endowooza ennuŋŋamu. N’olwekyo, fissangawo akadde okubaako by’osoma n’okuyiga ebintu ebipya. Ernesto ow’emyaka 74, abeera mu Philippines, agenda mu tterekero ly’ebitabo n’anoonyaayo ebitabo ebinyuma okusoma. Agamba nti, “Nnyumirwa nnyo okusoma ku bintu ebipya era kinsanyusa buli lwe mbaako bye nsoma.” Lennart ow’emyaka 75, abeera mu Sweden, ye yatuuka n’okuyiga olulimi olulala.
BEERA MUGABI: “Mugabenga, nammwe abantu balibagabira.” (Lukka 6:38) Gifuule mpisa yo okwefiiriza ebiseera byo okubeerako n’abalala era n’okubawa ku ebyo by’olina. Ekyo kijja kukuyamba okubeera omumativu n’okufuna essanyu. Hosa ow’emyaka 85, abeera mu Brazil, afuba nnyo okuyamba abalala wadde nga munafu mu mubiri. Agamba nti: “Nkubira mikwano gyange abalwadde essimu oba ne mbawandiikira amabaluwa. Oluusi mbawa obulabo. Ate era njagala nnyo okufumbira abalwadde emmere gye basinga okwagala.”
Bwe tubeera abagabi n’abalala batugabira. Jan ow’emyaka 66, abeera mu Sweden, agamba nti: “Bw’olaga abalala okwagala, nabo bakwagala nnyo era bakufaako.” Omuntu bw’aba mugabi, aleetera abalala okumwagala olw’ebyo by’abakolera.
KOLA OMUKWANO N’ABALALA: “Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, era [yeesamba] amagezi gonna amatuufu.” (Engero 18:1) Wadde nga weetaaga okubeerako wekka ebiseera ebimu, weewale okweyawula ku banno. Innocent ow’emyaka 72, abeera mu Nigeria, anyumirwa nnyo okubeera n’abalala. Agamba nti: “Kinsanyusa nnyo okubeerako n’abantu ab’emyaka egy’enjawulo.” Börje ow’emyaka 85, abeera mu Sweden, agamba nti: “Nfuba nnyo okubeerako n’abavubuka. Bwe mbeera nabo mpulira ng’akyali omuvubuka.” Funangayo akaseera okukyaza mikwano gyo. Han-sik ow’emyaka 72, abeera mu South Korea, agamba nti: “Nze ne mukyala wange twagala nnyo okukyaza mikwano gyaffe ab’emyaka egy’enjawulo—abakaddiye n’abavubuka—tusobole okusanyukirako awamu oba okuliirako awamu ekijjulo.”
Abantu bwe babeera ab’omukwano babeera bawuliziganya. Okuwuliziganya obulungi n’abalala kizingiramu okwogera nabo n’okubawuliriza. Kirage nti ofaayo ku balala. Helena ow’emyaka 71, abeera mu Mozambique, agamba nti: “Nkola omukwano n’abalala era mbassaamu ekitiibwa. Mbawuliriza nga boogera nsobole okumanya kye balowooza ne kye baagala.” José ow’emyaka 73, abeera mu Brazil, agamba nti: “Abantu baagala nnyo okukolagana n’abo ababawuliriza obulungi, kwe kugamba, ababalumirirwa, ababasiima mu kiseera ekituufu, era abatera okusaagako.”
Bw’oba oyogera n’abalala, ebigambo byo bisaanidde ‘okunoga omunnyo.’ (Abakkolosaayi 4:6) Sooka olowooze ku ky’ogenda okwogera osobole okuzzaamu abalala amaanyi.
SIIMA EBYO ABALALA BYE BAKUKOLERA: “Mulage nti musiima.” (Abakkolosaayi 3:15) Abalala bwe bakuyamba, basiime olw’engeri gye bakufaako. Okusiima abalala kinyweza enkolagana gy’olina nabo. Marie-Paule ow’emyaka 74, abeera mu Canada, agamba nti: “Gye buvuddeko, nze n’omwami wange twasenguka ne tudda mu nnyumba endala. Mikwano gyaffe bangi baatuyambako nga tusenguka. Mu butuufu tetwalina ngeri gye tuyinza kubeebazaamu mu bujjuvu. Twasalawo okubawandiikira bukaadi obubeebaza era twakyazaako abamu ku bo ne tuliirako wamu ekijjulo.” Jae-won ow’emyaka 76, abeera mu South Korea, asiima nnyo ab’oluganda abamutwalako ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Agamba nti: “Nsiima nnyo obuyambi obwo bwe bampa era nfuba obuteerabira kubawaayo ku ssente basobole okugula amafuta. Oluusi mbakolerayo obulabo obutonotono nga bulimu obubaka obubeebaza.”
Okusinga byonna, weebaze Katonda olw’obulamu bw’akuwadde. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi.” (Omubuulizi 9:4) Okuba n’endowooza ennuŋŋamu era n’okuba omwetegefu okwaŋŋanga embeera ebaawo mu myaka egy’obukadde, kijja kukuyamba okusigala ng’oli musanyufu wadde ng’okaddiwa.