Abavubuka, Mweteekerateekera Ebiseera eby’Omu Maaso?
‘Mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, ebirowoozo eby’emirembe so si bya bubi, okubawa essuubi mu biseera eby’omu maaso.’—YEREMIYA 29:11.
1, 2. Ekiseera ky’obuvubuka kiyinza kutunuulirwa mu ngeri ki ez’enjawulo?
ABANTU abakulu abasinga obungi bagamba nti ekiseera ky’obuvubuka kiba kirungi nnyo. Bajjukira amaanyi n’ebbugumu bye baalina nga bakyali bavubuka. Balowooza ku kiseera ekyo bwe baalina obuvunaanyizibwa obutono, nga balina bingi ebibasanyusa era nga balina bingi bye basuubira mu bulamu.
2 Kyandiba nti abamu ku mmwe abakyali abavubuka mulina endowooza ya njawulo ku kiseera eky’obuvubuka. Muyinza okuba nga muzibuwalirwa okwaŋŋanga enneewulira zammwe n’enkyukakyuka mu mibiri gyammwe. Ku ssomero, muyinza okuba mupikirizibwa. Kiyinza okubeetaagisa okufuba ennyo okwewala okunywa enjaga, empisa ez’obugwenyufu n’okwekamirira omwenge. Bangi ku mmwe mwolekaganye n’ensonga y’obutabaako ludda lwe muwagira mu by’obufuzi oba ensonga endala ezikwata ku kukkiriza kwammwe. Yee, ekiseera eky’obuvubuka kiyinza okuba ekizibu ennyo. Wadde kiri kityo, ekiseera ky’obuvubuka kikuwa emikisa mingi okukola ebintu ebitali bimu. Ekibuuzo kiri nti, onookozesa otya emikisa egyo?
Sanyuka mu Kiseera ky’Obuvubuka Bwo
3. Kubuulirira ki era kulabula ki Sulemaani kwe yawa abavubuka?
3 Abantu abakulu bajja kukutegeeza nti ekiseera ky’obuvubuka kiba kimpi nnyo, era baba batuufu. Mu myaka mitono nnyo, ojja kuba tokyali muvubuka. N’olwekyo, sanyuka ng’okyali muvubuka. Ekyo Kabaka Sulemaani kye yayogerako bwe yagamba: “Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag’omutima gwo ne mu kulaba kw’amaaso go.” Kyokka era Sulemaani yalabula abavubuka: “Ggyangawo obuyinike ku mutima gwo, oggyengawo obubi ku mubiri gwo.” Era yayongera n’agamba: “Obuto n’obuvubuka butaliimu.”—Omubuulizi 11:9, 10.
4, 5. Lwaki kya magezi abavubuka okweteekerateekera ebiseera eby’omu maaso? Waayo ekyokulabirako.
4 Ofuna amakulu g’ebyo Sulemaani bye yayogera? Okusobola okufuna amakulu gaabyo, lowooza ku muvubuka afuna ekirabo eky’omuwendo, oboolyawo sente nnyingi nnyo. Anaazikozesa atya? Okufaananako omwana omujaajaamya mu lugero lwa Yesu, ayinza okuzoonoonera mu by’amasanyu. (Lukka 15:11-23) Naye kiki ekinaabaawo nga ziweddewo? Awatali kubuusabuusa ajja kwejjusa olw’okuba teyazikozesa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa! Ku luuyi olulala, ka tugambe nti azikozesa okweteekerateekera ebiseera bye eby’omu maaso, oboolyawo ng’azikolamu ekintu eky’amagezi. Oluvannyuma lw’ekiseera, bw’anaatandika okuganyulwa mu ekyo kye yazikolamu, olowooza anejjusa olw’okuba teyazikozesa okwesanyusa mu buvubuka bwe? Nedda!
5 Lowooza ku kiseera eky’obuvubuka bwo ng’ekirabo okuva eri Katonda, era nga ddala kirabo. Ekiseera ekyo onookikozesa otya? Oyinza okwonoonera amaanyi go n’ebiseera byo mu by’amasanyu, nga tolowooza na ku biseera bya mu maaso. Singa okola bw’otyo, ‘ekiseera eky’obuto n’obuvubuka bwo’ ddala kijja kuba ‘butaliimu.’ Nga kyandibadde kirungi nnyo okukozesa obulungi ekiseera eky’obuvubuka bwo okweteekerateekera ebiseera eby’omu maaso!
6. (a) Kubuulirira ki okwa Sulemaani okuwa abavubuka obulagirizi? (b) Kiki Yakuwa ky’ayagala okukolera abavubuka, era omuvubuka ayinza atya okukiganyulwamu?
