Ababi Basigazzaayo Bbanga ki?
“Lwaki ggwe [Yakuwa]. . . osirika omubi bw’aliira ddala omuntu amusinga obutuukirivu?”—KAABAKUUKU 1:13.
1. Ensi erijjula ddi okumanya ekitiibwa kya Yakuwa
KATONDA alizikiriza ababi? Bwe kiba ng’alikikola,tunaalindirira kumala bbanga ki? Ebibuuzo ng’ebyo byebuuzibwa abantu okwetooloola ensi. Wa we tuyinza okufuna eby’okuddamu? Tuyinza okubifuna okuva mu bigambo by’obunnabbi ebyaluŋŋamizibwa Katonda ebikwata ku kiseera kya Katonda ekigereke. Bitukakasa nti mu kiseera ekitali ky’ewala Yakuwa ajja kutuukiriza omusango gw’asalidde ababi bonna. Mu ngeri eyo yokka ensi lw’ejja ‘okujjula okumanya ekitiibwa kya Yakuwa, ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.’ Ekyo kye kisuubizo eky’obunnabbi ekisangibwa mu Kigambo kya Katonda Ekitukuvu mu Kaabakuuku 2:14.
2. Ekitabo kya Kaabakuuku kirimu misango ki esatu Katonda gye yasala?
2 Ekitabo kya Kaabakuuku kyawandiikibwa awo nga mu 628 B.C.E., era kirimu emisango esatu Yakuwa Katonda gye yasala. Ebiri ku misango egyo gyamala dda okutuukirizibwa. Ogusooka gwe musango Yakuwa gwe yasalira eggwanga lya Yuda ery’edda eryajeema. Ate ogw’okubiri? Gwe musango Katonda gwe yatuukiriza ku Babulooni ekyali kinyigiriza abalala. N’olwekyo, tulina ensonga za maanyi okuba n’obwesige nti n’omusango ogw’okusatu Katonda gw’asaze ajja kugutuukiriza. Mu butuufu, tuyinza okusuubira nti gujja kutuukirizibwa mu kiseera ekitali kya wala. Olw’abagolokofu abaliwo mu nnaku zino ez’enkomerero, Katonda ajja kuzikiriza ababi bonna. Abaliba bakyaliwo bajja kussa omukka gwabwe ogw’enkomerero ku ‘lutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna’ olubindabinda.—Okubikkulirwa 16:14, 16.
3. Kiki ekijja okutuuka ku babi mu kiseera kyaffe?
3 Olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda lugenda lusembera. Era okutuukirizibwa kw’omusango Katonda gw’asalidde ababi mu kiseera kyaffe kukakafu ddala ng’okutuukirizibwa kw’emisango Yakuwa gye yasalira Yuda ne Babulooni bwe kwali. Kyokka, lwaki, kaakano tetuteeberezaamu nti tuli mu Yuda mu biseera bya Kaabakuuku? Kiki ekigenda mu maaso mu nsi eyo?
Ensi Eri mu Buzibu
4. Kaabakuuku awulira mawulire ki ageesisiwaza?
4 Kuba ekifaananyi nga nnabbi wa Yakuwa, Kaabakuuku, atudde waggulu ku nnyumba ye, ng’ali mu kawewo akalungi ak’akawungeezi. Okumpi naye waliwo ekivuga. (Kaabakuuku 1:1; 3:19, obugambo obusembayo wansi) Naye Kaabakuuku awulira amawulire ageesisiwaza. Kabaka wa Yuda, Yekoyakimu, asse Uliya era omulambo gwa nnabbi oyo agusudde mu malaalo g’abakopi. (Yeremiya 26:23) Kyo kituufu nti Uliya teyeesiga Yakuwa, yatya era n’addukira e Misiri. Kyokka, Kaabakuuku amanyi nti ettemu lya Yekoyakimu teryaliwo lwa kuba yali ayagala okukuuma ekitiibwa kya Yakuwa. Kino kirabikira ku ngeri kabaka ono gy’asuu- la omuguluka amateeka ga Katonda era n’obukyayi bwe yalina eri nnabbi Yeremiya n’abalala abaali baweereza Yakuwa.
