Essuubi ery’Obulamu Obutaggwawo ku Nsi Litegeerekeka Nate
“Naye ggwe, Danyeri, bikka ku bigambo . . . okutuusa ekiseera eky’enkomerero: bangi abaliddiŋŋana embiro, n’okumanya kulyeyongera.”—DAN. 12:4.
1, 2. Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
ABANTU bukadde na bukadde leero bategeera bulungi enjigiriza y’omu Byawandiikibwa egamba nti abantu bajja kubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. (Kub. 7:9, 17) Katonda bwe yatonda abantu abaasooka, yakiraga nti tebaali ba kufa, wabula nti baali ba kubeerawo emirembe gyonna.—Lub. 1:26-28.
2 Abaisiraeri baalina essuubi nti abantu bali bajja kufuuka abatuukiridde nga Adamu bwe yali nga tannayonoona. Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani binnyonnyola engeri Katonda gy’ajja okusobozesaamu abantu okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi. Kati olwo kijja kitya okuba nti essuubi lino lyaddamu buzzi okutegeerekeka? Lyategeerekeka litya era abantu obukadde n’obukadde baatuuka batya okulimanya?
Essuubi Erya Nnamaddala Likwekebwa
3. Lwaki tekyewuunyisa nti enjigiriza ekwata ku bulamu obutaggwawo ku nsi yakwekebwa?
3 Yesu yalagula nti bannabbi ab’obulimba bandikyusizzakyusizza ebintu bye yayigiriza era nti bandikyamizza bangi. (Mat. 24:11) Omutume Peetero yalabula Abakristaayo nti: ‘Wajja kubaawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe.’ (2 Peet. 2:1) Omutume Pawulo yayogera ku ‘kiseera abantu lwe batandigumiikirizza kuyigiriza kwa bulamu, era nti olw’okugoberera okwegomba kwabwe, bandyekuŋŋaanyirizza abayigiriza abababuulira ebyo bye baagala okuwulira.’ (2 Tim. 4:3, 4) Sitaani y’ali emabega w’okubuzaabuza abantu era akozesezza amadiini ga Kristendomu okukweka amazima agakwata ku kigendererwa kya Katonda eri ensi n’abantu.—Soma 2 Abakkolinso 4:3, 4.
4. Njigiriza ki abakulembeze b’eddiini za Kristendomu gye basambazze?
4 Ebyawandiikibwa binnyonnyola nti Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti ey’omu ggulu ejja okuzikiriza obufuzi bw’abantu bwonna. (Dan. 2:44) Mu kiseera ky’obufuzi bwa Kristo obw’emyaka olukumi, Sitaani ajja kusibirwa mu bunnya, abafu bazuukizibwe, era abantu ku nsi bafuulibwe abatuukiridde. (Kub. 20:1-3, 6, 12; 21:1-4) Kyokka, abakulembeze ba Kristendomu ebyo si bye bayigiriza. Ng’ekyokulabirako, Origen ow’e Alexandria eyaliwo mu kyasa eky’okusatu yavumirira abo abaali bakkiriza nti wandibaddewo Obufuzi obw’Emyaka Olukumi obwandireese emikisa ku nsi. Nga kyogera ku Augustine ow’e Hippo (354-430 E.E.) eyali omusomesa w’eddiini Omukatuliki, ekitabo ekiyitibwa The Catholic Encyclopedia kigamba nti, “yawagira endowooza nti tewajja kubaawo bufuzi bwa myaka lukumi.”a
5, 6. Lwaki Origen ne Augustine baawakanya enjigiriza ekwata ku bufuzi obw’emyaka olukumi?
5 Lwaki Origen ne Augustine baawakanya enjigiriza ekwata ku bufuzi obw’emyaka olukumi? Origen yali yayigirizibwa Clement ow’e Alexandria eyali akkiririza mu njigiriza y’Abayonaani egamba nti emmeeme tefa. Omusomesa w’eddiini ayitibwa Werner Jaeger agamba nti Origen yali akkiririza nnyo mu njigiriza za Plato ezikwata ku mmeeme, era nti “yayingiza mu Bukristaayo enjigiriza ekwata ku mmeeme, gye yaggya ku Plato.” Kino kyaviirako Origen okuyigiriza nti emikisa egyandireeteddwa Obufuzi obw’Emyaka Olukumi gyali gya kuba mu ggulu, so si ku nsi.
