Kisoboka Okuba n’Okwagala Okwa Nnamaddala?
‘Okwagala okumyansa kwakwo kumyansa kwa muliro, okwokya kwennyini okwa Mukama.’—LU. 8:6.
1, 2. Ebyo ebiri mu kitabo ky’Oluyimba biganyula baani, era lwaki? (Laba ekifaananyi waggulu.)
OMUGOLE omusajja n’omugole omukazi buli omu atunuulira munne era ne bassaako akamwenyumwenyu. Buli omu aliwo ku mbaga akiraba nti baagalana nnyo. Ow’oluganda awadde emboozi ekwata ku bufumbo alaba engeri ey’omukwano buli omu gy’ayisaamu munne mu kiseera ekyo, kyokka muli ne yeebuuza: ‘Emyaka bwe ginaagenda giyitawo, ddala okwagala kwabwe kuneeyongera okunywera? Oba kyandiba nti kujja kukendeera?’ Omwami n’omukyala bwe baba nga ddala baagalana, basobola okuyita mu mbeera yonna, k’ebe nzibu etya. Naye eky’ennaku kiri nti abafumbo bangi ekiseera bwe kigenda kiyitawo, okwagala buli omu kwalina eri munne kugenda kukendeera, era abamu batuuka n’okwawukana. Kati ekyebuuzibwa kiri nti ddala kisoboka okuba n’okwagala okwa nnamaddala?
2 Ne mu kiseera kya Kabaka Sulemaani, abantu abaalina okwagala okwa nnaddala baali batono ddala. Ng’ayogera ku bantu abaaliwo mu kiseera kye, Sulemaani yagamba nti: “Mu bantu olukumi nzuddemu omusajja omutuukirivu omu, naye mu abo bonna sirabyemu mukazi mutuukirivu n’omu. Kino kyokka kye nzudde: Katonda ow’amazima yakola abantu nga bagolokofu naye bo ne beegunjizaawo amakubo amalala.” (Mub. 7:26-29, NW) Okuva bwe kiri nti mu kiseera ekyo mu Isiraeri mwalimu abakazi abagwira bangi abaali basinza Baali era abaali abagwenyufu, abasajja n’abakazi Abaisiraeri bangi baatwalirizibwa ebikolwa eby’obugwenyufu.a Wadde kyali kityo, ekitabo ky’Oluyimba Sulemaani kye yawandiika emyaka nga 20 emabega nga tannawandiika kitabo ky’Omubuulizi, kiraga bulungi nti omusajja n’omukazi basobola okuba n’okwagala okwa nnamaddala. Ate era ekitabo ky’Oluyimba kituyamba okulaba kye kitegeeza okuba n’okwagala okwa nnamaddala. Ebyo ebiri mu kitabo ekyo bisobola okuyamba abaweereza ba Yakuwa abafumbo n’abatali bafumbo okumanya kye kitegeeza okuba n’okwagala okwa nnaddala era n’engeri gye bayinza okukwolekamu.
KISOBOKA OKUBA N’OKWAGALA OKWA NNAMADDALA!
3. Lwaki kisoboka omusajja n’omukazi buli omu okuba n’okwagala okwa nnamaddala eri munne?
3 Soma Oluyimba 8:6. Okwagala okwa nnamaddala kuyitibwa ‘okwokya kwa Mukama.’ Lwaki? Kubanga Yakuwa ye nsibuko y’okwagala okwo. Yakuwa yatonda abantu mu kifaananyi kye nga balina obusobozi obw’okwoleka okwagala. (Lub. 1:26, 27) Oluvannyuma lwa Katonda okukolera Adamu omukazi, Kaawa, Adamu yasanyuka nnyo era n’akiraga nti yali ayagala nnyo Kaawa. Kya lwatu nti ne Kaawa yali ayagala nnyo Adamu. Ekyo tekyewuunyisa kubanga Yakuwa yatonda Kaawa ng’amuggya mu Adamu. (Lub. 2:21-23) Okuva bwe kiri nti Yakuwa yatonda abantu nga balina obusobozi obw’okwoleka okwagala, kisoboka bulungi omusajja n’omukazi buli omu okuba n’okwagala okwa nnamaddala eri munne.