6 Sulemaani yawa omusingi oguyinza okukuyamba okukozesa obulungi ekiseera eky’obuvubuka bwo. Yagamba: “Ojjuukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo.” (Omubuulizi 12:1) Okubuulirira okwo kwe kujja okukuyamba okutuuka ku buwanguzi, kwe kugamba, wuliriza Yakuwa era okole by’ayagala. Yakuwa yategeeza Abaisiraeri eb’edda kye yali ayagala okubakolera. Yagamba: ‘Mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, ebirowoozo eby’emirembe so si bya bubi, okubawa essuubi mu biseera eby’omu maaso.’ (Yeremiya 29:11) Era Yakuwa ayagala okukuwa ‘essuubi ery’omu biseera eby’omu maaso.’ Singa omujjukira mu bikolwa byo, mu birowoozo byo, ne mu by’osalawo, ojja kufuna by’akuteekeddeteekedde mu biseera eby’omu maaso.—Okubikkulirwa 7:16, 17; 21:3, 4.
‘Semberera Katonda’
7, 8. Omuvubuka ayinza atya okusemberera Katonda?
7 Yakobo yatukubiriza okujjukira Yakuwa ng’agamba: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga.” (Yakobo 4:8) Yakuwa ye Mutonzi, Omufuzi w’Obutonde Bwonna, agwanidde okusinzibwa n’okutenderezebwa. (Okubikkulirwa 4:11) Singa tumusemberera, naye ajja kutusemberera. Ekyo tekisanyusa mutima gwo?—Matayo 22:37.
8 Tusobola okusemberera Yakuwa mu ngeri eziwerako. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo agamba: “Munyiikirirenga mu kusaba, nga mutunulanga mu kusaba mu kwebaza.” (Abakkolosaayi 4:2) Mu ngeri endala, gifuule empisa yo okusabanga. Toba mumativu na kuddamu nti amiina oluvannyuma lwa taata wo oba Mukristaayo munno mu kibiina okusaba. Wali weeyabirizza Yakuwa, n’omutegeeza byonna ebikuli ku mutima, ebikweraliikiriza, n’ebizibu by’oyolekaganye nabyo? Wali omutegeezezzaako ebintu ebyandikukwasizza ensonyi okubuulira omuntu omulala yenna? Okusaba mu bwesimbu okuviira ddala ku mutima, kukuwa emirembe mu mutima. (Abafiripi 4:6, 7) Okusaba ng’okwo kutusobozesa okusemberera Yakuwa.
9. Omuvubuka ayinza otya okuwuliriza Yakuwa?
9 Engeri endala ey’okusembereramu Yakuwa esangibwa mu bigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Wuliranga okuteesa, okkirizenga okuyigirizibwa, [olyoke] obeere n’amagezi [mu biseera eby’omu maaso].” (Engero 19:20) Yee, singa owuliriza Yakuwa n’omugondera, oba weeteekerateekera ebiseera eby’omu maaso. Oyinza otya okulaga nti owuliriza Yakuwa? Awatali kubuusabuusa ng’obaawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo obutayosa era ng’owuliriza ebiba mu programu. Ate era, ‘ossa ekitiibwa mu kitaawo ne nyoko’ ng’obaawo mu kusoma kwa Baibuli okw’amaka. (Abaefeso 6:1, 2; Abaebbulaniya 10:24, 25) Okukola ebintu ebyo kiba kirungi nnyo. Okugatta ku ebyo, ‘ogula ebiseera’ okweteekerateekera enkuŋŋaana, okusoma Baibuli obutayosa, n’okukola okunoonyereza? Ogezaako okussa mu nkola by’osoma, osobole okweyisa ‘ng’omuntu ow’amagezi’? (Abaefeso 5:15-17; Zabbuli 1:1-3) Singa okola bw’otyo, ojja kuba ng’osemberera Yakuwa.
10, 11. Abavubuka baganyulwa batya bwe bawuliriza Yakuwa?
10 Mu nnyiriri ezisooka mu kitabo ky’Engero, omuwandiisi eyaluŋŋamizibwa annyonnyola ekigendererwa ky’ekitabo ekyo. Ekigendererwa kiri, “okumanyanga [okufunanga] amagezi n’okuyigirizibwanga; okwawulanga ebigambo eby’okutegeera; okukkiriza okuyigirizibwanga okukolanga eby’amagezi, obutuukirivu n’okusalanga emisango n’okugobereranga ensonga; okuwanga abatalina magezi obukabakaba, omulenzi abeeranga n’okumanya n’okuteesa.” (Engero 1:1-4) N’olwekyo, ng’osoma era ng’ossa mu nkola ebigambo by’omu Engero—n’ebirala byonna ebiri mu Baibuli—ojja kwoleka obutuukirivu n’obugolokofu, era ojja kufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Zabbuli 15:1-5) Gy’okoma okufuna okutegeera, amagezi n’okumanya, gy’okoma n’okusalawo obulungi.
