Beera Mwetoowaze
“Olirokola abantu [abeetoowaze].”—2 SAMWIRI 22:28.
1, 2. Kiki abafuzi b’ensi bangi kye baali bafaanaganya?
BAKABAKA b’e Misiri bajjukirwa nnyo olw’amasiro ggaggadde ge baabaziikamu. Waliwo n’abafuzi abalala abajjukirwa ennyo mu byafaayo, gamba nga Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli, Alekizanda kabaka w’e Buyonaani ne Kayisaali ow’e Rooma. Abafuzi abo bonna baalina ekintu kimu kye baali bafaanaganya. Bonna tebaali beetoowaze.—Matayo 20:25, 26.
2 Olowooza waliwo n’omu ku bafuzi abo eyalina enkola ey’okuyitayita mu ttwale lye ng’anoonya abantu abeetaaga okubudaabudibwa? N’akatono! Era baali tebasobola na kugenda mu bifo bya banaku kubazzaamu maanyi. Ng’endowooza yaabwe ku bantu aba wansi yali ya njawulo nnyo ku y’Omufuzi Asingiridde mu butonde bwonna Yakuwa Katonda!
Ekyokulabirako Ekisingiridde eky’Obwetoowaze
3. Kiki ekiraga nti Omufuzi Asingiridde afaayo ku abo b’afuga?
3 Wadde Yakuwa ali waggulu nnyo ‘amaaso ge gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.’ (2 Ebyomumirembe 16:9) Kiki Yakuwa ky’akolawo bw’alaba abaweereza be abanakuwadde olw’ebizibu ebitali bimu? ‘Atuula’ nabo, mu ngeri nti, akozesa omwoyo gwe omutukuvu “okulamya omwoyo gw’abakkakkamu, n’okulamya omutima gw’abo ababoneredde.” (Isaaya 57:15) Bwe kityo, abaweereza be beeyongera okumuweereza nga basanyufu olw’okuba aba abazizzaamu amaanyi. Nga Katonda aba alaze obwetoowaze bwa kika kya waggulu nnyo!
4, 5. (a) Okusinziira ku muwandiisi wa Zabbuli Katonda mufuzi wa ngeri ki? (b) Kitegeeza ki okuba nti Katonda ‘yeetoowaza’ okuyamba ‘abanafu’?
4 Mu butonde bwonna, teri muntu yali yeetoowazza kutuuka ku ssa lya Mukama Afuga Byonna okusobola okuyamba abantu aboonoonyi. N’olwekyo omuwandiisi wa Zabbuli yali asobola okuwandiika nti: “Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna, n’ekitiibwa kye okusinga eggulu. Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, alina entebe ye waggulu, eyeetoowaza okutunuulira ebiri mu ggulu ne mu nsi? Ayimusa omwavu mu nfuufu, agolokosa omunafu mu lubungo.”—Zabbuli 113:4-7.
5 Yakuwa mutukuvu era talina ‘malala.’ (Makko 7:22, 23) Ekigambo “okwetoowaza” kirina amakulu ag’okwessa wansi osobole okukolagana n’abantu aba wansi. Ng’ebigambo ebiri mu Zabbuli 113:6 bituukirawo bulungi ku Katonda waffe omwetoowaze akola ku byetaago by’abaweereza be abatali batuukirivu!—2 Samwiri 22:36.