4, 5. Mu bufunze, yogera ku ebyo ebiri mu kitabo ky’Oluyimba.
4 Ekitabo ky’Oluyimba kiraga nti kisoboka omusajja n’omukazi okuba n’okwagala okwa nnamaddala. Ekitabo ekyo kyogera ku kwagala okwali wakati w’omuwala ow’e Sunemu oba Sulemu n’omulenzi omusumba. Omuwala oyo yali akola mu nnimiro ya bannyina eyali okumpi n’ekifo Kabaka Sulemaani n’abasajja be abalwanyi we baali basiisidde. Sulemaani yalaba omuwala oyo nga mulungi era n’atuma abasajja be bamumuleetere. Sulemaani yawaana omuwala oyo olw’obulungi bwe era n’amusuubiza okumuwa ebirabo bingi. Naye omuwala oyo yali ayagala nnyo omusumba, era nga gw’ayagala okubeera naye. (Lu. 1:4-14) Omusumba yanoonya omuwala oyo. Bwe yamuzuula, baatandika okwogera ebigambo ebiraga nti buli omu yali ayagala nnyo munne.—Lu. 1:15–17.
5 Sulemaani yaddayo e Yerusaalemi era n’agenda n’omuwala oyo, naye omusumba n’agoberera omuwala oyo. (Lu. 4:1-5, 8, 9) Wadde nga Sulemaani yakola kyonna ekisoboka okuwangula omutima gw’omuwala oyo, yalemererwa. (Lu. 6:4-7; 7:1-10) N’ekyavaamu, Sulemaani yaleka omuwala oyo okuddayo ewaabwe. Ekitabo ky’Oluyimba kikomekkereza ng’omuwala Omusulamu agamba omulenzi we ayanguwe “ng’empeewo” agende gy’ali.—Lu. 8:14.
6. Lwaki si kyangu kumanya oyo aba ayogera mu kitabo ky’Oluyimba?
6 Ekitabo ky’Oluyimba kinyuma nnyo okusoma. Mu butuufu, kiyitibwa “Oluyimba olusinga ennyimba.” (Lu. 1:1) Kyokka Sulemaani bwe yali awandiika ekitabo ekyo, teyateekamu mannya g’abo abaali boogera. Ekyo yakikola kubanga yakiwandiika mu ngeri ya kitontome era yakiwandiika ng’oluyimba. Wadde kiri kityo, kisoboka okumanya ani ayogera oluvannyuma lw’okwetegereza ebigambo omuntu by’ayogera oba ebimugambibwa.b
“OKWAGALA KWO KUSINGA OMWENGE OBULUNGI”
7, 8. Ebigambo eby’omukwano omusumba n’omuwala Omusulamu bye baayogera biraga ki? Waayo ebyokulabirako.
7 Ekitabo ky’Oluyimba kirimu ebigambo bingi ebyoleka omukwano ogwali wakati w’omuwala Omusulamu n’omusumba. Okuva bwe kiri nti ekitabo ekyo kyawandiikibwa emyaka nga 3,000 emabega, ebimu ku bigambo ebikirimu biyinza obutatwanguyira kutegeera makulu gaabyo, naye ekituufu kiri nti birina amakulu mangi nnyo. Ng’ekyokulabirako, omusumba yawaana amaaso g’omuwala oyo amalungi n’agamba nti gaali ng’amaaso ‘g’amayiba.’ (Lu. 1:15) Ate ye omuwala oyo yagamba nti amaaso g’omusumba gaali ng’amayiba. (Soma Oluyimba 5:12.) Eri omuwala oyo, amaaso g’omusumba gaali malungi nnyo nga galinga amayiba agava okunaaba mu mata.