6 Nga tannakyuka kufuuka “Mukristaayo” ku myaka 33, Augustine yali akkiririza nnyo mu njigiriza za Plotinus ow’omu kyasa eky’okusatu, ng’enjigiriza ezo Plotinus yazikoppa ku Plato. Kyokka ne bwe yamala okukyuka, Augustine yasigala akyakkiririza mu njigiriza za Plotinus. Ekitabo ekiyitibwa The New Encyclopædia Britannica kigamba nti “ye yasingira ddala okugattika enjigiriza za Plato ez’Ekiyonaani n’enjigiriza z’Endagaano Empya.” Ekitabo ekiyitibwa The Catholic Encyclopedia kigamba nti Augustine yannyonnyola nti Obufuzi obw’Emyaka Olukumi obwogerwako mu Okubikkulirwa essuula 20 “bwali bwa kabonero.” Kigattako nti: “Ennyinnyonnyola eno . . . yawagirwa abasomesa b’eddiini ab’omu Bulaaya, era enjigiriza ekwata ku bufuzi obw’emyaka olukumi n’egenda ng’ebula mpolampola.”
7. Njigiriza ki enkyamu eyaleetera essuubi ly’abantu okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi okuseebengerera, era kino kyajja kitya?
7 Essuubi ly’abantu okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi lyagenda liseebengerera olw’enjigiriza egamba nti omuntu aba n’emmeeme, oba omwoyo ogutafa, eyatandikira mu Babulooni eky’edda n’ebuna ensi yonna. Enjigiriza eyo bwe yakkirizibwa mu Kristendomu, abakulembeze baayo baanyoolanyoola Ebyawandiikibwa ebyogera ku ssuubi ery’okufuna obulamu mu ggulu, birabike ng’ebigamba nti abantu abalungi bonna bagenda mu ggulu. Okusinziira ku njigiriza eyo, omuntu ku nsi amalako ekiseera kitono ng’agezesebwa obanga asaanidde okugenda mu ggulu. Ekintu ekyo kye kimu kyatuuka ku ssuubi Abayudaaya lye baalina ery’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi. Abayudaaya bwe baatandika okukkiririza mu njigiriza y’Ekiyonaani egamba nti emmeeme tefa, essuubi lye baalina ery’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi lyagenda liseebengerera. Kyokka yo Baibuli ky’eyigiriza kya njawulo nnyo. Eraga nti omuntu talina mmeeme oba omwoyo ogutafa. Yakuwa yagamba omuntu eyasooka nti: “Oli nfuufu ggwe.” (Lub. 3:19) Omuntu yatondebwa nga wa kubeera ku nsi olubeerera, so si mu ggulu.—Soma Zabbuli 104:5; 115:16.
Ekitangaala ky’Amazima Kyakira mu Kizikiza
8. Abeekenneenya ba Baibuli abamu ab’omu myaka gya 1600 baayogera ki ku ssuubi ly’abantu ery’ebiseera eby’omu maaso?
8 Wadde nga Sitaani akozesezza amadiini ageeyita Amakristaayo okuleetera abantu obutakkiriza nti wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi, tasobodde kukweka mazima. Okuviira ddala emabega, wabaddewo abantu abasoma Baibuli n’obwegendereza era ne batangaazibwa ku bintu ebimu ebikwata ku kigendererwa kya Katonda eky’okuyamba abantu okufuuka abatuukiridde. (Zab. 97:11; Mat. 7:13, 14; 13:37-39) Emyaka gya 1600 we gyatuukira, Baibuli yali emaze okuvvuunulwa n’okukubibwa mu kyapa, abantu bangi ne baba nga basobola okusoma Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Mu 1651, omwekenneenya wa Baibuli omu yawandiika nti okuva bwe kiri nti okuyitira mu Adamu abantu “baafiirwa Olusuku lwa Katonda n’Obulamu Obutaggwawo ku Nsi,” okuyitira mu Kristo “abantu bonna bajja kubeera ku Nsi; bwe kitaba kityo, okugeraageranya okwo tekuba na makulu.” (Soma 1 Abakkolinso 15:21, 22.) John Milton (1608-1674), omuwandiisi w’ebitontome eby’Olungereza eyali omwatiikirivu, yawandiika ekitabo ekiyitibwa Paradise Lost n’ekirala ekiyitibwa Paradise Regained. Mu bitabo ebyo, Milton yayogera ku mikisa abantu abeesigwa gye balifuna mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Wadde nga Milton ebiseera bye ebisinga yabimala yeekenneenya Baibuli, yakiraba nti amazima g’omu Byawandiikibwa teganditegeerekese bulungi okutuusa ng’ekiseera ky’okubeerawo kwa Kristo kitandise.
