Ekigambo kya Katonda Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Omubuulizi
“OMUNTU azaalibwa omukazi wa nnaku si nnyingi, era ajjudde obuyinike,” bw’atyo Yobu bwe yagamba. (Yobu 14:1) Okuva bwe kiri nti obulamu bwa kiseera, nga kikulu nnyo obutayonoona biseera byaffe mu bintu ebitaliimu! Amaanyi gaffe, ebiseera ne byonna bye tulina twandibimalidde ku ki? Bintu ki bye twandyewaze? Ebigambo eby’amagezi ebiri mu kitabo kya Baibuli eky’Omubuulizi biwa obulagirizi obwesigika ku nsonga eno. Obubaka obulimu busobola “okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima” era busobola okutuyamba okuba n’obulamu obulina ekigendererwa.—Abaebbulaniya 4:12.
Ekitabo ky’Omubuulizi ekyawandiikibwa Kabaka Sulemaani owa Isiraeri eyali omumanyifu ennyo olw’amagezi ge, kirimu okubuulirira okulungi okukwata ku bintu eby’omuganyulo mu bulamu n’ebyo ebitagasa. Okuva bwe kiri nti Sulemaani ayogera ku mirimu gye egimu egy’okuzimba, alina okuba ng’ekitabo ky’Omubuulizi yakiwandiika agimalirizza era nga tannaddirira mu kusinza okwa mazima. (Nekkemiya 13:26) Kino kitegeeza nti yakiwandiika ng’omwaka 1000 B.C.E. tegunnatuuka, era ng’obufuzi bwe obw’emyaka 40 bunaatera okuggwaako.
EBITALI BYA BUTALIIMU BYE BIRUWA?
Omubuulizi agamba: “Byonna butaliimu,” era abuuza nti: “Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw’akola wansi w’enjuba?” (Omubuulizi 1:2, 3) Ebigambo “obutaliimu” ne “wansi w’enjuba” bisangibwa emirundi mingi kitabo kino. Mu Lwebbulaniya ekigambo “obutaliimu” kitegeeza “omukka,” era nga kiwa amakulu ag’ekintu eky’akaseera obuseera. Ate ekigambo “wansi w’enjuba” kitegeeza “ku nsi kuno” oba “mu nsi eno.” N’olwekyo, buli kintu abantu kye bakola nga Katonda takyagala, buba butaliimu.
Sulemaani agamba nti: ‘Okuumanga ekigere kyo bw’ogendanga mu nnyumba ya Katonda; era osemberanga okuwuliriza.’ (Omubuulizi 5:1) Okwenyigira mu kusinza Yakuwa Katonda si kya butaliimu. Mu butuufu, bwe tufaayo ku nkolagana yaffe naye, kituleetera okuba n’obulamu obulina ekigendererwa.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:4-10—Lwaki entambula y’enjuba, empewo n’amazzi ‘ekooya’? Omubuulizi anokolayo ebintu bisatu byokka ku ebyo ebisobozesa obulamu okubaawo ku nsi—entambula y’enjuba, ey’empewo n’ey’amazzi. Mu butuufu, ensi erimu ebirala bingi eby’omugaso bwe bityo, kyokka ng’enkola yaabyo nzibu okutegeera. Omuntu ayinza okumala obulamu bwe bwonna ng’abiyigako kyokka n’atabitegeera bulungi. Mazima ddala ekyo kiba ‘kikooya.’ Ate era kikooya okugeraageranya obulamu bwaffe obw’ekiseera obuseera n’ebintu ng’ebyo. N’okugezaako okuyiiya ebintu ebipya nakyo kikooya. Anti n’ebipya ebiyiiyizibwa, nakwo kuba kukoppa bukoppi ebintu Katonda bye yatonda.
2:1, 2—Lwaki enseko zoogerwako nti “ziraluse”? Enseko ziyinza okutwerabiza ebizibu byaffe okumala akabanga, n’essanyu liyinza okutuleetera obutabitwala ng’eby’amaanyi. Kyokka, enseko tezimalaawo bizibu byaffe. Eno ye nsonga lwaki zoogerwako nti “ziraluse.”
