Okubuulirira kwa Maama Okw’Amagezi
“Mwana wange, wulira okuyigirizibwa kwa kitaawo, so tova mu tteeka lya nnyoko.”—Engero 1:8.
ABAZADDE baffe—taata ne maama—batuzzaamu nnyo amaanyi, batuwagira, era batubuulirira. Ekitabo kya Baibuli eky’Engero kyogera ku kabaka omuto ayitibwa Lemweri, eyafuna “obubaka obukulu” “obutereeza” okuva eri maama we. Ebigambo bino biri mu Engero essuula 31, era naffe tusobola okuganyulwa mu kubuulirira kwa maama ono okw’amagezi.—Engero 31:1.
Okubuulirira Okusaanira Kabaka
Maama wa Lemweri atandika n’ebibuuzo ebiwerako ebitusikiriza: “Kiki, mwana wange? [E]ra kiki, ai mwana w’olubuto lwange? Era kiki, ai mwana w’obweyamo bwange?” Maama ono okwegayirira emirundi esatu kiraga nti ayagala nnyo omwana we asseeyo omwoyo ku bigambo bye. (Engero 31:2) Maama ono okufaayo ennyo ku mbeera y’omwana we ey’eby’omwoyo kyakulabirako kirungi eri abazadde Abakristaayo leero.
Ku bikwata ku mbeera ya mutabani we, kiki ekiyinza okweraliikiriza maama okusinga ebinyumu n’eby’obugwenyufu ebikwata ku mwenge, abakazi n’enyimba ebyogerwako mu ngero? Maama wa Lemweri atuukirawo ku nsonga: “Towanga bakazi maanyi go.” Ayogera ku mpisa ez’obugwenyufu nga “ekyo ekizikiriza bakabaka.”—Engero 31:3.
Okunywa omwenge ekisukkiridde nakyo tekirina kubuusibwa maaso. “Si kwa bakabaka, ai Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge,” bw’atyo bw’alabula. Kabaka ayinza atya okusalawo mu ngeri ennungi era ‘n’obuteerabira mateeka n’anyoola omusango gw’omuntu yenna abonyaabonyezebwa’ singa buli kiseera aba atamidde?—Engero 31:4-7.
Okwawukana ku ekyo, bwe yeewala empisa ezo embi, kabaka ajja “kusala emisango gy’obutuukirivu era afeeyo ku nsonga y’omunaku n’omwavu.”—Engero 31:8, 9.
Wadde abavubuka Abakristaayo si “bakabaka” leero, okubuulirira kwa maama wa Lemweri okw’amagezi kutuukirawo bulungi. Okwekamirira omwenge, okunywa sigala, n’empisa ez’obugwenyufu, bicaase nnyo mu bavubuka leero, era kikulu nnyo nti Abakristaayo abavubuka bassaayo omwoyo nga bazadde baabwe babawa “obubaka obukulu.”
Omukyala Omulungi
Bamaama bafaayo nnyo ku bikwata ku bufumbo bw’abaana baabwe abalenzi abakuze. Maama wa Lemweri addako n’ayogera ku ngeri z’omukyala omulungi. Awatali kubuusabuusa, omuvubuka yandiganyuddwa nnyo singa assaayo omwoyo ku ndowooza y’omukazi ono ku nsonga eno enkulu.
Mu lunyiriri 10, “omukazi omulungi” ageraageranyizibwa, ku mayinja amatwakaavu ag’omuwendo, mu kiseera kya Baibuli agaafunibwanga okuyitira mu kufuba okw’amaanyi. Mu ngeri y’emu, okufuna omukyala omulungi kyetaagisa okufuba. Mu kifo ky’okupapa okuyingira obufumbo, omuvubuka yandiwaddeyo ebiseera ebimala okulonda gw’anaatwala. Olwo nno, ajja kusiima nnyo eky’omuwendo ky’anaaba afunye.
