Essuula 7
Okuzikirizibwa kw’Ensi Okwalagulibwa Kulijja Ddi?
1. Kigendererwa ki ekikulu Katonda ky’alina ku lw’abantu?
NGA KYANDIBADDE kirungi ddala okulaba nga entalo, obumenyi bw’amateeka, n’okwonoonebwa kw’embeera y’ensi nga biggiddwawo! Nga kyandibadde kya ssanyu okubeera wansi w’obufuzi obutuukirivu ddala, awandisobodde okubeera obutebenkevu obujjuvu obw’omuntu ku bubwe era n’eri ab’omu maka ge! Baibuli eraga nti Katonda ajja kusobozesa ebintu bino okubaawo. Naye ddi?
2. (a) “Olunaku lwa [Yakuwa, NW]” bwe lunajja, baani abanaakwatibwa nga tebategedde? (b) Tuyinza tutya okwewala ekyo okututuukako?
2 Ebikwata ku kuzikirizibwa kw’ensi okukubira Enteekateeka Empya eya Katonda ekkubo, omutume Pawulo agamba nti: “Olunaku lwa [Yakuwa, NW] lujja ng’omubbi ekiro.” Agattako nti: “Naye mmwe, ab’oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng’omubbi.” (1 Abasessalonika 5:2, 4) Kale nno “olunaku lwa [Yakuwa, NW]” bwe lunaatuuka, abo abalemwa okugondera okulabulwa bajja kuba ng’ensolo ezikwatiddwa amangu mu mutego. Naye ekyo si kye kiteekwa okukutuukako. Ng’ekyawandiikibwa bwe kitegeeza, waliwo abantu ‘abatali mu kizikiza.’ Kino kiri lwa kuba nti banoonyereza era ne bassaayo omwoyo ku ebyo Ekigambo kya Katonda bye kyogera ku biseera byaffe.—Lukka 21:34-36.
3, 4. (a) Amakulu g’ebintu eby’okuba mu kyasa eky’amakumi abiri gannyonnyolerwa wa? (b) Nsonga ki enkulu etaano eziragibwa mu bunnabbi bwa Baibuli ze tugenda okwetegereza?
3 Baibuli etegeeza bulungi eby’okuba mu kyasa kino eky’amakumi abiri. Naye yakola kino ng’ekyabulayo emyaka ng’enkumi bbiri! Wadde ng’ebibaddewo bingi ku bwabyo bimanyiddwa nnyo, Baibuli yokka y’ennyonnyola amakulu gaabyo mu bujjuvu.
4 Ebigambo by’obunnabbi mu Baibuli ebikwata ku kiseera kyaffe bitegeeza ebintu bino: (1) Omwaka gwennyini Katonda mwe yandiweeredde ‘obwakabaka bw’abantu’ eri ‘oyo gw’ayagala okubuwa.’ (2) Ebintu eby’amaanyi ebyandibaddewo mu kiseera ekimanyiddwa nga “amavannyuma g’embeera z’ebintu.” (3) Eby’okubaawo mu ddiini eby’enkukunala mu kiseera ekyo. (4) Okuwonawo kw’abamu ab’omulembe ogwalaba entandikwa ya “amavannyuma g’embeera z’ebintu.” (5) Ekintu eky’enjawulo eky’okubaawo mu nsonga z’ensi eky’okuba ng’akabonero akasembayo okulaga nti okuzikirizibwa kw’ensi kugenda kutandika. Ka twekkaanye ensonga zino.
(1) Omwaka Ogwalambibwa—1914 C.E.
5. Mabega mu kiseera ki Abajulirwa ba Yakuwa lwe baakitegeera nti Baibuli yasonga ku 1914 C.E. ng’omwaka omukulu?
5 Emabega eyo mu 1876, Abajulirwa ba Yakuwa baakitegeera nti obunnabbi bwa Baibuli bwalamba omwaka 1914 C.E. ng’ekiseera ebintu ebikulu we bwandibeereddewo ebyandikutte ennyo ku nsonga z’abantu. Ensonga eno baagibunyisa nnyo.
6. (a) Kiki ekyogerwako mu Danyeri 4:2, 3, 17? (b) ‘Oyo’ Yakuwa gw’awa “obwakabaka” ye ani?
6 Singa obikkula Baibuli yo mu Danyeri essuula 4, ojja kusangamu obunnabbi obwoleka ekigendererwa kya Katonda ku bikwata ku bufuzi bw’ensi. Ekigendererwa ekiri emabega w’okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo kitegeezebwa nga kiri nti “abalamu balyoke bategeere ng’Oyo Ali waggulu ennyo ye [Mufuzi, NW] mu bwakabaka bw’abantu, era ng’abuwa buli gw’ayagala.” (Ennyiriri 2, 3, 17) ‘Ono’ Ali waggulu ennyo gw’awa ‘obwakabaka’ ye Kristo Yesu. Era ekitabo eky’enkomerero mu Baibuli kyogera ku kiseera “obwakabaka bw’ensi” we bumuweerwa nga Kabaka ow’omu ggulu. (Okubikkulirwa 11:15; 12:10) Olwo, kino kitegeeza nti obunnabbi bwa Danyeri bwogera ku kiseera Katonda bwe yandiyingidde mu nsonga z’abantu ng’awa “obwakabaka bw’ensi” eri Yesu Kristo. Obunnabbi bulaga nga kyandibaddewo ddi?