5. Mbeera ki ey’eby’emwoyo eri mu Yuda, era embeera eyo eyisa etya Kaabakuuku?
5 Kaabakuuku alaba omukka gw’obubaane nga gunyooka okuva mu busolya bw’amayumba ag’oku muliraano. Abantu tebanyookeza bubaane buno ng’abasinza ba Yakuwa. Benyigidde mu bikolwa by’eddiini ez’obulimba ebikubirizibwa Kabaka wa Yuda omubi Yekoyakimu. Nga kya kivve nnyo! Amaaso ga Kaabakuuku gajjula amaziga, era yeegayirira bw’ati: “Ai Yakuwa, ndituusa wa okukukaabirira onnyambe, n’otowulira? Ndituusa wa okukukoowoola omponye okuva mu ttemu, n’otomponya? Lwaki ondeka okulaba ebirumya, era n’otunuulira obukyamu? Era lwaki okunyaga n’ettemu biri mu maaso gange, era lwaki waliwo okuyomba, n’obunyoolagano? Amateeka kyegavudde gaggwaamu amaanyi, era n’obwenkanya tebukyaliwo. Kubanga omubi azingizza omutuukirivu, n’olw’ensonga eyo obwenkanya bunyooleddwa.”—Kaabakuuku 1:2-4, NW.
6. Kiki ekituuse ku mateeka n’obwenkanya mu Yuda?
6 Yee, okunyaga n’ettemu bicaase nnyo. Buli wamu Kaabakuuku w’atunula, alaba emitawaana, kuyomba, n’obunyoolagano. ‘Amateeka gaweddemu amaanyi,’ ganafuye. Ate obwenkanya? Laba, ‘tebukyaliwo’ okusobola okuwangula! Tebukyateekebwa mu nkola. Mu kifo ky’ekyo, ‘ababi bazingiza abatuukirivu,’ ne balemesa enkola y’amateeka eyandikuumye abatalina musango. Mazima ddala, ‘obwenkanya bunyooleddwa.’ Bukyamye. Embeera eno nga mbi nnyo!
7. Kaabakuuku mumalirivu kukola ki?
7 Kaabakuuku asiriikiriramu n’alowooza ku mbeera eno. Anaalekulira? Nedda! Oluvannyuma lw’okulowooza ku kuyigganyizibwa kw’abaweereza ba Katonda abeesigwa, omusajja ono omwesigwa amalirira buto obutasagaasagana era n’okusigala nga munywevu nga nnabbi wa Yakuwa. Kaabakuuku ajja kweyongera okulangirira obubaka bwa Katonda—ka kibe nga kinaamuviiramu okufa.
Yakuwa Akola “Omulimu” Ogutakkirizikika
8, 9. Yakuwa akola ‘mulimu’ ki ogutakkirizikika?
8 Mu kwolesebwa, Kaabakuuku alaba ab’eddiini ez’obulimba, abatawa Katonda kitiibwa. Wulira Yakuwa ky’abagamba: “Mulabe mu mawanga, musseeyo omwoyo.” Kyandiba nga Kaabakuuku yeebuuza lwaki Katonda ayogera bw’ati eri ababi bano. Awo n’awulira nga Yakuwa abagamba: “Mwewuunye nnyo nnyini: kubanga nkolera omulimu mu nnaku za mmwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa.” (Kaabakuuku 1:5)Mu butuufu, Yakuwa kennyini ‘akola omulimu gwe batayinza kukkiriza.’ Naye gwe guluwa ogwo?
