Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu Okuva mu Kitabo kya Ezeekyeri—I
OMWAKA gwali 613 B.C.E. Nnabbi Yeremiya ali mu Yuda, alangirira n’obuvumu nti Yerusaalemi kiri kumpi okuzikirizibwa ne Yuda alekebwe amatongo. Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni amaze okutwala Abayudaaya bangi mu buwambe. Mu bano nga mwe muli Danyeri ne banne basatu, abaweereza mu lubiri lw’Abakaludaaya. Abayudaaya abasinga obungi babeera kumpi n’omugga Kebali “mu nsi ey’Abakaludaaya.” (Ezeekyeri 1:1-3) Yakuwa Katonda taleka bawambe abo nga tebalina mubaka. Alonda Ezeekyeri ow’emyaka 30 okuba nnabbi.
Ekitabo kya Ezeekyeri ekyamalirizibwa mu 591 B.C.E., ebikirimu byaliwo mu kiseera kya myaka 22. Ezeekyeri awandiikira ddala ebintu nga bwe byaliwo. Alaga olunaku, omwezi n’omwaka mw’aweera obunnabbi bwe. Ekitundu ekisooka eky’obubaka bwa Ezeekyeri kisinga kwogera ku kugwa n’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Ekitundu eky’okubiri kirimu emisango eri amawanga agetooloodde Isiraeri, ate ekitundu ekisembayo kikwata ku kuzzibwawo kw’okusinza kwa Yakuwa. Ekitundu kino bye kinokolayo biva mu Ezeekyeri 1:1–24:27, omuli okwolesebwa, obunnabbi, n’okulaga ebyokulabirako ebikwata ku ebyo ebyali bigenda okutuuka ku Yerusaalemi.
“NKUFUDDE OMUKUUMI”
Oluvannyuma lw’okuweebwa okwolesebwa okukwata ku ntebe ya Yakuwa ey’Obwakabaka, Ezeekyeri aweebwa omulimu gw’okuweereza nga nnabbi. Yakuwa amugamba nti: “Nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo eky’omu kamwa kange, obawe okulabula okuva gye ndi.” (Ezeekyeri 3:17) Okusobola okuwa obunnabbi obukwata ku kuzingizibwa kwa Yerusaalemi n’ebyavaamu, Ezeekyeri alagirwa okuwa ebyokulabirako bibiri. Ng’ayitira mu Ezeekyeri Yakuwa agamba Yuda nti: “Laba, nze, nze mwene, ndibaleetako ekitala, era ndizikiriza ebifo byammwe ebigulumivu.” (Ezeekyeri 6:3) Agamba abantu b’omu Yuda nti: “Omusango gwo gutuuse gy’oli.”—Ezeekyeri 7:7.
Mu 612 B.C.E., mu kwolesebwa Ezeekyeri atwalibwa e Yerusaalemi. Alaba ebintu ebibi ennyo nga bikolebwa mu yeekaalu ya Katonda! Yakuwa bw’anaasindika eggye lye ery’omu ggulu (erikiikirirwa “abasajja mukaaga”) okulaga obusungu bwe eri bakyewaggula, abo bokka abana ‘akabonero ku kyenyi’ kyabwe be bajja okuwonawo. (Ezeekyeri 9:2-6) Kyokka, okusooka, “amanda agakoledde omuliro”—obubaka bwa Katonda obukwata ku kuzikiriza—galina okumansulibwa ku kibuga. (Ezeekyeri 10:2, NW) Wadde nga ‘Yakuwa ajja kuleeta ekkubo lyabwe ku mitwe gyabwe,’ asuubiza okuddamu okukuŋŋaanya Abaisiraeri abaasaasaanyizibwa.—Ezeekyeri 11:17-21.
Omwoyo gwa Katonda gukomyawo Ezeekyeri e Kaludaaya. Ekyokulabirako ekiweebwa kiraga nga Kabaka Zeddekiya n’abantu badduka okuva mu Yerusaalemi. Bannabbi ab’obulimba abasajja n’abakazi banenyezebwa nnyo. Abasinza ebifaananyi bagaanibwa. Yuda ageraageranyizibwa ku muzabbibu ogutalina mugaso. Olugero lw’empungu n’omuzabbibu lulaga ebizibu eby’amaanyi ebyandivuddemu singa Yerusaalemi kisaba Misiri okukiwa obuyambi. Olugero lukomekkereza nga lusuubiza nti ‘Yakuwa ajja kunoga esanso eggonvu alisimbe ku lusozi oluwanvu.’ (Ezeekyeri 17:22) Kyokka mu Yuda ‘temujja kuba muggo gw’obwakabaka ogw’okufuga.’—Ezeekyeri 19:14.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:4-28—Eggaali ery’omu ggulu likiikirira ki? Eggaali likiikirira ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa eky’ebitonde ebyesigwa eby’omwoyo. Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwe gugiwa amaanyi. Omuvuzi w’eggaali, akiikirira Yakuwa, wa kitiibwa kya waggulu nnyo. Akabonero ka musoke kalaga nti mukkakkamu.