7. (a) Kirooto ki eky’obunnabbi ekyogerwako mu Danyeri 4:10-16? (b) Kyakwata kitya ku Kabaka Nebukadduneeza?
7 Ekirooto eky’obunnabbi ekiri mu Danyeri kyogera ku muti omunene ogwatemebwa ne gusibibwa n’ekyuma n’ekikomo okutuusa “ebiseera omusanvu” bwe byandiyiseewo. Mu kiseera ekyo, “omutima gw’ensolo” gwandiguweereddwa. (Danyeri 4:10-16) Kino kyali kitegeeza ki? Katonda yasobozesa Danyeri okukinnyonnyola: Nebukadduneeza, kabaka wa Babulooni, yandigudde eddalu era yandiggiddwako obwakabaka bwe era n’agobebwa mu bantu okubeera ng’ensolo. Oluvannyuma lw’emyaka musanvu okutegeera kwa kabaka kwandizzeewo. Kino ddala kyatuuka ku kabaka, era n’azzibwako ku ntebe ye ng’oyo yennyini eyali amaze okutegeera obukulu bw’obufuzi bwa Katonda. (Danyeri 4:20-37) Kyokka, bino byonna byalina amakulu agasingako, kyebyava biwandiikibwa mu Baibuli.
8. (a) Amakulu agasinga obunene ag’obunnabbi gakwata ku bwakabaka ki? (b) Mu kutuukirizibwa okusinga obukulu, kiki ekikiikiriddwa okutemebwa kw’omuti, era ‘omutima gw’ensolo gwaguweebwa’ gutya?
8 Amakulu agasingako obunene gakwata ku bufuzi obusingako amaanyi obw’okuganyula ebiramu byonna ebiri ku nsi. Okuva mu bwo, obunnabbi bugamba nti, wa kubaawo “emmere emala bonna” era n’obukuumi wadde eri ebisolo n’ebinyonyi. (Danyeri 4:12) Obufuzi bwokka ddala obuyinza okuleeta emiganyulo gino bwe Bwakabaka bwa Katonda. Emisingi gya gavumenti eno egy’obutuukirivu gyayolesebwa mu byafaayo bya Yuda, ne bakabaka be mu Yerusaalemi. Naye olw’obutali bwesigwa, Yakuwa yaleka Yuda n’awangulibwa Babulooni mu 607 B.C.E. Kyali ng’omuti mu kirooto ogwali gutemeddwa n’enkoba ezisiba ne zisibibwa ku kikonge okukyetoolooza. Awatali kuyingirirwa Katonda, gavumenti z’amawanga ne ziba n’obuyinza mu bufuzi bw’ensi okuva olwo. Okuva obwakabaka bw’amawanga buno bwe bukiikirirwa mu Baibuli nga “ensolo,” kyali nga malayika okuva mu ggulu eyali alangiridde nti: “Aweebwe omutima gw’ensolo: era ebiseera omusanvu bimuyiteko.” (Danyeri 4:16; 8:1-8, 20-22) Naye ekiseera kyandituuse, “ebiseera omusanvu” ebyo eby’obufuzi bwa gavumenti eziri ng’ensolo ne biggwaako. Olwo ‘ebisiba’ byandiggiddwako, era “omuti” gwandizzeemu okukula ng’obufuzi bw’ensi butandika okutwalibwa oyo Yakuwa gwe yandiwadde “obwakabaka bw’ensi.”
9, 10. (a) Mu kubalirira obuwanvu bwa “ebiseera omusanvu,” buli ‘kiseera’ kyenkana wa, era Baibuli kino ekiraga etya? (b) “Ebiseera omusanvu” byatandika ddi, birimu emyaka emeka era bikoma ddi?
9 “Ebiseera omusanvu” ebyo byamala bbanga ki? Byali bisukkira ddala mu myaka omusanvu, kubanga ebyasa by’emyaka nga biyiseewo Yesu Kristo yalaga nti “ebiseera by’ab’amawanga ebigereke” byali bikyagenda mu maaso. Gaali gamaamidde obufuzi bw’ensi okuva Babulooni lwe yawangula Yerusaalemi mu 607 B.C.E. era nga ga kweyongera mu maaso okumala ekiseera.—Lukka 21:24.
10 Weetegereze ku bubwo engeri Baibuli gy’eyogera ku ‘biseera’ eby’obunnabbi. Okubikkulirwa 11:2, 3 kulaga nti ennaku 1,260 zirimu emyezi 42, oba emyaka esatu n’ekitundu. Okubikkulirwa 12:6, 14 lwogera ku nnaku ze zimu (1,260) naye ne luzoogerako nga “ekiseera [1] n’ebiseera [2] n’ekitundu ky’ekiseera,” oba “ebiseera” bisatu n’ekitundu. Ekimu ku ‘biseera’ ebyo kirimu ennaku 360 (3 1/2 × 360 = 1,260). Olunaku olumu olwa “ebiseera” bino eby’obunnabbi lutegeeza mwaka mulamba okusinziira ku tteeka nti, “buli lunaku mwaka.” (Okubala 14:34; Ezeekyeri 4:6) Bwe kityo “ebiseera omusanvu” byenkanankana emyaka 2,520 (7 × 360). Mu kubala okuva mu kasambula ka 607 B.C.E., obwakabaka bwa Katonda obwaliwo mu Yuda bwe bwavuunikibwa Babulooni, emyaka 2,520 gitutuusa mu kasambula k’omu 1914 C.E. (606 1/4 + 1913 3/4 = 2,520) Ogwo gwe mwaka “obwakabaka bw’ensi” bwe bwali butuuse okukwasibwa Yesu Kristo.