9 Kaabakuuku awuliriza n’obwegendereza ebigambo ebirala Katonda by’ayogera, ebiri mu Kaabakuuku 1:6-11(NW). Buno bubaka obuva eri Yakuwa—era teri katonda wa bulimba oba kifaananyi ekiyinza okubulemesa okutuukirizibwa: “Kubanga, nnyimusa Abakaludaaya, eggwanga ekkambwe era erikozesa eryanyi, erigenda mu bitundu by’ensi ebitalina bukuumi okuwamba ennyumba ezitali zaabwe. Lya ntiisa nnyo. Obwenkanya bwalyo n’ekitiibwa kyalyo bisibuka ku lyo lyennyini. Era embalaasi zaalyo zidduka nnyo okusinga engo, era nkambwe okusinga emisege egy’ekiro. Eggye lyalyo ery’embalaasi ennwanyi lisambiridde ettaka, era eggye eryo ery’embalaasi ennwanyi liva wala. Babuuka ng’empungu eyanguwa okulya ekintu. Lyonna lyonna lijja kukola ttemu lyennyini. Amaaso gaabwe galinga embuyaga ey’ebuvanjuba, era likuŋŋaanya abasibe ng’omusenyu. Lisekerera bakabaka, n’abakungu aba waggulu ba kuduulirwa mu maaso gaalyo. Lisekerera buli kigo, ne lituuma enfuufu ne likiwamba. Awo ne lijja nga liwulumuka ng’embuyaga ne liyitawo era ne lizza omusango. Amaanyi gaalyo gava wa katonda waalyo.”
10. Baani Yakuwa b’ayimusaawo?
10 Okulabula kuno okw’obunnabbi okuva eri oyo Ali Waggulu Ennyo nga kwa maanyi nnyo! Yakuwa ayimusa Abakaludaaya, eggwanga ekkambwe ennyo erya Babulooni. Nga litabaala okubuna ‘ebitundu by’ensi ebitalina bukuumi’ lijja kuwamba ebifo bingi ebibeeramu abantu. Nga kya ntiisa nnyo! Eggye ly’Abakaludaaya ‘lya ntiisa,’ bbi nnyo era likwasa ensisi. Lye lyeteerawo amateeka gaalyo amakakali. ‘Obwenkanya bwalyo busibuka eri lyo lyennyini.’
11. Wandinnyonnyodde otya engeri amagye ga Babulooni gye gandirumbyemu Yuda?
11 Embalaasi za Babulooni zidduka nnyo okusinga engo. Eggye lyayo ery’embalaasi kkambwe nnyo okusinga emisege egiyigga ekiro. Nga zaagala okugenda okutabaala, ‘embalaasi zaalyo ennwanyi zisambirira ettaka.’ Lisitula kuva wala nnyo e Babulooni ne lyolekera Yuda. Nga babuuka ng’empungu eyanguwa okutuuka awali eky’okulya, Abakaludaaya mu kaseera katono bajja kuzingiza omuyiggo gwa- bwe. Naye kuno kunaaba kuzinda kutonotono okukolebwa abaserikale batono? N’akatono! “Lyonna lyonna lijja kukola ttemu lyennyini,” ng’eggye eddene ennyo erizze okuzikiriza. Amaaso gaabwe nga goolesa obumalirivu, beebagala embalaasi zaabwe okwolekera Yuda ne Yerusaalemi ebugwanjuba, ku sipiidi ya maa- nyi g’embuyaga y’ebuvanjuba. Eggye lya Babulooni liwamba abantu bangi nnyo ne kiba nti “likuŋŋaanya abasibe ng’omusenyu.”
12. Abababulooni balina ndowooza ki, era omulabe ono ow’amaanyi ennyo ‘azza musango’ ki?
12 Eggye ly’Abakaludaaya lisekerera bakabaka era likudaalira abakungu aba waggulu, nga ku bonna tewali ayinza kuliremesa. “Lisekerera buli kigo,” kubanga buli kigo kigwa bugwi Abababulooni bwe ‘batuuma enfuufu’ nga bazimba ekigo ky’ettaka ne bayima okwo okukirumba. Mu kiseera kya Yakuwa ekigereke, omulabe ono ow’amaanyi ennyo ‘ajja kuwulumuka ng’embuyaga.’ Mu kulumba Yuda ne Ye- rusaalemi, ‘lijja kuzza omusango’ ogw’okukola akabi ku bantu ba Katonda. Oluvannyuma lw’obuwanguzi obwo obw’amaanyi, omuduumizi w’Abakaludaaya ajja kwewaana: ‘Amaanyi gano gavudde wa katonda waffe.’ Naye ng’amanyi kitono nnyo ddala!