1:5-11—Ebiramu ebina bikiikirira ki? Mu kwolesebwa kwe okw’okubiri okw’eggaali, Ezeekyeri alaga nti ebiramu ebina baali bakerubi. (Ezeekyeri 10:1-11; 11:22) Mu kunnyonnyola okuddirira obwenyi bw’ente abuyita “obwenyi bwa kerubi.” (Ezeekyeri 10:14) Kino kituukirawo kubanga ente ekiikirira amaanyi, era bakerubi bitonde eby’omwoyo eby’amaanyi.
2:6—Lwaki Ezeekyeri enfunda n’enfunda ayitibwa “omwana w’omuntu”? Yakuwa ayita Ezeekyeri bw’ati okujjukiza nnabbi oyo nti yali muntu, bw’atyo n’akiraga bulungi nti waliwo enjawulo ya maanyi wakati wa Katonda, Ensibuko y’obubaka, n’omuntu akola ng’omubaka. Yesu Kristo naye mu Njiri ayitibwa bw’atyo emirundi nga 80, ne kiba nga kyeyoleka bulungi nti Omwana wa Katonda yali muntu, so si nti omwoyo gwe gwali gwambadde ekifaananyi eky’omuntu.
2:9–3:3—Lwaki omuzingo gw’ekitabo ogwalimu okukungubaga n’okukuba ebiwoobe gwawoomera Ezeekyeri? Ekyaleetera omuzingo gw’ekitabo okuwoomera Ezeekyeri kyava ku ngeri gye yatwalamu omulimu ogwamuweebwa. Ezeekyeri yasanyuka Yakuwa okumulonda okuweereza nga nnabbi.
4:1-17—Ddala Ezeekyeri yalaga engeri yennyini Yerusaalemi gye kyali kigenda okuzingizibwamu? Eky’okuba nti Ezeekyeri yasaba Yakuwa amukkirize akyuseemu afumbise obusa bw’ente kiraga nti ddala nnabbi yalaga bwe kyali kigenda okuba. Yeebakira ku luuyi olwa kkono olw’ebibi by’obwakabaka obw’ebika ekkumi eby’emyaka 390—okuva lwe bwatandika mu 997 B.C.E. okutuusa ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi mu 607 B.C.E. Ate ne yeebakira ku luuyi olwa ddyo olw’ekibi kya Yuda eky’emyaka 40, okuva mu 647 B.C.E. Yeremiya lwe yalondebwa okuba nnabbi, okutuuka mu 607 B.C.E. Mu kiseera ekyo kyonna eky’ennaku 430, Ezeekyeri yalyanga emmere ntono nnyo era n’amazzi matono nnyo, mu ngeri ey’obunnabbi okulaga nti wandibaddewo enjala nga Yerusaalemi kizingiziddwa.
5:1-3—Ezeekyeri okusiba mu kirenge kye ezimu ku nviiri ze yali agenda okusaasaanyiza eri empewo kyalina makulu ki? Kino kyali kiraga nti ensigalira bandizzeeyo e Yuda ne bazzaawo okusinza okw’amazima oluvannyuma lw’okumala emyaka 70 nsanvu ng’ali matongo.—Ezeekyeri 11:17-20.
17:1-24—Empungu ebbiri ennene be baani, amasanso g’omuvule amato gaanogebwa mu ngeri ki, era “erimu eggonvu” Yakuwa ly’atwala n’asimba lye liruwa? Empungu ebbiri zikiikirira abafuzi ba Babulooni ne Misiri. Empungu esooka ejja waggulu w’omuvule, kwe kugamba eri kabaka ow’omu lulyo lwa Dawudi olulangira. Empungu eno enoga amasanso amato ku muti ng’eggya Kabaka Yekoyakini owa Yuda ku ntebe n’ezzaako Zeddekiya. Wadde nga yali alayidde okuba omwesigwa, Zeddekiya asaba empungu ey’okubiri, omufuzi wa Misiri, okumuyamba, naye tafuna buyambi bw’ayagala. Ajja kutwalibwa e Babulooni mu buwambe era afiire eyo. Ne Yakuwa anoga essanso “erimu eggonvu,” Kabaka Masiya. Ono asimbibwa ku “lusozi oluwanvu olugulumivu,” Olusozi Sayuuni olw’omu ggulu, gy’ajja okufuukira “omuvule omulungi,” ekijja okuviiramu ensi emikisa egy’olubeerera.—Okubikkulirwa 14:1.