11 Kyanditwewuunyisizza omuvubuka okweyisa mu ngeri ng’eno ey’amagezi? Nedda, kubanga abavubuka bangi Abakristaayo beeyisa mu ngeri ey’amagezi. N’ekivaamu, abalala babassaamu ekitiibwa era ‘tebanyooma buvubuka bwabwe.’ (1 Timoseewo 4:12) Bazadde baabwe babeenyumirizaamu, era Yakuwa agamba nti basanyusa omutima gwe. (Engero 27:11) Wadde nga bakyali bato, ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa bibakwatako: “Weekalirizenga oyo atuukiridde, [era] olabenga ow’amazima: kubanga [ebiseera eby’omu maaso eby’omuntu] oyo mirembe.”—Zabbuli 37:37.
Salawo mu Ngeri ey’Amagezi
12. Ekimu ku bintu ebikulu abavubuka bye balina okusalawo kye kiruwa, era lwaki ebivaamu bikwata ku bulamu bw’omuntu ekiseera kyonna?
12 Obuvubuka kiba kiseera kya kusalawo ku bintu bingi, era ng’ebiva mu bimu ku bisalibwawo biba bya lubeerera. Ebimu ku ebyo by’osalawo kati, bijja kukwata ku bulamu bwo okumala emyaka mingi. Okusalawo mu ngeri ey’amagezi kikusobozesa okufuna essanyu n’okutuuka ku buwanguzi mu bulamu. Okusalawo mu ngeri etali ya magezi kiyinza okwonoona obulamu bwo bwonna. Weetegereza ebintu bibiri by’oyinza okusalawo ebiraga obutuufu bw’ensonga ezo waggulu. Ekisooka: Baani b’olonda okuba mikwano gyo? Lwaki ekyo kikulu nnyo? Olugero olwaluŋŋamizibwa lugamba: ‘Atambula n’abantu ab’amagezi, naye aliba n’amagezi: naye munaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.’ (Engero 13:20) Mu ngeri endala, mu nkomerero tufaanana abo be tubeera nabo, kwe kugamba, tuyinza okuba abagezi oba abasirusiru. Wandyagadde kubeera ani ku abo?
13, 14. (a) Ng’oggyeko okukolagana n’abantu obuteerevu, emikwano gizingiramu ki? (b) Nsobi ki abavubuka gye balina okwewala?
13 Bw’olowooza ku mikwano oyinza okulowooza ku kukolagana n’abantu obutereevu. Ekyo kituufu, naye emikwano tebaba bantu bokka b’okolagana nabo obutereevu. Bw’olaba programu ku ttivi, bw’owuliriza ennyimba, bw’osoma ekitabo, bw’olaba firimu oba bw’oba ku Internet, oba oli na mikwano. Emikwano ng’egyo bwe giba gikubiriza ebikolwa eby’ettemu oba eby’obugwenyufu, okunywa enjaga n’obutamiivu, oba ekintu kyonna ekikontana n’emisingi gya Baibuli, oba n’ow’omukwano ‘omusirusiru,’ alowooza nti Yakuwa taliiyo.—Zabbuli 14:1.
14 Oboolyawo oyinza okulowooza nti olw’okuba obaawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo era ng’anyiikira okukola emirimu gy’ekibiina, firimu ezirimu ebikolwa eby’ettemu oba ennyimba ezirina endongo ennungi kyokka ng’ebigambo bibi tebirina kye biyinza kukukolako. Era oyinza okulowooza nti toyinza kutuukibwako kabi singa otunulako katono ku bifaananyi eby’obugwenyufu ku Internet. Omutume Pawulo akugamba nti oli mukyamu! Agamba: “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33) Eky’ennaku, abavubuka bangi Abakristaayo abaali bakola obulungi boonoonese olw’okubeera n’emikwano emibi. N’olwekyo, beera mumalirivu okwesamba emikwano ng’egyo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kugoberera okubuulirira kwa Pawulo: “Temufaananyizibwanga ng’emirembe gino: naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.”—Abaruumi 12:2.