Ekisinziirwako Okubeera n’Essuubi
13. Lwaki Kaabakuuku alina essuubi n’obwesige?
13 Nga yeeyongedde okutegeera ekigendererwa kya Yakuwa, Kaabakuuku afuna essuubi mu mutima gwe. Ng’alina obwesige obujjuvu, atendereza Yakuwa. Nga bwe kiri mu Kaabakuuku 1:12 (NW), nnabbi agamba bw’ati: “Toli wa mirembe na mirembe, Ai Yakuwa? Ai Katonda wange, Omutukuvu wange, ggwe tofa.” Mazima ddala, Yakuwa ye Katonda “okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna.”—Zabbuli 90:1, 2.
14. Bakyewaggula mu Yuda bakutte kkubo ki?
14 Ng’alowooza ku kwolesebwa Katonda kw’amuwadde era ng’asanyuka olw’okutegeera kwe kumuleetedde, nnabbi agattako: “Ai Yakuwa, okitegekedde omusango; era, Ai Olwazi, okinywerezza okunenyezebwa.” Katonda asalidde abajeemu ba Yuda omusango, era Yakuwa wa kubanenya, era abakangavvule mu ngeri ey’amaanyi. Bandibadde bamwesiga ng’Olwazi lwabwe, ekigo kyabwe kyokka ekya nnamaddala, ekiddukiro, era Ensibuko y’obulokozi bwabwe. (Zabbuli 62:7; 94:22; 95:1) Kyokka, abakulembeze ba Yuda abajeemu tebasemberera Katonda, era beeyongera kunyigiriza basinza ba Yakuwa abatalina kabi.
15. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali ‘omulongoofu ennyo mu maaso ge okulaba ekibi’?
15 Embeera eno enakuwaza nnyo nnabbi wa Yakuwa. N’olwekyo agamba bw’ati: “Amaaso go malongoofu nnyo okulaba obubi; era toyinza kutunuulira bukyamu.” (Kaabakuuku 1:13, NW) Yee, Yakuwa ‘amaaso ge malongoofu nnyo okulaba obubi,’ kwe kugamba, okugumiikiriza obukozi bw’obubi.
16. Oyinza otya okunnyonnyola ebiri mu Kaabakuuku 1:13-17?
16 N’olw’ensonga eyo, Kaabakuuku abuuza ebibuuzo ebireetera omuntu okulowoolereza. Abuuza: “Lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n’osirika omubi bw’aliira ddala omuntu amusinga obutuukirivu; n’ofuula abantu ng’ebyennyanja era ng’ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga? Abakwata bonna n’eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye: kyava asanyuka n’ajaguza. Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n’ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw’ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye n’eba nnyingi. Kale kyaliva afuka omuya gwe, n’atalekaayo kutta amawanga olutata?”—Kaabakuuku 1:13-17.
17. (a) Mu kulumba Yuda ne Yerusaalemi, Abababulooni batuukiriza batya ekigendererwa kya Katonda? (b) Yakuwa anaabikkula ki eri Kaabakuuku?