11. Bannabyafaayo bagamba ki ku makulu g’omwaka 1914?
11 Oluvannyuma lw’okumanyisa nti Baibuli yasonga ku 1914, Abajulirwa ba Yakuwa baalina okulindirira okumala emyaka egiwerako nga tebannalaba byali bya kubaawo. Mu matandika ga 1914 obuteefu bw’ensi bwalowoozesa bangi nti tewali kyali kigenda kubaawo. Naye ekyeya nga tekinnagwaako, obwesige bw’Abajulirwa ne bulabika nga tebwali bwa bwereere ensi bwe yagwa mu lutalo olwali lutabangawo. Mu kwekenneenya okw’omu kitabo 1914, munnabyafaayo A. L. Rowse yawandiika nti: “Obanga waali wabaddewo omwaka ogwalamba okuggwaako kw’omulembe n’entandikwa y’omulala, gwali 1914. Omwaka ogwo gwakomekkereza ensi ey’edda n’embeera yaayo ey’obutebenkevu ne gutandika omulembe oguliwo ennaku zino, ogw’obutali butebenkevu bwe tulabako bulijjo.”44 Lipoota ekwata ku mufuzi Omungereza Winston Churchill yategeeza nti: “Essasi eryakubibwa nga Jjuuni 28, 1914, mu Sarajevo, lyamenyaamenya obutebenkevu bw’ensi n’okutegeera okusaanidde . . . Okuva olwo ensi teddangayo kubeera nga bwe yali. . . . Kyali ekiseera ebintu we byakyukira, era ensi ey’ekitalo, enteefu, era esikiriza eya jjo yali evuddewo, obutaddayo kulabika.”45 Omwaka ogwo, ogwalambibwa obunnabbi bwa Baibuli ebyasa by’emyaka emabega, ddala gwali ebyafaayo we byakyukira.
12. Kiki ekyavaako okutabanguka okunene mu nsonga z’abantu mu 1914 n’okweyongera mu maaso?
12 Mu kusooka kiyinza okufaanana ng’eky’ekyewuunyo nti okutikkirwa kwa Kristo kwandirambiddwa n’olutalo olutabangawo ku nsi. Naye teweerabira nti “omufuzi w’ensi” ye Setaani Omulyolyomi. (Yokaana 14:30, NW) Yali tayagala kulaba Obwakabaka bwa Katonda nga bwe bulina obuyinza mu nsonga z’ensi. Okuwugula ebirowoozo okuva ku Bwakabaka, yakubiriza abantu okugwa mu lutalo basigale nga banyweredde ku buyinza obwabwe ku bwabwe mu by’obufuzi. Ate era, Baibuli eraga nti Setaani ne balubaale be baagezaako okugajambula gavumenti y’Obwakabaka nga yaakazaalibwa. Kiki ekyavaamu? “Ne waba olutalo mu ggulu . . . N’ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw’edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w’ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.” Okuva Setaani bwe yali asigazza “akaseera katono,” obusungu bwe bwali bungi. (Okubikkulirwa 12:3-12) Ng’ebulayo ebyasa kkumi na mwenda Baibuli yategeeza bulungi ekyo ekinaavaamu.
(2) Ebyandibaddewo Ebirina Amakulu ag’Enjawulo
13. Kyava ku ki Yesu okutegeeza ‘akabonero ak’okubeerawo kwe n’ak’amavannyuma g’embeera z’ebintu’?
13 Mu mwaka ogwa 33 C.E., Yesu yannyonnyola mu bugazi ‘akabonero ak’okubeerawo kwe era n’ak’amavannyuma g’embeera zino ez’ebintu.’ Bino biwandiikiddwa mu Matayo essuula 24 ne 25, Makko 13, ne Lukka 21. Bwe yali ng’ali n’akabiina k’abayigirizwa be mu Yerusaalemi, Yesu yali alagudde ku kuzikirizibwa kwa yeekaalu eyaliyo. Awo abayigirizwa be ne babuuza nti: “Tubuulire, Ebintu bino biribaawo ddi, era naki ekiriba akabonero ak’okubeerawo kwo n’ak’amavannyuma g’embeera z’ebintu?”—Matayo 24:1-3, NW.
14. Menya ebimu ku bintu ebikulu Yesu bye yassa mu ‘kabonero’?
14 Mu kuddamu Yesu yagamba nti: “Muliwulira entalo n’ettutumu ly’entalo: mulabe temweraliikiriranga: kubanga tebirirema kubaawo; naye enkomerero ng’ekyali. Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka: walibaawo enjala n’ebikankano mu bifo ebitali bimu. Naye ebyo byonna lwe lubereberye lw’okulumwa.” Nga Lukka 21:11 bwe lulaga era yayogera ku ‘kawumpuli mu bifo ebitali bimu.’ Yalabula ku ‘bujeemu okuyinga obungi.’ Era olwa kino, yagamba nti “okwagala kw’abasinga obungi kuliwola.” Era, nga kikulu ddala, yalagula nti: “Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:4-14.