15. Kiki eky’okubiri abavubuka kye balina okusalawo, era emirundi egimu bapikirizibwa mu ngeri ki ku nsonga eno?
15 Okusalawo okw’okubiri kw’olina okukola kwe kuno. Ekiseera kijja kutuuka osalewo ky’onookola oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gyo. Bw’obeera mu nsi gye kiri ekizibu okufuna emirimu, oyinza okuwalirizibwa okukkiriza amangu omulimu gwonna oguba gulabise. Bw’obeera mu nsi engagga, wayinza okubaawo emirimu mingi gy’oyinza okwerobozaamu, ng’egimu ku gyo gisikiriza nnyo. Nga balina ebiruubirirwa ebirungi, abasomesa bo oba abazadde bo bayinza okukukubiriza okusomerera omulimu ogusasula obulungi, oboolyawo ogukusobozesa okugaggawala. Kyokka, okutendekebwa okufuna omulimu ng’ogwo kiyinza okukendeeza ennyo ebiseera bye wandimaze ng’oweereza Yakuwa.
16, 17. Nnyonnyola engeri ebyawandiikibwa ebitali bimu gye biyinza okuyamba omuvubuka obutagwa lubege ku nsonga y’okulonda omulimu.
16 Teweerabira okunoonyereza Baibuli ky’eyogera ku nsonga nga tonnasalawo. Baibuli etukubiriza okukola okusobola okweyimirizaawo. (2 Abasessaloniika 3:10-12) Wadde kiri kityo, waliwo ebirala ebizingirwamu. Tukukubiriza okusoma ebyawandiikibwa ebiddirira era olowooze ku ngeri gye biyinza okuyamba omuvubuka obutagwa lubege ku nsonga y’okulonda omulimu: Engero 30:8, 9; Omubuulizi 7:11, 12; Matayo 6:33; 1 Abakkolinso 7:31; 1 Timoseewo 6:9, 10. Oluvannyuma lw’okusoma ebyawandiikibwa ebyo, olabye endowooza Katonda gy’alina ku nsonga y’okulonda omulimu?
17 Emirimu tegyandibadde mikulu nnyo okusinga obuweereza bwaffe eri Yakuwa. Bw’oba osobola okufuna omulimu ogusaanira oluvannyuma lw’okumalako siniya, ekyo kirungi. Bw’oba weetaaga okufuna okutendekebwa okulala oluvannyuma lw’okumalako siniya, ekyo muyinza okukikubaganyaako ebirowoozo ne bazadde bo. Kyokka, tolagajjaliranga ‘ebintu ebisinga obukulu,’ kwe kugamba, ebintu eby’eby’omwoyo. (Abafiripi 1:9, 10) Tokola nsobi y’emu Baluki, omuwandiisi wa Yeremiya gye yakola. Olumu yalemererwa okusiima enkizo ye ey’okuweereza era ne ‘yeenoonyeza ebintu ebikulu.’ (Yeremiya 45:5) Mu kiseera ekyo yeerabira nti ‘ebintu ebikulu’ mu nsi eno tebyandimusobozesezza kufuna nkolagana nnungi na Yakuwa oba okuwona okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Era bwe kityo bwe kiri ne mu kiseera kyaffe.
Siima Ebintu eby’Eby’Omwoyo
18, 19. (a) Abasinga obungi mu nsi balina kizibu ki, era wandikwatiddwako otya? (b) Lwaki bangi tebawulira nti balina enjala ey’eby’omwoyo?
18 Wali olabye mu mpapula z’amawulire oba ku ttivi ebifaananyi eby’abaana abali mu nsi omuli enjala? Bw’oba wabirabako, awatali kubuusabuusa wabasaasira nnyo. Olumirirwa abantu abali mu nsi mu ngeri y’emu? Lwaki wandibalumiriddwa? Kubanga abasinga obungi nabo balina enjala. Balina enjala Amosi gye yalagulako: “Ennaku zijja, bw’ayogera Mukama Katonda, lwe ndiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey’amazzi, naye enjala ey’okuwulira ebigambo bya Mukama.”—Amosi 8:11.
19 Kyo kituufu nti abasinga obungi abalina enjala ng’eyo ‘tebamanyi bwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.’ (Matayo 5:3) Bangi tebawulira nti balina n’enjala ey’eby’omwoyo. Abamu bayinza n’okulowooza nti baliisibwa bulungi. Ne bwe baba nga baliisibwa, bafuna ‘magezi ga nsi’ agataliimu agazingiramu okuluubirira eby’obugagga, okuteebereza kwa sayansi, endowooza ezitaliimu nsa ezikwata ku mpisa n’ebintu ebirala ng’ebyo ebitalina mugaso gwonna. ‘Olw’amagezi’ g’ensi ag’omu kiseera kino, abamu balowooza nti enjigiriza za Baibuli zaava ku mulembe. Kyokka, ‘ensi okuyitira mu magezi gaayo teyamanya Katonda.’ Amagezi g’ensi tegajja kukuyamba kusemberera Katonda. Amagezi ago ‘busirusiru eri Katonda.’—1 Abakkolinso 1:20, 21; 3:19.