9, 10. (a) Isaac Newton yawandiika ki ku ssuubi lya bantu ery’ebiseera eby’omu maaso? (b) Newton yasinziira ku ki okugamba nti ekiseera ky’okubeerawo kwa Kristo kyali kikyali wala nnyo?
9 Munnasayansi ayitibwa Sir Isaac Newton (1642-1727) naye yettanira nnyo okusoma Baibuli. Yakitegeera nti abatukuvu bajja kuzuukizibwa bafugire wamu ne Kristo mu ggulu. (Kub. 5:9, 10) Ku abo abanaafugibwa Obwakabaka obwo yawandiika nti: “Ensi ejja kweyongera okubeerako abantu ng’olunaku lw’okusaliramu omusango luwedde. Tebajja kubeerako myaka lukumi gyokka wabula mirembe gyonna.”
10 Newton yakitegeera nti ekiseera ky’okubeerawo kwa Kristo kyali kikyali wala nnyo. Munnabyafaayo ayitibwa Stephen Snobelen yagamba nti: “Ensonga emu Newton kwe yasinziira okugamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwali bukyali wala nnyo kwe kuba nti enjigiriza za bakyewaggula abakkiririza mu Tiriniti zaali zisimbye nnyo amakanda.” Amawulire amalungi gaali gabuutikiddwa era Newton yali talabawo kibiina Kikristaayo kyali kiyinza kugabuulira. Yawandiika nti: “Obunnabbi bwa Danyeri era n’obwa Yokaana [obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa] tebulina kutegeerwa okutuusa ng’ekiseera eky’enkomerero kituuse.” Newton yannyonnyola nti: “Danyeri yagamba nti ‘bangi balidduka nga badda eno n’eri, era okumanya kulyeyongera.’ Kino kiri kityo kubanga Enjiri erina okubuulirwa mu mawanga gonna ng’ekibonyoobonyo ekinene n’enkomerero y’ensi tebinnajja. Ekibiina ky’abantu abakutte amatabi g’enkindu ekiyita mu kibonyoobonyo ekinene tekiyinza kubaamu bantu batamanyiddwa muwendo abava mu mawanga gonna, okuggyako nga basoose kubuulirwa Njiri ng’ekibonyoobonyo ekyo tekinnajja.”—Dan. 12:4; Mat. 24:14; Kub. 7:9, 10.
11. Lwaki abantu abasinga ab’omu kiseera kya Milton ne Newton baali tebamanyi nti wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi?
11 Mu kiseera Milton ne Newton we baabeererawo, kyali kya kabi nnyo okwogera ekintu kyonna ekikontana n’enjigiriza z’Ekikatuliki. N’olwekyo, bingi ku bye baazuula nga banoonyereza ku Baibuli tebyafulumizibwa okutuusa nga bamaze okufa. Mu kyasa ekya 16, bangi beekutula ku ddiini y’Ekikatuliki n’enjigiriza zaayo ezimu ne batandikawo amakanisa g’Ekiprotestanti. Naye era nabo baasigala bakyayigiriza nti emmeeme tefa, era n’okutuusa leero amakanisa ago gakyakkiririza mu njigiriza ya Augustine egamba nti ekiseera ky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi kyali kyatandika dda. Naye okumanya kweyongedde mu kiseera kino eky’enkomerero?