15, 16. (a) Obumu ku bunnabbi bwa Yesu bwatuukirizibwa nga Yerusaalemi tekinnazikirizibwa mu 70 C.E.? (b) Tumanyi tutya nti wateekwa era okubaawo okutuukirizibwa okulala, okusingawo n’obukulu?
15 Naye ekibuuzo kiyinza okubuuzibwa nti: ‘Obunnabbi buno obumu tebwatuukirizibwa nga Yerusaalemi tekinnazikirizibwa Baruumi mu mwaka gwa 70 C.E.?’ Yee, obumu ku bwo bwatuukirizibwa. Naye ekisinga ku ekyo kyali kijja, ng’obunnabbi bwennyini bwe bulaga. Kya mazima, Yesu yali addamu ekibuuzo ku ekyo abayigirizwa be kye baali baagala okumanya mu kiseera ekyo. Naye yakozesa omukisa ogwo okutegeeza eby’omu maaso ewala ebikwata ku kiseera “Omwana w’Omuntu” bwe yandizze “n’amaanyi n’ekitiibwa kinene” era “obwakabaka bwa Katonda” bwe bwandibadde nga buli kumpi.—Lukka 21:27, 31.
16 Kya lwatu nga ebintu bino tebyaliwo mu kiseera Yerusaalemi we kyazikirizibwa mu 70 C.E. Ekitabo ekisembayo mu Baibuli, ekyawandiikibwa nga mu 96 C.E., kiraga nti ebintu bino ebikwata ku Bwakabaka byali bikyali mu maaso. (Okubikkulirwa 1:1; 11:15-18; 12:3-12) Mu lulimi olw’akabonero Okubikkulirwa kulaga nti entalo, ebbula ly’emmere, ne kawumpuli Yesu bye yalagula byali bya kubaawo mu maaso, era mu kigero ekitali kya bulijjo. Byandirambye ekiseera Kristo mwe yali ajja okutandika era n’okumaliriza okuwangula kwe ku bonna abaziyiza Obwakabaka bwa Katonda. (Okubikkulirwa 6:1-8) Olw’okuba nti ebitundu ebimu eby’obunnabbi bwa Yesu byatuukirizibwa mu kyasa ekyasooka kyakakasa nti bwa mazima, era ne kiwa ensonga entuufu okuba n’obwesige mu buli kintu ekirala Yesu kye yagamba nti kyandibaddewo.
17. Embeera eziriwo mu nsi leero za njawulo nnyo okuva ku ezo ezaaliwo nga 1914 tegunnaba?
17 Obunnabbi buno bufunye okutuukirizibwa okusingako obunene era okujjuvu mu kyasa kino eky’amakumi abiri? Abantu abatategeezeddwako abali wansi w’emyaka 70 egy’obukulu bayinza okulowooza nti ebiseera byaffe biri nga bwe byandibadde olw’okuba tebajjukira kiseera ebintu bwe byaliko eby’enjawulo. Naye abantu abakulu, era n’abo abamanyi ku byafaayo, bamanyi nti si bwe kiri. Nga ekitabo kimu eky’ebyafaayo bwe kyategeeza ku bikwata ku byaliwo mu 1914 nti: “Ensi kkumi na ttaano zokka ze zitennyigira mu lutalo . . . Naye mu zo temwalimu nsi ya maanyi eyandibadde n’amaanyi okubeerawo ng’omutabaganya w’emirembe. Kino kyali tekibangawo mu byafaayo by’ensi; tewali lutalo lwali lubadde lwa kigero ng’ekyo. Obunnabbi bwa Baibuli Entukuvu nti: ‘Eggwanga lirumba eggwanga n’obwakabaka bulirumba obwakabaka,’ bwatuukirira mu bulambalamba.”46
18. Lwaki twandibadde bakyamu singa tuba ba kugamba nti entalo okubuna wonna kye kyokka ekyoleka “akabonero”?
18 Naye ebintu ng’ebyo si kye kitundu kyokka eky’ebyo Yesu bye yagamba okuba “akabonero.” Ng’akozesa olugero, yagamba nti: “Mulabe omutiini n’emiti gyonna; kale bwe gitojjera, mulaba ne mutegeera mwekka, nti kaakano okukungula kuli kumpi. Era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo mumanyanga nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi. Mazima mbagamba nti [omulembe guno teguliggwaawo, NW] n’akatono okutuusa ebyo byonna lwe biribaawo.” (Lukka 21:29-32) Singa obadde olabye omuti gumu bumu gwokka nga gutojjera mu kiseera ekitali kiseera kyagyo, tewandirowoozezza nti ekyeya kiri kumpi. Naye bw’olaba emiti gyonna nga gitojjedde mu kiseera kyagyo, omanya kye kitegeeza. Mu ngeri y’emu, Yesu yalagula nti “okubeerawo” kwe ne “amavannyuma g’embeera z’ebintu” byandibadde birambibwa si na ntalo zokka naye n’ebintu ebiwerako nga byonna bibeerawo mu bulamu bw’omulembe gumu.
19. (a) Nga bwe kiragiddwa mu kipande ekiddirira, ebintu ebitali bimu ebiri mu ‘kabonero’ bituukiriziddwa bitya okuva mu 1914? (b) Lwaki entalo, ebbula ly’emmere, musisi, n’ebirala ng’ebyo ebyaliwo edda, si bye bikola ‘akabonero’ Yesu ke yayogerako?
