ESSOMO 32
Obwakabaka bwa Katonda Kati Bufuga!
Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu ggulu mu mwaka gwa 1914. Era mu mwaka ogwo, ennaku ez’enkomerero ez’obufuzi bw’abantu lwe zaatandika. Ekyo tukimanya tutya? Ka tulabe ebyayogerwa mu bunnabbi bwa Bayibuli ebizze bibaawo mu nsi okuva mu 1914 era n’engeri abantu gye bazze beeyisaamu okuva mu mwaka ogwo.
1. Kiki obunnabbi bwa Bayibuli kye bulaga?
Ekitabo kya Danyeri kyalaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwanditandise okufuga ku nkomerero ‘y’ebiseera omusanvu.’ (Danyeri 4:16, 17) Nga wayiseewo emyaka mingi, Yesu bwe yali ayogera ku kiseera ekyo, yakiyita “ebiseera ebigereke eby’amawanga,” era n’alaga nti ekiseera ekyo kyali tekinnaggwaako. (Lukka 21:24) Nga bwe tugenda okulaba, ebiseera omusanvu byaggwaako mu 1914.
2. Biki ebibaddewo mu nsi, era abantu babadde beeyisa batya okuva mu 1914?
Abayigirizwa ba Yesu baamubuuza nti: “Kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo, n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu?” (Matayo 24:3) Bwe yali abaddamu, Yesu yababuulira ebintu bingi ebyandibaddewo ng’atandise okufuga mu ggulu nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Ebimu ku bintu ebyo mwe muli entalo, enjala, ne musisi. (Soma Matayo 24:7.) Ate era Bayibuli yakiraga nti enneeyisa y’abantu mu “nnaku ez’enkomerero” yandifudde obulamu okuba ‘obuzibu ennyo.’ (2 Timoseewo 3:1-5) Embeera mu nsi n’enneeyisa y’abantu byeyongedde okuba ebibi okuva mu 1914.
3. Lwaki embeera mu nsi yeeyongera okwonooneka okuva Obwakabaka bwa Katonda lwe bwatandika okufuga?
Yesu bwe yali yaakafuuka Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, waaliwo olutalo mu ggulu. Yesu yalwanyisa Sitaani ne badayimooni. Sitaani yawangulwa mu lutalo olwo. Era Bayibuli egamba nti ‘yasuulibwa ku nsi ne bamalayika be.’ (Okubikkulirwa 12:9, 10, 12) Sitaani alina obusungu bungi kubanga akimanyi nti ajja kuzikirizibwa. Eyo ye nsonga lwaki aleeseewo obulumi n’okubonaabona mu nsi yonna. Ekyo kituyamba okumanya ensonga lwaki waliwo ebizibu bingi mu nsi! Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuggyawo ebizibu bino byonna ebiriwo mu nsi.
YIGA EBISINGAWO
Weetegereze obukakafu obulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu 1914 era n’engeri gye tukwatibwako.
4. Obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu 1914
Katonda yaleetera Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni okuloota ekirooto ekiraga ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. Engeri nnabbi Danyeri gye yannyonnyolamu ekirooto ekyo, eraga nti kyali kikwata ku bufuzi bwa Nebukadduneeza era ne ku bufuzi bwa Katonda.—Soma Danyeri 4:17.a
Soma Danyeri 4:20-26, oluvannyuma okozese ebiri wansi w’omutwe, “Engeri Ekirooto Ekikwata ku Muti Gye Kikwata ku Bwakabaka bwa Katonda” okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
(A) Kiki Nebukadduneeza kye yalaba mu kirooto?—Laba olunyiriri 20 ne 21.
(B) Kiki ekyandituuse ku muti?—Laba olunyiriri 23.
(C) Kiki ekyandibaddewo oluvannyuma ‘lw’ebiseera omusanvu’?—Laba olunyiriri 26.
Engeri Ekirooto Ekikwata ku Muti Gye Kikwata ku Bwakabaka bwa Katonda
OBUNNABBI (Danyeri 4:20-36)
Obufuzi
(A) Omuti omunene era omuwanvu
Obufuzi buyimiriramu okumala ekiseera
(B) “Muteme omuti,” era muleke ‘ebiseera musanvu biyitewo’
Obufuzi buzzibwawo
(C) “Obwakabaka bwo bulikuddizibwa”
Mu kutuukirizibwa okwasooka okw’obunnabbi buno . . .
(D) Omuti gwali gukiikirira ani?—Laba olunyiriri 22.
(E) Obufuzi bwe bwayimiriramu butya okumala ekiseera?—Soma Danyeri 4:29-33.
(F) Kiki ekyatuuka ku Nebukadduneeza ku nkomerero ‘y’ebiseera omusanvu’?—Soma Danyeri 4:34-36.