3:11—Biki Katonda bye yafuula ‘ebirungi mu kiseera kyabyo’? Ebimu ku bintu Yakuwa Katonda bye yafuula ‘ebirungi’ oba ebisaana era eby’omuganyulo mu kiseera ekituufu, kwe kutondebwa kwa Adamu ne Kaawa, endagaano ya musoke, endagaano ne Ibulayimu, endagaano ya Dawudi, okujja kwa Masiya, n’okutuuzibwa kwa Yesu Kristo ku ntebe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Wabula, waliwo ekintu ekirala Yakuwa ky’ajja okufuula “ekirungi” mu kiseera ekitali kya wala. Tuli bakakafu nti ajja kuleeta ensi empya ey’obutuukirivu mu kiseera ekituufu.—2 Peetero 3:13.
3:15b—Mu ngeri ki ‘Katonda gy’anoonya ebyo ebinoonyezebwa’? ‘Ebinoonyezebwa’ biyinza okuba ebyo Katonda by’ayagala okukola. Okuzaalibwa n’okufa, n’ebiseera eby’emirembe okutabangulwa entalo biyinza okuleetera abantu okulowooza nti obulamu bwe butyo bwe bulina okubeera, naye Katonda ow’amazima asobola okunoonya era n’okutuukiriza byonna by’Ayagala. (Omubuulizi 3:1-10, 15a) ‘Ebinoonyezebwa’ era biyinza okuba abantu abatuukirivu, abayigganyizibwa ababi. Bwe kiba bwe kityo, Yakuwa yeeyongera okunoonya abatuukirivu asobole ‘okulaga amaanyi ge’ ku lwabwe.—2 Ebyomumirembe 16:9.
5:9—Mu ngeri ki ‘ekyengera ky’ettaka gye kiri ekya bonna’? ‘Ekyengera ky’ettaka,’ kwe kugamba ebyo ebirimwa ku ttaka, kye kiyimirizaawo abantu bonna ku nsi. Ne kabaka naye kye kimuyimirizaawo. Okusobola okufuna ebibala ebiva mu nnimiro ye, abaweereza be baba balina okukola ennyo.
Bye Tuyigamu:
1:15. Kuba kuteganira bwereere okukozesa ebiseera n’amaanyi gaffe nga tugezaako okukomya okunyigirizibwa n’obutali bwenkanya ebiriwo mu nsi leero. Obwakabaka bwa Katonda bwokka bwe busobola okumalawo obubi.—Danyeri 2:44.
2:4-11. Okuluubirira okuba n’ebintu ng’ebizimbe, ensuku n’amasamba era n’obulamu obw’okwejalabya kuba “kugoberera mpewo” kubanga ku bino tewali na kimu kireetera bulamu kubaamu kigendererwa oba okuleeta essanyu ery’olubeerera.
2:12-16. Amagezi gasinga obusirusiru obulungi mu ngeri nti gayamba omuntu okugonjoola ebizibu ebimu. Wabula bwe kituuka ku kufa, tewali njawulo wakati w’omugezi n’omusiruru. Ne bwe kiba nti omuntu abadde mwatiikirivu olw’amagezi ge, bw’afa wayita ekiseera kitono ne yeerabirwa.
2:24; 3:12, 13, 22. Si kikyamu okweyagalira mu bibala by’entuuyo zaffe.
2:26. Amagezi agava ewa Katonda, agaleeta essanyu, gaweebwa ‘omuntu asanyusa Yakuwa.’ Tekisoboka kugafuna okuggyako ng’omuntu alina enkolagana ennungi ne Katonda.
3:16, 17. Tetulina kusuubira buli nsonga kusalibwawo mu bwenkanya. Mu kifo ky’okuleka obutali bwenkanya obuliwo okutweraliikiriza, ensonga twandizirekedde Yakuwa okuzigonjoola.
4:4. Okukola omulimu obulungi era n’obunyiikivu kireeta essanyu. Kyokka, bw’oba ogenderera kusinga businzi balala, kireetawo okuvuganya, empalana n’obuggya. Obunyiikivu bwaffe mu kubuulira bulina kuba nga bwesigamye ku kuba n’ebiruubirirwa ebirungi.
