Kuuma Essanyu Lyo mu Biseera Ebizibu
“Bonna abeesiga [Yakuwa] basanyukenga, bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo.”—ZAB. 5:11.
1, 2. (a) Bintu ki ebituleetera ennyo ennaku leero? (b) Ng’oggyeko ebizibu ebituuka ku bantu bonna, kiki Abakristaayo kye balina okugumira?
OKUFAANANAKO abantu abalala bonna, Abajulirwa ba Yakuwa nabo bafuna ebizibu. Abantu ba Katonda bangi bakoseddwa nnyo entalo, obumenyi bw’amateeka n’ebintu ebirala. Obutyabaga bw’omu butonde, obwavu, obulwadde, n’okufiirwa bireeta ennaku ey’amaanyi. Bwe kityo omutume Pawulo yawandiika nti: “Tukimanyi nti n’okutuusa kati ebitonde bisindira wamu era birumirwa wamu.” (Bar. 8:22) Eky’okuba nti tetutuukiridde nakyo kivaako ebizibu bingi. Naffe tuyinza okuba nga Kabaka Dawudi eyagamba nti: “Obutali butuukirivu bwange [buyise] ku mutwe gwange. Ng’omugugu omunene bunzitooweredde bunnemye.”—Zab. 38:4.
2 Ng’oggyeko ebizibu ebituuka ku bantu bonna, Abakristaayo ab’amazima balina okwetikka omuti ogw’okubonaabona ogw’akabonero. (Luk. 14:27) Yee, okufaananako Yesu, abayigirizwa be bakyayibwa era bayigganyizibwa. (Mat. 10:22, 23; Yok. 15:20; 16:2) N’olwekyo, okusobola okugoberera Kristo tulina okuba abanyiikivu era abagumiikiriza nga bwe tulindirira emikisa gy’ensi empya.—Mat. 7:13, 14; Luk. 13:24.
3. Kiki ekiraga nti Abakristaayo tebalina kubonaabona okusobola okusanyusa Yakuwa?
3 Kino kitegeeza nti Abakristaayo ab’amazima tebasobola kuba basanyufu mu bulamu? Obulamu bwaffe bulina kuba bwa nnaku na kusinda okutuusa enkomerero lw’enejja? Nedda. Yakuwa ayagala tube basanyufu nga bwe tulindirira ebisuubizo bye okutuukirira. Emirundi mingi, Baibuli eraga nti abasinza ab’amazima bantu basanyufu. (Soma Isaaya 65:13, 14.) Zabbuli 5:11 wagamba nti: “Bonna abeesiga [Yakuwa] basanyukenga, bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo.” Yee, tusobola okufuna essanyu, emirembe mu mutima n’obumativu wadde nga tulina ebizibu eby’amaanyi. Ka tulabe engeri Baibuli gy’etuyamba okuba abasanyufu nga twolekaganye n’ebizibu.
Yakuwa—“Katonda Omusanyufu”
4. Katonda awulira atya ng’ebitonde bye bimujeemedde?
4 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Yakuwa. Olw’okuba ye muyinza w’ebintu byonna, eggulu n’ensi biri wansi wa buyinza bwe. Talina kimubulako era talina kye yeetaaga ku muntu yenna. Wadde kiri kityo, Yakuwa yawulira bubi nnyo ng’omu ku baana be ab’omwoyo amujeemedde n’afuuka Sitaani. Katonda era yayisibwa bubi okulaba nga bamalayika abalala nabo basazeewo okumujeemera. Lowooza ne ku nnaku Katonda gye yawulira nga Adamu ne Kaawa, ebitonde bye ebyali bisingayo obulungi ku nsi, bamwabulidde. Okuva olwo, bazzukulu baabwe buwumbi na buwumbi bazze bajeemera Yakuwa.—Bar. 3:23.