17 Mu kulumba Yuda n’ekibuga kyakyo ekikulu, Yerusaalemi, Abababulooni bajja kweyisa nga bwe baagala. Tebajja kumanya nti bakozesebwa Katonda okutuukiriza omusango gwe ogw’obutuukirivu gw’asalidde abantu abatali beesigwa. Kyangu okulaba ensonga lwaki Kaabakuuku yandikisanze nga kizibu okutegeera nti Katonda yandikozesezza Abababulooni ababi okutuukiriza omusango gw’Asaze. Abakaludaaya abo abakambwe ennyo si basinza ba Yakuwa. Batunuulira abantu nga ‘ebyennyanja oba ebyewalula’ ebirina okukwatibwa n’okufugibwa. Naye obuzibu Kaabakuuku bw’alina okutegeera ensonga zino tebujja kumala kiseera kiwanvu. Mu kabanga katono Yakuwa agenda kubikkulira nnabbi we nti Abababulooni bajja kubonerezebwa olw’obunyazi bwabwe n’okuyiwa omusaayi.—Kaabakuuku 2:8.
Mwetegefu Okuwulira Ebigambo bya Yakuwa Ebirala
18. Kiki kye tuyinza okuyigira ku ndowooza ya Kaabakuuku, nga bwe kiri mu Kaabakuuku 2:1?
18 Kyokka, kaakano Kaabakuuku alindirira okuwulira ebigambo ebirala Yakuwa by’amugamba. Nnabbi ayogera bw’ati n’obumalirivu: “Ndiyimirira we nkuumira ne nneeteeka ku kigo, ne nnengera okulaba by’anaayogera nange, era bye mba nziramu eby’okwemulugunya kwange.” (Kaabakuuku 2:1) Kaabakuuku ayagala nnyo okumanya Katonda by’agenda okwogera okuyitira mu ye nga nnabbi. Okukkiririza mu Yakuwa nga Katonda atagumiikiriza bubi kumuleetera okwebuuza lwaki obubi weebuli, naye mwetegefu okutereezebwa endowooza ye. Abaffe, kiri kitya gye tuli? Bwe twebuuza ensonga lwaki ebintu ebimu ebibi bigumiikiriziddwa, obwesige bwe tulina mu butuukirivu bwa Yakuwa Katonda bwandituyambye obutagwa lubege ensonga ne tugire- ka mu mikono gye.—Zabbuli 42:5, 11.
19. Nga kituukiriza ekyo Katonda kye yagamba Kaabakuuku, kiki ekyatuuka ku Bayudaaya abajeemu?
19 Ddala ddala nga bwe yagamba Kaabakuuku, Katonda yatuukiriza omusango gwe yali asalidde eggwanga ly’Abayudaaya ejjeemu ng’akkiriza Abababulooni okulumba Yuda. Mu 607 B.C.E., baazikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu, ne batta abakulu n’abato, era ne batwala n’abasibe bangi. (2 Ebyomumirembe 36:17-20) Oluvannyuma lw’okumala ekiseera kiwanvu mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ensigalira y’Abayudaaya abeesigwa baakomawo ku butaka, era ne baddamu okuzimba yeekaalu. Kyokka, oluvannyuma, Abayudaaya baddamu obutaba beesigwa eri Yakuwa-naddala bwe baagaana Yesu nga Masiya.
20. Pawulo yakozesa atya Kaabakuuku 1:5 ku bikwata ku kugaana Yesu?
20 Okusinziira ku Ebikolwa by’Abatume 13:38-41, omutume Pawulo yalaga Abayudaaya mu Antiyokiya kye kyanditegeezezza okugaana Yesu ne ssaddaaka ye ey’ekinunulo. Ng’ajuliza Kaabakuuku 1:5 okuva mu nkyusa ya Septuagint ey’Oluyonaani, Pawulo yalabula: “Mwekuume kireme okujja ku mmwe ekyayogerwa bannabbi nti Laba, mmwe abanyooma, mwewuunye, mubule; kubanga nze nkola omulimu mu nnaku zammwe[,] omulimu gwe mutalikkiriza newakubadde omuntu ng’agubabuulidde nnyo.” Nga kituukana n’ebigambo ebyo Pawulo bye yajuliza, okutuukirizibwa okw’okubiri okwa Kaabakuuku 1:5 kwaliwo eggye ly’Abaruumi bwe lyazikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo mu 70 C.E.