Ensonga Lwaki Yesu Yali Mwetoowaze
6. Kiki Yakuwa kye yakola ekyali kisingira ddala okulaga obwetoowaze?
6 Ekintu ekisingira ddala okulaga nti Katonda mwetoowaze era nti wa kwagala, kwe kuba nti yatuma Omwana we omwagalwa ku nsi n’azaalibwa era n’akuzibwa ng’omuntu asobole okulokola olulyo lw’omuntu. (Yokaana 3:16) Yesu yatuyigiriza amazima agakwata ku Kitaawe ow’omu ggulu era oluvannyuma n’awaayo obulamu bwe obwali butuukiridde okusobola okuggyawo “ebibi by’ensi.” (Yokaana 1:29; 18:37) Olw’okuba yayolekera ddala engeri za Kitaawe, nga mw’otwalidde n’obwetoowaze, yali mwetegefu okukola Katonda by’ayagala. Ekyo kye kyokulabirako ekisingiridde eky’obwetoowaze n’okwagala ekyali kiteereddwawo ekimu ku bitonde bya Katonda. Kyokka, waliwo abantu abamu abataasiima bwetoowaze bwa Yesu. Ng’ekyokulabirako, abalabe be baatuuka n’okumutwala ng’oyo “asinga abantu bonna [“okuba owa wansi,” NW].” (Danyeri 4:17) Wadde kyali kityo, omutume Pawulo yakitegeera nti bakkiriza banne baali basaanidde okuba abeetoowaze nga Yesu nga bakolagana n’abalala. —1 Abakkolinso 11:1; Abafiripi 2:3, 4.
7, 8. (a) Yesu yayiga atya okuba omwetoowaze? (b) Abo abandyagadde okufuuka abagoberezi be yabakubiriza kukola ki?
7 Pawulo yawandiika ku kyokulabirako kya Yesu ng’agamba nti: “Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu; oyo bwe yasooka okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y’omuddu, n’abeera mu kifaananyi ky’abantu; era bwe yalabikira mu mutindo ogw’obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw’oku [“muti,” NW].”—Abafiripi 2:5-8.
8 Abamu bayinza okwebuuza nti ‘Yesu yayiga atya okuba omwetoowaze?’ Ekyamuyamba okuba omwetoowaze kwe kuba nti yamala ebbanga ddene ng’ali ne Kitaawe ow’omu ggulu, ng’akola nga “omukoza” we mu kutonda ebintu byonna. (Engero 8:30) Ng’abantu abaasooka bamaze okujeema mu Adeni, omwana wa Katonda Omubereberye yalaba engeri Kitaawe gye yayolekamu obwetoowaze ng’akolagana n’abantu aboonoonyi. N’olw’ensonga eyo, Yesu bwe yali ku nsi yali asobola okwoleka obwetoowaze ng’obwa Kitaawe era n’akubiriza abandyagadde okufuuka abayigirizwa be nti: “Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe.”—Matayo 11:29; Yokaana 14:9.
9. (a) Kiki Yesu kye yayagala ku baana? (b) Kiki Yesu kye yayigiriza bwe yateeka omwana omuto mu maaso g’abagoberezi be?
9 Olw’okuba Yesu yali mwetoowaze nnyo, abaana abato tebaatyanga kumutuukirira. Baawuliranga bulungi nga bali naye. Naye kennyini yalaga nti abaagala ng’abafaako. (Makko 10:13-16) Kiki Yesu kye yayagala ku baana? Amazima gali nti, baalina engeri ennungi abayigirizwa be abamu ze bataalina. Kimanyiddwa nti abaana abato bakitwala nti abantu abakulu babasinga mu bintu bingi. Kino osobola okukitegeerera ku bibuuzo bye batera okubuuza. Okwawukana ku bantu abakulu, abaana abato bangu okuyigiriza era tebalina malala. Lumu Yesu yaggyayo omwana omuto n’amuteeka mu maaso g’abagoberezi Be, n’abagamba nti: “Bwe mutakyuka okufuuka ng’abaana abato, temuliyingira n’akatono mu bwakabaka obw’omu ggulu.” Ate era yayongerako nti: “Kale buli eyeewombeeka ng’omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.” (Matayo 18:3, 4) Oluvannyuma yagamba nti: “Buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”—Lukka 14:11; 18:14; Matayo 23:12.
10. Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
10 Ebibuuzo ebikulu ebigenda okwekenneenyezebwa biri nti: Lwaki oluusi Abakristaayo balemererwa okuba abeetoowaze ng’ate kye kimu ku bintu Katonda by’ajja okusinziirako okutuwa obulamu obutaggwaawo? Lwaki kitera okutuzibuwalira okweggyamu amalala, ne tuba beetoowaze nga twolekaganye n’embeera enzibu? Era, kiki ekinaatuyamba okukulaakulanya obwetoowaze? —Yakobo 4:6, 10.