5. Kiki ekireetera ennyo Yakuwa ennaku?
5 N’okutuusa kati obujeemu obwaleetebwawo Sitaani bukyagenda mu maaso. Yakuwa amaze emyaka nga 6,000 ng’alaba ebikolwa ebibi gamba ng’okusinza ebifaananyi, ettemu, entalo, n’obwenzi. (Lub. 6:5, 6, 11, 12) Okugatta ku ebyo, awulidde obulimba n’okuvvoola ebya buli ngeri. Emirundi mingi abaweereza ba Katonda nabo bakoze ebintu ebimunakuwaza. Egimu ku gyo Baibuli egyogerako bw’eti: “Emirundi nga mingi gye [baamujeemera] mu ddungu, ne bamunakuwaliza mu lukoola! Ne bakyuka nate ne bakema Katonda, ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.” (Zab. 78:40, 41) Yakuwa alumwa nnyo abantu be bwe bamujeemera. (Yer. 3:1-10) Awatali kubuusabuusa, waliwo ebintu ebibi bingi nnyo, era bireetera Yakuwa ennaku ey’amaanyi.—Soma Isaaya 63:9, 10.
6. Yakuwa akola ki bwe wabaawo ebintu eby’akabi?
6 Kyokka eky’okuwulira ennaku tekiremesa Yakuwa kubaako ky’akolawo. Bwe wabaawo ekintu eky’akabi ennyo, Yakuwa akola ekiba kyetaagisa okulaba nti embeera teyonooneka kisusse, era nti ebigendererwa bye bituukirira. Bwe kityo, Yakuwa aba musanyufu bulijjo kubanga amanyi nti kijja kweyoleka nti y’asaanidde okufuga obutonde bwonna, kiviiremu abaweereza be abeesigwa emikisa egy’ekitalo. (Zab. 104:31) Yee, wadde ng’asiigiddwa nnyo enziro, Yakuwa asigadde nga ye “Katonda omusanyufu.”—1 Tim. 1:11; Zab. 16:11.
7, 8. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa bwe tufuna ebizibu?
7 Kyo kituufu nti obusobozi bwaffe obw’okugonjoola ebizibu bwa wansi nnyo ku bwa Yakuwa. Naye tusobola okumukoppa nga twolekaganye n’ebizibu. Kya bulijjo okuwulira ennaku ey’amaanyi ng’ebintu bitusobedde, naye ekyo tusobola okukivvuunuka. Olw’okuba twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, tusobola okusala amagezi ne tuvvuunuka ebizibu.
8 Kikulu nnyo okukijjukira nti ebizibu ebimu tetuba na kya kubikolera. Bwe tubimalirako ebirowoozo byaffe, tuba twongera kwereetera nnaku na kwemalako ssanyu lye tufuna mu kusinza okw’amazima. Bwe tuba tukoze buli kye tusobola okuvvuunuka ekizibu, kiba kya magezi okukiggyako ebirowoozo ne tukola ebirala. Ka tulabe ebyokulabirako okuva mu Baibuli ebituyamba mu nsonga eno.
Ba n’Endowooza Ennuŋŋamu
9. Kaana yayoleka atya endoowoza ennuŋŋamu?
9 Lowooza ku Kaana, oluvannyuma eyafuuka nnyina wa nnabbi Samwiri. Yali mu nnaku ya maanyi olw’okuba yali mugumba. Yasekererwanga era oluusi yakaabanga n’alemwa n’okulya emmere. (1 Sam. 1:2-7) Lumu bwe yali ku weema ya Yakuwa ey’okusisinkanirangamu, Kaana ‘yalumwa omwoyo n’asaba Yakuwa era n’akaaba nnyo amaziga.’ (1 Sam. 1:10) Kaana bwe yamala okutegeeza Yakuwa ennaku eyamuli ku mutima, Eri, kabona omukulu yamutuukirira n’amugamba nti: “Genda mirembe: era Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by’omusabye.” (1 Sam. 1:17) Kaana yakiraba nti yali akoze buli ky’asobola. Eky’obutazaala yali talina kya kukikolera. Bw’atyo yayoleka endowooza ennuŋŋamu “ne yeddirayo n’alya, amaaso ge ne [gataddamu kunakuwala].”—1 Sam. 1:18.