21. Abayudaaya b’omu kiseera kya Kaabakuuku baatunuulira batya “omulimu” gwa Katonda ogw’okukozesa Abababulooni okuzikiriza Yerusaalemi?
21 Eri Abayudaaya ab’omu kiseera kya Kaabakuuku, “omulimu” gwa Katonda ogw’okuleka Abababulooni okuzikiriza Yerusaalemi gwali teguyinza kulowoozebwa kubaawo kubanga ekibuga ekyo kye kyali ekitebe ekikulu eky’okusinza kwa Yakuwa era ekifo kabaka gwe yafukako amafuta gye yatuulanga. (Zabbuli 132:11-18) Bwe kityo, Yerusaalemi kyali tekizikirizibwangako. Yeekaalu yaakyo yali teyokebwangako. Ennyumba ya Dawudi ey’obwakabaka yali teggibwangako mu buyinza. Kyali tekikkirizika nti Yakuwa ayinza okukkiriza ebintu ng’ebyo okubaawo. Naye okuyitira mu Kaabakuuku, Katonda yalabula nti ebintu bino eby’ekyewuunyo byali bya kubaawo. Era ebyafaayo bikakasa nti byaliwo ddala nga bwe byalagulwa.
“Omulimu” gwa Katonda Ogutakkirizikika mu Kiseera Kyaffe
22. “Omulimu” gwa Yakuwa ogutakkirizikika gutwaliramu ki mu kiseera kyaffe?
22 Yakuwa agenda okukola “omulimu” ogutakkirizikika mu kiseera kyaffe? Ba mukakafu nti ajja kukikola, wadde ng’ekyo kirabika ng’ekitakkirizikika eri ababuusabuusa. Ku luno, ‘omulimu gwa Yakuwa ogutakkirizikika’ gujja kubeera okuzikiriza Kristendomu. Okufaananako Yuda eky’edda, kigamba nti kisinza Katonda naye kyonoonese nnyo. Yakuwa ajja kukakasa nti buli katundu konna ak’enteekateeka y’eddiini za Kristendomu kasangulibwawo ddala mu kiseera ekitali ky’ewala, awamu n’ebitundu ebirala byonna ebya “Babulooni Ekinene,” obwakabaka obw’ensi yonna obw’eddiini ez’obulimba.—Okubikkulirwa 18:1-24.
23. Omwoyo gwa Katonda gwakubiriza Kaabakuuku kuddako kukola ki?
23 Yakuwa yalina omulimu omulala gwe yali ayagala Kaabakuuku akole ng’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi tekunnatuuka mu 607 B.C.E. Biki ebirala Katonda bye yali agenda okugamba nnabbi we? Kaabakuuku yali agenda kuwulira ebintu ebyandimuleetedde okukwata ekivuga kye era ayimbire Yakuwa ennyimba ez’okukungubaga ng’asaba. Kyokka, okusooka, omwoyo gwa Katonda gwandikubirizza nnabbi ono okulangirira eby’obuyinike ebyandibaddewo. Mazima ddala twandyagadde okutegeera amakulu ag’omunda ennyo ag’ebigambo ebyo eby’obunnabbi ebikwata ku kiseera kya Katonda ekigereke. N’olwekyo ka tusseeyo omwoyo eri obunnabbi bwa Kaabakuuku.
Okyajjukira?
• Mbeera ki ezaaliwo mu Yuda mu kiseera kya Kaabakuuku?
• Yakuwa yakola ‘mulimu’ ki ogutakkirizikika mu kiseera kya Kaabakuuku?
• Kaabakuuku yali asinziira ku ki okubeera n’essuubi?
• Katonda ajja kukola ‘mulimu’ ki ogutakkirizikika mu kiseera kyaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Kaabakuuku yeebuuza lwaki Katonda yakkiriza obubi okubaawo. Naawe okyebuuza?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Kaabakuuku yalagula nti ensi ya Yuda yandizikiriziddwa Abababulooni
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Amatongo ga Yerusaalemi agaasimibwa mu ttaka, ekyazikirizibwa mu 607 B.C.E.