EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | NAKKUMU 1–KAABAKUUKU 3
Sigala ng’Otunula mu by’Omwoyo era ng’Oli Munyiikivu
Kyalabika ng’Abababulooni abatandisobodde kuzikiriza Yuda. Abamisiri baali bawagira Yuda, ate nga Misiri yali esinga Babulooni amaanyi. Okugatta ku ekyo, Abayudaaya bangi baali tebakikkiriza nti Yakuwa yandirese ekibuga kyabwe Yerusaalemi ne yeekaalu okuzikirizibwa. Kyokka obunnabbi bwalina okutuukirira, era Kaabakuuku yalina okulindirira n’okusigala ng’atunula mu by’omwoyo.
Kiki ekinkakasa nti enkomerero enaatera okutuuka?
Nnyinza ntya okusigala nga ntunula mu by’omwoyo, era nga ndi munyiikivu?