19 Ebintu ebyo bibaddewo? Nga weekenneenya ekipande ekiddirira ekiriko omutwe nti “Kabonero Ki Akalibaawo?” oyinza okujjukira nga wasomako ku ntalo ez’omu byasa eby’emabega. Naye Ssematalo I yalabika nga mwawufu nnyo okuva ku ndala zonna, ebintu we byakyukira mu byafaayo. Era wandijjukira nti ebbula ly’emmere, kawumpuli, musisi, ebiro eby’obumenyi bw’amateeka, era ne kaweefube ow’enjawulo okukubiriza emirembe n’obutebenkevu bibaddewo nga 1914 tegunnatuuka. Kyokka, tewali kiseera kirala kyonna mu byafaayo ekyali kirabye ebintu bino byonna nga bibaawo ku mulembe gumu mu kigero eky’amaanyi bwe kityo. Mu mazima ddala, bwe kiba nti ebibaddewo okuva mu 1914 tebituukiriza kabonero, kiki ekirala ekyetaagibwa? Awatali kubuusabuusa, tuli mu kiseera ekya “okubeerawo” kwa Yesu mu buyinza obw’Obwakabaka.
20, 21. Ebintu ebyaliwo ebikwataganyizibwa ne Ssematalo I byalabika bitya nga byali bubeezi ‘lubereberye lwa kulumwa,’ nga Yesu bwe yalagula?
20 Okulabika kw’ebyo ebiri mu ‘kabonero’ kyali tekitegeeza nti Obwakabaka bwa Katonda bwandisanguddewo amangwago obubi okuva ku nsi. Nga Yesu bwe yalagula, “ebyo byonna lwe lubereberye lw’okulumwa.” (Matayo 24:8) Ebirala byali bigenda kugoberera. The World Book Encyclopedia kitegeeza nti: “Ssematalo I n’ebyaddirira okuva mu lwo byaleetawo akatyabaga k’eby’enfuna ak’amaanyi akatabangawo mu byafaayo mu matandika g’emyaka egya 1930. Ebyava mu lutalo n’ebizibu eby’okuzzaawo emirembe byaleetawo obwegugungo kumpi mu buli ggwanga.”47 Nga wayiseewo emyaka mitono Ssematalo II yabalukawo. Yali wa ntiisa nnyo ddala okusinga eyasooka. Okuva olwo, obutafaayo ku bulamu awamu n’ebintu kweyongedde, era okutya eby’obumenyi bw’amateeka kufuuse kitundu kya bulamu obwa bulijjo. Empisa ennungi ne zisuulibwa. Okweyongera kw’obungi bw’abantu kuleesewo ebizibu ebikyalemye okugonjoola. Okwonoonebwa kw’embeera kwonoona embeera y’obulamu era n’okubuteekera ddala mu kabi. Ate era waliwo entiisa ey’okuzikirizibwa nnamuzisa.
21 “Okulumwa” kuno kwatandika ddi? Olupapula lw’amawulire The London Star lwagamba nti: “Omuwandiisi w’ebyafaayo ow’omu kyasa ekinaddirira aliyinza okugamba nti olunaku ensi lwe yagwa eddalu lwali . . . [mu] 1914.”48 Omwaka ogwo, 1914, gwali ebbanga ddene emabega, gulambiddwa obunnabbi bwa Baibuli.
(3) Ebibaddewo mu Ddiini eby’Enkukunala
22. (a) Kiki Yesu kye yakwataganya n’okweyongera kw’obujeemu era n’okwagala okuwola bye yali alagudde? (b) Enjigiriza z’abakadde b’amakanisa zongedde zitya ku mbeera eno?
22 Era mu bintu ebikulu Yesu bye yagamba eby’okubaawo nga biramba “amavannyuma g’embeera z’ebintu” mulimu bino: “Bannabbi bangi ab’obulimba balijja, balikyamya bangi. Era kubanga obujeemu buliyinga obungi, okwagala kw’abasinga obungi kuliwola.” (Matayo 24:11, 12) Yesu yakwataganya okweyongera kw’obujeemu n’okuwola kw’okwagala ku nkola ya bannabbi ab’obulimba—abayigiriza ab’eddiini abeegamba okuba nti boogerera Katonda. Gye kisookera, ekitabo kino kyawa obujulizi obulaga nti abakadde b’ekkanisa bawagidde entalo z’amawanga, bafeebyezza emitindo gya Baibuli egy’empisa okugitwala ng’egitakyali ku mulembe, era ne boogera ku bitundu ebimu ebya Baibuli ng’ebitali bya mazima. Kiki ekivuddemu? ‘Okuwola’ kw’okwagala eri Katonda era n’amateeka ge. Eno ebadde nsonga nkulu eviiriddeko okusereba kw’empisa, awamu n’okunyooma ab’obuyinza era n’obuteefiirayo ku muntu munne.—2 Timoseewo 3:1-5.
23, 24. Kiki ekituuse ku ddiini mu myaka gino?