Bye Tuyigamu:
2:6-8; 3:8, 9, 18-21. Tetusaanidde kutya babi oba okulekayo okulangirira obubaka bwa Katonda, obuzingiramu okubalabula. Be tubuulira bwe baba tebeefiirayo oba bwe tuba tuziyizibwa, twetaaga okuba abagumu ng’ejjinja. Kyokka, tulina okwegendereza obutaba bakambwe oba abatalumirirwa balala. Yesu yakwatirwa ekisa abantu be yali abuulira, era naffe tusaanidde okukwatirwa abalala ekisa.—Matayo 9:36.
3:15, NW. Oluvannyuma lw’okuweebwa omulimu gw’obwannabbi, Ezeekyeri yabeera mu Terabibu, ‘n’amala ennaku musanvu nga yeewuunya’ ng’afumiitiriza ku bubaka bwe yali agenda okulangirira. Tetwanditutte ekiseera okusoma n’okufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo eby’omunda?
4:1–5:4. Kyali kyetaagisa Ezeekyeri okuba omuwombeefu era nga muvumu okusobola okuwa ebyokulabirako ebibiri eby’obunnabbi. Naffe tuteekwa okuba abawombeefu era abavumu nga tukola omulimu Katonda gw’atuwadde.
7:4, 9; 8:18; 9:5, 10. Tetusaanidde kusaasira oba okukwatirwa kisa abo Katonda b’asalira omusango.
7:19. Yakuwa bw’anaaba azikiriza omulembe guno omubi, ssente tezijja kuba na mugaso gwonna.
8:5-18. Obwakyewaggula bwonoona embeera y’omuntu ey’eby’omwoyo. “[Kyewaggula] azikiriza munne n’akamwa ke.” (Engero 11:9) Kya magezi okwewala bakyewaggula era tetusaanidde wadde okubawuliriza.
9:3-6. Okufuna akabonero—kiraga nti tuli baweereza ba Katonda abawaddeyo era ababatize era nti tulina engeri z’Ekikristaayo—kikulu okusobola okuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Matayo 24:21) Abakristaayo abaafukibwako amafuta, abakiikirirwa omusajja alina ekikompe kya bwino, bawoma omutwe mu kukola omulimu gw’okuteeka akabonero ku byenyi by’abantu, kwe kugamba, omulimu gw’okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa. Bwe tuba twagala okusigaza akabonero kaffe, tuteekwa okufuba ennyo okubayamba nga bakola omulimu guno.
12:26-28. N’abo abaali tebatwala bubaka buno nga kikulu, Ezeekyeri yali wa kubagamba nti: “Tewaliba ku bigambo [bya Yakuwa] ekirirwisibwa nate.” Tuteekwa okufuba okuyamba abalala okussa obwesige bwabwe mu Yakuwa nga tannaleeta nkomerero ya mulembe guno omubi.
14:12-23. Buli omu ku ffe alina okukolerera obulokozi bwe. Tewali ayinza kukitukolera.—Abaruumi 14:12.
18:1-29. Tuvunaanyizibwa ku ebyo ebiva mu bikolwa byaffe.
“NDIKIVUUNIKA, NDIKIVUUNIKA, NDIKIVUUNIKA”
Mu 611 B.C.E., nga gye myaka omusanvu oluvannyuma lw’okutwalibwa mu buwaŋŋanguse, abakadde ba Isiraeri bajja eri Ezeekyeri “okubuuza Mukama.” Ababuulira ebyafaayo bingi ebikwata ku bujeemu bwa Isiraeri era abalabula nti ‘Yakuwa ajja kubasowolerayo ekitala kye.’ (Ezeekyeri 20:1; 21:3) Yakuwa agamba omukulu wa Isiraeri (Zeddekiya), nti: “Ggyawo enkufiira otikkuleko engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo: gulumiza ebikkakkanye, ebigulumizibwa. Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika: so n’ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo [Yesu Kristo] lw’alijja, era ndikimuwa.”—Ezeekyeri 21:26, 27.