“Okumanya Kulyeyongera”
12. Okumanya kwali kwa kutandika ddi okweyongera?
12 Danyeri yalagula ku kintu ekirungi ekyandibaddewo mu ‘kiseera eky’enkomerero.’ (Soma Danyeri 12:3, 4, 9, 10.) Yesu yagamba nti: “Mu kiseera ekyo, abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba.” (Mat. 13:43) Okumanya kweyongera kutya mu kiseera eky’enkomerero? Lowooza ku ebyo ebyaliwo ng’omwaka 1914 tegunnatuuka, nga guno gwe mwaka ekiseera ky’enkomerero we kyatandikira.
13. Charles Taze Russell yawandiika ki oluvannyuma lw’okwekenneenya ebikwata ku bantu okufuulibwa abatuukiridde?
13 Ng’emyaka gya 1800 ginaatera okuggwako, abantu abawerako baatandika okunoonyereza ku biri mu Baibuli nga baagala okutegeera “ebigambo eby’obulamu.” (2 Tim. 1:13) Omu ku bo yali Charles Taze Russell. Mu 1870, ye ne banne abatonotono abaali banoonya amazima baatandika okusomera awamu Baibuli. Mu 1872, beekenneenya ebikwata ku bantu okufuulibwa abatuukiridde nga Adamu bwe yali mu kusooka. Oluvannyuma Russell yawandiika nti: “Twatuuka mu kiseera ekyo nga tetutegeera bulungi njawulo ey’amaanyi eri wakati w’empeera y’ekkanisa (ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta) kati egezesebwa n’empeera y’abantu abalala abeesigwa mu nsi.” Empeera abantu bonna okutwalira awamu gye bajja okuweebwa “bwe bulamu obutuukiridde nga jjajjaabwe Adamu bwe yalina mu Adeni.” Russell yagamba nti waliwo abantu abalala abaamuyambako mu kuyiga kwe okwa Baibuli. Baali baani abo?
14. (a) Henry Dunn yannyonnyola atya Ebikolwa 3:21? (b) Okusinziira ku Dunn, baani abajja okubeera ku nsi emirembe gyonna?
14 Omu ku bo yali Henry Dunn. Alina bye yali yawandiika ku kiseera ‘eky’okuzza obuggya ebintu byonna Katonda kye yayogerako ng’ayitira mu bannabbi be abatukuvu ab’edda.’ (Bik. 3:21) Dunn yali akimanyi nti ebintu okuzzibwa obuggya kijja kuzingiramu abantu okufuulibwa abatuukiridde mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Dunn era yaddamu ekibuuzo kino ekyali kibobbya ennyo abantu omutwe, Baani abalibeera ku nsi emirembe gyonna? Yannyonnyola nti abantu bukadde na bukadde bajja kuzuukizibwa bayigirizibwe amazima, era baweebwe akakisa okulaga nti bakkiririza mu Kristo.
15. Kiki George Storrs kye yategeera ku bikwata ku kuzuukira?
15 Mu 1870, George Storrs naye yakizuula nti abantu abatali batuukirivu bajja kuzuukizibwa baweebwe omukisa okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi. Era yakitegeera okuva mu Byawandiikibwa nti omuntu yenna anaazuukizibwa naye n’atakozesa bulungi mukisa ogwo “ajja kufa, ne bwe kiba nti ‘omubi oyo anaaba wa myaka kikumi.’” (Is. 65:20) Storrs yali abeera Brooklyn mu New York, era ye yali omukuŋŋaanya wa magazini eyali eyitibwa Bible Examiner.