Ku bikwata ku mukyala omulungi, Lemweri agambibwa: “Omutima gwa bba gumwesiga.” (Olunyiriri 11) Mu ngeri endala, bbaawe tajja kukalambira nti mukyala we alina okumwebuuzaako ku buli nsonga yonna. Kya lwatu, abafumbo balina okuteesa bombi nga tebannasalawo bintu bikulu, gamba ng’okugula ebintu eby’ebbeeyi, oba okukuza abaana baabwe. Okuteesa ku nsonga zino kinyweza omukwano gwabwe.
Kya lwatu omukyala omulungi alina eby’okukola bingi. Mu lunyiriri 13 okutuuka ku 27 mulimu okubuulirira n’emisingi abakyala ab’emyaka gyonna bye bayinza okukozesa okuganyula amaka gaabwe. Ng’ekyokulabirako, ng’ebbeeyi y’engoye n’eby’omu nnyumba egenda yeeyongera, omukazi omulungi ayiga okukola ennyo n’okukkekereza ab’omu maka ge ne basobola okwambala obulungi. (Olunyiriri 13, 19, 21, 22) Okusobola okukendeeza ku ssente ezisaasaanyizibwa ku mmere, alima emmere era n’agula ebintu n’obwegendereza.—Ennyiriri 14, 16.
Kya lwatu, omukazi ono talya “mmere ya kugayaala.” Akola nnyo, era n’ategeka bulungi emirimu gye egy’awaka. (Olunyiriri 27) “Yeesiba n’amaanyi,” ekitegeeza nti yeeteekateeka okwenyigira mu mirimu egy’amaanyi.(Olunyiriri 17) Agolokoka nga bukyali kiro, okukola emirimu gye, era akola nnyo okutuusa ekiro. Kiyinza okugambibwa nti ettabaaza emulisa emirimu gye buli kiseera eba eyaka.—Ennyiriri 15, 18.
Okusinga byonna, omukyala omulungi muntu ayagala ennyo eby’omwoyo. Atya Katonda era amusinza ng’amussaamu nnyo ekitiibwa. (Olunyiriri 30, NW) Era, ayambako omwami we okutendeka abaana okukola kye kimu. Olunyiriri 26 lugamba: ‘N’amagezi,’ ayigiriza abaana be, era “etteeka ery’ekisa liba ku lulimi lwe.”
Omwami Omulungi
Okusobola okusikiriza omukazi omulungi, Lemweri yandyetaaze okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’omwami omulungi. Maama wa Lemweri amujjukiza bingi ku buvunaanyizibwa obwo.
Omwami omulungi yandiweereddwako lipoota ennungi okuva “mu bakadde b’ensi.” (Engero 31:23) Ekyo kitegeeza nti yandibadde, mukozi mulungi, mwesigwa, era atya Katonda. (Okuva 18:21; Ekyamateeka 16:18-20) N’olwekyo, yandibadde ‘amanyiddwa ku miryango,’ abantu abatutumufu gye baakuŋŋaaniranga okukola ku nsonga z’ekibuga. Okusobola ‘okumanyibwa’ ng’omuntu atya Katonda, yandibadde si mukakanyavu era ng’akolera wamu n’abakadde “b’ensi,” oboolyawo nga kitegeeza essaza oba ekitundu.
Awatali kubuusabuusa ng’ayogera okusinziira ku ebyo bye yayitamu, maama wa Lemweri ajjukiza mutabani we ku bukulu bw’okusiima oyo eyandifuuse mukyala we. Tewali n’omu ku nsi eyandibadde ow’omuwendo gy’ali okusinga ye. N’olwekyo lowooza ku mukwano ogweyoleka mu ddoboozi lye bw’ayogera mu maaso ga bonna: “Abawala bangi abaakola [ebirungi], naye ggwe obasinga bonna.”—Engero 31:29.
Kya lwatu, Lemweri yasiima okubuulirira kwa maama we okw’amagezi. Ng’ekyokulabirako, mu lunyiriri olusooka tulaba nti ebigambo bya maama we abyogerako ng’ebibye. Bwe kityo, ‘okutereeza’ kwa maama we yakukkiriza era n’aganyulwa mu magezi ge. Naffe ka tuganyulwe okuva mu ‘bubaka buno obukulu’ nga tugoberera emisingi gyabwo mu bulamu bwaffe.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Omukyala omulungi talya “mmere ya kugayaala”