ESSOMO 33
N’Obwegendereza Kyokka ng’Oli Munywevu
OBWEGENDEREZA buzingiramu okukolagana obulungi n’abalala nga weewala okubanyiiza. Era buzingiramu okumanya engeri y’okwogeramu era n’ekiseera eky’okwogereramu. Obwegendereza tebutegeeza kwekkiriranya oba obutayogera mazima. Ate era okuba omwegendereza tekitegeeza kutya bantu.—Nge. 29:25.
Ebibala eby’omwoyo bitusobozesa okubeera abeegendereza. Omuntu bw’aba n’okwagala aba tayagala kunyiiza balala; mu kifo ky’ekyo aba ayagala okubayamba. Omuntu ow’ekisa era omuwombeefu yeegendereza engeri gy’akolamu ebintu. Omuntu ayagala emirembe anoonya engeri y’okukolaganamu obulungi n’abalala. Abalala ne bwe bamukambwalira, omuntu omugumiikiriza asigala nga mukkakkamu.—Bag. 5:22, 23.
Kyokka, ka kibeere nti obubaka bwa Baibuli bubatuusiddwako mu ngeri ki, abantu abamu tebajja kubusiima. Olw’okuba Abayudaaya abasinga obungi ab’omu kyasa ekyasooka baalina emitima emibi, baatwala Yesu Kristo okuba “ejjinja eryesittalwako era olwazi olusuula.” (1 Peet. 2:7, 8) Ng’ayogera ku mulimu gwe ogw’okulangirira Obwakabaka, Yesu yagamba: ‘Nnajja kukoleeza muliro ku nsi.’ (Luk. 12:49) Obubaka obwo obukwata ku Bwakabaka bwa Yakuwa, obwetaagisa abantu okumanya obufuzi bw’Omutonzi waabwe, bweyongera okulangirirwa n’obunyiikivu eri olulyo lw’omuntu. Abantu bangi banyiiga bwe bategeezebwa nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo enteekateeka y’ebintu eno embi. Wadde kiri bwe kityo, ffe tweyongera kubabuulira nga tugondera Katonda. Kyokka, nga tubabuulira tujjukira okubuulirira kwa Baibuli okugamba nti: “Oba nga kiyinzika ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n’abantu bonna.”—Bar. 12:18.
Okuba Abeegendereza nga Tuwa Obujulirwa. Waliwo embeera nnyingi mwe tuyinza okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yaffe. Tubuulira abantu nga tugenze mu buweereza bw’ennimiro, ate era tukozesa akakisa konna ke tuba tufunye okubuulira ab’eŋŋanda zaffe, bakozi bannaffe, ne bayizi bannaffe. Mu mbeera ezo zonna, twetaaga okuba abeegendereza.
Singa tubuulira abantu obubaka bw’Obwakabaka mu ngeri eraga nti tubanenya, bayinza obutabusiima. Bwe baba tebatusabye kubayamba era nga bo bawulira nti tebeetaaga buyambi bwonna, bayinza okunyiiga singa bafuna ekifaananyi nti twagala kutereeza ndowooza yaabwe. Tuyinza tutya okwewala okubawa ekifaananyi ekikyamu? Ekiyinza okutuyamba kwe kuyiga okunyumya n’abantu mu ngeri ey’omukwano.
Gezaako okutandika okunyumya n’omuntu ng’oyogera ku nsonga eneemunyumira. Omuntu oyo bw’oba ng’omulinako oluganda, bw’aba mukozi munno, oba nga muyizi munno, oyinza okuba ng’omanyi ebintu ebimunyumira. Ne bwe kiba nti omuntu oyo tomusisinkanangako, oyinza okwogera ku kintu kye wawuliddeko oba kye wasomyeko mu mawulire. Ebintu ng’ebyo abantu batera okwagala okubikubaganyaako ebirowoozo. Bw’oba ng’obuulira nnyumba ku nnyumba, weetegereze bulungi. Ebitimbiddwa mu nnyumba, abaana bye bazannyisa ebiri mu luggya, ebifaananyi by’eddiini, obupapula obutimbiddwa ku mmotoka eri mu luggya biyinza okukuyamba okumanya ebikwata ku muntu oyo gw’okyalidde. Nnyinimu bw’ajja ku mulyango, wuliriza bulungi ng’ayogera. By’ayogera bijja kukuyamba okutegeera obanga ky’obadde omulowoozaako ky’ali era obanga kiyinza okukwetaagisa okukyusa mu ndowooza yo osobole okumuwa obujulirwa.