10. Pawulo yakola ki ng’alina ekizibu kye yali tasobola kweggyako?
10 Omutume Pawulo yakola kye kimu ng’ali mu mbeera enzibu. Ekizibu kye yayita “eriggwa mu mubiri” kyali kimuleetera ennaku ey’amaanyi. (2 Kol. 12:7) Ka kibe nga kyali kizibu ki, Pawulo yakola ky’asobola okukyeggyako, era yasaba Yakuwa akimuwonye. Yasaba emirundi esatu miramba ku nsonga eyo. Ku mulundi ogw’okusatu Katonda yamugamba nti “eriggwa mu mubiri” yali tagenda kulimuggyamu. Kino Pawulo yakikkiriza era ne yeemalira ku kuweereza Yakuwa.—Soma 2 Abakkolinso 12:8-10.
11. Tuganyulwa tutya bwe tusaba nga twolekaganye n’ebizibu?
11 Ebyokulabirako ebyo tebitegeeza nti tusaanidde okulekera awo okusaba Yakuwa nga tulina ebizibu. (Zab. 86:7) Ekigambo kya Katonda kitukubiriza nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.” Yakuwa akola ki bw’awulira okusaba ng’okwo n’okwegayirira? Baibuli egamba nti: “Emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.” (Baf. 4:6, 7) Yee, Yakuwa ayinza obutaggyawo kizibu kyaffe, naye ayanukula essaala zaffe ng’akuuma ebirowoozo byaffe. Bwe tuba n’ekizibu ne tumusaba, tuyinza okulaba akabi akali mu kweraliikirira ekisusse.
Sanyukira Okukola Katonda by’Ayagala
12. Lwaki okweraliikirira ekisusse kya kabi nnyo?
12 Engero 24:10 wagamba nti: “Bw’ozirika ku lunaku olw’okulabirako obuyinike, amaanyi go [gaba] matono.” Olugero olulala lugamba nti: “Obuyinike obw’omutima bwe bumenya omwoyo.” (Nge. 15:13) Olw’okweraliikirira ennyo, Abakristaayo abamu batuuka n’okulekera awo okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukifumiitirizaako. Okusaba kwabwe kuba kwa kutuusa butuusa mukolo, era oluusi beekutula ne ku bakkiriza bannaabwe. Kino kiraga nti okweraliikirira ekisusse kya kabi nnyo.—Nge. 18:1, 14.
13. Bintu ki ebituyamba okugumira ennaku n’okuba abasanyufu?
13 Ku luuyi olulala, okulowooza ku bintu ebiba bigenda obulungi kituyamba okuba abasanyufu. Dawudi yawandiika nti: “Nsanyuka okukola by’oyagala, ai Katonda wange.” (Zab. 40:8) Ebintu bwe bitusobera mu bulamu, tekiba kya magezi kuva ku nteekateeka yaffe ey’okusinza. Mu butuufu, okukola ebintu ebituwa essanyu kituyamba okugumira ennaku. Yakuwa atukakasa nti okusoma Ekigambo kye n’okukifumiitirizaako kijja kutuwa essanyu. (Zab. 1:1, 2; Yak. 1:25) Tuyiga “ebigambo ebisanyusa” mu Byawandiikibwa ne mu nkuŋŋaana, ne bituyamba okuba abasanyufu.—Nge. 12:25; 16:24.
14. Yakuwa atusuubiza ki ekituwa essanyu?
14 Katonda yatusuubiza ebintu bingi ebituleetera essanyu. Ekimu ku bisinga obukulu kwe kuba nti ajja kutununula. (Zab. 13:5) Tumanyi nti ka kibe ki ekitutuukako mu kiseera kino, ffenna abamunoonya ajja kutuwa empeera. (Soma Omubuulizi 8:12.) Kino nnabbi Kaabakuuku yali akimanyi bulungi era bw’atyo yawandiika nti: “Omutiini newakubadde nga tegwanya, so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala; ne bwe bateganira omuzeyituuni obwereere, ennimiro ne zitaleeta mmere yonna; embuzi nga zimaliddwawo mu kisibo, songa tewali nte mu biraalo: Era naye ndisanyukira Mukama, ndijaguliza Katonda ow’obulokozi bwange.”—Kaab. 3:17, 18.
‘Ba Mukisa Abo Abalina Yakuwa nga Katonda Waabwe!’
15, 16. Menyayo ebimu ku bintu ebituleetera essanyu nga bwe tulinda emikisa Katonda gye yatusuubiza.