23 Olw’embeera ng’ezo, abantu bukadde na bukadde balekulidde ebibiina by’eddiini. Abamu bakyukira Baibuli ne beekuumira ku makubo gaayo. Abalala bavaayo nga balemeseddwa era nga beetamiddwa. Bangi bafuuka balabe ba ddiini. Omuwandiisi omu yagamba nti: “Omuntu tayinza kulemwa kulaba nti emitawaana gy’ensi mingi ddala gisibuka mu ddiini. Obukuubagano bw’eby’obufuzi obwa bulijjo butono nnyo obusibukamu ekiruyi eky’amaanyi eky’okuyiwa omusaayi eky’entalo z’eddiini.” Mu kulowooza ku kino, yabuuza nti: “Lwaki eddiini teziwerebwa?”49
24 Okuddirira kw’eddiini enkulu kuliko obujulizi bungi. Nga ekyokulabirako, lipoota ku Itale eraga nti wadde nga 95 ku buli bantu 100 bagamba nti Bakatuliki, “Omuwendo gw’abo abagenda mu kkereziya ku Sande guteeberezebwa okuba wansi w’abantu 20 ku buli 100,”50 Lipoota endala eraga nti omuwendo gw’abakadde b’ekkanisa okwetooloola ensi gwakendeezebwa 25,000 ku bo mu myaka kkumi.51 Mu Amereka okwekebejja eby’ekkereziya okwakolebwa kwalagula okweyongera okubaawo “okuddirira okutuukira ddala ku bitundu ataano ku 100 mu basasseroddooti Abamereka omwaka 2000 we gunaatuukira.”52 U.S.News & World Report yeetegereza “okukendeera okunene mu muwendo gw’abo abayingira sseminaariyo z’Abakatuliki” mu Amereka, okuva ku ntikko eya 48,992 okukka ku 11,262 mu myaka egitawera 20.53 The New York Times lwategeeza nti okwetooloola ensi yonna “omuwendo gw’ababiikira gugudde okuva ku 181,421 okukka ku 121,370” mu myaka 15.54 Embeera efaanana bw’etyo mu ddiini ezisinga obungi.
25. (a) Ku luuyi olulala, Baibuli kiki ky’eraga ekyandibaddewo ku bikwata ku kusinza okw’amazima mu kiseera kino? (b) Okukuŋŋaanyizibwa kuno okw’abasinza Katonda ow’amazima kukolebwa wansi w’okulagirirwa kw’ani era kusinziira ku ki? (c) Nsonga ki abantu b’amawanga gonna gye boolekanye nayo?
25 Obutafaanana ku ekyo, Baibuli eraga nti “ekibiina ekinene” okuva mu mawanga gonna kyandizze eri okusinza kwa Yakuwa mu kiseera kino eky’enkomerero. Yesu yalagula ku kukuŋŋaanyizibwa kuno, ng’agamba nti yandyawuddemu abantu, olw’okukuumibwa okuyita mu ‘kibonyoobonyo ekinene,’ oba olwa “ekibonerezo ekitaggwaawo.” (Okubikkulirwa 7:9, 10, 14; Isaaya 2:2-4; Matayo 25:31-33, 46) Kiki ekyo ekyawulamu abantu olw’okuwonawo? Baibuli eddamu nti: “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:17) Era abantu banditegedde batya Katonda by’ayagala bwe biri? Nga basiima omulimu gw’okuyigiriza okw’ensi yonna Yesu kwe yalagula bwe yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14, NW) Okubuulira kuno kwolekeza abantu b’amawanga gonna ensonga enkulu: Bawagira obufuzi bwa Katonda? Oba, mu kugendera awamu n’okukubiriza kwa Setaani okw’omu Adeni, baagala obufuzi obwa kyetwala obw’abantu? Yakuwa awa abantu omukisa okweronderawo.
26, 27. (a) Omulimu guno ogw’okubuulira gukoleddwa kutuuka wa? (b) Lwaki engeri omuntu gy’atwalamu obubaka bw’Obwakabaka kintu kikulu nnyo?
26 Obujulirwa okwetooloola ensi yonna obukwata ku Bwakabaka bugenda buweebwa mu ngeri egenda yeeyongera amaanyi. Mu nsi ezisukka 200, obukadde bw’Abajulirwa ba Yakuwa bakyalira abantu mu maka gaabwe ne babakubiriza okusoma Baibuli nabo, awatali kusasula. Ebitabo bye bakozesa bye bitabo ebinnyonnyola Baibuli ebisingiridde ddala okubunyisibwa mu nsi. Mu butuufu, bye bimu ku bitabo ku ebyo eby’engeri yonna ebisingiridde okubunyisibwa ennyo. Era bino bifunika mu nnimi nga 190.
27 Omulimu guno ogw’okwawulamu gubadde gugenda mu maaso okumala emyaka mingi. Kaakano guli kumpi okumalirizibwa. Okusinziira ku Kigambo kya Katonda, abo abagaanye obufuzi bwe obw’Obwakabaka, awamu n’abo abateefiirayo nga bafunye omukisa okuyiga ebimufaako, bajja kuzikirizibwa. (Matayo 25:34, 41, 46; 2 Abasessalonika 1:6-9) Eri abalala abeeraga ng’abawagizi b’Obwakabaka bwa Katonda, kino kijja kuba kiseera eky’okuwonyezebwa okw’ekitalo. Naye okusala omusango kuno kunaabaawo ddi?