8 Omusumba n’omuwala Omusulamu buli omu yayogera ku bulungi bwa munne obw’okungulu, naye tebaayogera ku bulungi bwa kungulu bwokka. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo omusumba bye yayogera ku bigambo by’omuwala Omusulamu. (Soma Oluyimba 4:7, 11.) Yagamba nti emimwa gye “gitonnya ng’ebisenge by’enjuki.” Lwaki yagamba bw’atyo? Kubanga omubisi gw’enjuki oguba gukyali mu bisenge byagwo guba guwooma nnyo okusinga ogwo oguba gumaze okugibwa mu bisenge ne gufuuyibwako empewo. Era yagamba nti “omubisi gw’enjuki n’amata biri wansi w’olulimi” lwe, ng’alaga nti okufaananako omubisi gw’enjuki n’amata, ebigambo bye byali bisanyusa era nga birungi nnyo. Kyeyoleka lwatu nti, omusumba bwe yagamba omuwala Omusulamu nti, “oli mulungi wenna, . . . ku ggwe tekuli bbala,” yali tayogera ku bulungi bwa kungulu bwokka.
9. (a) Okwagala okulina okubeera wakati w’omwami n’omukyala kuzingiramu ki? (b) Lwaki kikulu nnyo omwami n’omukyala buli omu okulaga nti ayagala nnyo munne?
9 Omwami n’omukyala Abakristaayo, obufumbo tebabutwala nga kontulakiti, ne baba ng’ababulimu olw’okutuusa obutuusa oluwalo. Bafuba okulagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala. Naye kwagala kwa ngeri ki Abakristaayo abafumbo kwe balina okuba nakwo? Kwe kwagala Bayibuli kw’etukubiriza okulaga abantu bonna? (1 Yok. 4:8) Kwe kwagala okuba wakati w’abantu abeerinako oluganda? Kwe kwagala okuba wakati w’ab’emikwano aba nnaddala? (Yok. 11:3) Kwe kwagala okuba wakati w’omusajja n’omukazi? (Nge. 5:15-20) Ekituufu kiri nti okwagala okwa nnamaddala okulina okuba wakati w’omusajja n’omukazi abafumbo kuzingiramu ebika by’okwagala ebyo byonna. Kiba kizibu omuntu okutegeera nti omwagala singa oba tokiraze. N’olwekyo abafumbo, ka babe nga balina eby’okukola bingi, tebasaanidde kukkiriza bintu ebyo kubalemesa kulagaŋŋana mukwano! Buli omu bw’alaga munne omukwano, ekyo kisobola okuyamba obufumbo bwabwe okubaamu essanyu. Mu mawanga agamu agalina enkola ey’okufunira omuntu oyo gw’aba agenda okufumbiriganwa naye, omusajja n’omukazi batuuka okufumbiriganwa nga buli omu tamanyi bulungi munne. Kyokka bwe bafuba okukiraga mu bigambo ne mu bikolwa nti ddala baagalana, kisobola okuyamba obufumbo bwabwe okunywera.
10. Omwami n’omukyala buli omu bw’akiraga nti ayagala nnyo munne kiyamba kitya obufumbo bwabwe okunywera?
10 Waliwo ensonga endala lwaki kikulu nnyo abafumbo buli omu okukiraga nti ayagala nnyo munne. Kabaka Sulemaani yasuubiza okuwa omuwala Omusulamu amajolobera aga zzaabu agatonaatoneddwako ffeeza. Yamuwaana ng’amugamba nti yali ‘mulungi ng’omwezi era ng’atangalijja ng’enjuba.’ (Lu. 1:9-11; 6:10) Wadde kyali kityo omuwala Omusulamu yasigala ng’anyweredde ku musumba. Kiki ekyamuyamba okusigala nga mwesiga ne bwe yali nga tali wamu na musumba? (Soma Oluyimba 1:2, 3.) Ekyamuyamba kwe kujjukira omukwano omusumba gwe yali amulaze. Eri omuwala Omusulamu, omukwano omusumba gwe yamulaga gwali ‘gusinga omwenge’ ogusanyusa emitima gy’abantu, era erinnya lye lyali liweweeza ‘ng’amafuta agaakaloosa agafukiddwa’ ku mutwe. (Zab. 23:5; 104:15) Mu butuufu, kikulu nnyo bulijjo omwami n’omukyala buli omu okukiraga nti ayagala nnyo munne kubanga ekyo kireetera okwagala kwabwe okwongera okunywera. Okujjukiranga engeri munne gy’akiraga nti amwagala, kisobola okuyamba omwami oba omukyala okusigala nga mwesigwa eri munne ne bwe baba nga tebali wamu!