4:7-12. Enkolagana ennungi n’abalala ya muwendo okusinga eby’obugagga, era tetwandibikkirizza kugyonoona.
4:13. Okuba owa waggulu era ow’emyaka emingi, ku bwabyo tebiweesa kitiibwa. Abo abalina ebifo eby’obuvunaanyizibwa balina okweyisa mu ngeri eraga amagezi.
4:15, 16. “Omulenzi ow’okubiri” kwe kugamba oyo asikira kabaka, ayinza okuba n’obuwagizi ‘bw’abantu bonna’ mu kusooka, naye ‘oluvannyuma tebamusanyukira.’ Mazima, okuganja kuba kwa kaseera buseera.
5:2. Bwe tuba tusaba bye twogera tulina okubifumiitirizaako, birina okuba nga biweesa ekitiibwa era nga bitono.
5:3-7. Okwagala ennyo okufuna ebintu kiyinza okuleetera omuntu okuba mu birowoozo n’aba ng’aloota. Kiyinza n’okumuviirako okubulwa otulo ekiro olw’okulowooza ennyo. Ebigambo ebingi biyinza okuleetera omuntu okulabika ng’omusiru n’okwanguyiriza okweyama eri Katonda. ‘Okutya Katonda ow’amazima’ kuyamba omuntu okwewala ebintu ebyo.
6:1-9. Kigasa ki okuwangaala, okuba n’eby’obugagga, ekitiibwa, n’amaka amanene, naye nga tetusobola kubinyumirwa? “Okulaba n’amaaso,” oba okwaŋŋanga embeera kisinga “okutambutambula n’omwoyo ogwegomba,” kwe kugamba, nga tulafuubanira eby’amasanyu ebitamatiza. N’olwekyo, ekisinga kwe kuba abamativu “n’emmere n’eby’okwambala” n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.—1 Timoseewo 6:8.
OKUBUULIRIRA AB’AMAGEZI
Tusobola tutya okukuuma erinnya lyaffe nga ddungi? Ndowooza ki gye twandibadde nayo ku abo abali buyinza n’obutali bwenkanya bwe tulaba? Olw’okuba abafu tebaliiko kye bamanyi, twandikozesezza tutya obulamu bwaffe kati? Abavubuka bayinza batya okukozesa ebiseera n’amaanyi gaabwe mu ngeri ey’amagezi? Omubuulizi awa amagezi ku nsonga zino n’endala mu ssuula 7 okutuuka ku 12 mu kitabo ky’Omubuulizi.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
7:19—Mu ngeri ki amagezi gye gasinga ‘abafuzi ekkumi’ amaanyi? Mu Baibuli, nnamba kkumi mu ngeri ey’akabonero etegeeza obujjuvu. Sulemaani aba ategeeza nti okuba n’amagezi kiwa omuntu obukuumi okusinga okuba n’omuwendo omujjuvu ogw’eggye erikuuma ekibuga.
10:2—Kitegeeza ki omuntu omutima okumubeera “ku mukono gwe ogwa ddyo” oba “ku mukono gwe ogwa kkono”? Olw’okuba omukono ogwa ddyo gukwataganyizibwa n’okusiimibwa, omutima gw’omuntu okuba ku mukono gwe ogwa ddyo kitegeeza nti gumukubiriza okukola ebirungi. Kyokka, bwe gumukubiriza okukola ebibi, omutima gwe gugambibwa nti guli ku mukono gwe ogwa kkono.
10:15—‘Okutegana kw’abasirusiru kubakooya’ kutya? Omuntu bw’aba tasobola kusalawo mu ngeri ya magezi, okutegana kwe tekuvaamu birungi. Taganyulwamu n’akamu. Okutegana okw’engeri eyo kumukooya bukooya.
11:7, 8—Ebigambo: ‘Omusana guwooma era kigambo kya ssanyu amaaso okulaba enjuba,’ bitegeeza ki? Omusana n’enjuba binyumirwa balamu. Sulemaani akiraga nti kirungi okuba omulamu era ‘n’okusanyuka’ ng’ennaku ez’ekizikiza oba ez’obukadde tezinnatumalamu ndasi.