Yerusaalemi kivunaanibwa omusango. Ekibi kya Okola (Isiraeri) ne kya Okoliba (Yuda) byanikibwa. Okola amaze okuweebwayo “mu mukono gw’abaganzi be, mu mukono gw’Abaasuli be yasuusuuta.” (Ezeekyeri 23:9) Okuzikirizibwa kwa Okoliba kuli kumpi. Mu 609 B.C.E., emyezi 18 egy’okuzingiza kwa Yerusaalemi gitandika. Ekibuga bwe kimala okugwa, Abayudaaya kijja kubakuba etiisa n’agakungubaga gababule. Ezeekyeri talina kwogera bubaka bwa Katonda eri abo abaatwalibwa mu buwanganguse okutuusa ng’amaze okufuna amawulire agakwata ku kuzikirizibwa kw’ekibuga okuva eri oyo “awonyewo.”—Ezeekyeri 24:26, 27.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
21:3—“Ekitala” Yakuwa ky’asowolayo kye kiruwa? “Ekitala” Yakuwa ky’akozesa okusa mu nkola omusango gwe ku Yerusaalemi ne Yuda ye Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni n’eggye lye. Kiyinza era okuzingiramu n’ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Katonda ekirimu ebitonde eby’omwoyo eby’amaanyi.
24:6-14—Obutalagge obuli mu ssufuliya efumba bukiikirira ki? Yerusaalemi nga kizingiziddwa kifaananyirizibwa ku ssufuliya efumba ey’omumwa omugazi. Obutalagge bwayo bukiikirira obwonoonefu mu mpisa obw’ekibuga—empitambi, obukaba, n’okuyiwa omusaayi, bye kivunaanibwa. Obutali bulongoofu bwakyo bungi nnyo okufaananako obutalagge obugaanira mu ssufuliya enkalu eteekeddwa ku kyoto omuli omuliro omungi ennyo.
Bye Tuyigamu:
20:1, 49. Engeri abakadde b’omu Isiraeri gye batwalamu ebigambo bya Ezeekyeri eraga nti baali babuusabuusa bye yali ayogedde. Tusaanidde okwewala okubuusabuusa okulabula Katonda kw’atuwa.
21:18-22. Wadde nga Nebukadduneeza yakozesa eby’obulaguzi, Yakuwa ye yaleetera omufuzi ono omukaafiiri okulumba Yerusaalemi. Kino kiraga nti ne badayimooni tebasobola kulemesa abo Yakuwa baba asazeewo okukozesa okussa mu nkola omusango gw’aba asaze.
22:6-16. Yakuwa akyawa okuwaayiriza, obukaba, okukozesa obubi obuyinza, n’okulya enguzi. Tusaanidde okuba abamalirivu okwewala ebintu ng’ebyo ebibi.
23:5-49. Okukola omukago n’amawanga amalala kyaleetera Isiraeri ne Yuda okwenyigira mu kusinza okw’obulimba. Ka twewale okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu b’ensi ekiyinza okwonoona okukkiriza kwaffe.—Yakobo 4:4.
Obubaka Obulamu era Obulina Amaanyi
Essuula 24 ez’ekitabo kya Ezeekyeri nga zirimu eby’okuyiga bingi! Emisingi egirimu giraga ekiviirako omuntu okufiirwa enkolagana ye ne Katonda, engeri gye tuyinza okulaga ekisa, n’ensonga lwaki tusaanidde okulabula ababi. Obunnabbi obukwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi bulaga bulungi nti Yakuwa ye Katonda ‘abuulira abantu be ebitannaba kulabika.’—Isaaya 42:9.
Obunnabbi ng’obwo obuli mu Ezeekyeri 17:22-24 ne mu 21:26, 27 bwali busonga ku kussibwawo kw’Obwakabaka bwa Masiya mu ggulu. Mu kiseera ekitali kya wala, obufuzi obwo bujja kusobozesa ekigendererwa kya Katonda ku nsi okutuukirira. (Matayo 6:9, 10) Nga tulina okukkiriza okw’amaanyi tusobola okwesunga okufuna emikisa gy’Obwakabaka. Yee, “ekigambo kya Katonda kiramu era kikozi.”—Abaebbulaniya 4:12.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Eggaali ery’omu ggulu likiikirira ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Bwe tuba abanyikivu mu buweereza kituyamba okusigaza “akabonero” kaffe