TEMUGOLOKOSA KWAGALA “OKUTUUSA WE KUNAAYAGALIRA”
11. Kiki Abakristaayo abatali bafumbo kye bayigira ku bigambo omuwala Omusulamu bye yagamba abawala ba Yerusaalemi?
11 N’Abakristaayo abatali bafumbo, naddala abo abaagala okuwasa oba okufumbirwa, balina bingi bye bayinza okuyiga mu ebyo ebiri mu kitabo ky’Oluyimba. Omuwala Omusulamu yali tayagala Sulemaani. Yatuuka n’okulayiza abawala ba Yerusaalemi ng’agamba nti: “Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, okutuusa we kunaayagalira.” (Lu. 2:7; 3:5) Lwaki yayogera ebigambo ebyo? Kubanga tekiba kituufu kutandika kwogerezaganya na muntu yenna gw’oba osanze. N’olwekyo, kiba kya magezi Omukristaayo ayagala okuwasa oba okufumbirwa okulindako okutuusa ng’afunye oyo gw’awulira nga ddala gw’ayagala.
12. Lwaki omuwala Omusulamu yali ayagala nnyo omusumba?
12 Lwaki omuwala Omusulamu yali ayagala nnyo omusumba? Kyo kituufu nti omusumba yali alabika bulungi, ng’alinga “empeewo”; ng’emikono gye migumu “ng’empeta eza zaabu”; era ng’amagulu ge malungi era nga ga maanyi “ng’empagi z’amayinja amanyirivu.” Naye okuba nti yali wa maanyi era ng’alabika bulungi si kye kyokka ekyaleetera omuwala oyo okumwagala. Omuwala oyo yagamba nti: ‘Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira, muganzi wange bw’atyo bw’ali mu balenzi.’ Okuba nti omuwala oyo eyali omwesigwa eri Yakuwa yayogera bw’atyo ku musumba oyo, kiraga nti omusumba oyo naye yali mwesigwa eri Yakuwa.—Lu. 2:3, 9; 5:14, 15.
13. Lwaki omusumba yali ayagala nnyo omuwala Omusulamu?
13 Ate lowooza ku muwala Omusulamu. Wadde nga yali alabika bulungi ne kiba nti yasikiriza ne kabaka mu kiseera ekyo eyalina “bakabaka abakazi nkaaga, n’abazaana kinaana, n’abawala abatamanyi musajja abatabalika,” omuwala Omusulamu yali yeetwala okuba ‘ng’ekimyula kya saloni,’ ng’ekyo kyali kimuli ekya bulijjo. Omuwala oyo yali mwetoowaze nnyo. Tekyewuunyisa nti omusumba yagamba nti omuwala oyo yali “ng’eddanga mu maggwa,” ekiraga nti yali wa njawulo nnyo! Omuwala oyo yali mwesigwa eri Yakuwa.—Lu. 2:1, 2; 6:8.
14. Kiki Abakristaayo abaagala okuwasa oba okufumbirwa kye bayigira ku musumba n’omuwala Omusulamu?
14 Ebyawandiikibwa biragira Abakristaayo okuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.” (1 Kol. 7:39) Omukristaayo ali obwannamunigina bw’aba anoonya ow’okufumbiriganwa naye, asaanidde kunoonya mu baweereza ba Yakuwa abeesigwa mwokka. Mu butuufu, omwami n’omukyala bwe baba ab’okubeera n’obufumbo obunywevu era obw’essanyu beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa era beetaaga okumwemalirako. Ebyo bye bimu ku bintu ebikulu ennyo omuntu by’asaanidde okunoonya mu oyo gw’ayagala okufumbiriganwa naye. Era ebyo bye bimu ku bintu omusumba n’omuwala Omusulamu buli omu bye yalaba mu munne.