(4) ‘Omulembe Guno Teguliggwaawo’
28. Yesu yagamba nti okuzikirizibwa kw’ensi okwalagulibwa kwa kujja mu kiseera ki?
28 Ebikwata ku ‘lunaku n’essaawa,’ Yesu yagamba nti, “tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab’omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.” Naye Yesu yawa ekiyinza okuyamba okupimirwako ekiseera bwe yagamba nti: “Omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ebyo byonna lwe birituukirira.” (Matayo 24:34, 36, NW) Bwe kityo ebintu ebitali bimu byonna ebiri mu ‘kabonero,’ awamu ne “ekibonyoobonyo ekinene,” biteekwa okubaawo mu bulamu bw’omulembe gumu—omulembe ogwa 1914. Kino kitegeeza nti abantu abamu abaalaba ebyaliwo mu 1914, “amavannyuma g’embeera z’ebintu bino” bwe gaatandika baliba bakyali balamu okulaba enkomerero yaazo “ekibonyoobonyo ekinene” bwe kinaabaluka. Abo abajjukira ebyaliwo mu 1914 emyaka gyabwe kaakano gibagenzeeko. Abasinga obungi ku bo bamaze okufa. Naye Yesu yatukakasa nti “omulembe guno teguliggwaawo” ng’okuzikirizibwa kw’embeera z’ebintu zino embi tekunnatuuka.—Matayo 24:21.
29. Mu kuleka ebintu ebibaddewo okuva mu 1914 okweyongera okutuuka we bituuse, Katonda akifudde atya ekyangu eri abantu okutuuka ku kusalawo okutuufu?
29 Nga Katonda abadde mugumiikiriza nnyo mu kwongera okulekawo ebbanga lino ery’okwenenyezaamu! (2 Peetero 3:9) Guno gwe mulundi ogusookedde ddala mu byafaayo, ekizibu ekimu nga kigobererwa ekirala okutuuka ku kigero eky’amaanyi ennyo—entalo, okwonoonebwa kw’embeera, abantu okuyitirira obungi, n’ebirala. Ekimu ku ebyo kyandisobodde okuleetawo okuzikirira ddala. Mu kuleka obujulizi ng’obwo okwetuuma, Katonda akifudde kyangu eri abantu okulaba nti omuntu tasobola. Mu kiseera kye kimu, okubuulirwa kwa “amawulire amalungi ag’obwakabaka” kuyambye abantu ab’emitima emyesigwa okutegeera nti Obwakabaka bwa Katonda lye ssuubi lyokka ery’emirembe n’obutebenkevu. Bwe kityo Katonda abawa ekiseera okweraga nga bali ku luuyi lwe olw’ensonga enkulu.
(5) Akabonero ak’Enkomerero
30. Kabonero ki ak’enkomerero nti okuzikirizibwa kw’ensi kuli kumpi Baibuli k’ewa?
30 Naye ekintu ekirala kimu kya kubaawo nga akabonero ak’enkukunala akalaga nti okuzikirizibwa kw’ensi kubindabinda. Ku kino omutume Pawulo yawandiika nti: “Olunaku lwa [Yakuwa, NW] lujja ng’omubbi ekiro, bwe lutyo. Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubajjira . . . so tebaliwona n’akatono.”—1 Abasessalonika 5:2, 3; Lukka 21:34, 35.
31, 32. (a) ‘Emirembe n’obutebenkenvu’ abafuzi b’ensi bye banaalangirira binaaba bya mazima? (b) Lwaki kyandibadde kya kabi okuwubisibwa ekyo?
31 Abakulembeze b’ensi bamanyi nti olutalo nnamuzisa lutegeeza kuzikirira kuggwaawo. Ate nno, ebizibu eby’akabi ng’okwonoona embeera, abantu okuyitirira obungi era n’ebizibu eby’omu maka byetaagisa okufiibwako era ne ssente. N’olwekyo baagala okuddirizaddiriza enkolagana z’amawanga ezereeze. Obujulizi obulaga kino kye kirangiriro ekyakolebwa ekibiina kya Amawanga Amagatte okuyita 1986 ‘omwaka ogw’emirembe n’obutebenkevu mu nsi yonna.’ Kino, awatali kubuusabuusa, kyolekera okutuukirizibwa kw’ebigambo bya Pawulo ebiri waggulu ebijuliziddwa. Kyo kituufu nti okuteesaganya okw’eby’obufuzi n’endagaano tebirinawo nkyukakyuka za ddala ze bikolawo mu bantu okubaleetera okwagalana bokka na bokka. Tebakomya bumenyi bw’amateeka, newakubadde okumalawo obulwadde n’okufa. Kyokka obunnabbi bulaga nti ekiseera kijja kutuuka amawanga lwe ganaalangirira nti gafunye ‘emirembe n’obutebenkevu’ eby’ekigero ekisingako. Naye ekyo bwe kinaabaawo, “okuzikiriza okw’amangu” kujja kujja ‘kibwatukira’ ku abo ababuzabuza abantu, awamu n’abo bonna ababeesiga.
32 Naye wajja kubaawo abanaawona. Onooba omu ku bo?
[Akasanduuko akali ku lupapula 78, 79]
“Kabonero Ki Akalibaawo?”
“Eggwanga Lirirumba Eggwanga”—
“Ssematalo I yaggulawo ekyasa ky’Olutalo Olujjuvu—mu makulu agasooka gennyini ag’ekigambo—olutalo olw’ensi yonna. . . . Kyali tekibangawo ng’ekiseera 1914-1918 tekinnatuuka okubaawo olutalo . . . ne lubuna ekitundu ekinene bwe kityo eky’ensi. . . . Waali tewabangawo bussi bwa kikungo bwe butyo era obutasosolamu.—World War I, ekya H. Baldwin.