20. Lwaki si kya magezi okukoppa abantu abatasinza Yakuwa?
20 Bw’otunuulira ebifaananyi eby’abaana ng’abo abalumwa enjala, owulira ng’oyagala okubeera nga bo? Kya lwatu nedda! Kyokka, abavubuka abamu okuva mu maka Amakristaayo baagala okubeera ng’abantu ababeetoolodde abalumwa enjala ey’eby’omwoyo. Kyandiba nti abavubuka ng’abo balowooza nti abavubuka mu nsi balina eddembe, era nti banyumirwa obulamu. Beerabidde nti abavubuka abo beeyawudde ku Yakuwa. (Abaefeso 4:17, 18) Beerabira n’ebizibu ebiva mu njala ey’eby’omwoyo. Ebimu ku ebyo be batiini okufuna embuto ze bateeyagalidde era n’okulumizibwa mu mubiri ne mu birowoozo olw’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, okunywa sigala, okwekamirira omwenge n’okunywa enjaga. Enjala ey’eby’omwoyo eviirako obujeemu, obutaba na ssuubi era n’ekigendererwa mu bulamu.
21. Tuyinza tutya okwekuuma ne tutatwalirizibwa ndowooza mbi ez’abo abatasinza Yakuwa?
21 N’olwekyo, bw’obeera ku ssomero ng’oli wamu n’abo abatasinza Yakuwa, tokkiriza kufugibwa ndowooza zaabwe. (2 Abakkolinso 4:18) Abamu bajja kuvumirira ebintu eby’eby’omwoyo. Okugatta ku ekyo, emikutu gy’empuliziganya gikuba ppokopoko nga gigamba nti si kibi okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, okutamiira, n’okukozesa olulimi olubi. Tokkiriza kutwalirizibwa ndowooza ezo. Beeranga n’abantu ‘abalina okukkiriza n’omuntu ow’omunda omulungi.’ Bulijjo beera ‘n’ebingi eby’okukola mu mulimu gwa Mukama waffe.’ (1 Timoseewo 1:19; 1 Abakkolinso 15:58) Weenyigire mu bikolebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka era ne mu buweereza bw’ennimiro. Bw’oba ng’okyali mu ssomero, weereza nga payoniya omuwagizi enfunda n’enfunda. Bwe weenyigira mu bintu ng’ebyo, tojja kugwa lubege.—2 Timoseewo 4:5.
22, 23. (a) Lwaki omuvubuka Omukristaayo ajja kusalawo mu ngeri abalala gye batategeera? (b) Abavubuka bakubirizibwa kukola ki?
22 Bw’oba ng’otunuulira ebintu mu ngeri ey’eby’omwoyo, ojja kusalawo mu ngeri abalala gye batajja kutegeera. Ng’ekyokulabirako, omuvubuka omu Omukristaayo yalina ekitone mu kuyimba era ng’akola bulungi nnyo ku ssomero. Bwe yamala emisomo gye, yeegatta ku kitaawe mu mulimu gw’okulongoosa amadirisa kimusobozese okuweereza nga payoniya. Abasomesa be tebaategeera nsonga lwaki yasalawo bwatyo, naye bw’oba olina enkolagana ennungi ne Yakuwa tuli bakakafu nti gwe ogitegeera.
23 Ng’olowooza ku ngeri gy’onookozesaamu obuvubuka bwo, ‘weeteekereteekere ebiseera eby’omu maaso, osobole okufuna obulamu obwa ddala.’ (1 Timoseewo 6:19) Beera mumalirivu ‘okujjukira Omutonzi wo’ mu kiseera eky’obuvubuka bwo—ne mu bulamu bwo bwonna. Eyo ye ngeri yokka gy’oyinza okweteekerateekeramu ebiseera byo eby’omu maaso, eby’olubeerera.
Kiki ky’Oyize?
• Kubuulirira ki okwaluŋŋamizibwa okuyamba abavubuka okweteekerateekera ebiseera eby’omu maaso?
• Ngeri ki ezimu omuvubuka mw’ayinza ‘okusembereramu Katonda’?
• Biki omuvubuka by’ayinza okusalawo ebikwata ku biseera bye eby’omu maaso?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Onokkiriza ebiruubirirwa ebibyo ku bubwo okutwala amaanyi n’ebiseera byo eby’obuvubuka?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Abavubuka Abakristaayo abagezi basigala batunula mu by’omwoyo