‘MUGOLE WANGE ALINGA OLUSUKU OLWASIBIBWA’
15. Kiki Abakristaayo aboogerezeganya kye bayinza okuyigira ku muwala Omusulamu?
15 Soma Oluyimba 4:12. Lwaki omusumba yagamba nti omwagalwa we yalinga ‘olusuku olwasibibwa’? Olusuku oluliko ekikomera teruyingirwamu muntu yenna aba ayagadde okuluyingiramu. Omuwala Omusulamu yalinga olusuku olwo kubanga yali ayagala musumba yekka, eyali agenda okufuuka omwami we. Olw’okuba omuwala oyo yali ayagala kufumbirwa musumba, teyakkiriza kusendebwasendebwa kabaka era teyali mwetegefu kukyusa mu ekyo kye yali asazeewo. Bwe kityo, omuwala oyo yali nga “bbugwe,” so si ‘ng’oluggi’ olusobola okuggulwawo amangu. (Lu. 8:8-10) Mu ngeri y’emu, omusajja oba omukazi aba ateekateeka okuwasa oba okufumbirwa, okwagala kwe asaanidde kukukuumira oyo yekka gw’aba agenda okufumbiriganwa naye.
16. Ebyo ebiri mu kitabo ky’Oluyimba biyigiriza ki abo ababa boogerezeganya?
16 Lumu, omusumba bwe yasaba omuwala Omusulamu batambuleko bonna, bannyina b’omuwala oyo baamugaana. Mu kifo ky’ekyo, baamuwa emirimu egy’okukola mu nnimiro ey’emizabbibu. Lwaki tebaamukkiriza kutambula n’omusumba nga bali bokka? Kyandiba nti mwannyinaabwe baali tebamwesiga? Kyandiba nti baalowooza nti yalina ebigendererwa ebikyamu? Ekituufu kiri nti ekyo baakikola olw’okuba baali tebaagala mwannyinaabwe yeesange mu mbeera eyinza okumuviirako okukemebwa. (Lu. 1:6; 2:10-15) Ekyo kiyigiriza ki Abakristaayo aboogerezeganya? Abo aboogerezeganya basaanidde okukola kyonna ekisoboka okukakasa nti tebeeteeka mu mbeera eyinza okubaviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Basaanidde okwewala okubeera bokka awatali muntu yenna abalaba. Wadde nga tekiba kibi abantu aboogerezeganya okulagaŋŋana omukwano, ekyo basaanidde okukikola mu ngeri esaana.
17, 18. Okwekenneenya ebyo ebiri mu kitabo ky’Oluyimba kikuganyudde kitya?
17 Okutwalira awamu, omwami n’omukyala bwe baba baakafumbiriganwa, baba baagalana nnyo. Okuva bwe kiri nti Yakuwa Katonda ye yatandikawo enteekateeka y’obufumbo era ng’ayagala bubeere bwa lubeerera, omwami n’omukyala basaanidde okukola kyonna ekisoboka okusigala nga baagalana era n’okukakasa nti beeyongera okunyweza okwagala kwabwe.—Mak. 10:6-9.
18 Bw’oba oyagala omuntu ow’okufumbiriganwa naye, funa oyo gw’owulira nga ddala gw’oyagala era bw’omala okumufuna, ggwe ne munno mufube okunyweza okwagala kwammwe. Mu butuufu, ng’ekitabo ky’Oluyimba bwe kiraga, kisoboka omwami n’omukyala okuba n’okwagala okwa nnamaddala, kubanga okwagala ng’okwo kuva eri Yakuwa.—Lu. 8:6.
a Laba Watchtower eya Jjanwali 15, 2007, olupapula 31.
b Laba ekitundu ekiraga ebiri mu kitabo ky’Oluyimba mu New World Translation ku lupapula 926-927.