Ssematalo I yatta abalwanyi n’abantu aba bulijjo obukadde 14; Ssematalo II yatta obukadde 55. Okuva ku Ssematalo II okuwamba gavumenti, obwegugungo, n’entalo bitutte obulamu bw’abantu nga obukadde 35.
Bwe kityo, okuva mu 1914 abantu abasukka mu bukadde 100 bafiiriddwa obulamu bwabwe mu ntalo!
“Walibaawo Enjala”—
Ebbula ly’emmere lyataagulataagula ensi nnyingi oluvannyuma lwa Ssematalo I ne Ssematalo II.
Kaakano, wadde oluvannyuma lw’emyaka egy’okukulaakulana mu bya sayansi, kumpi kimu kya kuna eky’ensi kirumwa enjala. Abaana abateeberezebwa okuba obukadde 12 buli mwaka bafa nga tebannaweza mwaka gwabwe ogusooka olw’obutalya bulungi. Buli mwaka obukadde obw’abalala nabo bafa olw’ensonga y’emu.
“Kawumpuli”—
Tewaliwo kawumpuli yenna mu buwandiike yali yenkanye Spanish Influenza (Sseseeba) owa 1918-1919. Yakwata abantu abawera obukadde 500; abasukka obukadde 20 ku bo baafa.
Okunoonyereza kw’ekisawo tekusobodde kuziyiza bintu nga obulwadde bw’omutima obuteeyongera kubuna. Kookolo lumbe olugenda lweyongera. Omuwendo gw’abo abakwatiddwa endwadde ez’obukaba gutumbidde.
‘Musisi’ mu Bifo Bingi—
Nga kisinziira ku nsibuko etegeezezza, emiwendo gy’abo ababa bakwatiddwako gyawukanamu. Naye okuwaayo ku byokulabirako bitono: 30,000 okutuuka ku 32,000 baafiira mu musisi mu Itale mu 1915; 100,000 okutuuka ku 200,000 mu China mu 1920; 95,000 okutuuka ku 150,000 mu Japaani mu 1923; 25,000 okutuuka ku 60,000 mu India mu 1935; 12,000 okutuuka ku 20,000 mu Iran mu 1968; 54,000 okutuuka ku 70,000 mu Peru mu 1970; 20,000 okutuuka ku 23,000 mu Guatemala mu 1976; 100,000 okutuuka ku 800,000 mu China mu 1976. Okuva mu 1914 abalala nkumi na nkumi bafiiridde mu bikumi n’ebikumi bya musisi omunene okubuna ensi.
Ebifuniddwa okuva ku nsibuko ezitali zimu biraga nti omuwendo gwa musisi ow’amaanyi abaddewo buli mwaka okuva mu 1914 gubadde munene nnyo ddala okusinga omuwendo gw’oyo eyaliwo emyaka 2,000 egy’emabega.
‘Okweyongera kw’Obumenyi bw’Amateeka’—
Omanyi ebiriwo. Obumenyi bw’amateeka okweyongera kiri mu buli ggwanga ku nsi. Obulamu bwo bwennyini bukwatiddwako. Mu kitundu kyo, kiki ekibadde mu masomero? Waliwo enkozesa y’amalagala etakkirizibwa mu mateeka mu kitundu kyo? Ate obukuusa mu by’obusuubuzi? Owulira obutebenkevu ng’oli mu luguudo ekiro?
Obumenyi bw’amateeka tebukwata ku mateeka ga bantu gokka, naye n’okusingira ddala amateeka ga Katonda. (Laba 2 Timoseewo 3:1-5, 13.)
Obwakabaka bwa Katonda Bubuulirwa mu Nsi Yonna—
Omulimu guno awatali kuddirira gugenda gukolebwa obukadde n’obukadde bw’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi ezisukka mu 200.
Mu myaka ekkumi egyakayita gyokka, essaawa nga obukadde enkumi nnya zaamalibwa Abajulirwa ba Yakuwa mu kubuulira obubaka buno. Mu bbanga eryo lye limu baabunyisa, mu nnimi nga 190, ebitabo ebisukka mu bukadde 5,000 ebisonga ku Bwakabaka bwa Katonda ng’essuubi lyokka ery’abantu.
Okulangirirwa kwa ‘Emirembe n’Obutebenkevu’—
Abakulembeze balaba obwetaavu bw’emirembe okusobola okwewala okuzikirira nnamuzisa era n’okukola ku bizibu ebirala ebyeyongera. Eddaala erimu mu kkubo lino kwe kulangirira kw’ekibiina ky’Amawanga Amagatte okwa 1986 ng’omwaka ogwa “emirembe, obutebenkevu mu nsi yonna n’okukolera awamu.”—General Assembly, Ekyateesebwako na. 32, olutuula olw’asatu mu omwenda.
Ebintu bino byonna bya ‘kabonero’ ki? Nti kaakano tuli mu ‘mavannyuma g’embeera z’ebintu.’ Nti Kristo atudde ku ntebe ye ey’omu ggulu era ayawulamu abantu okuva mu mawanga gonna abo abaagalira ddala okukola Katonda by’ayagala. Nti “ekibonyoobonyo ekinene” kiri kumpi nnyo. Okufuna ebisingawo, soma Matayo essuula 24 ne 25, Makko 13, ne Lukka 21.