Ensonga Lwaki Kituzibuwalira Okuba Abeetoowaze
11. Lwaki tekyewuunyisa nti tuzibuwalirwa okuba abeetoowaze?
11 Bw’oba ozibuwalirwa okuba omwetoowaze, kijjukire nti n’abalala boolekagana n’ekizibu ekyo. Edda ennyo mu 1920, akatabo Omunaala gw’Omukuumi kaayogera ku kubuulirira kwa Baibuli okukwata ku kuba abeetoowaze. Kaagamba nti: “Okuva bwe kiri nti Mukama waffe yateeka nnyo essira ku bukulu bw’okuba abeetoowaze, ng’abayigirizwa be twandifubye okubeera abeetoowaze buli lunaku.” Oluvannyuma akatabo kano kaakyasanguza nti: “Wadde Ebyawandiikibwa bitukubiriza nnyo okubeera abeetoowaze, olw’obutali butuukirivu, abo abafuuka abagoberezi ba Mukama waffe ne beewaayo okutambulira mu kkubo lye kirabika bazibuwalirwa nnyo okwoleka obwetoowaze n’okusinga engeri endala yonna.” Kino kitulaga ensonga lwaki Abakristaayo ab’amazima balina okufuba ennyo okuba abeetoowaze—kubanga abantu abatatuukiridde baagala nnyo okuweebwa ekitiibwa ekitabasaanira. Kino kiri bwe kityo lwa kuba tuli bazzukulu ba Adamu ne Kaawa abaayonoona olw’okuba baayoleka omwoyo gw’okwerowoozaako.—Abaruumi 5:12.
12, 13. (a) Ensi eremesa etya Abakristaayo okuba abeetoowaze? (b) Ani atulemesa nga tufuba okuba abeetoowaze?
12 Ensonga endala lwaki tuzibuwalirwa okuba abeetoowaze eri nti, abantu abatwetoolodde bakuliriza nnyo eky’okusukkuluma ku balala. Ekimu ku bintu abantu b’ensi bye baluubirira ennyo, kwe kukkusa “okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu.” (1 Yokaana 2:16) Mu kifo ky’okuluubirira ebintu ng’ebyo, abayigirizwa ba Yesu basaanidde okuba n’eriiso eriraba awamu n’okusoosa ebyo Katonda by’ayagala.—Matayo 6:22-24, 31-33; 1 Yokaana 2:17.
13 Ensonga ey’okusatu lwaki si kyangu kuba beetoowaze eri nti, oyo asibukako amalala Setaani Omulyolyomi, y’afuga ensi eno. (2 Abakkolinso 4:4; 1 Timoseewo 3:6) Setaani akubiriza abantu okuba n’amalala. Ng’ekyokulabirako, yali ayagala Yesu amusinze ng’amusuubiza okumuwa “ensi za bakabaka bonna abali mu nsi, n’ekitiibwa kyazo.” Kyokka, olw’okuba yali mwetoowaze, Yesu yagaana okukola Omulyolyomi kye yali amugambye. (Matayo 4:8, 10) Mu ngeri y’emu, Setaani agezaako okupikiriza Abakristaayo okwenoonyeza ekitiibwa. Mu kifo ky’okugoberera ekyo Setaani ky’abakubiriza okukola, Abakristaayo abeetoowaze bafuba okukoppa ekyokulabirako kya Yesu nga basinza Katonda era ye yekka gwe batendereza.—Makko 10:17, 18.
Okubeera Abeetoowaze
14. ‘Okwewombeeka okw’obukuusa’ kwe kuliwa?