11:10—Lwaki “obuto n’obuvubuka butaliimu”? Bino bwe bitakozesebwa bulungi, biba butaliimu kubanga biyita luwunguko.
Bye Tuyigamu:
7:6. Omuntu bw’aseka we kiteetaagisiza owulira bubi nga bwe wandiwulidde ng’amaggwa gatulikira wansi w’entamu. Kiba kirungi ne tukyewala.
7:21, 22. Tetwandifuddeyo nnyo ku ebyo abantu bye batwogerako.
8:2, 3; 10:4. Bakama baffe bwe batunenya oba bwe batugolola, kirungi ne tutava mu mbeera. Kino kirungi okusinga ‘okuva mu kifo kyo’ kwe kugamba okumala galekulira.
8:8; 9:5-10, 12. Tuyinza okufa ekibwatukira ng’ekyennyanja bwe kikwatibwa mu katimba oba ekinyonyi mu mutego. Ate era, tewali asobola kuziyiza kufa, oba okukusimattuka. N’olwekyo, tetusaanidde kwonoona biseera. Yakuwa ayagala obulamu tubutwale nga bwa muwendo era tubuganyulwemu. Kino kisoboka singa okuweereza Yakuwa tukussa mu kifo ekisooka.
8:16, 17. Byonna Katonda by’akoze tosobola kubitegeera n’obimalayo ne bw’obirowoozaako emisana n’ekiro. Okumala ebiseera ng’olowooza ku bibi byonna ebikoleddwa kijja kukumalako essanyu.
9:16-18. Amagezi galina okutwalibwa nga ga muwendo wadde ng’okutwalira awamu abantu tebagatwala nga kikulu. Okwogera n’obukkakkamu kusinga okuleekaana kw’abasirusiru.
10:1. Tulina okwegendereza bye twogera ne bye tukola. Okugwa mu nsobi obw’olumu gamba ng’oboggoka, otamiira, nga weenyigira mu kikolwa eky’obugwenyufu, kiba kimala okwonoona erinnya lyo.
10:5-11. Omuntu ali mu kifo ekya waggulu ng’omulimu gwe tagusobola, teyeegombesa. Obutaba na busobozi kukola mulimu ka gube mutono gutya kiyinza okuvaamu akabi. N’olwekyo, amagezi ‘gasobozesa omuntu okuwangula.’ Nga kikulu okufuna obumanyirivu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa!
11:1, 2. Tusaanidde okubeera abagabi. Bwe tukola bwe tutyo n’abalala bajja kutugabira ku byabwe.—Lukka 6:38.
11:3-6. Eky’obutamanya biki biyinza kubaawo mu bulamu, tekisaanidde kutulemesa kubaako bye tukola.
11:9; 12:1-7. Abavubuka bavunaanyizibwa eri Yakuwa. N’olwekyo, basaanidde okukozesa ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe okuweereza Katonda nga tebannakaddiwa.
‘EBIGAMBO BY’ABAGEZI’ OKUTUWA OBULAGIRIZI
‘Ebigambo ebirungi’ omubuulizi bye yanoonya era n’awandiika twandibitutte tutya? Obutafaananako ebyo ebiri mu ‘bitabo ebingi’ omuli amagezi g’abantu, ‘ebigambo by’abagezi biringa emiwunda, era ng’enninga ezikomereddwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu.’ (Omubuulizi 12:10-12) Ebigambo eby’amagezi ebiweebwa “omusumba omu,” Yakuwa, bitunyweza mu bulamu bwaffe.
Okukolera ku kubuulirira okuli mu kitabo ky’Omubuulizi kujja kutuyamba okuba n’obulamu obulina ekigendererwa era obw’essanyu. Ate era, tukakasibwa nti: “Abo abatya Katonda banaabanga bulungi.” N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu ‘okutyanga Katonda n’okukwatanga ebiragiro bye.’—Omubuulizi 8:12; 12:13.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Ogumu ku mirimu gya Katonda egisingayo obulungi gujja kumalirizibwa mu kiseera kyagwo ekituufu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Mu birabo bya Katonda mwe muli emmere, eby’okunywa, n’okweyagalira mu biva mu ntuuyo zaffe