Ng’otandise okunyumya n’omuntu, baako ekirowoozo ky’oleeta okuva mu Baibuli oba mu bitabo ebigyesigamiziddwako ekikwatagana n’ensonga gye mwogerako. Naye teweefuga mboozi. (Mub. 3:7) Kubiriza nnyinimu okwogera ky’alowooza bw’aba nga mwetegefu okukikola. Laga nti osiima endowooza ye. By’ayogera biyinza okukusobozesa okumanya w’olina okwolekera obwegendereza ng’oyogera naye.
Nga tonnabaako ky’oyogera, lowooza ku ngeri omuntu gy’anaakitwalamu. Engero 12:8 lwogera ku ‘muntu ow’amagezi.’ Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyakozesebwa wano, kirina amakulu g’okutegeera n’okwegendereza. N’olwekyo, okwoleka amagezi kizingiramu obutamala gakubawo kigambo olw’okuba osooka kukirowoozaako era ekyo kikusobozesa okweyisa mu ngeri ey’amagezi. Olunyiriri 18 mu ssuula y’emu ey’ekitabo kya Engero, lulaga nti si kirungi omuntu ‘okwogera ng’ayanguyiriza ng’ekitala ekifumita.’ Kisoboka okunywerera ku mazima ga Baibuli kyokka n’otanyiiza balala.
Bw’oyogera mu ngeri ey’amagezi kiyinza okukuyamba okwewala okwesittaza abalala. Bwe kiba nti okukozesa ekigambo “Baibuli” kisobola okwesittaza omuntu, oyinza okukozesa ebigambo nga “ebyawandiikibwa ebitukuvu” oba “ekitabo kati ekikubiddwa mu nnimi ezisukka mu 2,000.” Bw’oba ojuliza mu Baibuli, oyinza okusooka okubuuza omuntu ky’agirowoozaako olwo ne weeyongera okukubaganya naye ebirowoozo ng’osinziira ku ebyo by’ayogedde.
Okuba omwegendereza kizingiramu okumanya ekiseera ekituufu eky’okwogereramu. (Nge. 25:11) Oyinza obutakkiriziganya na buli kimu omuntu omulala ky’ayogera, naye tekikwetaagisa kuwakanya buli ky’aba ayogedde ekiteesigamiziddwa ku byawandiikibwa. Togezaako kumubuulira buli kimu ku mulundi gumu. Yesu yagamba abayigirizwa be: ‘Nkyalina bingi eby’okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano.’—Yok. 16:12.
Gezaako okulabayo ekintu ky’oyinza okusiima mu abo b’oyogera nabo. Nnyinimu ne bw’aba nga muwakanyi, osobola okumwebaza olw’endowooza gy’alina. Bw’atyo omutume Pawulo bwe yakola ng’ayogera n’abafirosoofo ku Aleyopaago mu Asene. Abafirosoofo ‘baamuwakanya.’ Yandisobodde atya okubategeeza ensonga ye nga tabanyiizizza? Okusooka yeetegereza ebyoto ebingi bye baali bakoledde bakatonda baabwe. Mu kifo ky’okuvumirira Abaasene olw’okusinza ebifaananyi, mu ngeri ey’amagezi yabasiima olw’okuba abanyiikivu mu ddiini. Yagamba: “Mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale.” Ekyo kyamusobozesa okubabuulira obubaka obukwata ku Katonda ow’amazima. N’ekyavaamu, abamu baafuuka abakkiriza.—Bik. 17:18, 22, 34.
Tonyiiga singa wabaawo bye batakkiriziganya naawe. Beera mukkakkamu. Gutwale ng’omukisa gw’ofunye ogukusobozesa okumanya endowooza y’omuntu. Oyinza okumwebaza olw’okwoleka endowooza ze. Watya singa akugamba: “Nnina eddiini yange”? Mu ngeri ey’amagezi oyinza okumubuuza: “Okuva edda n’edda obadde munnaddiini?” Oluvannyuma, lw’okubaako ky’addamu, era mubuuze: “Olowooza ekiseera kirituuka abantu bonna ne babeera mu ddiini emu?” Kino kiyinza okukusobozesa okweyongera okunyumya naye.