16. Kiki ekyayawula ennyo Abayizi ba Baibuli ku madiini ga Kristendomu?
16 Russell yakitegeera okuva mu Baibuli nti ekiseera kyali kituuse amawulire amalungi gabuulirwe mu nsi yonna. Bw’atyo mu 1879 yatandika okukuba magazini eyayitibwanga Zion’s Watch Tower and Herald of Christ’s Presence, kati eyitibwa The Watchtower Announcing Jehovah’s Kingdom. Nga kino tekinnabaawo, abantu batono nnyo abaali bamanyi nti wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi, naye kati Abayizi ba Baibuli mu nsi nnyingi baali bafuna magazini eyo, The Watchtower, era nga bagisoma. Okuyigiriza nti abantu batono abajja okugenda mu ggulu, era nti n’abalala bukadde na bukadde bajja kuweebwa obulamu obutuukiridde ku nsi kyayawula Abayizi ba Baibuli ku madiini ga Kristendomu agasinga obungi.
17. Okumanya kweyongera kutya?
17 “Ekiseera eky’enkomerero” ekyayogerwako mu bunnabbi kyatandika mu 1914. Naye okumanya okukwata ku ssuubi ly’obulamu obutaggwawo kweyongera? (Dan. 12:4) Omwaka 1913 we gwatuukira ng’ebintu Russell by’ayigiriza bifulumira mu mpapula z’amawulire 2,000, era nga bisomebwa abantu nga 15,000,000. Omwaka 1914 gwagenda okuggwako ng’abantu abasukka mu 9,000,000 mu nsi ezitali zimu bamaze okulaba firimu eyitibwa “Photo-Drama of Creation,” eyali ennyonnyola Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Lukumi. Okuva mu 1918 okutuusa mu 1925, abaweereza ba Yakuwa baawa emboozi eyalina omutwe ogugamba, “Abantu Bukadde na Bukadde Abaliwo Kati Tebalifa,” era essuubi ly’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi baalinnyonnyola mu nnimi ezisukka mu 30 okwetooloola ensi. Omwaka 1934 we gwatuukira, Abajulirwa ba Yakuwa baali bakitegedde nti abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna balina okubatizibwa. Okutegeera kino kyabaleetera okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Leero, abantu bangi basanyufu nnyo olw’essuubi Yakuwa lye yabawa ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna.
“Eddembe ery’Ekitiibwa” Liri mu Maaso!
18, 19. Okusinziira ku Isaaya 65:21-25, obulamu bunaaba butya ku nsi?
18 Nnabbi Isaaya yaluŋŋamizibwa okuwandiika ku bulamu abaweereza ba Katonda bwe bajja okunyumirwa ku nsi. (Soma Isaaya 65:21-25.) Emiti egimu egyaliwo nga Isaaya awandiika ebigambo ebyo emyaka nga 2,700 emabega na kati gikyaliwo. Teebeerezaamu okubaawo ebbanga eryo lyonna ng’oli mulamu bulungi era ng’olina amaanyi!
19 Obulamu tebujja kuba bwa kiseera buseera wabula bujja kuba bwa lubeerera, era abantu bajja kuzimba, balime era bayige buli kye baagala. Lowooza ku mikwano gy’ojja okuba nagyo ate nga gya lubeerera. ‘Ng’abaana ba Katonda’ bajja kunyumirwa “eddembe ery’ekitiibwa” ku nsi!—Bar. 8:21.
[Obugambo obuli wansi]
a Augustine yagamba nti Obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda obw’Emyaka Olukumi bwali bwatandika dda ng’Obukatuliki butandikibwawo, so tebwali bwa kujja mu biseera bya mu maaso.
Osobola Okunnyonnyola?
• Essuubi ly’obulamu obutaggwawo ku nsi lyakwekebwa litya?
• Bintu ki abasomi ba Baibuli abamu bye baategeera mu myaka gya 1600?
• Essuubi ly’obulamu obutaggwawo ku nsi lyategeerekeka litya ng’omwaka 1914 gunaatera okutuuka?
• Okumanya okukwata ku ssuubi ly’obulamu obutaggwawo ku nsi kweyongedde kutya?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Omuwandiisi w’ebitontome John Milton (ku kkono) ne munnasayansi Isaac Newton (ku ddyo) baali bamanyi nti abantu bajja kufuna obulamu obutaggwawo ku nsi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Abayizi ba Baibuli baakitegeera okuva mu Byawandiikibwa nti ekiseera kyali kituuse okubuulira abantu mu nsi yonna ebikwata ku ssuubi ly’obulamu obutaggwawo ku nsi