14 Mu bbaluwa gye yawandiikira Abakkolosaayi, omutume Pawulo yabakubiriza okwegendereza abantu abeefuula abawombeefu. Okwewombeeka ng’okwo Pawulo yakuyita ‘okwewombeeka okw’obukuusa.’ Abo abeefuula abawombeefu ng’ate si kye bali, tebaba bantu ba bya mwoyo. Baba ‘beegulumiza bwegulumiza.’ (Abakkolosaayi 2:18, 23) Yesu yawaayo ebyokulabirako eby’abo abaali beefuula abawombeefu. Yavumirira Abafalisaayo abaali basaba era nga basiiba olw’okweraga obwerazi. Obutafaananako Bafalisaayo, bwe tuba twagala Katonda awulire okusaba kwaffe tusaanidde okuba abawombeefu nga tusaba.—Matayo 6:5, 6, 16.
15. (a) Kiki ekiyinza okutuyamba okuba abawombeefu? (b) Byakulabirako ki ebimu eby’abantu abaali abawombeefu?
15 Abakristaayo basobola okuba abawombeefu singa bakoppa Yakuwa ne Yesu, abaateekawo ekyokulabirako ekisingiridde eky’obwetoowaze. Kino kizingiramu okwesomesa Baibuli obutayosa, n’okusoma ebitabo ebituweebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Matayo 24:45) Okwesomesa ng’okwo kukulu nnyo eri abakadde Abakristaayo kubanga kubayamba ‘obuteefuula baami b’ebyo bye baateresebwa.’ (Ekyamateeka 17:19, 20; 1 Peetero 5:1-3) Fumiitiriza ku bantu ab’enjawulo abaaweebwa emikisa olw’okuba abawombeefu, gamba nga Luusi, Kaana, Erizabeesi, n’abalala bangi. (Luusi 1:16, 17; 1 Samwiri 1:11, 20; Lukka 1:41-43) Ate lowooza ne ku basajja nga Dawudi, Yosiya, Yokaana Omubatiza n’omutume Pawulo, abaalinga abeetoowaze nga bakolagana ne Yakuwa. (2 Ebyomumirembe 34:1, 2, 19, 26-28; Zabbuli 131:1; Yokaana 1:26, 27; 3:26-30; Ebikolwa 21:20-26; 1 Abakkolinso 15:9) Ate kiri kitya eri baganda baffe bangi ab’omu kiseera kino abataddewo eky’okulabirako ekirungi eky’obwetoowaze mu kibiina Ekikristaayo? Abakristaayo ab’amazima bwe bafumiitiriza ku byokulabirako by’abantu ng’abo, kijja kubayamba okuba ‘abawombeefu.’—1 Peetero 5:5.
16. Obuweereza bw’Ekikristaayo butuyamba butya okuba abeetoowaze?
16 Okwenyigira mu buweereza bw’Ekikristaayo obutayosa nakyo kisobola okutuyamba okuba abawombeefu. Bwe tubeera abawombeefu, abo be tusanga nga tubuulira nnyumba ku nnyumba ne mu bifo ebirala bajja kuwuliriza obubaka bwaffe. Ate era tusaanidde okuba abawombeefu naddala nga be tubuulira amawulire g’Obwakabaka tebafaayo. Okuva bwe kiri nti abantu batera okuwakanya enjigiriza zaffe, Omukristaayo bw’aba omuwombeefu kimuyamba okubaddamu “n’obuwombeefu n’okutya.” (1 Peetero 3:15) Abaweereza ba Katonda abawombeefu basobodde okugenda mu bitundu eby’ewala ne bayamba abantu ab’enjawulo okuyiga amazima. Obwetoowaze bwe busobozesezza abaweereza be abo okuyiga ennimi empya basobole okubuulira abo abaagala amawulire amalungi. Ng’okufuba kwabwe kusiimibwa nnyo!—Matayo 28:19, 20.