Obuteetwala nti tuli ba waggulu nnyo, kisobola okutuyamba okubeera abeegendereza. Tukimanyi bulungi nti amakubo ga Yakuwa gonna ga butuukirivu era nti n’Ekigambo kye kya mazima. Ebintu ebyo tubyogerako nga twekakasa. Naye ekyo tekituleetera kwetwala nti tuli ba waggulu nnyo. (Mub. 7:15, 16) Tuli basanyufu olw’okuba tumanyi amazima era tufuna emikisa gya Yakuwa, naye era tukimanyi bulungi nti okusiimibwa Katonda kyesigamye ku kisa ekitatugwanira ky’atulaze n’okukkiriza kwe tulina mu Kristo, so si lwa kuba nti tuli batuukirivu. (Bef. 2:8, 9) Tukimanyi nti kitwetaagisa ‘okwekeberanga okulaba obanga tuli mu kukkiriza, era n’okukakasa ekyo kye tuli.’ (2 Kol. 13:5) N’olwekyo, bwe tuba tukubiriza abantu ku bwetaavu bw’okutuukiriza ebyo Katonda by’ayagala, naffe tufuba okussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli okwo mu bulamu bwaffe. Si buvunaanyizibwa bwaffe okusalira abalala omusango. Obuvunaanyizibwa ‘obw’okusala omusango’ Yakuwa yabuwa Mwana we era y’ajja okutusalira ffenna omusango okusinziira ku bye tukola.—Yok. 5:22; 2 Kol. 5:10.
Nga Tuli n’Ab’Omu Maka Gaffe oba ne Bakristaayo Bannaffe. Okuba abeegendereza tekirina kukoma mu buweereza bw’ennimiro bwokka. Okuva obwegendereza bwe kiri ekimu ku bibala by’omwoyo gwa Katonda, era tulina okuba abeegendereza nga tukolagana n’ab’omu maka gaffe. Okwagala kujja kutukubiriza okufaayo ku nneewulira z’abalala. Omwami wa Kkwini Eseza, yali tasinza Yakuwa, naye Eseza yamussaamu ekitiibwa era n’akozesa amagezi ng’amwanjulira ensonga ezaali zikwata ku baweereza ba Yakuwa. (Eseza, essuula 3-8) Emirundi egimu, okuba abeegendereza nga tukolagana n’ab’omu maka gaffe abatali bakkiriza kiyinza okutwetaagisa okuleka enneeyisa yaffe etwogerere mu kifo ky’okubannyonnyola ffe ffennyini enzikiriza zaffe.—1 Peet. 3:1, 2.
Mu ngeri y’emu, olw’okuba tumanyi bulungi ab’oluganda mu kibiina, tekitegeeza nti tetulina kubeera beegendereza oba okubalaga ekisa nga twogera nabo. Tetulina kulowooza nti olw’okuba bakulu mu by’omwoyo, tebajja kufaayo. Ate era tetulina kwekwasa nga tugamba nti: “Nze bwe ntyo bwe nnakula.” Singa tumanya nti engeri gye twogeramu enyiiza abalala, twandifubye okukyusaamu. ‘Okwagala okw’amaanyi kwe tulina eri bannaffe’ kulina okutukubiriza ‘okukola obulungi abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.’—1 Peet. 4:8, 15; Bag. 6:10.
Ng’Oyogera eri Ekibiina. Abo aboogerera ku pulatifomu nabo beetaaga okuba abeegendereza. Mu abo ababa bawuliriza mubaamu abantu abaava mu mbeera ezitali zimu. Tebali ku ddaala lye limu mu by’omwoyo. Abamu bayinza okuba nga gwe mulundi gwabwe ogusoose okujja mu nkuŋŋaana. Abalala bayinza okuba nga boolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi omwogezi by’atamanyi. Kiki ekiyinza okuyamba omwogezi okwewala okwogera ebinyiiza abamuwuliriza?
Ng’ogoberera okubuulirira kwa Pawulo eri Tito, kifuule kiruubirirwa kyo ‘obutayogera bubi ku muntu yenna, okwewombeekanga, ng’olaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna.’ (Tito 3:2) Weewale okukoppa ensi ng’okozesa ebigambo ebifeebya abantu ab’eggwanga eddala oba aboogera olulimi olulala. (Kub. 7:9, 10) Balage Yakuwa ky’ayagala era lwaki kya magezi okubissa mu nkola; naye weewale okukozesa ebigambo ebivumirira abo abatannaba kutambulira mu kkubo lya Yakuwa mu bujjuvu. Mu kifo ky’ekyo, bonna bakubirize okulowooza ku Katonda by’ayagala era n’okukola ebimusanyusa. Babuulirire mu ngeri ey’ekisa era beebaze ebirungi bye bakola. Engeri gy’oyogeramu era n’eddoboozi ly’okozesa, ka byoleke okwagala kw’olina eri ab’oluganda ffenna ffenna kwe tusaanidde okwoleka.—1 Bas. 4:1-12; 1 Peet. 3:8.