OKUTUUKIRIZIBWA OKWASOOKA
Obufuzi
(D) Nebukadduneeza, Kabaka wa Babulooni
Obufuzi buyimiriramu okumala ekiseera
(E) Oluvannyuma lwa 606 E.E.T., Nebukadduneeza yagwa eddalu era n’aba nga tasobola kufuga okumala emyaka musanvu
Obufuzi buzzibwawo
(F) Nebukadduneeza yatereera n’addamu okufuga
Mu kutuukirizibwa okw’okubiri okw’obunnabbi buno . . .
(G) Omuti gukiikirira baani?—Soma 1 Ebyomumirembe 29:23.
(H) Obufuzi bwabwe bwakoma ddi? Tumanya tutya nti obufuzi obwo tebwaliwo mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi?—Soma Lukka 21:24.
(I) Obufuzi obwo bwazzibwawo ddi era ludda wa?
OKUTUUKIRIZIBWA OKW’OKUBIRI
Obufuzi
(G) Bakabaka ba Isirayiri abaakiikiriranga obufuzi bwa Katonda
Obufuzi buyimiriramu okumala ekiseera
(H) Yerusaalemi kizikirizibwa, era olunyiriri lwa bakabaka ba Isirayiri ne luba nga terukyaliwo okumala emyaka 2,520
Obufuzi buzzibwawo
(I) Yesu atandika okufuga mu ggulu nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda
Ebiseera omusanvu byenkana wa?
Ebyawandiikibwa ebimu mu Bayibuli bituyamba okutegeera ebyawandiikibwa ebirala. Ng’ekyokulabirako, ekitabo ky’Okubikkulirwa kigamba nti ebiseera bisatu nʼekitundu byenkana ennaku 1,260. (Okubikkulirwa 12:6, 14) Ebiseera bisatu n’ekitundu bw’obikubisaamu emirundi ebiri ofuna ebiseera musanvu, oba ennaku 2,520. Emirundi egimu mu Bayibuli ekigambo “olunaku” kiba kikiikirira omwaka. (Ezeekyeri 4:6) Bwe kityo bwe kiri ne ku biseera omusanvu ebyogerwako mu kitabo kya Danyeri. Ebiseera ebyo bikiikirira emyaka 2,520.
5. Ensi ekyuse nnyo okuva mu 1914
Yesu yayogera ku bintu ebyandibaddewo mu nsi ng’afuuse Kabaka. Soma Lukka 21:9-11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Ku bintu ebyo, biruwa bye wali olabyeko oba bye wali owuliddeko?
Omutume Pawulo yayogera ku ngeri abantu gye bandyeyisizzaamu ng’obufuzi bw’abantu bunaatera okuggibwawo. Soma 2 Timoseewo 3:1-5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Ebyo by’osomye mu nnyiriri ezo bikwatagana bitya nʼenneeyisa y’abantu leero?
6. Okuba nti Obwakabaka bwa Katonda bufuga, kisaanidde kutukwatako kitya?
Soma Matayo 24:3, 14, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Mulimu ki omukulu ogukolebwa leero ogulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bufuga?
Oyinza otya okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu ogwo?
Obwakabaka bwa Katonda kati bufuga, era mu kiseera ekitali kya wala bujja kufuga ensi yonna. Soma Abebbulaniya 10:24, 25, era oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Kiki buli omu ku ffe ky’asaanidde okukola ‘naddala nga bwe tulaba nti olunaku lusembedde’?
OMUNTU AYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bagamba nti omwaka 1914 mukulu nnyo?”
Wandizzeemu otya?
MU BUFUNZE
Obunnabbi obuli mu Bayibuli n’ebiriwo mu nsi bikakasa nti Obwakabaka bwa Katonda kati bufuga. Bwe tubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka obwo era ne tubangawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa, tuba tukiraga nti tukkiriza nti bufuga.
Okwejjukanya
Kiki ekyaliwo ku nkomerero y’ebiseera omusanvu ebyogerwako mu kitabo kya Danyeri?
Kiki ekikukakasa nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu 1914?
Oyinza otya okukiraga nti okkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bufuga kati?
LABA EBISINGAWO
Laba ebyo bannabyafaayo n’abantu abalala bye boogera ku nkyukakyuka ezibaddewo mu nsi okuva mu 1914.
“Empisa z’Abantu Lwe Zaatandika Okwonooneka Ennyo” (Awake!, Apuli 2007)
Soma ku ngeri obunnabbi obuli mu Matayo 24:14 gye bwakwata ku bulamu bw’omusajja omu.
“Nnali Njagala Nnyo Omuzannyo gwa Baseball!” (Omunaala gw’Omukuumi Na. 3 2017)
Tumanya tutya nti obunnabbi obuli mu Danyeri essuula 4 bukwata ku Bwakabaka bwa Katonda?
Kiki ekiraga nti “ebiseera omusanvu” ebyogerwako mu Danyeri essuula 4 byakoma mu 1914?
a Laba ebitundu ebibiri ebisembayo wansi w’omutwe, Laba Ebisingawo, mu ssomo lino.