17. Buvunaanyizibwa ki obw’Ekikristaayo obwetaagisa omuntu okuba abeetoowaze?
17 Olw’obwetoowaze, bangi batuukirizza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’Ekikristaayo nga bafaayo ku balala mu kifo ky’okwefaako bokka. Ng’ekyokulabirako, taata Omukristaayo kimwetaagisa okuba omwetoowaze okusobola okwerekereza byonna by’akola n’afissaawo ekiseera okutegeka n’okusomera awamu n’abaana be mu Kusoma kw’Amaka. Obwetoowaze era buyamba abaana okuwa bazadde baabwe ekitiibwa n’okubagondera, wadde nga tebatuukiridde. (Abaefeso 6:1-4) Abakyala abalina abaami abatali bakkiriza nabo beetaaga okuba abeetoowaze basobole okuwangula babbaabwe nga booleka ‘empisa ennongoofu ez’okutya’ Katonda. (1 Peetero 3:1, 2) Obwetoowaze n’okwagala okw’okwefiiriza byetaagibwa nnyo bwe tuba n’abalwadde oba bazadde baffe abakaddiye be tulabirira.—1 Timoseewo 5:4.
Okuba Abeetoowaze Kigonjoola Ebizibu
18. Obwetoowaze buyinza butya okutuyamba okugonjoola ebizibu?
18 Abaweereza ba Katonda bonna tebatuukiridde. (Yakobo 3:2) Emirundi egimu wayinza okubalukawo obutategeeragana wakati w’Abakristaayo babiri. Omu ayinza okuba ng’alina kye yeemulugunya ku munne. Mu mbeera ng’eyo okubuulirira kuno kuyinza okubayamba okugonjoola ekizibu: “Muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo.” (Abakkolosaayi 3:13) Wadde si kyangu kukolera ku kubuulirira kuno, obwetoowaze buyinza okukuyamba okukikola.
19. Kiki kye tusaanidde okujjukira nga twogera n’omuntu atunyiizizza?
19 Oluusi Omukristaayo ayinza okuwulira nti munne kye yamukola kyali kya maanyi nnyo ne kiba nti tasobola kukibuusa maaso. Mu mbeera ng’eyo, obwetoowaze bujja kuyamba Omukristaayo oyo okutuukirira muganda we ng’alina ekiruubirirwa eky’okuzzaawo emirembe. (Matayo 18:15) Ensonga lwaki Abakristaayo batera okulemererwa okugonjoola obutategeeragana bwe baba nabwo eri nti, bombi oba omu ku bo ayinza okugaana okukkiriza ensobi ye. Ate oluusi kiyinza okuba nti oyo atuukiridde munne alina ekigendererwa kya kumulaga nti y’alina ensobi. Mu kifo ky’okukola bwe tutyo, okuba abeetoowaze kijja kutuyamba okumalawo obutategeeragana.
20, 21. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba abeetoowaze?
20 Ekintu ekisookera ddala ekiyinza okutuyamba okuba abeetoowaze, kwe kusaba Katonda atuyambe era atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Tusaanidde okukijjukira nti “Katonda . . . abawombeefu abawa ekisa [n’omwoyo gwe omutukuvu].” (Yakobo 4:6) N’olwekyo bw’oba ofunye obutategeeragana ne mukkiriza munno, saba Yakuwa akuyambe okkirize ensobi yo. Singa munno akugamba mu bwesimbu nti “nsonyiwa,” beera mwetoowaze omusonyiwe. Singa kino kikuzibuwalira, saba Yakuwa akuyambe weggyemu amalala.
21 Olw’okuba tumaze okulaba nti mu kuba abeetoowaze mulimu emiganyulo mingi, twandibadde tukulaakulanya engeri eyo. Nga Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo baatuteerawo eky’okulabirako ekirungi eky’obwetoowaze! Tetusaanidde kwerabira kisuubizo kya Katonda nti: “Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu ye mpeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.”—Engero 22:4.
Ensonga ez’Okulowoozako
• Baani abaateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’obwetoowaze?
• Lwaki si kyangu kuba mwetoowaze?
• Biki ebiyinza okutuyamba okuba abeetoowaze?
• Lwaki kikulu okubeeranga abeetoowaze?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Yesu yali mwetoowaze
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Ensi ekubiriza abantu okusukkuluma ku balala
[Ensibuko y’ekifaananyi]
WHO photo by L. Almasi/K. Hemzǒ
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Obwetoowaze butuyamba okutuukirira abo be tusanga nga tuli mu buweereza
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]
Okusobola okumalawo obutategeeragana kyetaagisa okubuusa amaaso ensobi z’abalala