15 Mu kiseera kino nga tulinda emikisa egyatusuubizibwa, Yakuwa ayagala tusanyukire ebirungi by’atuwa. Baibuli egamba nti: “Mmanyi nga tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka n’okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu. Era buli muntu okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.” (Mub. 3:12, 13) “Okukola obulungi” kizingiramu okukolera abalala ebirungi. Yesu yagamba nti okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa. Tufuna essanyu bwe tukola ebintu ebiyamba bannaffe, abaana baffe, bazadde baffe, n’ab’eŋŋanda zaffe. (Nge. 3:27) Okuyisa obulungi ab’oluganda, okubasembeza n’okubasonyiwa kituwa essanyu era kisanyusa Yakuwa. (Bag. 6:10; Bak. 3:12-14; 1 Peet. 4:8, 9) Okukola n’obunyiikivu omulimu gwaffe ogw’okubuulira nakyo kituleetera essanyu lingi.
16 Nga bwe tulabye waggulu, Omubuulizi ayogera ku bintu ebitonotono ebisobola okutuwa essanyu, gamba ng’okulya n’okunywa. Yee, ne bwe tuba nga twolekaganye n’ebizibu, tusobola okufuna essanyu mu bintu ng’ebyo bye tufuna okuva eri Yakuwa. Okugatta ku ekyo, bwe tutunuulira enjuba ng’egwa, ebifo ebirabika obulungi, obwana bw’ensolo nga buzannya, oba ebitonde ebirala, tufuna essanyu lingi. Bwe tufumiitiriza ku bintu ng’ebyo, tweyongera okwagala Yakuwa kubanga ye Mugabi wa buli kirungi.
17. Kiki ekinaatuyamba okufuna obuweerero obw’olubeerera, era nga tetunnabufuna, kiki ekitubudaabuda?
17 Mu nkomerero ya byonna, okwagala Katonda, okugondera ebiragiro bye, n’okukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo ky’Omwana we bijja kutuyamba okutuuka mu bulamu obw’essanyu, obutaliimu kizibu kyonna. (1 Yok. 5:3) Nga bwe tulinda bino byonna okutuukirira, tubudaabudibwa olw’okukimanya nti Yakuwa amanyi bulungi ebintu ebituleetera ennaku. Dawudi yawandiika nti: “N[n]aasanyukanga, n[n]aajaguzanga olw’okusaasira kwo: Kubanga walaba ebibonoobono byange; wamanya emmeeme yange mu kulaba ennaku.” (Zab. 31:7) Olw’okuba atwagala, Yakuwa ajja kutuwonya ebizibu byonna.—Zab. 34:19.
18. Lwaki abantu ba Katonda basaanidde okuba abasanyufu?
18 Ka tukoppe Yakuwa, Katonda omusanyufu, nga bwe tulinda okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bye. Ka tufube okulaba nti tetuddirira mu by’omwoyo olw’okweraliikirira ekisusse. Bwe tufuna ebizibu, ka tubifumiitirizeeko tulabe engeri gye tusaanidde okubikwatamu. Yakuwa ajja kutuyamba ng’akuuma ebirowoozo byaffe, era bwe wagwawo ebintu eby’akabi ennyo, ajja kukola ekyetaagisa okulaba nti embeera teyonooneka kisusse. Ka tube basanyufu olw’ebirungi Katonda by’atuwa, eby’omubiri n’eby’omwoyo. Bwe tunaanywerera ku Katonda, tujja kuba basanyufu kubanga abo ‘abalina Yakuwa nga Katonda waabwe ba mukisa!’—Zab. 144:15.
Kiki ky’Oyize?
• Oyinza otya okukoppa Yakuwa ng’oyolekaganye n’ebizibu?
• Okuba n’endowooza ennuŋŋamu kituyamba kitya nga tulina ebizibu?
• Bwe tuba n’ebizibu, tuyinza tutya okufuna essanyu mu kukola Katonda by’ayagala?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Yakuwa anakuwala olw’ebintu ebibi by’alaba mu nsi
[Ensibuko y’ekifaananyi]
© G.M.B. Akash/Panos Pictures
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Yakuwa atuwa ebintu ebituyamba okuba abasanyufu